OKUWANDIIKA EBBALUWA
Ebbaluwa bwe bubaka omuntu omu bw’atuusa ku mulala nga bwa kyama. Omuntu oyo
yekka akwatibwako y’amanya ku bubaka obubeera mu bbaluwa eyo
EBIKA BY’EBBALUWA
Tulina ebika by’ebbaluwa ebikulu bibiri mu Luganda era nga bye bino;
(i) Ebbaluwa entongole (Official letter)
(ii) Ebbaluwa ey’omukwano (Friendly letter)
EBBALUWA ENTONGOLE
Eno y’ebbaluwa ewandiikibwa abantu abo ab’obuvunaanyizibwa/ abatongole era nga
bagiwandiikira abo abantu ab’obuvunaanyizibwa / abatongole era nga n’obubaka
obubeera mu bbaluwa eno bubeera butongole era nga bukwata kw’oyo awandiikirwa kko
n’agiwandiika N’olwekyo ebbaluwa entongole tugiwandiikira abantu nga bano
awmmanga; Ssentebe, abakulu b’ebitongole, abakulembeze b’amasomero, abakulembeze
b’eddiini n’abalala
EBIKULU EBY’OKWEKKAANYA MU BBALUWA ENTONGOLE
(i) Ewandiikibwa abo abali mu bifo ebitongole/ eby’obuvunaanyizibwa
(ii) Tugiwandiikira abo abali mu bifo eby’obuvunaanyizibwa
(iii) Ensonga gye twogerako mu bbaluwa eno ebeera ya buvunaanyizibwa era
ng’ekwata kw’oyo awandiika ne gw’agiwandiikira
(iv) Tetulamusa na kulandagga-tutuukira ku nsonga
(v) Temubeera kusaaga wadde okubalaata anti tuba ku nsonga
(vi) Agiwandiika ateekwa okussaako omukono gwe kko n’obuvunaanyizibwa
okusinziira ku mulamwa gw’awandiikako.
(vii) Ne bwaba wa luganda lwo naye ng’ensonga gy’oyogerako entongole oba
ekwata ku buvunaanyizibwa bwe obutongole-oteekwa kuwandiika bbaluwa
ntongole okugeza kitaawo ayinza okuba nga mukulu wa ssomero-bw’oba
owandiika ku bikwata ku buvunaanyizibwa bwe ng’omukulu w’essomero ebya
taata tubiteeka bbali.
EBIKA BY’EBBALUWA ENTONGOLE
Ebbaluwa nnyingi ezigwa mu ttuluba lino ery’ebbaluwa entongole nga zino wammanga;
(i) Ebbaluwa esaba omulimu (Job application)
(ii) Ebbaluwa ey’okwetonda (Apology letter)
(iii) Eyeemulugunya
(iv) Eziwabula n’okuwa amagezi ag’enjawulo n’endala
EBIGOBERERWA NGA TUWANDIIKA EBBALUWA ENTONGOLE
Ebigobererwa bino tugenda kubirambika nga tugoberera engeri gye bijja biddiriῆῆana
nga tugiwandiika;
(i)
Endagiriro y’omuwandiisi
–
ku ddyo waggulu
–
osobola okukozesa ennukuta ez’ekyapa naddala ku buli ntandikwa ya
kigambo kwebyo ebikola endagiriro
–
twewale okukozesa amannya agassekinnoomu mu ndagiriro okugeza
Nantongo
Maria
–
tweyambisa A.K.P (Akasanduuko ka Ppoosita) so si P.O Box…
–
Endagiriro eno tugiwandiika buwanvu era nga yeesimbye bulungi-
temubaamu kwewetamu (slanting)
(ii)
Ennaku z’omwezi
–
Zino ziwandiikibwa wansi w’endagiriro
–
Osobola okubuukawo omusittale osobole okubeera omuyonjo
–
Ennaku z’omwezi tuziwandiika mu bujjuvu ate mu Luganda- naddala
omwezi okugeza Mutunda
–
Nga tuziwandiika tusaana twekkaanye nnyo ekibuuzo- kuba oluusi
babaako n’ennaku z’omwezi ze baba bakuteereddemu nga kw’osinziira
okuwandiika ezizo okugeza wandiika ebbaluwa ng’oddamu Ssaabakirisitu gye
yakuwandiikira nga 23-Muzigo-2022. Kino kitegeeza nti ebbaluwa gy’oteekwa
okuwandiika terina kubeera wansi wa nnaku za mwezi 23-Muzigo-2022
Iii
Endagiriro y’omuwandiikirwa
–
Ku kkono wansi w’ennaku z’omwezi
–
Oteekwa okuwandiika endagiriro eno mu bujjuvu
–
Nayo ogiwandiika butengerera
–
Etambulira ku musittale gw’olupapula oguli ku kkono w’olupapula era
toguvaako kulekawo muwaatwa.
–
Tusobola okuba n’endagiriro ez’abawandiikirwa ez’enjawulo mu
bbaluwa eno naddala singa eba egenda kuyita mu mikono egy’enjawulo
okutuuka kw’oyo gw’ogiwandiikira okugeza eri Omukulu w’essomero ng’eyita
eri akulira ebyensoma, ng’eyita eri omusomesa akulira ekibiina. Nga tukola
kino gw’egendako obutereevu asinga obuyinza/ obuvunaanyizibwa gwe
tusoosa waggulu ne tugenda nga tubaddiriῆῆanya tutyo
(iv
Okussa ekitiibwa mu gw’owandiika mu bigambo; Ssebo/ Nnyabo
-Tussaawo ssebo/ Nnyabo olw’ensonga nti akageri ketuba nga tuwandiika lwa
buvunaanyizibwa oluusi ebbaluwa eyinza okutuuka mu yafeesi eyo ng’omukulu
akyuse era ng’amuddidde mu bigere wa kikula kirala
–
Wabula bw’aba ng’obuvunaanyizibwa bwe bulambika bulungi ekikula
kye tetuteekawo ssebo/ nnyabo wabula tuteekawo ekyo ekikula kyagwamu
okugeza bw’oba owandiikira Nankulu wa Bannabikira-Oyo abeera mukyala
n’olwekyo tukozesa nnyabo, bw’aba Ssaabafumbo-tukozesa ssebo (V)
Okwogera ku nsonga mu bufunze
–
Wano tweyambisa akagambo Enso – Ensonga eteekwa kuba mu
bufunze
–
Tugiwandiika mu nnukuta za kyapa
–
Tusazaako omusittale gumu wansi w’ensonga eno
(vi)
Okwanjula ku mulamwa gw’owandiikako
–
Wano mu bufunze oyanjula ku mulamwa gw’ogenda okuwandiikako
–
Emirundi mingi tutandika n’ebigambo ku nsonga eyo waggulu;
Okugeza “ Ku nsonga eyo waggulu, nkuwandiikidde nga njagala okukutegeeza
ebizibu ebisusse mu kitundu kyaffe osobole okutuyambako mu
buvunaanyizibwa bwo okubinogera eddagala”
(vii
Okunnyonnyola omulamwa mu bujjuvu
–
Wano omuwandiisi alambulula bulungi omulamwa gw’awandiikako
ng’awa ensonga ez’enjawulo mu biba eby’enjawulo
–
Wa ensonga ezitakka wansi wa munaana ng’ozinnyonnyodde bulungi
–
Oli wa ddembe okweyambisa engero, enjogera kko n’ebisoko kuba
kikuyamba n’okufuna obubonero bw’omusono.
–
Tandisa nsonga kisobozese agolola okwanguyirwa okulaba ensonga zo
NB; Mu bbaluwa esaba omulimu yo tetuwandiika nsonga mu biba eby’enjawulo
(viii)
Okukubira ng’olaga ky’osaba
–
Wano omuwandiisi mu kiba kimu akubira ng’alaga ky’ayagala oyo
gw’awandiikira akole-ekimuwandiisizza ebbaluwa.
–
Oluvannyuma laga bw’onaawulira singa ky’osaba kiba
kikoleddwako(ix) Omukono gw’omuwandiisi
–
ku ddyo
(xi) Erinnya ly’omuwandiisi
–
Wansi w’omukono
–
mu nnukuta ez’ekyapa
(xii) Obuvunaanyizibwa bw’omuwandiisi
–
Okusinziira ku mulamwa gw’owandiiseeko
–
Wansi w’erinnya
–
Mu nnukuta ez’ekyapa
EBBALUWA EY’OMUKWANO
Eno y’ebbaluwa gye tuwandiikira abantu abo mikwano gyaffe oba ab’eῆῆanda zaffe era
ng’ensonga gye tuwandiikako ebeera ekwata ku mukwano oba oluganda lwe tulina n’oyo
gwe tuwandiikira. N’olwekyo ne bwaba gwe tuwandiikira ebbaluwa nga muntu wa
buvunaanyizibwa okugeza mukulu wa ssomero, mukulembeze wa ggwanga n’abalala abagwa
mu ttuluba eryo wabula ng’ensonga eri mu bbaluwa ekwata ku buvunaanyizibwa bwe
ng’owoluganda oba ow’omukwano olwo tuteekwa kuwandiika bbaluwa yamukwano.
Ebbaluwa y’omukwano tugiwandiikira abantu bano wammanga;
(i) Taata
(ii) Ssenga
(iii) Maama
(iv) Kojja
(v) Ow’omukwano
(vi) Muganda wo n’abalala
EBY’OKWEKKAANYA KU BBALUWA EY’OMUKWANO
(i) Tugiwandiikira ῆῆanda oba mikwano gyaffe
(ii) Mubeeramu okusaaga kko n’okubalaata
(iii) Mubeeramu okulamusa n’okulandagga okutonotono
(iv) Endagiriro eba emu-ey’omuwandiisi yokka
(v) Tetugissaako mukono (signature)
EBIGOBERERWA NGA TUWANDIIKA EBBALUWA
EY’OMUKWANO
(i)
Endagiriro y’omuwandiisi
-Ku ddyo waggulu
– Osobola okweyambisa ennukuta ez’ekyapa oba obutazeeyambisa- wabula
A.K.P n’amannya g’ebifo gateekwa kutandisa nnukuta za kyapa.
(ii)
Ennaku z’omwezi
–
Zino ziwandiikibwa mu bujjuvu ku ddyo wansi w’endagiriro
(iii
Erinnya ly’oyo gw’owandiikira
–
Lino liwandiikibwa ku kkono wansi w’ennaku z’omwezi
–
Bw’aba wa mukwano, tweyambisa linnya lye ery’enkalakkalira naddala
ery’eddiini nga Jesca, Dorothy, Joshua n’amalala
–
Bw’aba wa luganda ebiseera ebisinga tweyambisa linnya lya lukale
okugeza
Kojja, maama, taata n’amalala. Wabula tetwerabira bugambo nga;
Ow’omukwano…, Omulungi… n’obulala ng’obwo
(iv
Okulamusa;
-Mu kiba kimu olamusa oyo gw’owandiikira ng’omubuuza bwali ne baali nabo
kko naawe okumutegeeza bw’oli kko ne b’oli nabo. Embeera gy’olimu esinziira ku
mulamwa gw’ogenda okuwandiikako. Okugeza bw’oba ogenda kuwandiika ku bizibu
by’osanze mu ssomero ly’olimu tosobola kutegeeza gw’owandiikira nga bw’oli
obulungi.
(v
Okwanjula ensonga ekuwandiisizza ebbaluwa
–
Wano oyanjula kko n’okulambulula ensonga ekuwandiisizza
ebbaluwa.
–
Owandiika ensonga ez’enjawulo-ezitakka wansi wa munaana
buli emu mu kiba kyayo ate ng’ozinnyonnyodde bulungi.
–
Weeyambise engero n’ebisoko
–
Osobola okusaagamu n’okubalaata wabula tokisussa
(vi
Okukubira
–
Mu kiba kimu kubira ng’olaga kiki kye wandyagadde kikolebwe
n’okulaga bw’onaawulira nga ky’osabye kikoleddwa
–
vii)
Okuwandiika erinnya lyo
-Wano wandiika erinnya lyo- oli wa ddembe okuwandiika ery’eddiini oba eryo
munno gw’owandiikira ly’asinga okutegeera
– Erinnya liwandiike ku ddyo
EKY’OKWETEGEREZA
Ng’owandiika ebbaluwa si kya tteeka nti oteekwa kuwandiika ku muko gumu- nedda
tusobola okuwandiika ku miko egisukka mu gumu singa tuba tuteekwa okwogera ku nsonga
ez’enjawulo nga tezigya ku muko gumu.
Leave a Reply