AMATEEKA AGAFUGA EMPANDIIKA YA “JJ” NE “GY

AMATEEKA AGAFUGA EMPANDIIKA YA “JJ” NE “GY”
Ennukuta zino zombie mu njatula yaazo ziwulikika nga zifaanagana era zitabula
nnyo abawandiisi b’olulimi oluganda.
Wabula zirina amateeka agafuga empandiika zaayo era agazireetera okuba
ez’enjawulo era nga ge gano
JJ
a)
Eno esinga kukozesebwa singa ekigambo kirimu amakulu ag’okujja (to come)
Okugeza
Taata yajja okutulabako nga tuli mu kisulo ku ssomero. Abaana bajja ku
ssomero nga tebeetegese.
b)
Mu mannya g’ebifo n’abantu okugeza Najjuma, Najjuuko, Kasujja, Busujju,
kasajja n’amalala.
c)
Nga tuwandiika ebigambo ebirala ebirimu ennyingo/ ennukuta ezo okugeza
okubajja, okujeema, okujeera n’ebirala
GY
Eno ekozesebwa mu bikolwa ebirimu amakulu gano
a)
Okuggya (to boil) okugeza
Emmere maama gy’afumba eruddewo okuggya
Akatale kakutte omuliro ebintu byonna ne biggya
b)
Ebirina amakulu ag’okuggya ekintu mu kifo ekimu “to remove” okugeza
Omulenzi yaggyawo olugoye wansi.
Emmere eyo giggye ku Kyoto ogiteeke ku mmeeza.
c)
Abirina amakulu agalaga obupya bw’ekintu Abayizi abaggya batandise
leero.
Baleese ebitabo ebiggya mu tterekero lyaffe.
d)
Ebirina amakulu ag’okugya (to fit) okugeza Abagenyi bangi tebagya mu
nnyumba.
Ebitabo byange bigya bulungi mu nsawo.
e)
Nga twogera ku kibangirizi oba embuga ebeera mu maaso g’enju.
Ekyoto bakikumye mu luggya
f)
Nga tulaga ebifo abakungu we baziikibwa okugeza Ekiggya kya Sir
Apollo Kaggwa

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *