SHSZ UCE EBIBUUZO BY’OKWEGEZAAMU EBY’AWAMU LUGANDA (Okuwandiika emboozi, Okukyusa, Okufunza, Ggulama n’ebisoko) Olupapula Olusooka

1

STANDARD HIGH SCHOOL ZZANA
Uganda Certificate of Education
EBIBUUZO BY’OKWEGEZAAMU EBY’AWAMU LUGANDA
(Okuwandiika emboozi, Okukyusa, Okufunza, Ggulama n’ebisoko)
Olupapula Olusooka
Essaawa bbiri (2)

EBIGOBERERWA:
Olupapula luno lulimu ebitundu bibiri A ne B.
Mu kitundu A , mulimu nnamba 1. (a) ne 1. (b). Londako (a) oba (b).
Mu kitundu B, mulimu nnamba 2. ne 3. Nnamba 2, londako (a) oba (b).
Nnamba 3 yonna ya buwaze.

2

Bikkula

EKITUNDU: A
Kola nnamba 1. (a) oba 1. (b) mu kitundu kino.

1.
(a)
Ku mitwe egikuweereddwa, londako gumu oguwandiikeko emboozi ya bigambo
nga 400.

(Buli mutwe gwa bubonero 50)

(i)
Akufumbira ey’omutwe ……………………………………………………

(ii)
Buvunaanyizibwa bw’abazadde obuviiriddeko abaana okwonooneka.
Kubaganya ebirowoozo.

(iii) Ppereketya w’omusana kye yabakola!!!

(iv)
Okutirimbulwa kw’abantu ennaku zino.

Oba

(b)
Ku mitwe gino londako ebiri (2), buli gumu oguwandiikeko emboozi nga
bw’olagiddwa.

(Buli mutwe gwa bubonero 25)

(i)
Weefuule omulimisa mu ggombolola yammwe otegeke omusomo era
onyonnyole abalimi engeri y’okulimamu ebirime mu kiseera ekya

Ppereketya w’omusana.

(Kozesa ebigambo nga 200)

(ii)
Mukwano gwo bwe mwasoma ayatiikiridde nnyo olw’ensimbi ennyingi
zeyafuna. Muwandiikire ebbaluwa ng’omutendera ebizibu byo osanga
anaakuwaayo obuyambi. (Kozesa ebigambo nga 150)

(iii) Weefuule kojja wa Kiwalabye omubuulirire ku lunaku olukulembera
embaga ye. (Kozesa ebigambo nga 150)

(iv)
Ssentebe w’ekyalo kyammwe akyazizza abakulembeze b’obutonde ku
kyalo. Osabiddwa okubaaniriza mu kitundu kyammwe. Wandiika okwogera
okwo ng’obaaniriza wamu n’okubanjula eri abantu abakuηηaanye.
(Kozesa ebigambo nga 200) EKITUNDU: B

3

Kola ekibuuzo 2. (a) oba 2. (b)
(Buli kibuuzo kya bubonero 20)

2.
(a) Funza ekitundu kino wammanga mu bigambo nga 100. Ku ssaawa mukaaga
n’ekitundu, mu ttumbi, nawulira ng’omwoyo ogw’obwambega gweyongedde mu nze,
nga gulinnye ku mutwe, ngutamidde bwenge. Eri ewa Kaweke navaayo ku ssaawa
mukaaga mu ttumbi gwennyini, okumala ekitundu ky’essaawa ekyo nnali ntudde awo
ku mmeeza ng’ennaku w’ensimbidde. Nalowooza ebintu nkumu ebifa ku by’omulimu
gwe nnali njolekedde naye bwe byatuukanga ku kibuuzo ekigamba nto “Ntandika ntya
omulimu gwange?, ebirowoozo byonna ne bifuuka “Kkomekkome” ne ndaba nga
tebirina gye bintwala.
Lubaale wattu, ntandika ntya okunoonya obujulizi obunannyambula ekikoligo
ky’omusango guno era nga ntandikira wa? Ekibuuzo ekyo nalwawo nga sinnaba
kukyekkusa, ne nneeziribanga, ne nneekuyenga, ne ntuubagira nga busa. Leero ne
mbeera ku katuubagiro ng’azina n’owenkufu. Nnali nnaatera okuwangulwa otulo
tuntwale, ne nzijukira ebigambo mukyala Kaweke bye yali asinyizzaako, olwo ne
nzijukira nga bwe nnali mmaze n’okumutereeza nti bba yamugamba aleme kuggalawo
olwo n’embaguka ng’aliko ekitambo akabina ne nnyeenya.
Ewa Kaweke ettaala yali ekyayaka mu ddiiro nga tebannajizikiza. Bwe
nnalubandulawo ne ngyefubutika nengiyingira anti nga nninga ayingira mu yange.
Amaaso nagatuukiza ku kasumuluzo, okugaggya awo nagalaza mu kisenge
eky’omuddiiro n’oluvannyuma ne ngeebunguluza eddiiro ndabe ampuuna. Wonna nga
kiri mulaala, olw’omuyimbi Nnamale (olufunguwo) nalusikayo, lutali luno ne ndukuba
mu kkufulu n’enjerula ebyali munda.
Ng’omubbi bw’atera okukola ng’amenye enju nange bwe nnakola, n’ebitabo
ebimu ssaabisomangamu. Omutwe ne guntawuka, ne guwunga, ne gumpuuma nga ndaba
mbuliddwa eky’omugaso n’ekimu. Bwe nneerowooza ne ηηamba nti kale Kaweke
bw’akomerawo awo n’ankwatira mu kkabada ye!! Ne nfuluma.
Bwe nnatuuka mu luggya ne nsangawo omuntu ayimiridde ng’akubye eno ku nju
ya Kaweke amabega. Olw’ettaala ziri ez’ebweru ezisula nga zaaka, nasobola
okumwetegereza amangu nti mukazi. Bwe yawulira engatto yange ng’ekoona,
ng’eyomba n’amayinja n’amaguka, n’akyuka okuntunuulira.
Teyanninda, kumutuukako n’ayogera mu ddoboozi ery’essimbo so ate nga lya
busungu nti Mwami, obwedda oli mu nju omwo so ate nga ne nnyinimu taliimu, naye
njagala ombuulire ky’obadde okolamu okimbuulire nkimanye.
Ssaalina kirala kye nninda kubanga nnali mmaze okumutegeera nti ye mukyala
wange. Ate nga yali mutuufu nnyo okunningiriza gye nnali ndaze kubanga bwe nnali nva
mu nju saamubuulira era saamugamba saamutegeeza gye nnali ndaga.
Nange kyennava nzita ku ddoboozi ne mwetondera nti munnange ononsonyiwa
obutakulaga nga nva mu nju, kyokka nnina ensonga enkulu ze nkolako zennoonyereza
ate nga nzikolako mu kyama mu nkukutu mu bubba.
Bikkula

4

Oba

(b)
Kyusa ekitundu kino okizze mu Luganda.

(Obubonero 20)

MONICA’S VISIT TO KARAMOJA.
Monica, a sixteen year old girl in S.4 at Kampala Trinity College, had an aunt
working in Moroto, Karamoja. After her ‘O’ level examinations, Monica went to
Karamoja to spend her holiday with her aunt, and to have an experience of what she had
studied in Geography and History about the region.
Her aunt was very happy to see her. She exclaimed with pleasure and embraced
her, “Oh Monica, nice to see you! How are you? Did you like the journey?”
“Yes, Auntie, I liked it. Uncle Stephen was driving very carefully, especially on
the bumpy roads.”
“Were there only the two of you in the car?” “No, Auntie. Three of us. We picked
up a lady from Tororo. She and uncle talked and laughed all the way.”
Who was she? Had you seen her before? No, Auntie. We found her near Rock
Hotel. She stopped us and uncle asked me whether we should give her a lift. Naturally,
I said yes.
What was she like? Her aunt asked. She was tall and brown. She told us she was
a doctor. I admired her.
“Did you?” “Yes, I did. I must become a doctor, too!”
For the next few weeks Monica spent her time assisting her aunt with the house
duties. Her aunt worked at Kangole Hospital as a midwife, and would leave the house
for work at 8:00 am and return at 5:00pm. She was quite happy with what her niece was
doing in house. Monica, too, was happy to be in Karamoja for the first time in her life.

Kola ebibuuzo 3. (a) ne 3. (b)

3. (a)
Jjuza ebisoko ebituufu mu mabanga agalekeddwawo.
(Obubonero 20)
(i)
Munnaffe ka …………………….…..mu bigere gw’ate onoobanga eyazze
okugula amafuta!!.

(ii)
Abayizi ba Yunivaasite ye Makerere beekumamu ……………………ne
balumba abakulembeze olw’embeera embi.

(iii) Baali bakyali mu ya ……………………akade k’okuyingira mu kibiina ne
kavuga nga tebannalya.

5

(iv)
Mwannyina wa Kiwanuka ye yasooka okumukubako ……….…………..
n’ategeeza abalala.

(v)
Munnange nno …………………………. Omwoyo, ng’olukuttira akuloga.

(vi)
Omwana muwala oyo eby’okusoma tajja kubisobola kubanga……….…..
agakutte mu ngalo.

(vii) Omwana gwe nnatumye obw’enkya na buli kati talabikako afuuse ………
………………..….. gw’e Kanyanya.

(viii) Ekyali ku mbaga eri kyali ……………………………………………. magi.

(ix)
Ekyanziggya ………………… ku mutwe kwe kusanga nga Nambalira
yasoba dda!

(x)
Oyo omwana takyatunyega kigambo era bw’atusanga ………………….
kkuutwe.

(b)
(i)
Wandiika ebikolwa bina nga tebyetaaga kikolebwako.
(Obubonero 04)

(ii)
Sentensi zino wammanga ziteeke mu kiseera ekirijja. (Obubonero 02)
–
Omwana teyasoma.
–
Nfumba mmere.

6

Bikkula

(iii) Laga obumu bw’embu zino wammanga.

(Obubonero 04)

–
14 : BU.
–
22 : GA.
–
6 : MA.
–
10 : N.

7

BIKOMYE WANO

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *