EBISOKO N’AΜAKULU GAABYO (IDIOΜS AND THEIR ΜEANING)
1∙Ennyindo okuba enkata∙ ₋Kubeera munyiivu oba mukoowu∙
2∙Okufuulira omuntu ebigere∙ ₋ kudduulira⁄kukuddaalira muntu∙
3∙Okukifuuwa ng’okizza munda∙ ₋kwejjusa∙
4∙Omusango okukka omuntu mu vvi∙ ₋omusango okusinga omuntu∙
5∙Okuvaako bukumbu∙ ₋Kuviira ddala ku kintu∙
6∙Omulwadde okukuba ku matu∙ ₋Omulwadde okutandika okuwona∙
7∙Okukuba omuntu enkata∙ ₋kuwa muntu ekintu ekyamaanyi∙
8∙Okukwata enkoko omumwa ∙ ₋kukeera nnyo∙
9∙Okubukeereza enkokola∙ -kukeera nnyo∙
10∙Okulinnya omuntu ku mutwe∙ -kujooga bantu∙
11∙Okuliisa omuntu akakanja∙ -kubonyaabonya muntu∙
12∙Okumala eby’omu bulago∙ ₋kumala biseera∙
13∙Okusiika ebinyomo∙ ₋kumala biseera∙
14∙Okusimba olwa kasota∙ ₋kusimba lunyiriri∙
15∙Okuteeka ng’aga Lubigi∙ -kukkakana∙
16∙Omukazi omuyima okutuulira omuntu ku kisaabo∙₋kuloga muntu∙ 17∙Okuviirayo awo
ng’ayokya omusota∙ -kukola kintu n’otobaako ky’ofunamu∙
18∙Okuwona Μayanja ow’olusenke∙ – kuwona akabi akaamaanyi∙
19∙Okuyisa omukka mu kisero∙ -Kukola ekintu ekyangu ennyo∙
20∙Okuyita ku lugwanyu∙- kuwonera awatono∙
21∙Okweyiira amanzaali∙ -kulya emmere ensiike∙
22∙Okuyungula abawanvu n’abampi∙ -kuweereza abasirikale∙
23∙Kuzaala ebyeru makaayi by’azaalira ensiko∙ -kuleeta emitawana∙
24∙Okuzimba ng’ekisaka oba ng’obudde∙ -kunyiiga n’otuggubala∙
25∙Omusana okwaka ne guzuukusa Kaweekwa e Ggangu∙- musana kwaka nnyo∙
26∙Okuzza ogwa Nnaggomola∙ – kuzza musango munene∙
27∙Okuzza ogwa Nnamunkululu∙ – kuzza musango munene∙
28∙Okwambala n’otonnya mmooli∙ ₋ kwambala n’onyuma nnyo∙
29∙Okwebaka Bukeerere tebuzindwa∙ -kwebaka nnyo∙
30∙Okwogera nga gwe baasala akanyata∙ -kwogera nnyo∙
31∙Okuseka nnyindo yankolera∙ -kusekera waggulu nnyo∙
32∙Ennamusa okutuuka ku nnyooge∙ -embeera okwongera okwonooneka∙
33∙Okukuba ekintu oluku mu mutwe∙ – kumaliriza kukola kintu∙
34∙Okukwata omuntu entege n’amagulu∙ -kwegayirira nnyo muntu akuyambe∙
35∙Okuba nga g’okaaba g’okomba∙ -kuba na nnaku nnyingi naye nga tolina akuyaba∙
36∙Okusindika asitamye∙-kulagira muntu kukola kintu kyangu∙
37∙kulya mungu buteesokoola∙ -kukola kintu kyangu∙
38∙Okukuba ejjinja mu njuki∙–okwereetera ebizibu∙
39Okussa akasiiso∙ -kusiriikirira muntu n’akola ekintu ng’olinga atamulaba∙
40∙Okukuba embeekuulo∙ -kuzannya nga muleekaana∙
41∙Okubuuza akana n’akataano∙₋ kubuuza muntu bibuuzo ng’omubuuza buli kimu∙
42∙Enkuba okutonnya n’ereka ng’abantu bafumbya miyagi∙ —
–nkuba kutonnya nnyingi ate nga mbi∙
43∙Okubuuza enkima akabaata∙ -kubuuza kintu kirabika∙
44∙Obutasalikako musale∙ -kuba munyiivu nnyo oba mukambwe∙
45∙Okuyisaako ow’e Μbuya∙ -kukuba muntu miggo∙
46∙ Okuba Nampulirazzibi∙ -Obutawulira bulungi∙
47∙Ensowera okugigobya olulimi∙-kuba mukoowu nnyo ate nga n’enjala ekuluma∙
48∙Ebigambo obutabaako mutwe na magulu∙ -Ebigambo obutaba bituufu∙
49∙Omuntu okuba nga tadduka awenneenya mbwa∙ -kubeera ng’adduka nnyo∙
50∙Okusuza abantu ku tebuukye∙ -Kusuza bantu nga tebeebase∙
51∙Ebintu okuba nga n’ow’emmindi asena∙- bintu kuba bingi nnyo∙
52∙Okulya mu ndago∙ -Kuyimba∙
53∙Okussa ekimu ng’enkuyege∙- Kuteesa ne mukkaanya∙
54∙Okusekera mu kikonde∙ – kusekera muli∙
55∙Okusiba ebikutuka∙ -kulwala nnyo∙-
56∙Okutwala omuntu nga talaba mu maaso na mabega∙ -kutwala muntu bubi∙
57∙Okuggirako omuntu enkoofiira∙ -kwewuunya muntu∙
58∙Okugwawo ekigwo∙ -kutya nnyo
59∙Okusimba kasooli∙ -kutambuza bigere∙
60∙Okukoma ku mugo gw’entaana∙ -kuwona kufa∙
61∙ Emboozi okugwa amakerenda∙ – kunyumya mboozi ne munyumirwa∙
62∙Okufuuwa ekintu mu ηηombe∙—-kufiirwa oba kwerabira kintu∙
BIKOΜYE WANO
Leave a Reply