ENZIMBA Y’ENNYINGO MULUGANDA

ENZIMBA Y’ENNYINGO
Ennyingo bwe butundutundu obw’enjawulo obukola/ obuzimba ekigambo. Ennyingo
esobola okubeera empeerezi yokka oba ensirifu wamu n’empeerezi okugeza ba, be,
bi, bo, bu n’endala.
Ebika by’ennyingo
Ennyingo za mirundi etaano era nga ze zino;
1) Ennyingo ey’ennukuta emu era nga eno ezimbibwa n’empeerezi yokka
naddala ezo ze twalabye ezitandika ekigambo mu luganda okugeza a, e, o
2) Ennyingo ey’ennukuta ebbiri era nga ezimbibwa ensirifu emu n’empeerezi
okugeza ba, be bi bo bu
Ca ce ci co cu
Wa we wi wo wu n’endala
3) Ennyingo ey’ennukuta essatu era eno ezimbibwa bweti Ensirifu bbiri
n’empeerezi emu

-tta-

o-ku-tta

-zzi-

a-ma-zzi

-ggo-
o-mu-ggo
Nnakinnyindwa ko n’ensirifu n’empeerezi

-mba-
o-ku-li-mba

-nga-

e-ggwa-nga

-mpo-
e-mpo-lo-go-ma
Ensirifu emu gattako empeerezi bbiri
-baa-

a-baa-na
-maa-

maa-ma
-soo-

zi-ku-soo-ka
Ensirifu gattako nnampawengwa n’empeerezi okugeza

Mye

e-mye-zi

Tya

o-ku-tya-ba

Twe

o-mu-twe
4) Ennyingo ey’ennukuta ennya era ng’eno ezimbibwa
Ensirifu bbiri n’empeerezi bbiri okugeza

Ssaa

ssaa- ba-sa-jja

Mmee
e-mmee-za e

Ggaa

e-ggaa-li
Nnakinnyindwa egattibwako nsirifu n’ogattako nnampawengwa n’empeerezi
okugeza

Nkwa
nkwa-ga-la

Ndwa
e-ndwa-dde

Mbwa
e-mbwa

Nywe
o-ku-nywe-za
5) Ennyingo ey’ennukuta ettaano eno ezimbibwa bweti
Ensirifu bbiri wamu ne nnampawengwa n’empeerezi okugeza

Ggwii
e-ggwii-so

Ggwee
e-ggwee-se-zo

Weetegereze

i) Empeerezi yokka esobola okukola ennyingo singa ebeera ku
ntandikwa ya kigambo.
ii) Empeerezi esemba ku kigambo n’eyo eri wakati mu kigambo tekola
nnyingo nga tekuli nsirifu.
iii)
Ensirifu yokka tesobola kukola nnyingo nga tekuli mpeerezi.
ENKOZESA Y’ENNUKUTA ENNENE
Ennukuta ennene zirina ebifo mwe tuzeeyambisa so ate nga waliwo ne wetutayinza ku
zikozesa. Ennukuta zino zeeyambisibwa mu ngeri zino

Nga tutandika sentensi/ emboozi okugeza
Omusajja yatweyambulidde naffe ne twewuunya obugwenyufu obumulimu!
Abaana bano baseegu nnyo!

Nga tuwandiika amannya agenkalakkalira okugeza
Ag’abantu nga Nayiga, Namanda, Amooti
Ag’ensozi nga Rwenzori, Kirimanjaro, Elgon, Mufumbiro
Ag’amawanga nga Abaganda, Abanyoro, Abasoga
Ag’ensi okugeza Yuganda, Kenya, Tanzania, Rwanda
Agebibuga nga Kampala, Masaka, Entebbe

Nga tuwandiika emitwe gy’emboozi n’ebitontome okugeza
‘MWANA MUWALA KYE YANKOLA!!!’

Nga tuwandiika emitwe gy’obutabo okugeza
ZINUNULA OMUNAKU, BWALI BUTAMANYA, TUULA TUFUME,
OMUNAKU KAAMA

Ennukuta ennene yeeyambisibwa ku buli ntandikwa y’olunyiriri mu kitontome
okugeza Nnakku saagala onnumbe
Kankunyumize effumbe
Tumale okulya onnyambe
Mpeerekere Nnakafumbe
Gye banayabya olumbe

Nga twagala okussa essira oba okuggumiza kye twogerako naddala mu
bitontome okugeza MU BUSUJJU eyo e KIGGWA Ye wali MUTASINGWA

Akulira EKIKA KY’EMBWA
AKABBIRO: KYUMA KYA MBWA

Nga tulaga obusukkulumu bw’abantu ku balala okugeza Ssaabasajja,
Ssaalongo, Ssaabasumba, Nnaabagereka, Nnaabakyala

Nga tutandika emboozi eri wakati nga tukozesa obubonero obuwaabi
okugeza yamuboggolera nti “Owange musajja wattu bw’otuleka”
EBIGAMBO EBIGATTIBWA (COMPOUND WORDS)
Mu lulimi oluganda waliwo ebigambo ebigattibwa ku binnaabyo newankubadde nga mu
njogera biwulikika nga biri bibiri era nga byandibadde byawulwamu mu mpandiika. Mu
luganda tugatta ebigambo mu ngeri zino wammanga

Nga tuwandiika amannya agava mu mannya amalala ebyennyanja, ebyenda,
ebyobuwangwa

Nga tuwandiika amannya agava mu ngero okugeza Basajjassubi,
Basajjamivule, Kiriggwajjo

Amannya g’ennaku za wiiki okugeza olwokuna, olwokutaano, olwomukaaga.

Nga tuwandiika ebikolwa ebiddiddwamu okugeza temaatema, salaasala,
bokkabokka

Amannya agalaga oluganda okugeza nnyaffe, kitaffe,ssengaffe, bannyaffe

Obugambo buno, nga, ko, mu, yo,wo. Bwe buba nga busembye ku kikolwa
tubugattako okugeza
Tuulako wansi
Twayimbanga buli lwamukaaga Nyimbiraamu akayimba
Gendayo ajja kukuwa ky’oyagala

Akagambo ‘si’ keeyambisibwa mu kugaana bwe kaba kaliraanye ekikolwa
kagattibwa ku kikolwa okugeza Siitambule naawe nga toyambadde mpale.
Situula ku ntebe kuli ttaka

Amannya g’ebyobufuzi nago gagattibwa tegaawulwamu okugeza
oweggombolola, owessaza, owessiga, owoolunyiriri, owoomuluka

Amannya agava mu bikolwa okugeza ebyokulya, ebyokunywa, ebyendiisa,
ebyobulunzi, ebyobulimi
EBIGAMBO EBITAGATTIBWA
Mu luganda tulinamu obugambo nga bwo buli lwe buwandiikibwa tebugattibwa ku k
igambo kirala era nga muno mwe muli o Ssenfo/ nnakalazi (ku, mu, wa, e) buli lwe
zeeyambisibwa mu ssentensi zibeera mu bbanga okugeza • Genda mu nnyumba
oleete omunnyo.
• Kalanzi atudde ku mmeeza.
• Abayizi bagenze e Jjinja okulambula.

• Muteeke wansi wa katebe. o Obugambo obubuuza (Nnakasigirwa ezibuuza
buli lwe buwandiikibwa tebugattibwa okugeza)
• Lwaki onneesibyeko?
• Ani yakutumye ekitabo ekyo?
• Baana ki abatutte enkumbi?
o
Obugambo obuyunzi okugeza ne, nga, ate, so, era, singa ekigambo ekiba
kibuddirira kiba tekisoosa mpereezi okugeza
• Kasumba ne Nansereko basoma bitabo.
• Omusajja alima nga mulwadde o Obugambo obulaga obwannannyini
okugeza za, lye, bye
• Embuzi za maama zikutudde.
• Ettooke lye lyengedde.
• Ebitabo bye byabula.
o
Akagambo akagaana aka ‘si’ bwe kaddirirwa ekigambo ekirala nga si kikolwa
kawandiikibwa mu bbanga okugeza Nalule si mulungi mulwadde.

OBUGAMBO OBUGAANA
Mu luganda tulina obugambo obweyambisibwa mu kugaana busatu era nga bwe buno
Si

Te

Obuta
SI o Akagambo kano kakozesebwa bwetuba tugaana mu muntu asooka mu bumu wokka
(ng’omuntu yeeyogerako ye kennyini) 1st person singular era kayungibwa ku kikolwa –
Simukubye wabula mmukoonyeko katono.
– Eyo emmere ekonye sigenda kugirya. o Singa ‘si’ ekulemberwa ekikolwa
ekisoosa ennyingo ‘ku’ ‘oku’ (infinite form) nga temuli mukozi (subject) olwo
kawandiikibwa kokka okugeza
– Si kuzaala kwe kwamulesa amaka.
– Si kusoma wabula kwabika mitwe. o Akagambo kano singa kaba nga
kaliraanye ekigambo ekirala ekitali kikolwa kawandiikibwa mu bbanga
(tekakigattibwako) okugeza
– Nalweyiso si mulungi mulwadde.
– Omuwala oyo ennimba ze si nnungi.
– Nantale bamuwanise ku mmeeza si ku ntebe.
o
‘si’ esobola okukyuka okusinziira mu kiseera mwoyogerera

– Mu kiseera ekyayita awamu n’ekiyise si efuuka ‘sa’ okugeza
Saagala baana bannepankirako
Saagenze ku luzzi anti enkuba yatonnye (ekyayise)
Saamulaba kubanga yatuuka tuvuddeyo
– Mu kiseera ekijja akagambo tukongerako ‘I’ endala era ne ku nkomerero
y’ekikolwa ne tusembyayo ‘e’ okugeza
Siigende mu katale
Siibireete kubanga nnyinza obutayitirayo.
– Mu kiseera ekirijja ssentensi zifaananako ziti Sirimutwala ku mbaga ya
nnyabo.
Sirimwebaza ne bwalimpa akalungi katya.
Siribaleetera mwana wange nga nkomyewo.

Si lwetagattibwa ku bigambo
• Singa eba eddiriddwa nnakongezalinnya okugeza Omuwala gwe
baleese si muwanvu nnyo.
Omugole si mweru nga bwe twabadde tumusuubira.
• Singa eba eddiriddwa linnya okugeza
Nakugambye oyite Kasumba si Kayemba. Twamusanze na muwala si
mulenzi.
• Singa eba eddiriddwa nnakasigirwa okugeza Oyo omuwala si waffe Si
nze gwe wayise.

Te

Akagambo/ akayingo kano keeyambisibwa mu bantu abalala bonna
abasigaddeyo (okuggyako asooka mu bumu nga bwe tulabye waggulu)

Akayingo kakulembera Nnakasigirwa enkozi olwo ne kuddako ekikolwa
Te + Nnakasigirwa + ekikolwa okugeza
Temumutwala bubi mutyo kuba talina musango
Tetumulabye bulungi ng’azina Tebawandiika bulungi
nga bazooka Temumwemaliza nnyo.

Bwe tuba tugaana mu muntu owookubiri mu bumu (2nd person singular)
akayingo te kafuuka to kubanga omuntu abeera ‘o’ okugeza
Tojja kufuka wano nga tukulaba
Tomutwala wange ajja kunziba
Nalule, tonaaba nga gwe bakase

Bwe tuba tugaana mu muntu owookusatu mu bumu (3rd person singular) ‘te’
efuuka ‘ta’ era omuntu abeera ‘a-’ okugeza
Tayagala muntu amuzannyirako
Tajja kufuka wansi wa muti ogwo

Kitaffe talina nsimbi zituweerera

Obuta
 Kano kasinga kweyambisibwa ku bikolwa ebitali byanjuluze
(infinite form) era nga biba biragibwa/ bitandisa ennyingo
‘ku’ oba ‘oku’ okugeza okuyimba, okusoma, okulya  Ebikolwa
eby’ekika ekyo bwe bibeera nga bifuuliddwa ebigaana tweyambisa
akagambo aka obuta okugeza
Obutalya muze gw’amaanyi mu baana
Obutalima kibi nnyo
Obutayimba

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *