UACE MOCK 2016 LUGANDA (ENGERO ENJIIYE, PULOOZI, EBITONTOME N’EMIZANNYO) OLUPAPULA OLWOKUSATU

1

UGANDA ADVANCED CERTIFICATE OF EDUCATION
MOCK EXAMINATIONS 2016
LUGANDA
(ENGERO ENJIIYE, PULOOZI, EBITONTOME N’EMIZANNYO)
OLUPAPULA OLWOKUSATU
(ESSAAWA SSATU)

Ebigobererwa:
– Olupapula luno lugabanyiziddwamu ebitundu A,B ne C
– Mu kitundu a kolamu ekibuuzo kimu
– Mu kitundu B kolamu ebibuuzo bibiri (2); nnamba 5 ekya Puloozi n’ekirala
kimu okuva mu bitontome.
– Mu kitundu c kolamu ekibuuzo kimu.

2

EKITUNDU A:
Ddamu ekibuuzo kimu (1) okuva mu bikuweereddwa mu kitundu kino.
M.B.NSIMBI: Bwali Butamanya

1. Weesigame ku lugero olage ebintu ebikulu omuwandiisi by’ayagala okutumanyisa ku
bufumbo.

(obubonero 25)

2. “………..Ffe wano tetufuka magezi mu mwana nga bwe bafuka omwenge mu kita. Omwana
tumuyamba buyambi okwongera ku magezi ge amazaale…………..”

(i) Ani ayogera ebigambo bino era mu ssuula ki?

(obubonero 02)
(ii) Omwana ayogerwako wano laga engeri gy’atayongerwako ku magezi ge amazaale mu
kifo awoogererwa ebigambo bino.

(obubonero 11)
(iii)Agambibwa ebigambo bino ye afuba atya okwongera ku magezi amazaale ag’omwana
ayogerwako?

(obubonero 12)

E.K.N.KAWERE: ZInunula Omunaku
3. Laga engeri omuwandiisi gy’asinze okwetoolooleza obunkenke ku kufa mu lugero lwe.
(obubonero 25)

4. “………..bwe yayogera kino ne mmanya ng’akabi kasembedde, wabula ye nga yali
tannayagala kumbuulira; mpozzi ng’atya okuntiisa n’okunneeraliikiriza…”
(i) Ani ayogera ebigambo ebyo era bisimbuddwa mu ssuula ki?
(obubonero 03)
(ii) Ayogerwako mu katundu kano azimbiddwa atya mu lugero?
(obubonero 11)
(iii)Bintu ki ebiba byakabaawo ng’ebigambo bino tebinnayogerwa?
(obubonero 08)
(iv) Kabi ki akaba kasembedde?

(obubonero 03)

EKITUNDU B:
PULOOZI

5. Soma ekitundu kino wammanga n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ebikikwatako.

Abaalugera nti ebirwa bikyuka amalusu gafuuka engeregeze, ddala baalutuusa. Kale
kaakano laba nze eyalina amaka agabuguma newankubadde saali nnigi, kati nninga gwe
bagamba kaamukujje era ddala nnamutinda. Enkerembe zange ensi yazigabana dda ne
Nambejja Ssenkaaba n’amwezza Enkoba z’omubiri zonna zireegulukuse, ennyingo

3

zitadde n’amagumba gakubagana nga bbunwe w’omukkovu. Ntuula era nsituka
nkekejjana bukekejjanyi n’amagulu kambwano nsejjeza asatu.

Ekyenyi emiziziko gikyefuze gikirako egy’ensaamu esaaka n’enviiri nazo gy’obeera nti
wamma buyira bwa jjobyo! Bw’ontunuulira nga nno njogera,nkirako abaana gwe
bayeeyereza nti y’abaamulira enkuba yaabwe so ng’ate bwe mba ndya mbulako katono
okufaananira ddala lye bagereesa (ekkovu) erirya akatiko. Kati ndi nkabaggwa, nkanduse
nnyaaluse era nkaddiye.

Musajjawo eyali nga ssettaala mu lutobazzi kati mendabenda bubenzibenzi n’omugongo
gulinga muyini gwa nkumbi. Amaaso gazzeeko ebiranda n’agekiriga gadda ku bbali era
ntunula buzeezengere. Eyali kabirinnage, nzenna ncucuse n’omubiri nsumise gwa
kikalaba. Owaa anti ataakulaba….! Ddala kakulu asomba.

Bwemba neesumaalise, neewunise mu gombolola w’ennyumba yange n’okuwuuma
ng’ewuuma, era nga neetoziirira ku ntidi yange sirina ankumaakuma yadde
ambudaabuda, ebirowoozo binneesomba. Emmeeme yange erwejjemba n’etolontokera
eyo ekkuzimu mu bunyomero bw’ebisegguusi by’ebiseera ebigenda bizigama
n’okuzimirira. Ntera okwewuunya nga n’okwebuuza kwe ntadde, ekyandesa awo
omulimu gwe nasomerera ogw’eddembe ate nga n’omukemba tegwali gwa lusuluuju oba
culuculu male neesogge guno ogwa leebuleebu ne wenjuwenju og’wobwa mbega.
Omulimu ogwanjaya omubiri , embavu n’ebirowoozo okutuusa jjo luno lwe ngunnyuse
nga ngukulunguliddemu ddala emyaka asatu be ddu.

Simanyi oba yali kabuvubuka ye yali ampaga oba kwali kwagala kuwoolera ggwanga ku
baatugumbulira Fiida mu maanyi bye byandobera okusooka okukengeera n’okulengera
ekizikiza ne kateketwe ebyali byekiise gye nnali enda okwefubitika! Sso nno
ng’ekkwano lyaffe, ettinkizo byali bizzeemu enkenyera era nga bitandise okusebbuuka
n’okuseerera Fiida amale atuve ku maaso, ng’entabwe esibuka ku mukukku gw’ebbaluwa
gye yali ankulubulidde.

Wabula ndowooza nti oboolyawo nga zaali mboozi za Kasooba n’obugambo bwe
yatunwenwekanga nga tuli bato ng’asavuwaza obulungi n’emiganyulo ebyali mu
bwambega, ebyo bye byafuuka omubumbirano okwatonderwa obwambega mu bulikondo
bw’emmeeme yange. Ebyagwawo byatengula na kubennanya bubennanya ekyali
kigoneredde muli era byakwata ku mmanduso a – ng’ekintu kyedoma nga mbwetutubika.

(Kisimbuddwa mu Omuzimu gwa Kasooka aka E.K.N. Kawere)

4

Ebibuuzo
(i) Nyonnyola ku lulimi omuwandiisi lwe yeeyambisiza okusobola okutuusa obubaka ku
basomi be.

(obubonero 08)
(ii) Bukodyo ki omunyumya bw’akozesezza okusendasenda omusomi okumunakuwalirako?
(obubonero 08)

(iii) Omunyumya azimbiddwa atya mu kitundu kino?

(obubonero 06)
(iv) Bino wammanga birina makulu ki okusinziira ku kitundu ky’osomye?
o Enkerembe zange ensiyazigabana dda
o Nambejja Ssenkaaba n’amwezza.

(obubonero 03)

6. Soma ekitontome kino wammanga n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.

ABAASOMA MWAFUUKA MIZINDAALO GYA BAZUNGU

Kyebaava bannonda okukulira abawala,
Nail mwana wa mpisa nnungi,
Ekiwato kyange nga kigonvu,
N’eddoboozi lyange nga lya ttendo,
Nga sseeneekerevu ebitalojjeka.
Bwe nabanga nsa obulo
Oba nga enda emugga
Nga nnina obuyimba bwe nkooloobya
Buli eyampuliranga n’amegerera.
Na buli kati
Abantu b’e Payira bakimanyi
Nti mu kulya mu ndago tewali ampunyamu,
Kubanga eddoboozi lyange sseenekerevu,
Liwoomera buli aliwulira,
Anti liri ng’ery’akanyonyi Ogilo
Akayimba ng’enjuba egolooba.

Kati nno ye Ocol agamba
Nti sikyalina mugaso,
Ndi nga ekiyubwe ky’omusota;
Ate bw’ava awo n’agamba
Nti ndi nga akabwa akato
Akalwadde olukuku.

Ocol asiiba akiddiana
Nti takyanneetaagirako ddala
Kubanga simanyi kukuba gita,

5

Nti n’amana ag’ekigwagwagwagwa
Abaasoma Oluzungu ge bazina,
Nago sigamanyi.

Ekirala ekimunkyaya,
Nziimuula ebiyimbayimba byabwe
Bye bazinirako amazina gaabwe gano.
Obutamanya bwe baseetula bigere nga bazina,
Nagwo musango mukulu,
Era gunvumya olutatadde.

Omusango omulala,
Gwa butamanya nnyimba eziri ku gulamufoomu,
Ate waliwo n’ogw’obutamanya kussaako leediyo.
Ate bw’ava awo n’annyombesa
Olw’obutamanya Luswayiri wadde Oluganda.

Bye biki ebyo byadongwa nabyo?
Omusajja agudde eddalu?

Omwami wange takyampuliriza,
Yagaana okunzikiriza okwennyonnyolako,
Era ekkubo erijja ewange
Yalisuulamu emisanvu.
Kyokka tambuulira nsonga
Kwasinziira okunziruka.
Bwe mmugambako awoggana buwogganyi
Yenna n’aba nga ensowera eziri ku bbi,
Nga waliwo azsikanze.
Omusajja wange agamba
Nti yantamwa takyayagala
Kubanga amannyo agamu nagaggyamu,
Mbu kati omukazi amulya omutwe
Amannyo ge gonna mu kamwa mwegali.
Kale ekyo ani yali akiwuliddeko?
Omwana wa boowo
Abeera n’akamwa akajjudde amannyo,
Nga ak’abaddu n’abawambe?
Ebibuuzo
(i)
Nokolayo ebintu bina (4) mu kitontome ebikakasa nti omutwe ogukiweereddwa
gukituukirako.

(obubonero 08)
(ii)
Nyonnyola ku lulimi omutontomi lwe yeeyambisizza mu kitontome. (obubonero 08)
(iii)
Sitanza esooka etuggyirayo buzibu ki Ocol bw’alina?
(obubonero 03)
(iv)
Nyonnyola ku nzimba ya sitanza mu kitontome kino.

(obubonero 06)

7. Obukugu bwa Okot p’Bitek bweyolekedde butya mu lulimi lw’akozesa? (obuboneero 25)

6

8. F.M.MASAGAZI: Mpaawo kitakya.

ASIKA ASIKE

Anti, olwo ndi mu kunoonya omusono gwe
na goberera nga nnyumya ensi nga bwe girabye.

Buli asika asike, ensike ensike zirwa?
Ddala ensiko z’essenke zisikirwa?
Asika mu tuumbi, n’oyo mu ssana
Mu nkuba engere, abandi mu mpewo
Olulala mu ssanyu, oluusi mu nnaku
Bonna basika?

Ow’omuttumbi n’asika, n’adda mu bbirya!
Abaganda be abato, ne bayaaya mu nnaku
Bannyina ddala, asindika gye bawaswa
Olwo ali mu bbirya, yeekkuse ennusu!
Mbu olwo musika, asikira ki?
Ffenna tusike?

Mu nkuba ekuba, n’oyo n’asika
Bw’amala ossika, n’amanya afunye
N’asala eggezi, n’adda ku nsike
N’afuna ennusu, ng’ali ku nsike
Abandi n’alumya, abalemwa ossika
Kyenva nno mbuuza, wattu eyasika
Naffe tusike, ensika ziba bbiri?
Ebibuuzo
(i)
Obukugu bw’omuwandiisi bweyolekedde butya mu kitontome?
(obubonero 08)
(ii) Omuwandiisi ali mu mbeera ki era lwaki?

(obubonero 05)
(iii) Bintu ki ebifudde ekitontome kino ekinyuvu?

(obubonero 10)
(iv) Makulu ki agali mu nnyiriri zino?
o Bannyina ddala asindika gye bawaswa
o Mbu olwo musika, asikira ki?

(obuboneero 02)

9. Obukugu bwa F.M Masagazi mu kutontoma bweyolekedde butya mu kitabo kye Mpaawo
Kitakya?

(obubonero 25)

7

W. KIYINGI: Lozio Bba Ssesiria

10. “……………(Asituse akutamye akutte ku maviivi) Nga nze omwami (aseka). Mukyala
wange azze. Mulingize omulabe; yali mukazi mulungi. Kukula kwe kumulibudderibudde
kutyo”
(i) Ani ayogera ebigambo ebyo era mu kitundu ki eky’omuzannyo?
(obubonero 02)
(ii) Agambibwa okulingiza azimbiddwa atya mu muzannyo?
(obubonero 10)
(iii)Abali mu mboozi eno nsonga ki eba ebaleese we bali?

(obubonero 02)
(iv) Gwe balingiza wano atuggyirayo nneeyisa ki ez’abantu mu bulamu obwabulijjo?
(obubonero 11)

11. Nga weeyambisa ebyokulabirako laga engeri ekitonde ekisajja gye kigyolongeddwa mu
muzanyo.

(obubonero 25)

E. KYEYUNE: Bemba Musota

12. “……(Nga beeyala mu maaso ge) Ndi mwetegefu Ssaabasajja. Wangala; w’oligwa we
ndigwa. Ondabiranga ddala. (Bagenda baddiriana)

(i) Ani ayogera ebigambo ebyo era lwa nsonga ki?

(obubonero 03)
(ii) Laga ebikolwa by’abawera wano engeri gye bikontana n’okuwera kuno oluvannyuma
mu muzannyo.

(obubonero 12)
(iii) Abantu bano tubayigirako ki mu bulamu?

(obubonero 10)

13. “Omuzannyo Bemba Musota gwekuusa ku byafaayo bya Buganda ebyedda ennyo” Kakasa
endowooza eno n’ebyokulabirako okuva mu Katabo.

(obubonero 25)

END

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *