ERINNYA AMANNYA (NOUNS)

ERINNYA / AMANNYA (NOUNS)
Erinnya ky’ekigambo ekituumibwa omuntu oba ekintu okukyawula ku kirala (omulala).
Amannya gano gaawulwamu ebika eby’enjawulo.
Ebika by’amannya
Mu luganda ebika by’amannya ebikulu biri bina (4) wadde nga waliwo ebirala ebyogerwako
naye ojja kwesanga ng’ebyo nabyo bigwa mu biri ebina ebimenyeddwa era ebika
by’amannya bye bino;
1)
Agenkalakkalira (proper nouns)
2)
Agoolukale (common nouns/ improper)
3)
Agebibinja (collective)
4)
Agebitakwatwako(abstract nouns)
Amannya g’enkalakkalira
Ganno ge mannya agatuumibwa abantu/ ekintu naye nga tegakyukakyuka. Mu gano
tulinamu;

Agabantu okugeza Nsimbe, Nabakooza, Katongole n’amalala

Agebyalo okugeza Kiwafu, Kitooro, Buwaya, Ntinda, Nateete

Agebibuga okugeza Kampala New york, Jinja, Mbarara, Fortpartal

Agensi okugeza Yuganda, Kenya, Tanzania, America, Zimbabwe

Agebibira okugeza Mabira, Budongo, Bwindi n’ebirala
Amateeka mu kuwandiika amannya agenkalakkalira
▪
Buli lwe tugawandiika, gaba gatandisa nnukuta nnene ne bwegaba wakati mu
sentensi okugeza
Abayizi baagenda e Jjinja okulambula.
obwedda bakugamba kuyita Nnamanda yekka.
▪
Amannya gano tegagattibwa ku kigambo kirala wabula gawandiikibwa gokka
mu bbanga.
▪
Amannya gano tegakutulwamu ne bwegaba nga gakolebwa ebigambo
ebiwerako nga bweguli ku mannya ag’engero tusigala tuliwandiika nga liri wamu
Okugeza
Basajjamivule
Bangisibanno
Kijjanabalola
Balikuddembe

Amannya agoolukale (common nouns)
Gano ge mannya agatuumibwa ebintu/ abantu abagwa mu ttuluba/ oluse olumu oba
abakola omulimu ogumu wabula nga tegaggayo linnya lya muntu/ kintu
ery’enkalakkalira okugeza abawala, abasomesa, abasawo, abakyala, abayizi,
abayimbi, abalenzi Amannya gano buli lwe gawandiikibwa gabeera gatandisa
nnukuta ntono okuggyako nga ge gatandise sentensi nga wano
• Abawala abaagenze ku luzzi tebannadda.
• Abayimbi bonna bateekeddwa okuyimbira omutanda
• Omusomesa waffe asomesa bulungi era tumwagala
Amannya agebibinja (collective nouns)
Gano ge mannya agatuumibwa ebintu ebingi ebifaanagana nga biteereddwa wamu
okugeza
Ebintu

erinnya/ekibinja

Omusenyu

Entuumu
Enswa

Omutwalo
Abantu

Ekibiina
Essubi

Ekinywa
Amalaalo

olubungu
Amayinja

Emiino

Amannya agebitakwatwako
Gano gatuumibwa ebintu ebitasobola kukwatwako wabula nga tusobola okubiraba,
okubiwunyiriza oba okubiwulira (feel)
Okugeza, essanyu, akawoowo, ettima, obugunjufu, emputtu, omukwano, empisa, enjala,
otulo, enseko, ekisa, akalaakya, okwewulira, akajanja, ebbugumu
Jjambula

Kirimba

Ente

Eggana
Enku

Ol usekese
Embuzi

Oluseregende

Weetegereze
Waliwo ebika ebirala ebirabika nga tebikooneddwako nga mwe muli agebitabalika
(uncountable nouns) n’agebibalika (countable nouns) okugeza eggaali, essaati, ebibbo.
Amannya agali mu bika bino gagwa mu goolukale n’olwekyo ebika bino kitundu ku mannya
goolukale
OKWEGEZAAMU Saza ku mannya agali mu katundu kano olage
n’ebika mwe gagwa
Omuwala baamutwala e Namboole asobole okuyiga okuyimba era yafuna essanyu lingi
kubanga abantu bangi ab’ettima baali tebamwagaliza bya kuyimba. Wabula ekibinja
kyamwongera amaanyi.

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *