WEKKAANYE BINO OYITE OLUPAPULA OLUSOOKA KU DDAALA LYA “O”

WEKKAANYE BINO OYITE OLUPAPULA OLUSOOKA KU
DDAALA LYA “O”
BITEGEKEDDWA; MAKUBUYA BENJAMIN MUWAFU MUSAJJATAGERERWANZAALO SSAALONGO
(SSENTEBE W’ABABANGUZI ABAKUGU) 0751739634/0787194935
LUGANDA PAPER 335/1
Olupapula luno lugabanyiziddwamu ebitundu bibiri byokka A ne B
Mu kitundu A mulimu nnamba 1[a] ne 1[b] omuyizi okola nnamba 1a oba 1 b.
Ku nnamba 1 a kuliko okuwandiika emboozi empanvu okuva ku mitwe [4] egiba gikuweereddwa
ng’olondako gumu gwokka[1] ……………[obubonero 50] .
Ku nnamba 1[b] kuliko okuwandiika emboozi ennyimpi okuva ku mitwe [4] ng’omuyizi alondako [2] ………..[obubonero 25*2] WET; Kola nnamba 1a oba 1b.
Mu kitundu B mulimu nnamba 2 ne 3
Nnamba 3 yonna yabuiwaze noolwekyo omuyizi okola nnamba 3a ne 3b .
Nnamba 2 eriko nnamba 2a ne 2b nga kuno kuliko okufunza n’okukyusa era wano omuyizi olondako
kimu ku ebyo , wabula fuba nnyo ofunze
OKUWANDIIKA EMBOOZI EMPANVU
 Omuyizi emboozi agiwe omutwe era agusazeeko bulungi.
 Kozesa ebiba ebyenjawulo so si kimu.
 Wa ennyanjula ennyuvu era esikiriza.
 Omutwe bweguba gwa lugero fuba okulumalayo mu nnyanjula era owe n’amakulu gaalwo.
 Kozesa ebirungo by’olulimu ebituufu era ebituukira ku ebyo by’onyumyako.
 Fuba okukozesa ebigambo {400 } so si kuwandiika bigambo bitono.
 Weewale okuva ku mulamwa gw’emboozi .
 Tambulira ku mulamwa era fuba okulaba nga guvaayo bulungi si ku nkomerero wokka .
 Emboozi ekubaganya ebirowoozo eba ya njuyi bbiri era buli ludda luteekeko ensonga eziwera
olwo ku nkomerero olage oludda lw’ogwako .
 Emboozi eyokuwa endoowooza , oli waddembe okuwagira oba okuwakanya ,wabula tokola
by,ombi nga bweguli ku kukubaganya ebirowoozo.
 Emboozi eya nnamazima weewale okulimbiramu wabula leeta mazima meereere agafa ku
ky’onyumyako.
WET [ kozesa ebisoko , engero, enyimba , ebitontome, yogeza ebintu na maloboozi “bu nnakafula “ era
osobola nokuwanuuza nebirara.] Okugeza
1(a) Ku mitwe gino wammangalondako gumu owandiike emboozi etakka wansi wa bigambo 400
i.
Nnalaba amawano aganneesisiwaza
ii.
Gw’owonya eggere…….
iii.
Abakulembeze okweremeza mu buyinza y’ensibuko y’okugootaanya enkulaakulana y’eggwanga.
Kubaganya ebirowoozo
iv.
Abavubuka obutayagala kukola awmu n’okuboola emirimu y’ensibuko y’obwavu obubeesibyeko
ensangi zino. Wa endowoozayo
v.
Ofanga tobadde mupangisa
vi.
…………okuva olwo nentamwa ekitonde ekisajja. Wandiika emboozi ng’eggwa bweti.
vii.
Obukulu bw’ekitooke mu Buganda.

OKUWANDIIKA EMBOOZI ENNYIMPI.
Nnamba 1b [Londamu emitwe ebiri/ 2 ].
 Laga ennamba y’ekibuuzo ky’oddamu okugeza 1b {ii} oba nnamba 1b { iv} bw’otakikola ,
ky’oddamu kiba kikyamu kuba tekigololwa.
 Goberera omusono gw’emboozi omutuufu era tewentantala kuwandiika ku mboozi gy,otamanyi
nfaanana yaayo
 Weza ensonga era zinnyonyole awatali kulimbamu
 Esonga zibeere mu biba bya njawulo wabula tobuukamu mabanga era tosaza ku nsonga
okuggyako ku alipoota n’ekiraamo wokka awalala kozesa biba so si butwetwetwe.
WEKKAANYE EMBOOZI ZINO.
1] EBBALUWA EYOOMUKWANO.
 Endagiriro yo ku ddyo
 Ennaku z’omwezi [mu bigambo]  Okwanjula omuwandiikirwa.
 Okubuuza , okwebaza n’okulaga embeera mw’oli.
 Okulaga ensonga lwaki owandiise.
 okunnyonyola ensonga ez’enjawulo mu biba [weza 8-10].
 Wandiika erinnya lyo ku ddyo nti.
Nze owuwo ddala/
Nze muwalawo/ n’obulala
Erinnya…………..
Okugeza
i.
Wandiikira mukwano gwo ebbaluwa ng’omunnyonnyola engeri COVID 19 gye yabayisaamu
ku kyalo kyammwe.
ii.
Mukwano gwo akuwandiikidde ebbaluwa ng’asaba omunnyonnyole ku ngeri Abaganda gye
bayisaamu omulambo gw’omuntu eyeetuze, ddamu omuwandiikire ng’omutegeeza ku
nsonga eyo.
iii.
Kitwale nti nnyoko y’akulira ebyenjigiriza mu ggwanga muwandiikire ebbaluwa
ng’omusaba ebyetaago by’olina okuba nabyo osobole okuyita obulungi ekibiina ekyokuna.
WET [kozesa ebisoko n’engero webyetaagisizza] 2] EBBALUWA ENTONGOLE
 Endagiriro yo ku ddyo.
 Ennaku z’omwezi [ mu figures]  Endagiriro y’omuwandiikirwa ku kkono .
 Akagambo ssebo oba nnyabo [ kozesa kamu].
ENS:……………………………………..[GIWANDIIKEKO].
 Tuukira ku nsonga tobuuza
 Nnyonnyola ensonga emu ku emu mu biba ebyenjawulo. 8
 Laga akasonga kw’osibidde okugeza ; [Nnaasanyuka nga…..]  Wunzika ne bino ku ddyo.
Nze akussaamu ekitiibwa
Omukono [signiture] Erinnya lyo
Ekitiibwa [ owandiise nga ani?] Okugeza
i.
Kitwale nti oli ssentebe w’ekyalo kyammwe owandiikire omukiise wammwe mu lukiiko
lw’eggwanga ebbaluwa ng’omutegeeza ku bizibu ebiruma abantu b’ekyalo kyo.

3] OKWOGERA OKW’OKUBUULIRIRA (OKUBUULIRIRA)
[yogerako ne mukwano gwo , buulirira muwala wo n’ebirala]  Sooka omuyite erinnya lye ne kyali gy’oli.
 Mubuuzeeko mu ngeri yo
 Weeyanjule gy’ali ng’olaga erinnya lyo ne ky’oli gy’ali
 Yanjula ensonga gy’ogenda okumugamba
 Munnyonnyole bulungi mu biba ebyenjawulo [8-10].
 Mukkaatirize era mwebaze okuwuliriza
 [kozesa olulimi olumutuukirako ng’okozesa ebisoko n’engero webisaanira.] Okugeza
ii.
Oli ne muzzukulu wo mu ddiiro mutudde era atuusizza ekiseera eky’okufumbirwa
mubuulirire ku biki by’asaanidde okukola singa anaaba atuuse mu bufumbo bwe.
4] OKWOGERA KU MPEWO [ RADIO/ TV].
Omutwe [ OKWOGERA KU …………………….].
 Weebaze omuteesiteesi wa pulogulaamu mwoyogerera.
 Buza ku bawuliriza oba abalabi singa eba terefayina.
 Weeyanjule [laga erinya ne kkyoli].
 Yanjula ensonga gyogenda okwogerako.
 Nnyonyola ensonga mubujjuvu mu biba ebyenjawulo nga owa ensonga [8 -10].
 Katiriza kubyoyogeddeko.
 Weebaze abakuwuliriza . [kozesa olulimi olubatuukirako].
Okugeza
iii.
Oyitiddwa ku laadiyo emu mu ppulogulaamu “omuvubuka omugunjufu” wandiika
by’onaayogera ku butya omuvubuka omugunjufu bw’asaanidde okweyisa.
5] OKWOGERA MU LUKIIKO OBA MU LUKUףּףּAANA.
 Omutwe [okwogera ku….]  Yanjula ku bantu abaliwo era baanirize bulungi
 Weeeyanjule gyebali [erinya]  Laga ky’oli
 Yanjula ensonga gy’ogenda okwogerako .
 Nnyonnyola ensonga ezenjawulo .[8-10]  Wunzika
 Era weebaze abakuwulirizza.
iv.
Oli musawo wa byabulamu mu kitundu kyammwe oyise abantu okubategeeza ku nger
y’okwetangiramu ekirwadde kirumiimamawuggwe. Wandiika by’onaabagamba.
6 ] ALIPOOTA [eyokunoonyereza)
 Omutwe
 Ennyanjula
 Okunnyonnyola ensonga ezenjawula.[ kozesa obutwetwetwe] era busazeeko ,bwotabusazaako
tebuba butwe
 Fundikira ngokakasa nti bye wazuula by’ebituufu era owe ku biki ebirina okukolebwa
 Wunzika na bino ku kkono.
 Nze akussaamu ekitiibwa.
 Omukono [‘sign]  Erinnya [name]  Ekiti [gw’ani]  Ennaku z’omwezi alipoota lw’ewedde.

Okugeza
v.
Ggwe wakulembeddemu banno okugenda okukola bulungibwansi mu kitundu kyammwe.
Wandiika alipoota gy’onaawa omukulu w’essomero.
7] ALIPOOTA EY’OLUGENDO
 omutwe .
 Ennyanjula
 Obutwetwetwe era obwesigamye ku bino.
 Enteekateeka yolugendo
 Entambula yaffe.
 Ebyatuukibwako.
 Ebyazuulibwa.
 Ebisoomooza oba ebizibu.
 Engeri gye twabivvuunuka.
 Okufundikira.[ wano kakasa era weebaze abaalinamu omukono era obasabe n’olulala ] Wunzika nabino
 Nze akussaamu ekitiibwa.
 Omukono [sign].
 Erinnya.
 Ekiti.
 Ennaku z’omwezi.
Okugeza
vi.
Ggwe atwala eby’ensoma mu ssomero Bakali S.S era oasabiddwa okunoonyereza ku ebyo
ebiviirako abayizi okukola obubi mu bibuuzo by’abwe eby’akamalirizo.
8] OKUWANDIIKA OMUKO.
 Omuyizi aleete omutwe.
 Alage erinnya ly’omuwandiisi.
 Ayanjule kiki ky’agenda okuwandiikako.
 Nnyonnyola mu biba ebyenjawulo
 Wunzika ng’ okkaatiriza ensonga enkulu eri abo b’owandiikira.
 Alage ebifa oba ebikwata ku muwandiisi ku kkono wansi.
 Kozesa ebisoko awamu n’engero.
WET
 Emboozi zino nazo nkulu.
 Eggulire
 Sitaatimenti
 Ebirango
 Endagaano
Okugeza
vii.
Wandiika omuko mu mawulire ng’obuulira abantu ku ngeri y’okwetangiramu omusujja
gw’ensiri.
viii.
Wandiika omuko mu mawulire ku mutwe guno; ENNYAMBALA ABAVUBUKA ETUYIYE
ix.
Enkuba nnamutikkwa egoyezza ekyalo kyammwe kumpi kusigala nga temulina yadde
kantu na kamu. Wandiika eggulire erinaafulumira mu lupapula olumu olw’oluganda.
x.
Obaddewo nga Kazibwera akuba mukyala we omuggo ogumuttiddewo. Wandiika
by’onaayogera ng’oyitiddwa ku poliisi.

OKUFUNZA
 Soma ekitundu era okitegeere bulungi.
 Laga ennamba y’ekibuuzo.
 Ddamu osome ekitundu nga bw’oggyamu ensonga enkulu.
 Funza mu kiba kimu.
 Toddamu bigambo n’amannya.
 Togereesa era tosokowaza.
 Kozesa obuyunzi oba buli nsonga gyawule n’akatonnyeze.
 Weza ebigambo ebyakusabiddwa .
 Tomalaako muko gwa lupapula.
 Bisatu byakuna by’oba okozesa [3/4 a page].
 Ekitundu kive kumu era tobuukira .[ soma sentensi ku sentensi oba kiba kukiba nga bw’oggyamu
ebikulu ebitalekeka.
 Tossaako mutwe nga teguliiko okuggyako nga bagukusabye.
 Tobala era tolaga muwendo gwa bigambo.
 Tokyusa kiseera na muntu ali mu kiwandiiko
OKUKYUSA.
 Laga ennamba y’ekibuuzo
 Soma ekitundu kyonna .
 Kyusa sentensi ku sentensi.
 Toyongeramu bibyo.
 Kozesa ebiba ebikuweereddwa.
 Togandawaza bigambo.
 Tokyusa mannya.
 Emiwendo giteeke mu bigambo.
 Ebigambo ebiri mu bukomera nabyo bikyuse era awamu n’ennaku z’omwezi ziteeke mu bigambo.
 Amannya g’ebitongole laga omulimu gwabyo.
 Laga obubonero obwakozeseddwa.

.EBISOKO MU SENTENSI.
Eno ye nnamba ssatu [3a] •
Omuyizi akole bino asobole okuyita ennamba eno .
•
Laga ennamba y’ekibuuzo okugeza 3a
•
Awandiike obw’Abalooma bwonna.
•
Asome sentensi ku nsentensi.
•
Awandiike eby’okuddamu byokka era talina kukoppolola sentensi yonna.
•
Atandike n’ennukuta entono ng’awandiika wabula bwe liba linnya alitandike n’ennukuta ennene
[ery’enkalakkalira] •
Weegendereze ennukuta zino kuba tosobola kuzaawula ntono oba nnene [ss, vv,kk,pp,ww, Ff].
[Fuba okulabanga zenkanankana n’entono endala z’okozesezza.] •
Goberere empandiika entongole.
 Ekisoko ky’ojjuzaamu kibe kigambo kimu
 Faayo ku biseera ne nnakasigirwa ng’ojjuza ebisoko
 Fuba okulaba ng’obugambo obwakozeseddwa bwonna tobuteeka ku byakuddamu byo.
 Weewale okukyusa oba okucangacanga obw’Abalooma (buve kumu)

EKYOKULABIRAKO
Kola 3a ne 3b
i.
Omusango gwe bazza gwali gwa…………… era okuva mu kkomera kunaaba kuwonga.
ii. Obudde bulabika nga butuliiridde omutaka w’e ………………… kuba bugenze bulala.
iii. Ketusomye luno ebibuuzo kunaana kumenya mu jjenje …………………. Anti tutegedde bingi era bijja
kutwanguyira.
iv. Ssente ze babba zaali kagumba………………. Kuba kati basatu ku bo bafu.
v. Ogidde ovume nnyoko akuzaala,olwaleero oluggulidde ku …………… anti weereetedde buzibu.
vi. Mpiso okukuba omukulu w’essomero yali agalinnye gye ……………… anti yagobwa ne ku mulimu.
vii. Nalumansi okumba ewa bba n’abaana b’omusajja yeeeyokerera ……………. Kubulwa kya kutunza
anti baamulwaliriranga kyokka nga talina buyambi.
viii.
Omusango gwe bazza gwabasse mu ………………….. era kati basibe abwedde emirimu.
ix. Emmwanyi ssewambwa ze yalina nga zikoma e………………….. ne bweya.
x. Ebigambo byonna obwedda omusomesa ayogera abissaako e …………………. era twabikutte bukusu.
OKUDDAMU
Nnamba 3(a)
i.
Nnaggomola
ii.
Jjokolera
iii.
kkalu
iv.
weegoge
v.
ppata
vi.
gava
vii.
mukira
viii.
vvi
ix.
Bule
x.
ssira
TUNUULIRA SENTENSI ZINO MU BUTABO BWAFFE ERA OZEEMANYIIZE
EBISOKO OKUVA MU KATABO MBAYIWA W’ABAYIZI
1. Mbayiwa bwe yalaba ng’abawala bayingidde yabeetegereza nnyo era Ndibasa ye yasinga
okumutwala……….. bwatyo n’amugoberera.(omwoyo)
2. Nkoligo bwe yalaba nga Mbayiwa agoberedde abawala ye yasigala anyeenya mutwe
ng’…………. etenda enkuba anti yamwewuunya nnyo.(embuzi)
3. Omusajja omuweereza bwe yaleekaanira abawala mu kawooteeri bonna…….. ekitiibwa era
ne basalawo bafulume bagende.(baafa)
4.Omusomesa bwe yatugamba okugenda mu kibiina oluvannyuma lw’okumunyiiza ffena
twatambula……………… era tewali yatunula mabega. ( mukungujjo)
5. Abayizi bwe baatoloka okuva ku ssomero baagaana okusimba…… baagenda basalinkiriza
nga batya okubalondoola.(omulambika)
6.Omulenzi yafuba okugoberera abawala waakiri abasuuleyo…….. aleme kuviiraamu awo nga
tayogedde nabo.(akagambo)
7. Omugenyi yagenda okutuuka yasanga tukwata ku ke ……. kale bwe twamala okulya ne
tugenda tumulabe.(wamala)
8. Mbayiwa ya dduka za ……. okusobola okusanga Ndibasa ne munne nga
tebanabulirayo.(mbwa)
9. Ndibasa yali muwala mulungi ate ng’ayambala yenna n’………….bw’atyo buli
gweyayitangako ng’asigala tateredde.

10. Omusajja bweyali atambula yalaba amasaati agamussa ………… era yasalawo
okugalamuzaako kubanga gaali malungi era ng’agegombye.(amabbabbanyi)
11. Mu kiseera ekyo Mbayiwa yali mwavu nnyo nga talinamu yadde ekuba……..(ennyonyi)
12. Yamusuubiza okumugulira essaawa bw’anaawuubako olubu lw’………… mu kibuga anti yali
asuubira okugendayo amangu.(ekigere)
13. Bwe yalaba ng’omuwala gw’abadde ayagala azze okumukyalira yasekera mu ……. anti
yamanya nti
ajja kumugamba byonna by’ayagala.(kikonde)
14. Mbayiwa nga tasalikako…….. yabuuza mutoowe Mutema ekyali kimuleese anti yali
mukambwe bulala.(musale)
15.Mbayiwa bwe yasanga mutoowe Mutema ewaka yamubuuza bubuuza na……….essungu nga
lijula okumwabya.(kkabyo)
16.Omusomesa bwe yatuuka mu kibiina abayizi bonna ne bamwegeka……….nga baagala kulaba
ky’agenda kuzzaako.(amaaso)
17. Abayizi tebassaayo nnyo……. ku byabasomesebwa era abasinga baalemeddwa
ebibuuzo.(mwoyo)
18. Mbayiwa bwe yasanga munne nga tannatuuka ku cineema amagezi gamwesiba
ng’ayombera gy’………anti yali tamanyi kiddako.(asakira)
19. Bwe twalaba ng’omusezi atuyiseeko nga tatulabye ne tutandika okussa…………(ebikkowe)
20. Omukazi bwe yategeera nti bba amutegedde nti alina olubuto lw’omusajja omulala
n’amanya nti……………ezze bwatyo n’asalawo okudduka agende.(entumbi)
21. Twagenda okulaba nga yeetala nga…… omunyageko ente anti nga tatulaako wamu kuba
ebintu bye by’ali bibbiddwa.(Namutale)
22 .Mbayiwa olwalaba Ddola yagenda abuuka ……….. anti yali yamunoonyezza dda okumuwola
ssente bwatyo yagenda apapa.(ebibanda)
23. Oluvannyuma lwa Mbayiwa okuleka essaawa ye mu Hotel yawenja Ddola…….. asobole
okumuwoola ssente okumanya yamunoonya nnyo n’akatuuyo kamukka.(buyiso/ buseenene)
24. Omusomesa yagaana abayizi okujja nga …………. ng’ekigaali ky’omuyiga ng’obudde
bw’ekibiina bw’atuuse dda.(bagabattukana)
25. Yagenda addamu mpola……. era n’atandika okwogera kubanga yali afunyeemu
amaanyi.(endasi/olungubanguba)
26. Abayizi baali mu kibiina nga bonna bateese nga ga…… anti baali beeteekerateekera
ebibuuzo byabwe kale nga tebaagala abatawaanya nga bawombeefu bulungi.(Lubigi)
27. Omusomesa bwe yabagulira ebyokulya bonna obusekoseko bwa beetimba ku…….anti
baasanyuka nnyo kuba enjala yabali bubi.(matama)
28. Omusajja bwe yalaba ng’abatuuze batandise okuyomba olw’ebyo bye yali abagambye ,kwe
kusalawo okuzikiriza …….. lwe yali akumye.(oluyiira)
29. Yali alowooza nti amaaso ……… wabula yagenda okwetegereeza nga ddala kitaawe yali
atuuse n’amwekanga kuba yaali tamusuubira .(gamulimba)
30. Ekifanaanyi olwaggwa,Mbayiwa yagenda okulaba nga takuba ku Ndibasa………era yalaba
tamulaba n’asalawo agende ewaka.(kimunye)
31. Mbayiwa yakanda kunoonya Ndibasa nga ……kwe kusalawo okudda ewaka eka anti yali
amubuze .(busa/buterere)
32. Bwe yatuleetera omuceere tufumbeko ne tugamba nti ……….ayizze anti twali tukooye
akawunga aka buli lunaku .(Ddungu)
33. Omusomesa yagenda okutuuka mu kibiina yasanga obuseko n’obulali nga buyita ……..anti
twali tusekera waggulu olwa munaffe gwe baali bawadde akamuli k’omukwano.(kuli)

34. Omukulu w’essomero yasalawo kutussa……. ne yeefuula atatulambye nga tubba emiyembe
gy’essomero.(kasiiso)
35.Omukulu w’essomero bwe yawulira ng’abayizi baleekaana n’awulira nga munda ye……..
essungu era yajja bonna n’abafulumya n’abakuba kibooko.(afa)
36. Bwe twalaba ng’atandise okubega …… ne tusalawo tumuviire nga tetwagala kulaba muntu
mukulu akaabira nsonga zitaliimu.(emimwa)
37. Omukazi bwe yagenda ku mbaga y’anywa n’……olw’okuba yanywa mungi baamutuusa
n’ewaka nga tamanyi.(atotobala)
38. Omusomesa yalemwa okwawula Kato ne Nakitende anti baali ……… ku ndongo nga
tebateףּףּana okutuusa omu lwe yamugoba ku ssomero.(kabaani)
39. Kimera bwe yabba ettaka lya Musisi baakyawagana era bwe batyo ne baawukana nga ba
…..(bigwo)
40.Ekyali wali tekwali kunywa mwenge wabula kwali kugunaaba……..anti gwali mungi era
abantu baanywa nnyo.(bunaabi)
EBISOKO MU KATABO AMAGGWA N’EMITEGO MU BUVUBUKA
1. Cissy bwe yakuba emisomo gye ……. mu mutwe yasanyuka nyo okulaba ng`omwana we amaze
okusoma.(oluku)
2. Omusomesa byonna bye yatugamba yali afuyira ndiga…..kubanga tewali na kimu kye twakwata
byona twabireka awo era yatwewuunya nnyo.(mulere)
3. Cissy bwe yalaba nga muganzi we amwefuulide ate nga yali amusuubiza okumuwasa bw`atyo
abasajja n`atandika okubagirako ……era n`abewuunya nnyo (enkufiira)
4. Omuwala bwe bamugamba okutanbika okunoonya emirimu yeesuulirayo gwa….. era olwokuba
teyafaayo gwa mulema okufuna era ne gyebuli eno talinamulimu(Nnaggamba)
5. Kizito bwe yasanga n`ali omu ku ku batono abaali bayise ebibuuzo yatandiika okumegerera
ng`……akasibe ku ggaali.(akabwa)
6. Abazadde abali bakyebuuza gye banaggya ssente ezokuwerera abaana baabwe naye bwe
baabagamba nti ebibuuzo bikomye baazambalira ku mugongo nga …… basobole okulaba
ebyavudde mu bibuuzo (nswa)
7. Okugamba kimera agenda mu kibuga kwali kubuulira…..kwenyamira kubanga mu kibuga yewali
muganzi we ate nga yayagala dda okugenda okumulabako.(nfuuzi)
8. Emirimu gye baakola ku olwo gyali mingi era kabula kata gibasuule …. Era baagenda okutuuka eka
nga bonnna bakoowu.(kawansazi)
9. Okutugamba nti yali talyanga ku nnyama ya luwombo yatusuula mu ….. kya nseko kubanga twali
tetuyinza ku kikkiriza ate nga yakulira mu Buganda.(kibbo)
10. Omugole yagenda okuvaayo nga yenna tasalikako …. Anti engatto ze yali awokwambala ku olwo
zaali zibiddwa (musale)
11. Twagenda okuwulira ng`….. mpola gutuli bubi kubanga baali baluddewo okuwa emmere era
na`anjala etuluma nnyo (omutema)
12. Yamukubiriza obutagenda ku mukolo ogwo naye ye ne yeerema era yagenda okulaba ng`akoowola
……kwe ku mwesonyiwa(abombye)
13. Ku mukolo gwa cissy abazinnyi beekola ogwa …. Era abantu bonnna bannyumirwa omukolo
kubanga abazinnyi bazinz buluyngi(walugali)
14. Abantu baagenda okutuuka nga mwana mulenzi yeesimbaalise ….mu luggya era n`ababuuza ekyali
kibaleese nga tebayitiddwa (jjaali)
15. Bwe twamugamba okuddayo aleete ebiwandiiko bye yagaana ng`alowooza twali tusiika …. era
bw`atyo n`asubwa omulimu kubanga babimubuuza nga tabirina.(binyomo)
16. Abayizi okuvuma omusomesa waabwe beetyabira akalimu ….kubanga yabatwala ew`omukulu
w`essomero era n`abagoba (obuwuka)
17. Ggolola bwe yalwana ne kajjubi yali amugaya nnyo wabula yagenda okulaba nga Kajjubi agenda ku
mutuula ku ……. n`asalawo yeerwaze baleme kumuwangula(nfeete)
18. Omwana oyo mutemu era atigomezza nnyo abantu ku kyalo nga kitaawe bwe yali era ddala omuze
gufiira ku …. (mugumba)

19. Bwe twamala okuwandiika ebbaluwa ezisaba omulimu era ne tuzitwalayo awo ne tusaba Katonda
atuwandeko …..tusobole okufuna emirimu egyo. (eddusu)
20. Mu biseera bya ssenyiga omukambwe abantu beeryanga………… anti abantu tebalinanga byakulya
era enjala yabaluma nnyo olww’okubulwa ssente(nkuta)
21. Omuwala oyo yali mugezi nnyo mu kibiina era abayizi bonna mu kibiina mwe yali yabakubyanga
……….. (ssubi)
22. Abako baaleeta ebintu bingi mu kwanjula kwa Cissy era ng’ow’enjogera mbi abiyita …………. era
abazadde baasiima nnyo (binyinyi)
23. Cissy yali muwala mukozi ate nga simwegendereza …………. bye bigwa era buli eyakolanga naye
yamwesiimisanga olwekyo.(bitooke)
24. Kitooke yafuba okugenda ku mukolo ng’alowooza anaafuna ku bintu wabula yavaayo buggo
ng’ogusima…………. anti talina kyeyafuna(ebbumba)
25. Mwana muwala yali wa mukisa ng’aliibwa …………… kubanga bwe yayawukana ne kirimuttu ate
yafuna omusajja omulungi owobuvunaanyizibwa.(engo)
26. Mwana mulenzi baamugamba okuwa bakoddomi be ekitiibwa era ne bamugamba nti ku buko
teva…………….. noolwekyo bonna abasseemu ekitiibwa.(mbwa)
27. Bwe yalaba ng’ebizibu bimweyongedde n’asalawo okwessaamu ogwa…………… wabula yali agenda
okwetuga yasooka kuwandiika bbaluwa era ensonga emuviirideko okwetuga(kabugu)
28. Ssewambwa yali musajja mukambwe nga tanyigirwa mu………………. era olwalaba muwala we
ng’atamidde n’amugamba amutwale gye yali agunywedde (nnoga)
29. Mukasa bwe yawulira nti ne ssentebe yali mu lukwe lw’okutta mukazi yasalawo omumwa
kugutunga ……………… era teyaddamu kwogera kintu kyonna ku musongo ogwo.(mpiso)
30. Kimera yali mukwano gwa Kawooya era ng’amwesiga …………. kale nno yamubuuliranga buli kyama
kye kubanga yamwesinganga nnyo.(buvune)
31. Omuwala oyo bw’atave ku bya kwegaddanga n’abalenzi eby’okusoma ajja ku bifuuwa mu …….
Kubanga bazadde bwe bali manya bajja ku muggya mu ssomero. (ףּףּombe)
32. Bwe twamulaba ng’atandise okubba ku ssente zaffe ne tusalawo tumusse……………. okutuuka lwe
twamusangiriza nazo era n’aswala.(akasiiso)
33. Twasalawo tugende tumukubeko ………………….. nga tannava mu ddwaliro kubanga obulwadde
bwali bumulumidde ebbanga.(ekimunye/ ekyomulubaale)
34. Omukazi oyo yantama kwekyusiza mu kiti nga……………….. yakamala okutugamba nti
omukulembeze waffe afudde kyokka kati abyegaana.(mbazzi)
35. Baamubuuza eyali amugambye eby’okufa kw’omukulembeze ne bimubulira ku ………….. kubanga
yali teyekakasa bye yali ayogera.(matama)
36. Ssewambwa baamutwala n’ekisubi ku ………………. Mu ddwaliro okulaba muwala we Cissy eyali
omulwadde mu ddwaliro anti yali teyetegese kugendayo.(liiso)
37. Kayondo baamutwala teyeesiikidde ………….. okusanga Cissy gwe baali babagambye nti ali mu
ddwaliro okumanya yapapa n’edduuka yeerabira okuliggala.(kawande)
38. Singa jjajja wa Namugaanyi teyamuteerawo ……………… kitaawe yali asazeewa obutamuzza
mussomero naye yamuwolereza era naddayo.(kabega)
39. Kitaawe wa Cissy yamugamba nti kaliddamu okuwulira ensobi yonna emukwatako baali bajja
kulya ……….. era yamusuubiza okumukuba awamu n’okumuzzamukyalo.(matereke)
40. Cissy bwe yalaba ng’eyali muganzi we kirimuttu amwekubako naye nga takyajja, kwe
kumubuukako …………………. nkuyege ku ku ggi.(bukumbu)

SENTENSI ENDALA EZITEESIGAMIZIDDWA KU BUTABO
1. Ebyokusoma kwa Tom baabirinnyamu egggere oluvannyuma lwo’ kumukwatira mu bubbi
2. Lwe twagenda e Gayaaza twasimba kasooli anti tetwalina sente za tax.
3. Ttiimu yaffe okuwangula yamenya mu jjenje kkalu kubanga abazannyi baabwe baali balwadde.
4. Ku lunaku olwo enkoko twagikwata mumwa tusobole okutuuka nga bakyaliwo.
5. Libadde teriri busa ng’ obwedda gwe balinda naye atuuse.
6. Kato yali aliisa ebijnjaalo empiso ng’alowooza nti omusomo guzannya.
7. Twagenda okulaba nga taata byasiba bikutuka ne tumwongerayo mu ddwaliro eddene.
8. Omusango ogubadde gumuvunaanibwa aguwuuse buva era ekyapa ky,ettaka bakimuwadde.

9. Ssejjombwe teyasiibula,yasibamu byanguwa ng’adduka
10. Wasswa yagudde ku kibabu/kyokya/kibambulira omwana we ow’emyaka abiri bweyagudde mu
muliro.
11. Ababadde basuubira okubasasula ensimbi olwaleero babifuuwe mu ףּףּombe anti bbanka
baaziggadde.
12. Omuwala oyo mulalu bulala era ne bw’omubuulirira otya omala bya mubulago.
13. Okutyoboola Omutanda waffe oba ozzizza gwa Nnaggomola era buli Muganda akukyawa.
14. Ekyali e Ggombe ku mazaalibwa g’o Mutanda kyabula omukombi.
15. Katumba bwe bamuyitira omulimu ebyayi yabinnyika mu nsuwan’agenda.
16. Ebigambo byebamubulilira yabisula mugulukaera bw’atyo n’agwa ebigezo.
17. Luliba olwo ne twolekeganya obwanga ate ggwe osuubiraa oligumaza mbiro.
18. Okuva ewaffe okutuuka bbaasi w’eyimirira kinnya na mpindi kale tekikwetaagisa kukeera nnyo.
19. Mulenzi ggwe bw’oteegendereze ebifuba bijja kutubuguma tolowooza nti nkutya.
20. Mwana gwe wantama kwefuulira mu kiti nga mbazzi era nkyakuyamba.
21. Abayizi abaalwayo okutuuka mukiyungu ekyemisana baakirunga mu mmindi.
22. Omulenzi oyo tayimba ne bayimba era kati yemuyimbi omukulu mu Uganda
23. Twalaba taata asuukiira ng’omwenga omusu tetumuvira nga tetuusobola busungub bwe.
24. Mwana wattu otukubye enkata okutuwa ennyama ensava .
25. Olugendo lwetwatambula lwali luteresa n’embwa era twagenda okutuuka nga ffena tukooye.
26. Otulo tundi bubi era kati ntema bisiki ngyagala kuwumulako.
27. Omwogezi yayogedde essira yalisimbye ku bw’okulima .
28. Abayizi b’esomero eryo beeyisa bubi era kye baagala kye bakola nti tewali abakuba kumukono.
29. Omulenzi oyo talina mpisa era abantu bonna agenda abayisaamu amaaso.
30. Omulamuzi olwali okuyingira mu kkooti gye yakuba amaaso nga kumulenzi eyatta nnyina
n’alagira akwatibwe.
31. Kyana kiwala kiyise wano nga kyambadde kitonnye mmooli wamma ggwe n’enkulabira
abavubuka bwe beetala.
32. Bukya luba nga lwa mmindi sirabanga mwana mulenzi oyo ng’aliko omuwala gw’ayogera naye.
33. Oyo gw’olabye ayita wano ng’anyinirala ng’ekinya ye namwandu wa kizibwe.
34. Abaana bonna ababadde tatindigga eggendo ebibuuzo babiwuuse buva era omwaka ogugya
bagenda kusomera bwerere.
35. Emmere eyabadde mulumbe lwa Peter abantu baalidde nebasindisa ne bigere.
36. Oyo gw’olaba mugagga muvundu era alina ensimbi empya ne nkadde.
37. Essanyu mmange ly’alina lya mwoki wa gonja anti muwala we afumbirwa lwamukaaga.
38. Ebidongo byatulemesezza okukomba ku mpeke y’otulo era bukedde tutunula.
39. Bw’ofunawo akadde ogenda n’olaba ku Namukasa anti kati by’asiba bikutuka era bwe
bakubagamba nti afudde towakana.
40. Omubi eyabbye enkoko yabade tadduka awenennya mbwa anti twamugezezzako natulema.
41. Musoke olwawungudde kavu w’ensimbi n’asalawo kwegulira kampyata w’emmotoka.
42. Omulenzi eyafunisa Namata olubuto wenjogerera bino bamuwenja buseenene/ buyiso
43. Mwana gwe vamukowoza jjo jjuuzi gira nkutwale ewakitaawo nga tannafa.
44. Tondabira wano olwokuba obudde bwa kiro naye nkyalimu emmunye era abavubuka nkyabamiza
amangota.
N’EBIRALA
NNAMBA [3B] WEEGEZEEMU MU GGULAMA ONO
 Ggulama [wekkaanye ebibuuzo bino].
i.
Laga ebiti by’ennukuta ezikola walifu y’oluganda
ii.
Laga ennukuta zino
 Empeerezi
 Nnakinnyindwa
 Nnampawengwa.
iii.
Laga ennukuta ezitaggumira mu luganda

iv.
Laga ebika amannya gano mwe gagwa.
 Ekirimba
 Kenya
 Nalumansi
 Omuti
 Entebe
 Ebbuba
 Amazzi
v.
Amannya ago waggulu gagwa mu mbu ki eza mannya .
vi.
Sentensi eno gyiteko mu biseera byonna byetulina mu luganda.
Basoma bulungi oluganda.
vii.
Wandiika sentensi tano nga mulimu nnakongenzalinnya era ozisazeko.
viii.
Akaboozi kano kaggyeemu ebikolwa era olage mwe bigwa mu lukangaga luno .
Bwetwali tusoma oluganda twasooka kulunyooma era nga twebaka n’embugo ne zikukula kyokka
omusomesa ye yatusekereranga wabula twagenda okukizuula ng’obudde buyise.
Ebiyambi/ebiteemala
Ebiteemala,ebiteetaaga
kikolebwako
Ebyemala, ebyetaaga
ekikolebwako

ix. Wandiika sentensi ttaano nga mulimu nnakogenza kikolwa era ozisazeeko.
ix.
Ebikolwa bino biteekeko obuwakatirwa buno.
Ekikolwa
Akalazi
Akalazi
akeddamu
Akakolaganyi
Akeddamu
Soma

Tema

Kya

Kuba

Zina

Laga obungi bwabino wamanga .
 ogusajja
 olukato
 ekiiso
 olujjo
 ettama.
xi.
Laga obumu bwa bino
 Empya
 Embaawo
 Ebikazi
 Eddagala
 Amazzi
xii.
Wandiika amannya g’ebibinja g’omanyi ataano [5] MBAAGALIZA OKUYITA OBULUNGI
[Anti ekikolo n’eddagala bikuli mu ttaano]

SSAABASAJJA KABAKA AWANGAALE

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *