Luganda Department 2017
Page 1
UGANDA CERTIFICATE OF EDUCATION
RESOURCEFUL MOCK EXAMINATIONS 2017
LUGANDA
335/1
TIME: 2 HOURS
EBIRAGIRO:
Olupapula lulimu ebitundu bibiri; A ne B.
Mu kitundu A mulimu nnamba 1(a) ne (b).
Londako (a) oba (b).
Mu kitundu B, mulimu nnamba 2 ne 3. Nnamba 2, londako (a) oba (b).
Nnamba 3 yonna ya buwaze.
EKITUNDU A
Kola nnamba 1(a) oba 1(b) mu kitundu kino.
1.(a) Ku mitwe egikuweereddwa londako gumu oguwandiikeko emboozi ya
bigambo 400.
(i)
Etteeka ly’okulumika essimu z’abantu lyetagisa. Kubaganya ebirowoozo.
(ii)
Mwana muwala ansuula ku kyokya.
(iii)
Sserwajja okwota.
(iv)
Abasaabaza
abantu
ku
bupikipiki
(bodaboda)
basaana
kuwera.
Wandiika
ng’owakanya endowooza eno.
OBA
(b)
Ku mitwe gino londako ebiri buli gumu oguwandiikeko emboozi etasukka
bigambo 200.
(i)
Ssengawo gwobeera naye y’akulira ebyenjigiriza mu ggwanga. Akuwadde ebisale
by’essomero n’oddayo ku ssomero. Muwandiikire ebbaluwa ng’omusaba ebyetaago
ebinaakuyamba okuyita obulungi S.4 omwaka guno.
(ii)
Emmotoka etomedde omuvubuka ng’adduka obutakwatibwa abo abookeddwako enju
yaabwe. Wandiika eggulire, erinaafulumira mu lupapula lw’amawulire g’oluganda.
(iii)
Gwe mukungu avunanyizibwa ku nsonga z’ebyenjigiriza mu kitundu kyammwe.
Wandiika ebigambo by’onoogamba abatuuze bomu kitundu kyammwe ku buzibu
obusangibwa mu nkola ya bonna basome mu ssiniya.
Luganda Department 2017
Page 2
(iv)
Gwe Ssentebe eyakulemberamu okunoonyereza ku kiviiriddeko ekisaddaaka baana
ensangi zino okweyongera. Wandiika alipoota gy’onoyanjulira olukiiko ku ebyo bye
mwazuula ng’obanyonyola ebyava mu kunoonyereza.
EKITUNDU B
Kola ekibuuzo 2(a) oba 2(b).
2.(a) Funza ekitundu kino mu bigambo nga 100.
Bakulumpagi yali muvubuka eyajjula embazuulu atanywa guteeka, atanyigirwa mu
nnoga era nga taggyikako lukamyo. Bwatyo bavubuka banne yabakaabyanga akayirigombe
abandi yabalabyanga eza Kyobe n’abandi n’abakekemya nga bukoko naddala abo
bueyasomanga
nabo
mu
Kyawamala
Primary
School,
gye
baali
baamukazaako
luliiramunnyana. Olw’okuba omuwagguufu ennyo ate nga muwanvu ng’omuvule ate ng’alina
eddoboozi kkangabaana lye nnyini.
Amagezi ge mu byokuyiga n’okukwata ebisomesebwa yali yagaleka wansi.
Bweyabuuzibwanga ekibuuzo mu kibiina ng’adda mu kutunula mpwangali ng’embwa
essudde ekyuma n’olundi natangaalirira ng’azadde ekifudde ko n’okutuzza eriiso ng’embwa
erwazizza ginnayo. Ebigambo olumu byamusoberanga n’tuuka n’okwagala okwoza ku
mmunye anti ng’asobeddwa eka ne mukibira. Olwo ekibuuzo ekyabanga kimubuuziddwa
omusomesa amuyigiriza n’akisimba ba mumpi awunya ttaka nga Namataaba ne
Ssekawungu mu kutemya kwa liiso nga bwakiwuuse dda buva olwo nga Bakulumpagi n’ava
mu kiswala n’waluka.
Nga bajjajaffe bwe baagereesa nti Ssajjabi teribulako kalungi kaalyo: Bakulumpagi
bwe yatuukanga mu kusamba akapiira mu kisaawe nga zinadda okunywa nga kyamuziro
omupiira okuggwa nga tateebyeyo kagoba! Yeegiriisanga nnyo mu kisaawe ng’ekigotta
entula era bwe yabulanga mu kibinja ekigenda okuzannya ng’omupiira gujula kusazibwamu.
Ate bweyatuukanga mu kuyimba, amazina n’okukuba ebivuga mu kkwaya y’essomero nga
tewali amuwa mutwe. Wano Katonda yakwasaako emikono ebiri n’amubunduggulira emikisa
gyonna. Era ebirabo by’essomero kaabula kata abimaleko banne anti nga takooka bitooke
bye bigwa ate nga tayimba awenneenya mbwa ate mu kunyeenya agaliba enjole nga mu
kiwato olowooza yali talinaamu ggumba lyonna.
Yalaba eby’okuyiga mu ssomero nga bimulemeredde n’sibamu ebyanguwa n’addayo
okwa boobwe e Kyamakonda mu disitulikiti ye Nakasongola eyo gye yeegattira ku ttiimu
y’essaza ey’omupiira n’alyoka ayoleseza eyo ekitone kye eky’okuzannya omupiira mu
mpaka z’amasaza g’obwakabaka bwa Buganda mu 1999. Eyo gye yava ne yegatta ku ttiimu
y’omupiira mukwano gwabangi ‘Express’ bweyatuuka eyo ne yeeriisa enkuuli era omwaka
ogwa 2000 beebaasitukira mu kikopo.
Omwaka ogwaddirira mu mpaka za ‘CECAFA’ yazannya omupiira n’ensi neetuuka
okumuggyirako enkufiira ku mutwe era Yuganda kw’olwo ekikopo yadda nakyo mu ttaano
lwa Bakulumpagi era ttiimu ya ‘Liverpool’ yakansa mukanse n’emutwaala era kati
gy’agukyangira. Eggwanga limwenyumiririzaamu nnyo olw’obutitimbe bw’ensimbi zaayingiza
mu ggwanika ly’eggwanga. Bwe kityo ebitone bifuuse ebitone, amagezi g’ebitabo bwe
Luganda Department 2017
Page 3
gagaana weesibe nnyo ku kitone Katonda kyeyakuwa tokituliranga, ani yali amanyi
Luliiramunnyana Bakulumpagi alinnya ku bbaati!
OBA
(b)
Kyusa ekitundu kino mu Luganda.
Whenever I am counseling parents, I tell them to dress their children appropriately.
A healthy seven year old child may look many years older. The mistake some parents make
is to dress children in revealing clothes like miniskirts and tight trousers. When a man looks
at such children, he sees a grown woman. Men are enticed by what they see. If we don’t
dress our children properly, we risk them being defiled.
I have brought up my children to let their light shine in the world. Nowadays most
women and girls wear trousers that leave nothing to the imagination, but I told my children
that even if it is the trend, they should not be like the people of the world, but rather an
example. All my children have complied with this rule and even at university they do not
wear trousers. One of my nieces is supposed to wear trousers at her job, but she still wears
her usual clothes on the way to work. She changes on her arrival and puts on her dress
again before going back home.
When they joined university, we bought them mobile phones because we did not
want another person with ill motives to deceive them using phones.
God has been good to our children. None of them has even been admitted to
hospital. Three of them are university graduates, the first in our clan.
Our children excelled because whenever they did their examinations, we obtained
their timetables and prayed and fasted for them at the same time they were sitting the
examinations.
When it comes to dating, we encourage our girls to bring anyone interested in them
home so we can advise them. But mostly we pray for them.
(Extracted from:
Sunday Vision, December, 7, 2008 Partial Article as told to
Maureen Nakatudde).
EKITUNDU C
Kola 3(a) ne 3(b).
3.(a) Jjuza ebisoko ebituufu mu mabanga agalekeddwawo.
(i)
Ekiri mu kkongo……………………..kinegula era wenjogerera abantu nkaaga z’embuyaga
ezikaza engoye.
Luganda Department 2017
Page 4
(ii)
Awo mwatu odda…………………..mu Buganda banno bw’oba okyalowoolereza mw’ebyo
nze nkweyawuddeko.
(iii)
Omulenzi oyo bamuyita lukolotera mu…………………gwe ssebo atayisa muwala yenna!
(iv)
Yalwawo ng’anoonya omuguzi, n’afuna omuyindi ko ye nto ‘owange ezigwa
mu……………z’enswa mala gampa ezo.
(v)
Abayizi ebibuuzo by’olulimi oluganda baabiwuuse buva era bonna kati batuuza
ya………….
(vi)
Mukiibi bamutambuza nga banoonya obululu era katono bamusuule ne…………..
(vii)
Omwenge Musoke gweyayiisizza ku luno n’o……………..asena.
(viii)
Namujjuzi yatimba maama we………………………ku maaso n’amutwalako emitwalo
kkumi ng’alimbye nti ezaali ez’ebisale by’essomero baazibba.
(ix)
Omuyigiriza bwe yabadde abuulira abayizi abagenda okutuula ebigezo bya
kamalirizo…………………yalitadde ku mpandiika ennungi.
(x)
Okusoma kw’obukulu ddala kuba kwa kaweereege ng’e……………….ery’obukulu, anti
kubonyabonya nnyo abantu.
(b)(i) Ddamu owandiike sentensi zino wammanga nga ziri mu kiseera ekinajja nga
weeyambisa ekikolwa ekiyambi.
Tunaamulaba nga tutuuseeyo.
Nnaalya nga njagadde.
Mwasoma bulungi.
(ii)
Wandiika sentensi bbiri nga ziri mu muntu asooka mu bumu.
——————————————————————————————————-
——————————————————————————————————-
——————————————————————————————————-
Luganda Department 2017
Page 5
——————————————————————————————————-
——————————————————————————————————-
——————————————————————————————————-
——————————————————————————————————-
——————————————————————————————————-
——————————————————————————————————-
——————————————————————————————————-
——————————————————————————————————-
——————————————————————————————————-
BIKOMYE WANO!
Leave a Reply