KAMSSA JOINT MOCK EXAMINATIONS
LUGANDA
(Okuwandiika emboozi, Okukyusa, Okufunza,Ggulama N’ebisoko)
Olupapula Olwokubiri
Essaawa Bbiri ne kitundu
Ebigobererwa:
Olupapula luno lulimu ebitundu bisatu A,B ne C
Ddamu ebibuuzo bitaano (5) awamu
Ddamu ebibuuzo byonna mu kitundu A ne B Mu kitundu
C ,ddamu ebibuuzo bisatu (3) byokka
© 2022 Kampala Integrated Secondary Schools’ Examinations Bureau
Turn Over 1
EKITUNDU A
1. Soma ekitundu kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo. Nga mmaze
okukuba emisomo gyange oluku mu mutwe mu 2010, nasalawo nve awaka neetongole oba
neetakulire nga abavubuka b’ensangi ezo bwe baateranga okukiyita.Nazuula eyo akayumba ka
kisenge kimu mu bisegguusi by’ekibuga anti gye nali nnyinza okufuna akayumba aka
layisi,aketteka kyokka nga n’okutonnya katonnya ssaako baliraanwa abatamiivu n’abayaga era
abaawogganyanga ebidongo wamu n’okufuuweetanga enjaaye nga bwe eggwera mu kazigo
kange, kyokka nga nako obusobozi bwali bwa munyoto ddala anti nga sirina we nnyiza kuggya
jjamba,gwe ate nze eyakubanga obukubi emisota ku kyalo.Nayingira akayumba kano nga
ninamu kikopo,ssowaani,omulawo, akaseppiki n’akajiiko akatabula ssukaali era nga bino
byampeebwa ssengange Merida ankombera ddala ssebo enziro ku mabega .mu kusooka
neeyaliranga kakutiya era ne neebikka ekikubiro ekyampeebwa mmange.Obulamu
tebwannyanguyira mu kusooka kuba n’oluusi nabulwanga ne kye ndya.
Ggwe asoma bino oyinza okwebuuza lwaki neesuuulamu jjulume mmale nfune amapaati
ageegoloza omukadde nga anaawanvuwa nve mu maka ga kitange nga sineeyinza
kwebeezaawo.nsumulula
osuna
ebiyiika
by’oyagala?anti
wulira
bino.Ekyampaliriza
2
okwepampalika nve mu maka ga kitange neetongole kwe kuba nti kyambeerera kizibu era nga
tekimpa mirembe nze omusajja omukulu ameze n’ekirevu okulwanira emmere wamu
n’ebikunta ne buto bwange!Lumu ekirevu kyanduumuukako nga n’ezigula ejjirita okukimwa
sizirina ekyawaliriza kitange okugingulira ekintu ekyansonyiwaza okukamala.Emirundi mingi
nze okulya abalala baamalanga kulya.Oba baakinkozanga kasonso nange saamanya. Olwokuba
nalaba nga nfuuse omugugu omunene eri bakadde bange kyokka nga baali beerekerezza era ne
balafuubana okulaba nga bampeerera okuviira ddala ku mitendera egya wansi okutuukira ddala
okukoonola ddiguli ko nze nti awannyu waawo nga njolekera kibuga kulaba nga mbaako bwe
ntetenkanya ndabe nga mbeezaawo obulamu.
Nga naakakulungula omwezi mulamba nga ndi ku kibuga.mba ndi mu kibuga omwo
neemagazza nga bwembaalabaala mu kibuga nga ninga aliko gye ndaga kumbe nga mmalirako
budde mbutwalirize buzibe ngende ngwe mu kazigo kange gye nagwira ku Munywanyi wange
Mawejje bwetwasomanga edda eyakolanga mu kitongole ekibunyisa amasannyalaze mu
ggwanga.Yambuuza gye nabulira ko nze nti mbaamu mu kibuga omwo.yantegeza nga bwe yali
mu nteekateeka z’okukuba embaga muganzi we bwe twasomanga.Muli mu mutima ne ngamba
nti ekuba omunaku tekya,nze atalina yadde ekuba ennyonyi ebye embaga angamba byaki okwo
si kunvuma magufa!Naye mba nkyabirowoozaamu n’antegeza nti bulijjo annoonya kuba
yandowoozaako dda nga aliba kalabalaba w’embaga ye anti mbu namusanyusanga ku bubaga
bwe twategekanga ku ssomero.Neebuuza engeri gye ndigutandikamu wamma ne binsobera
kyokka ne mmala gakkiriza nti nja kukikola anti saayagala kumuyiwa.Yantegeza nti nali siri wa
kukolera weebale weebale .Yantegeza nti baateekateeka emitwalo makumi abiri eza kalabalaba
era n’ampaako emitwalo kkumi.Essente ezo nalaba ku ndabira wa anti eggulolimu landiroodi
wange yali yandaalise nti bw’adda okummanja ebbaati, alibambulako n’oluggi agenda
nalwo.Neeyanza munywanyi wange okufaako obufi era ne twawukana nga twesuubizza
okuddamu okulabagana.
Bwe twayawukana ne ngenda nsasula emyezi ebiri miramba egy’obupangisa neewonye olubabu
lw’omukazi landiroodi wange anti teyalina mumwa woowe.Nagulako ne kabulangiti anti nga
nkooye empewo okunkommonta
Omukolo bwe gwatuuka amameeme ne gankuba anti nali sikolerangako nakwogerera mu bantu
bangi abatali bayizi bannage.Natunulatunula mu bantu abaliwo nga mwana mlenzi yaleese
ebikonge byonna mu bannabyabufuzi,bannaddiini,bannabyamizannyo,n’abakulu b’ebitongole.
Abantu abaatuukanga nga be nnyanjula nga y’akkalira mu za Mugula.Bannange siikulimbe nti
ebigambo bye nalombojjanga gye nabiggyanga namanya nayo.Naye abantu baasigala
bannyeenyeza mitwe nga embuzi etenda enkuba nga beebuuza gyenavudde anti abasinga gwe
gwali omulundi gwabwe ogusooka okundaba.Omukolo eyo gye gwagenda gutambula,abantu
baasotyasotyanga mpolampola ne bajja we nali ne banfuuwa ensimbi nga banneebaza
olw’okubabeesabeesa n’okubasanyusa.
Eyamala eggobe mu kibya yajja n’ankuba akaama nti “Owange bw’otuwa ku ka namba ko
ak’essimu si kulwa nga naffe tuba ne gyaffe n’oba kalabalaba kuba onyumisizza guno
n’okamala”Ennamba y’essimu nagibasomera era abamu abaalinamu olwa Toma baatandika
okugikuba balabe oba nga ntuufu.
Omukolo gwafundikirwa,buli omu n’akwata eryamuleese.Enkeera w’olunaku olwo olwaliko
omukolo nafuna obubaka nkumu obunjozayoza n’okunneebaza olwa ebyo bye nnali nkoze ku
3
mukolo ogwo.Ensimbi ezampeebwa nagulayo ebintu byo mu nnyumba nga kw’otadde
n’omufaliso gwe nnasooka okusulako mu kazigo kange.okuva olwo nakizuula nti nalina
ekitone ekyo era na guno gujwa kwe ndya era buli kimu kyenfunye mu bulamu ne kye ntuuseeko
lwa kitone ekyo anti bangi kati bammanyi era ne bifo bingi bye ntuuseemu olwe ekitone ekyo.
Ebibuuzo:
a) Ekitundu ky’osomye kiwe omutwe.
(Obubonero 02)
b) Nsonga ki eziviirako anyumya okuva mu maka ga bakadde be?
(Obubonero 04)
c) Bizibu ki anyumya byeyasanga nga ali mu kazigo gye yeetongolera?
(Obubonero 04) d)
Byakuyiga ki ebiri mu kitundu ky’osomye?
(Obubonero 06)
e) Nnyonnyola amakulu g’ebigambo nga bwe bikozeseddwa mu kitundu.
(Obubonero 05) I.
Akombera ddala ssebo enziro ku mabega
II.
Nneesuulamu jjulume
III.
Balafuubana
IV.
Weebale weebale
V.
Olwa Ttoma
Ku bibuuzo okuva ku f-I londako ekisingako obutuufu
(Obubonero 04) f. Omukisa
gwe ogusooka mu kibuga agufuna luvannyuma lwa;
I. week
II. myezi
III. mwezi IV.
mwaka
g.
Ssente ze yafuna zaali ndaba ku ki kuba; I.
Yali muyala nnyo
II. Yali waakugobwa mu nju
III. Yali atambuza bigere IV.
Yali waakugaggawala
h.
Amameeme gaamukuba kuba;
I.
Abantu baali balungi
II.
Abantu baali bangi
III.
Yali tayogererangako mu batali bayizi
IV.
Yali tamanyi by’akola
I.
Obubaka obumuyozayoza bwajja mu bungi kuba;
I.
Yali akoze bulungi omulimu
II.
Baali baagala abakolere
III.
Emirimu gyali mirungi
IV.
Ebyo bye yali akoze ku mukolo
4
EKITUNDU B Kola nnamba 2(a) ne 2(a)
2. (a)Maliriza engero zino nga bwe zoogerebwa. (Obubonero 10) I. Ebibuuka
bitalagaanye…………………………………………….
II. Mmere mbi………………………………………………………………. III.
Maddu ga ddenge………………………………………………………
IV.
Kiwombe……………………………………………………………………
V.
Zirindaba olwange………………………………………………………
VI.
…………………………y’asekerera agyera
VII.
…………………………tegawala luga
VIII.
………………………….ne wattira
IX.
…………………………. takunoonya masasula
X.
…………………………. obalawo
(b)
Nnyonnyola amakulu agali mu ngero zino wammanga.
(Obubonero 05)
I.
Ekijja omanyi kinyaga bitono
II.
Ennindiriza yamezza ssemitego
III.
Abakulu balya bulungi,y’egwa n’olusuubo
IV.
Entasiima ebula agiwa
V.
Ow’obusa ngabi,n’ataafumite akootakoota
EKITUNDU C
Ddamu ebibuuzo bisatu (3) mu kitundu kino ng’obiggya mu butabo obw’enjawulo nga akamu
ku bwo ka bitontome
3(a) Soma ekitontome kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.
OBUWOOMI BW’EKITONTOME: Ssali damascus EBISEERA BY’OBUTO
Bwe nali omuto bingi byantuukako,
Ebisanyusa n’ebyo ebinakuwaza,
Omukadde n’ayomba n’akakanyala,
Luusi n’ajula okukuba n’atutimpula.
Mu nkuba efudemba ennyo ne tubinuka,
By’okuzannyisa mukoka binyuma kufa,
Omuzira ogw’amaanyi ne tutiguka,
Mu lusuku n’emmwanyi ne tutigoma.
Akasana akeememula tekatukosa,
Nga tubeyuka ekyalo ne tukibuna,
Mangada mapapaali tetuubireke,
Emiyembe n’eppeera era ne ffene.
Akapiira twasamba ne katunyiwa,
Nga tuyondesa byayi ndiba n’enyuma,
5
Mu kusimbula ekkuuli nail wa kabi,
Aba buswayida be bokka abannyiwa.
Oluzzi lwanyumanga ng’enjuba yeeyeze,
Nga tuzannyisa amazzi n’otya n’okutya,
Twayasa ensuwa ate oluusi n’ebita,
Ebooko n’evuga ewaffe naawe n’ogitya.
Twatamwa okukeeranga enkumbi n’eseka,
N’ekideeya ky’emmwanyi ez’okuwulula,
Ng’essowaani n’ebikopo tebiyozeka,
Kwera mu nju n’okwoza byantama okufa.
Biseera by’okunaaba nga twebulankanya,
Mmere n’okunywa ccaayi ne tulabika,
Muntu bw’akula akyuka n’ava mu buto, Nange
kaakano nnyiiga bw’okola ebibi.
Ebibuuzo;
I.
Biki ebifudde ky’osomye ekitontome?
(Obubonero 06)
II.
Ekitontome kizimbiddwa kitya? (Obubonero 06)
III.
Ntunnunsi ki eziri mu kitontome kino? (Obubonero 02)
IV.
Amaloboozi gazimbiddwa gatya mu kitontome kino?
(Obubonero 06) Oba
(b) Obunyuvu bw’ebitontome bya Ssali bwolekeddwa butya?
(Obubonero
20)
Ebitontome Ebiseeneekerevu: NAMAGANDA ALICE JANET
3 (a)
Soma ekitontome kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ebikikwatako
SSEMATALO 1939-1945
Baatokomoka abantu baali mu bukadde
Zaatokomoka ensimbi zaali za muzindo
Byawomoggolwa ebibuga byali bya mulembe
Byawomoggolwa ebibuga baaleka matongo
Abantu baabuna ebyalo lwa ssematalo
Abantu baabuna emiwabo nga ssematalo akwajja
Embpunzi zaabuna ebibuga nga ssematalo akwajja
Empisa era zaasiiwuuka nga ssematalo akwajja
Amakolero gaafa nga ssematalo akwajja
Amalundiro gaafa nga ssematalo akwajja
N’amasamba gaggwaawo nga ssematalo akwajja
Bannamwandu baawerawo nga ssematalo akwajja
6
Abalema twabaweza nga ssematalo akwajja
Era twajjirwa endwadde nga ssematalo akwajja
Ng’omwo mwe muli kkolera nga ssematalo akwajja
N’omusujja gw’ebyenda nga ssematalo akwajja
N’obulwadde bw’abazira nga ssematalo akwajja
Omukka gw’obutwa nfaafa nga ssematalo akwajja
Okuva mu gabundu ago nga ssematalo akwajja
Ebitole by’omuliro nga ssematalo akwajja
Nga bbomu zisaasaanya nga ssematalo akwajja
Baalina amagye nfaafa nga ssematalo akwajja
Byali bya kukaaba ggwe nga ssematalo akwajja
Ebyobufuzi byakyuka nga ssematalo awedde
Gavumenti zaakyusa nga ssematalo awedde
Ebibiina by’obufuzi nga ssematalo awedde
Baabireka byetaaye nga ssematalo awedde
Ebibiina by’abakozi nga ssematalo awedde
Baabireka byetaaye nga ssematalo awedde
Omuzungu yakkiriza nga ssematalo awedde
Nti naye takyamalako nga ssematalo awedde
Ensimbi zimukeeyeeko nga ssematalo awedde
N’atuwa obwetwaze nga ssematalo awedde
Mu Aziya ne Afririka nga ssematalo awedde
Twefuge era twetaaye nga ssematalo awedde
Masomero gaazimbwa nga ssematalo awedde
N’amalwaliro ssaako nga ssematalo awedde
Ebibuga n’agabuga nga ssematalo awedde
Ebibiina by’aleetwa nga ssematalo awedde
Okutaba amawanga wano nga ssematalo awedde
Tuwone entalo ezijja nga ssematalo awedde
Tulina kimu ekizibu nga ssematalo awedde
Kintama bwe twesalamu nga ssematalo awedde
Twagala tuyambagane nga ssematalo awedde
Twagala tuzimbagane nga ssematalo awedde
Ssaagala tukuubagane nga ssematalo awedde
Tugiwoomerwe ensi eno nga ssematalo awedde
7
i. Lwaki ekitontome kino kikunyumira?
(Obubonero 5) ii. Lwaki omuwandiisi
addiŋŋanye ebigmbo ebimu mu kitontome kino?
(Obubonero 5)
iii. Ssematalo yaleeta bizibu ki? Weesigame ku sitanza essatu ezisooka
(Obubonero 5)
iv. Abantu baafuna Birungi ki nga ssematalo awedde?
(Obubonero 5)
OBA
3 (b) Weesigame ku katabo ka Ebitontome ebiseeneekerevu olage ebintu omuwandiisi bye
yeeyambisizza okuleeta obuseeneekerevu mu bitontome bye.
(Obubonero 20)
Amaggwa n’emitego mu buvubuka:RUTH N KABOGGOZA
5.(a) “Sha naye siyinza nze kufiirwa bulamu bwa ssomero mbu kuba mbuto.Mbuto zitya
ezitalina mutwe na magulu?”
I.
Ebigambo ebyo bisimbuddwa mu ssuula ki?
(Obubonero 02)
II.
Ani ayogera ebigambo ebyo era abigamba ani?
(Obubonero 02)
III.
Lambulula ensonga ez’enjawulo ezooleka obukalubo bw’emitima mu batonde ba
Kaboggoza abe njawulo.
(Obubonero 16)
Oba
(b) Omuwandiisi w’olugero amaggwa n’emitego mu buvubuka yeeyambisizza bukodyo ki
okutuukiriza ebyo by’awandiika?
(Obubonero 20)
Mbayiwa w’abayizi:WALABYEKI MAGOBA
6(a) Ebizibu ebituuka Mbayiw y’abyereetera.Kubaganya ebirowoozo
(Obubonero 20)
Oba
(b) magoba agenderedde kutumbuula byabuwangwa bya Buganda ng’ayita mu lugero lwe
luno.Kkaanya n’endowooza eyo.
(Obubonero 20)
Nze mbimaze :PRISCA NAKITTO
7(a) “Lwaki weegomba okuba omulenzi?”
“Jjaja abalenzi bo waakiri tebasanga buzibu nga ffe abawala bwe tusanga”
(I)
Emboozi eyo eri wakati w’ani n’ani?
(Obubonero 02)
(II)
Nga weesigama ku bigwawo mu muzannyo,wa ensonga ez’enjawulo eziraga nti
endowooza y’omunyumya owookubiri nkyamu.
(Obubonero 18)
Oba
(b)
Omuwamdiisi w’omuzannyo atwetamizza atya obulamu bw’omukyala ow’edda?
(Obubonero 20)
BIKOMYE WANO
Leave a Reply