NNAKONGEZALINNYA (ADJECTIVES)

NNAKONGEZALINNYA (ADJECTIVES)
Kino kye kigambo ekyongera okunnyonnyola ku linnya. Kino kibeera kitulaga enkula,
enfaanana, enneeyisa awamu n’omuwendo gw’erinnya.
Ebika bya nnakongezalinnya
Mu luganda Nnakongezalinnya zaawulwamu bwe ziti
1) Nnakongezalinnya ezeempisa
Zino ziba ziraga engeri erinnya erikuweereddwa gye lyeyisaamu era nga mulimu zino –
wombeefu, -gayaavu, -yonjo, -sirifu, jagujagu, -lalu, -kyafu
Eby’okulabirako

Omulenzi oyo muwombeefu nnyo ekisusse

Ako akawala kagayaavu tekasobola mirimu.

Nalule muyonjo era buli omu amwesiimisa.

Embwa ye njagujagu olaba ekwata ababbi.
2) Nnakongezalinnya ezengeri/ ezenkula
Zino ziba ziraga engeri erinnya gye lyakulamu era nga ze zino –gezi, -tono, -gagga, –
ddugavu, -eru, -myufu, -avu, -wanvu, nnene, -mpi
Eby’okulabirako

Omuwala muwanvu naye ate kitaawe mumpi.

Ente ye nnene era ajja kugifunamu ssente.

Nakate mugezi era nnyina amweyagaliramu.

Olugoye lwe lumyufu
3) Nnakongezalinnya ezoomuwendo / ezoobungi
Zino zibeera ziraga emiwendo gy’ebintu era emiwendo egyo gibeera gya linnya eryo lye
nnyini eriba lyogerwako. Mu zino tulinamu –tono, nfaafa, nkumuliitu, bonna, kafukunya,
kkekwa, muswaba, lumaggamagga, nfaafa, munaganwa, ntoko, bonsatule, bombiriri,
nfofoolo, ttomooni
Eby’okulabirako

Batuwadde emmere ntoko n’etulemerawo.

Abawala bonsatule babatutte mu kyalo.

Amazzi gakkekwa ennaku zino.
• Abasawo batono mu ddwaliro. 4) Nnakongezalinnya endazi
Zino zeeyambisibwa mu kulaga era zifaanagana ne Nnakasigirwa endazi wabula enjawulo
eri nti Nnakongezalinnya endazi bulijjo
eteekwa kubeera n’erinnya lyeba ennyonnyolako Ebikolo byazo bye bino –no, -o, -li
Eby’okulabirako

Omwana ono mwagala nnyo.

Akati ako kasuule.

Essomero lino ddungi nnyo.
5) Nnakongezalinnya embuuzi
Zino zeeyambisibwa mu kukola ebibuuzo era nazo zifaanana ne
Nnakasigirwa embuuzi wabula enjawulo eri mu nkozesa anti
Nnakongezalinnya embuuzi eteekwa okuba n’erinnya ly’eyogerako.
Eby’okulabirako

Bawala bameka abatuuse wano?

Nalukwago ki gw’obadde weetaaga?

Ngatto ziriwa z’omutumye?
6) Nnakongezalinnya ezobwannannyini

Zino zibeera ziraga obwannannyini ku linnya lye ziba zoogerako.
Eby’okulabirako

Akatabo kaffe bakabbye.

Ekikajjo kyo kitwale ewaka.

Abaana baabwe ba kyejo.

Amagi ge gaatise.

OKWEGEZAAMU
Saza ku nnakongezalinnya eziri mu sentensi zino era oziwe amannya gaazo
1.
Kato yawasa omuwala owakatakketakke era buli omu amwegomba.
2.
Abawala ab’ekitema mbaagala nnyo.
3.
Enkoko eyaalujumba gyebatwala mu ssabo.
4.
Maama yatuleetedde engoye nkumu era ezimu twazigabye.
5.
Muwalawe mulungi nnyo.
6.
Embwa endalu teyeetaaga kulunda waka.
7.
Ekinnya kye musimye kigazi kisusse.
8.
Abaana bonna abaagenze mu lubiri bakomyewo.
9.
Twasisinkanye omulangaatira gw’omusajja mu kkubo.
10.
Embuzi eno gitwale ku ttale.
11.
Mmeeza ki gye bakutumye?

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *