EBISOKO N’ENKOZESA YAABYO MU MBOOZI

EBISOKO N’ENKOZESA YAABYO MU MBOOZI
1. Okuyimbya endubaale – okubonyaabonya omuntu.
Okugeza
Ssekabaka Mwanga II y’omu ku Bassekabaka ba Buganda abaayimbya ennyo abantu
enduubaale, olaba bwe yatta n’abajulizi !
2. Okwekwata omusoobooza- Okwetya.asobola na kwogera ku
Okugeza
Namatovu engeri gye yamanyiira okwekwata omusoobooza, laba tasobola na kwogerera
ku ppaleedi.
3. Okulya mu lulime ne mu luzise- Obutabaako ludda muntu kwanywerera nga ali eno
n’eri oba okuba ow’ekwe.
Okugeza
Ekikulu oyo ssentebe naye alya mu lulime ne mu luzise kubanga eggulo obwedda
agamba nti kayima ye mukyamu; ate kati y’omu nti kayima talina musango ! 4.
Akamwa obubaamu omuzigo – kitegeeza muntu kwogera bulungi n’eggwoowo.
Okugeza
Mwami kiweewa ye yekka asobola okubakkirizisa okusasula ensimbi ezo kuba ye
akamwa ke kalimu omuzigo, kale n’olwekyo bw’anaaba ayogeddeko nabo osanga
banakkiriza.
5. Okukyukira mu kiti ng’embazzi – Okwefuulira omuntu oba okukyusa ebigambo
by’oba oyogedde n’oyongeramu ne by’otaayogedde mu kusooka.
Okugeza
Ekikulu oyo mukyala Nnantebe naye ekizibu kye kwekyusiza mu kiti nga mbazzi
kubanga eggulo obwedda y’agamba nti omusango gusinga Kayima ate kati abyegaanye !
6. Okuba ekinnya n’empindi – Okuba okumpi ennyo n’ekintu.
Okugeza
Ndaba oyo omwana okuva ewaabwe okutuuka ewaffe kinnya na mpindi kuba tewawera
na mita bbiri.
7. Ebigambo okugwa omuntu enkoto – Kitegeeza kugamba muntu n’atawulira.
Okugeza
Byonna onwedda bye bamugamba nga bimugwa nkoto era talina kyonna kyeyawulidde.
8. Ebyayi okubinnyika mu nsuwa – Okukola ekintu amangu oba embagirawo. Okugeza
Ssenteza olwawulira nti mutabani afunye akabenje e Masaka , ebyayi n’abinnyika mu
nsuwa yogaayoga ng’ayolekera lw’eMasaka.
9. Okusiba ebikutuka – Okukaddiwa ennyo oba okulwala ennyo nga tokyesobola bulungi.
Okugeza
Twawulidde nno nti omuyimbi Harriet Kisaakye ali mu ddwaliro naye mbu by’asiba
bikutuka kuba takyasobola na kwogera!
10.Kuno ne gye gava – kikozebwa okulaga obugazi oba obunene bw’ekintu.

Okugeza
Muzeeyi Katumba bwe yafa abaana be yabalekera ekibanja kyenkana nga kuno ne gye
gava,kubanga kiri kigazi ddala!
11. Okutunda omwoyo ng’enkoko emira ensanafu – Okwewaayo okukola ekintu ekiyinza
okukuviirako n’okufa oba okufiirwa.
Okugeza
Ssentongo nno naye musajja, kuba bwe yewaayo n’alumba Musa eyalina emmundu
ng’ate ye alina jjambiya;wamma ddala okwo kwali kutunda mwoyo ng’enkoko emira
ensanafu!
12. Okusimbayo ekitooke – Okulwala ennyo kumpi kufa.
Okugeza
Nalumansi wano jjuuzi bwe yalwa olowooza teyasimbayo ekitooke,kuba ebiseera ebyo
yali tatunuulikako!
13. Okuliisa ebijanjaalo empiso – Okunaanya oba okukola ekintu nga teweefirayo.
Okugeza
Gundi gwe ojje olekere awo okuliisa ebijanjaalo empiso kubanga ebigezo bwe
binaakulema oneekwasa ki,nze buli kimu nkikuwadde!
14. Okulumya engabo amannyo – Okulwana kumpi kutuusa kufa.
Okugeza
Edda ennyo bajjajaffe balwananga engabo ne bazilumya n’amannyo okutuusa lwe
bafufuggaza omulabe.
15. Okulya ekimuli- Okusala mu mboozi y’omuntu nga tomusabye kwogera.
Okugeza
Pawulo yali akyayogera Ssengaawe n’amulya ekimuli nti mutusonyiwe tumale
okufulumako ebweru.
16. Gakyali mabaga- Okuba ng’ekintu tekinnagenda wala nnyo mozzi we kizibuwalira
oba okunyumira ennyo. Ntandikwa)
Okugeza
Nze ndaba ago gakyali mabaga kuba eyo gye byeyongera banaagenda okumaliriza buli
omu abuulidde munne ekituufu.
17. Okulya amatereke – Okuyomba oba okulwana ennyo oba okukuba omuntu.
Okugeza
Ssebo bw’onoogenda ng’oyogera ne mukyala w’omukulu bw’otyo muyinza okulya
amatereke naye kuba tayagalira ddala ayogera na mukazi. 18. Embooge
obutabuguma – Ekintu okubaawo amangu ddala.
Okugeza
Kamoga olwavudde mu kkomera,embooge teyamaze na kubuguma nga yazzeemu dda
okuzza omusango omulala.
19. Akataayi obutasala kkubo – Ekintu okubaawo amangu ddala.

Okugeza
Kamoga olwavudde mu kkomera,akataayi tekaasaze na kkubo nga yazzeemu dda
okuzza omusango omulala.

20. Okutambuza essimbo -muntu kutambula mpola n’okweyagala.
Okugeza
Mukyala Wobusobozi yenna atambuza ssimbo anti olaba yenna yeegendereza
ng’atambula anyeenya akabina!
21. Okuba embuyaga ezikunta – Omuntu okuba nga yafa dda.
Okugeza
Olowooza abayimbi Harriet kisaakye ne A.K47 kati ssi z’embuyaga ezzikunta?
22. Okuba olumbe lw’ekirago- Ekintu okuba ekyakabi oba omuntu okuba ow’akabi.
Okugeza
Ku mulembe gwa kawenkene Milton Obote ,abantu baabonaabona nnyo; nti ye mwene
yali abafuukide olumbe lw’ekirago ng’abatta okuzaama.
23. Okutema ebisiki – Kusumagira ne weebakamu .
Okugeza
Catalina akooye nnyo bambi ndowooza kati omulaba atandise na kutema bisiki, gira
omutwale yeebake.
24. Okuba mu mattansejjere – Okuba mu tulo otungi.
Okugeza
Nkuwulidde oyita kigozi ajje mugende olowooza kati tali mu mattansejjere, kuba
obwedda yeebase okumala eddakiika nga asutu okuva kati; nze mbadde ŋamba
wandigenze wekka n’omuleka.
25. Okuzina gunteese – Okwesunga ennyo ekintu.
Okugeza
Pawulo bwe yakimanya nti agenda Bulaaya yazina gunteese kubanga yasula yeesunga
lugendo.
26. Okuba mukubya byaayi – Omuntu okuba asaasira eri abo abamunyiiza oba
abamukola obubi. Okugeza
Abaana bonna ku ssomero baagala nnyo masita oyo era ye ne bw’abagamba okubakuba
baseka busesi kuba ye bamumanyi nti mukubya byaayi,gwe olowooza alina ky’abakola.
27.Ddungu ayizze – Okufuna ekirungi ky’obadde tosuubira.
Okugeza
Muteesaasira bwe yasanga Nalule e wuwe ng’anyumya ne mukyala we ate nga bulijjo
amudaaza okulaba mu kkubo,yagamba bugambi nti ddungu ayizze era n’asembera
asobole akumuggyako emboozi.
28. Okulinnya mu mmere – Okugenda eri abalya, naye n’obatabulatabula oba
n’obalemesa emmere.

Okugeza
Eggulo Mutaawe yatulinnyidde mu mmere yaffe bwe yaleese amawulire g’okufa kwa
Harriet Kisaakye.
29. Okuba mu bibbo – Okuba nga mulya.
Okugeza
Bwe nagendayo ewa muto wange okumutwalira eryanda lyange ely’essimu nasanga bali
mu bibbo era bwentyo ssaayagala kubataataaganya nenzirayo nalyo eka.
30. Okugwa mu bibbo – Okufuna emmere oba okugwa mu balya.
Okugeza
Mwana wange oteekwa okuba ng’oli wa mukisa kuba buli lw’ojja wano otera okugwa
mu bibbo,ye ate kimanyikiddwa nti tewazaalibwa kwa njala.
31. Okuba kawenkene – Okuba omukambwe ate ng’oli muzibu, n’olumya abantu.
Okugeza
Omusajja Milton Obote teyayagalwa nnyo Baganda kuba yali kawenkene,era
kigambibwa nti yatulugunya nnyo abantu.
32. Okufumba luku lutokota – Okufumba ekintu empola ennyo.
Okugeza
Omukozi abadde afumba emmere ewange nnamugobye nga ndaba afumba luku
lutokota, anti emmere y’ekyemisana tubadde nga tugirya ssaawa nga munaana kitundu
ogw’omuttuntu.
33. Okusuula ebintu omuguluka – Okugayaalirira ebintu n’obireka oluusi
neby’onooneka n’okwonooneka.
Okugeza
Abayizi ba ssiniya ey’okuna bagenda ne baddira eby’okusoma ne babisuula muguluka
olwo ne babakira eby’amasanyu ate ne bakomekkereza nga bagudde ebibuuzo.
34. Okukomba kw’erima – Okugaanira ddala.
Okugeza
Omukulu w’essomero bwe baamugambye okusasula abasomesa abatasomesa bulungi
bayizi n’akomba kw’erima ng’agamba nti ekyo kiyinza okuzza essomero emabega; nti
abantu ng’abo tebalina kufuna musaala mulamba .
35. Okusiwa ensaano ku mazzi – kumala biseera.
Okugeza
Oyo mwana muwala twamulabula nga tannagwa ku bizibu ebyo byonna naye nga
tusiwa nsaano ku mazzi era kati ndowooza olabye ebyamuviiramu. 36.
Okukoowa nga banyaga – Kulemwa kintu ng’oli kumpi kukimala.
Okugeza
Omuntu bw’alemwa ebigezo by’okwegezaamu ebya `mock’ ate n’alekeraawo okusoma
ebitabo, olwo aba akooye banyaga kuba awo nze nsuubira omuntu w’alina
n’okwongeramu amaanyi lwakiri emirundi n’ebiri.

37. Ebigambo obutabaako mutwe na magulu – Ebigambo ebitali bituufu oba okuba
ebya kalebule.
Okugeza
Nze ako akakazi kantama kuba ebiseera ebisinga katera okweyogeza ebigambo ebitaliiko
mutwe na magulu ku bantu abasula ku mizigo awo ate bwe babikabuuza ne
kabyegaana.
38. Amatama okuba entengo – Obutaba na bigambo by’oddamu nga bakubuuzizza.
Okugeza
Bwe twamubuuzizza nnyini lubuto lwalina ng’amatama ntengo era awo taata we
yamuviiridde mu luyi vvaawo mpitewo.
39. Emboozi okugwa amakelenda – Emboozi okunyuma ennyo n’olwawo ng’onyumya.
Okugeza
Ffe wetwatuukidde ewuwe twasanze emboozi yagudde dda amakelenda era
tetwabataataaganyizza kubasaza mu mboozi yaabwe, ffe ne tweyongerayo.
40. Okuba akabwa n’engo – Kukyawagana ennyo.
Okugeza
Oyo omusomesa nange tuli kabwa nango ,ate olowoozo tunyumya!
41. Olubuto okuba ku mugongo – Enjala okuba ng’ekuluma nnyo.
Okugeza
Omwana wange enjala emuli bubi ! ndowooza yenna omulaba olubuto bwe lumuli ku
mugongo.
42. Okugwa ku ngo eriko omwana – okufuna ebizibu eby’amaanyi era ebingi ennyo.
Okugeza
Bukyanga okyangakyanga balenzi leero ogudde ku n go eriko omwana,ate olwo
olubuto onoolunnyonyola otya bakadde bo? 43. Obudde okubuna emiwabo –
Obudde okukya.
Okugeza
Basooka ne banyumya okutuuka ng’eyo mu matumbi budde era bwe baagwawo bati
n’obudde ne bubuna emiwabo ate ne bagolokoka.
44. Okugwa ku muntu – Omuntu okumugeya oba okumuvuma.
Okugeza
Bulijjo Namatovu agwiragwira banne naye leero John amuguddeko kiyiifuyiifu,olaba
amuleese n’ezziga!
45. Okuva enviiri ku mutwe – Ekintu okwewuunyisa oba okuba eky’entiisa. Okugeza
Ekiro ekyo nnali ntambula mu kkubo nzekka ku ssaawa nga munaana nempulira
ebikuba mu nsiko, wabula enviiri zanva ne ku mutwe mu kaseera ako.
46.Ekigulira magala eddiba – Ensibi
Okugeza

Ekitukeeza ku ssomero buli lukya mbu tusomesa bayizi bbo bayite ebigezo ate ffe
tusobole okufuna ekigulira magala eddiba,eka abaana balye ku kawogo. 47.
Okuggya omukono mu ngabo – Okufa kwa kabaka oba omuntu omufuzi. Okugeza
Ssekabaka Muteesa ow’oluberyeberye bwe yaggya omukono mu ngabo, oBuganda
bwonna bwasannyalala ate kawenkene Obote ye n’asanyuka nnyo.
48. Okufuuwa ekintu mu ŋŋombe – Okufiirwa ekintu n’okukyelabirira ddala ng’ekyafa
oba ekyabula. Okugeza
Ebyo by’ogamba eby’okubongeza omusaala mu bifuuwe mu ŋŋombe kuba dayirekita ssi
mwetegefu kukikola kati, mpozzi gye bujja!
49. Amatooke okugenda ebitege – Okuwoomerwa ennyo ekintu naddala eky’okulya oba
amatooke. Okugeza
Mwana wattu jjuuzi bwe twali ku lumbe lwa Ssebugwawo, twalya emmere amatooke ne
gagenda n’ebitege!
50. Okusimbayo ekitooke – kulwala kubula kufa.
Okugeza
Muzeeyi John luli yalwa nnyo kumpi n’asimbayo n’ekitooke era tebuba kuba
bujjanjabi bwa maanyi obwamuweebwa yandirembeyerembye olw’ekaganga.
51. Olubuto okuba mu mannyo – Kitegeeza kukkuta nnyo.
Okugeza
Omwana oyo kirabika mumuwa emmere nnyingi olaba olubuto bwe lumuli mu
mannyo!
52. Okusindika asitamye – Okulagira omuntu okukola ky’ayagala ennyo oba
ekimwanguyira.
Okugeza
Lubowa yagenze n’akuba embwa ye eggumba nti eve awali abantu egende eri
gyesula,naye yabadde yerabidde nti asindise asitamye ; gw’ate mu kifo ky’okugenda
yabase ggumba lyayo ng’edda mu kwemiisa.
53. Okukuba ekintu obudinda – Okumanya ennyo ekintu.
Okugeza
Abdul yagenda okuva mu kibiina eky’okuna okugenda mu ky’okutaano ng’ebyekyona
byonna abikuba budinda, kuba buli kye wamubuuzanga nga tamala yadde eddakiika nga
tannakiddamu.
54. Okukowoola abombye – kumala biseera oba okukola ekintu ekitasoboka.
Okugeza
Ssinga essaawa y’ekibuuzo ekyakamalirizo etuuka nga tonnasoma
na kweteekateeka bulungi, awo okukwata ekitabo nti osome kuba nga
kukoowoola abombye kuba oba tokyalina ky’ozza.

55. Okufuuyira endiga omulere -Okumala ebiseera. Okugeza

Omwana oyo ku mpputtu gy’alina okumubuulirira oba nga afuuyira
endiga omulere kuba ye tawulira!
56. Okuzinya omuntu engera – Okubonyaabonya.
Okugeza
Ku mulembe gwa Idi Amin Dada nga yazinya Bannayuganda engera
Abamu n’abatilimbula n’okubatilimbula ne bagenda e kaganga.

57. Atalina mwana okuweeka ejjinja – Buli omu okwenyigira mu kintu nga
tewali asigaddewo. Okugeza
Leero guno mugano gwa nseenene, ku luno atalina mwana lwakiri
anaaweeka ejjinja, owaaye abantu nga bakutte zino! 58.
Okugalinnya gye gava – Okweyonoonera omukisa.
Okugeza
Ssebo amaze okuvuma bazadde bo bombi olw’omukazi gwe wawasa
nze ŋamba awo ogalinnye gye gava, era gira ogende obeetondere.
59. Okuwanda omuntu oba ekintu olulusu – okuba nga wakyayira ddala ekintu oba
omuntu.
Okugeza
Ekiseera kyatuuka nga aBaganda tebakyayagalira ddala Obote era
bamuwanda lulusu olw’ebintu ebibi enkumu bye yali abakoze entakera.
60. Okulinnya mu Kyoto – Kitegeeza kugaanira ddala.
Okugeza
Muwala wange bwe namugaanye okufuluma ebweru ng’amaze
n’okwambala engatto n’alinnya mu Kyoto nga bw’akakasa nti ye agenda.
61. Okukuba evvu – Kitegeeza kukudaala oba kuduulira muntu.
Okugeza
Mulirwana wange baze bwe yamuleetedde amatooke amayitirivu
okuva e Mbarara n’alyoka atukuba evvu nga bwatugamba nti ye yatereera ;
mbu era bimusanga w’atudde.
62. Okuyoya obusera – Okukoowa ennyo ate nga n’enjala ekuluma.
Okugeza
Twatambula nnyo nga tugenda e Namugongo era twagenda
Okutuuka eka nga ffena tuyoya busera.
63. Ennyindo okwebaza eyazimba – Okufuluuta ng’oli mu tulo tungi.
Okugeza
Mukadde nagenze okumulabako ku ssaawa nga mwenda ez’aka ̶
wungeezi naye nnasanze ennyindo zeebaza yazimba ng’ali mu tulo. 64.
Okwelya enkuta z’emimwa – Kwe kuba nga temulina kye mulya.
Okugeza

Abaana baagenda okubaggya mu nju mwe yali abasibidde baaba ̶
bali bubi nga beelya na nkuta za mimwa engeri gye baali tebalaba ku kaa ̶
kulya.
65. Ekiwundu okusamba eddagala – Okulemererwa ddala oba ekintu okutuuka
w’okiggyiramu enta.
Okugeza
Ffe twabadde tulowooza nti alina mukenenya yekka naye ate
abasawo bwe baatugambye nti alina ne kkookolo; olwo ne tumanya nti
ekiwundu kisambye eddagala.

66. Okuva ku kintu obukumbu – okuva ku kintu oba ku muntu nga tolina
ky’omufunyeeeko.
Okugeza
Nze kitange bwe namugamba annyambe ampeereyo ffiizi z’okwe ̶
Yongerayo okusoma ku yunivaasite ne yeerema, olwo ne mmuvaako
Bukumbu.
67. Ekyemisana okukirunga mu mmindi – kitegeeza kusiiba njala.
Okugeza
Ennaku zino akasente tetulina era eky’emisana tukirunga mu
mmindi; gw’ate tuba tunnakiguza ki?
68. Okuyita mu mannyo g’empisi – Okuwonera awatono.
Okugeza
Nze gwe mulaba wano nnayita mu mannyo ga mpisi , anti omugagga
wange yali ayagala kungoba ku mulimu ng’agamba nti nnali nneeyisa bubi.
69. Okusiba olumbe ku mpagi – Okugenda okukola ekintu naye ng’okyali
mukosefu kyokka ne weewaliriza okukola.
Okugeza
“Lwaki tolinzeemu waakiri ssabbiiti nga bbiri n’omala okuwonera
ddala bulungi, okuggyako ng’onoonya kusiba lumbe ku mpagi ; naye ffe
kimanye nti tetuli beetegefu kuddayo mu ddwaliro kati.”
70. Emirimu okukoma mu bulago – Emirimu okuba emingi ennyo gy’olina
okukola. Okugeza
Wabula emirimu egyali ku kabaga ka Maayi akaamatikkira gyali
gitukoma mu bulago kubanga twatuusa n’essaawa nga mukaaga ogw’ekiro
nga tukyakola.
72. Okwetyabira akalimu obuwuka – kwereetera mitawaana.
Okugeza
Ba Ssebayiga okubba ssente za muzeeyi mu kisenge kye olowooza
tebeetyabidde akalimu obuwuka, Kubanga banaamuddawa olwaleero?

73. Okulera engalo -Obutabaako na ky’okola ng’otudde butuuzi.
Okugeza
Abaana bangi ensangi zino bava ku yunivaasite ne badda eka mu
kulera engalo mu kifo eky’okweyambisa amagezi ge bafunayo okwetan ̶
dikirawo obulimu obutonotono.
74. Okwetikka enju – Okwogerera waggulu ennyo ate nga towa banno mukisa
Kwogera.
Okugeza
Bulijjo mwami kinene bw’aba tali waka emisana abaana be bamanyi
okwetikka enju era bwe tuwulira amaloboozi gaabwe nga baleekaanira
Waggulu, awo we tutegeerera nti omukulu taliiwo.
75. Okweyaguza oluggyo – Obutaba na nsimbi oba ebintu by’osinga okwetaaga ennyo.
Okugeza
Kakande nno enaku zino obwavu bumuli bubi nnyo era yeeyaguza
na luggyo kuba n’ekibu ekimu tasobola kukigulira beewuwe ! 76.
Okusula ku budde – Obuteebaka nga waliwo ekibatawaanya.
Okugeza
Musoke yagamba nti ku lw’okuna omulwadde yabasuza ku budde
Kubanga yali bubi nnyo era tebaafuna na kumpeke ya tulo.
77. Ebintu okufa otulo -Okuba ebingi ennyo.
Okugeza
Empapula eziri mu ssitoowa eyo nze ndaba zifa tulo kuba mpitirivu
Obungi tewali na kye tuzikozesa.
78. Ebintu okufa ettogge – Okufiira obwereere nga tewali ayamba.
Okugeza
Kale musajja wattu yaleka ebintu nkuyanja era byonna biri eyo bifa
ttoge kyokka abaana be bali wano babonaabona tebalina ayamba. 79.
Okuteerawo omuntu akabega – Kitegeeza kweyimirira muntu.
Okugeza
Wano Musoke jjuuzi baali bamubuuza akaana n’akataano nze ne
mmuteerawo akabega naye nneewuunyizza okulaba ng’ate kati yandiddemu
olukwe.
80. Okuzza erinnya – Kitegeeza kuba ng’omuntu yafiirayo oba okukola obulu – ngi
ng’eyafa bwe yakolanga n’asobola okujjukirwa.
Okugeza
Mutabani wa Matyansi bwe yagenda e Bulaaya yalwayo nnyo era
bwe twali tuli awo bazza linnya kubanga teyasobola kudda waabwe nga
Yeetambuza yekka.
81. Okusuula omukono – Kitegeeza kuyamba oba okuwaayo obuyambi.

Okugeza
Nze nzijukira bwe nnali sirina nsimbi kojja Sserebe ye yansuula
omukono n’asasulira abaana bange ebisale by’essomero.
82. Okubaamu engalo – kitegeeza kubaamu bubbi.
Okugeza
Kasirye baamugobye ku ssomero nga bagamba nti alimu engalo,kuba
ebintu bya bayizi banne abadde abimaze mu ssanduuko ng’abitoolayo
tabibasabye.
83. Okuliisa ggoonya – kulima
Okugeza
Ffe wetwaviira mukyalo ewajajja nga ffenna tumanyi okuliisa
ggoonya era kati bwe ndaba omuntu agamba nti emmere gy’alya agigula mu
katale nneewuunya oba nga tamanyi nkumbi gye ziri.

84. Okusimba kasooli – kutambuza bigere.
Okugeza
Bwe twabadde tukomawo okuva e Busega eggulo twasanze abantu
abantu abasimba kasooli mu kitoogo nga boolekera kibuga.
85. Okubanga kimyanku ye Mugabe – Ekintu okuba nga kyawedde dda.
Okugeza
We twatuukidde ewa Ssula okumukwata tumutwle ku ppoliisi,
twasanze kimyanku ye Mugabe era tetwategedde kkubo lye yabadde akutte.
86. Okukongojja omumbejja Nnamaalwa – Kunywa mwenge.
Okugeza
Eyali bba w’omumbejja w’eTtooro Komuntale baamutomera mmo-
toka wiki ewedde oluvannyuma lw’okukongojja omumbejja Nnamaalwa era
kati ali mulago gy’apooceza n’ebiwundu.
87. Okusindika asitamye – kutuma muntu kukola ky’ayagala oba ekyangu.
Okugeza
Bwe yabagambye okugenda okuggyayo ssente mu bbanka badduse
za mbwa anti yabadde asindise asitamye kuba mu nsawo baabadde teba-
linaamu yadde ekuba ennyonyi.
88. Okunnyika ebyayi mu nsuwa – kitegeeza kuyita mu byangu.
Okugeza
Bwe baatutegeezezza nti yabadde afunye akabenje,awo ebyayi ne
tubinnyika mu nsuwa okutemya n’okuzibula nga tuli mu ddwaliro gye
yabadde addusiddwa.
89. Okulya eggi okwesubya omuwuula – Kukola kintu ne weefiiriza ekirala.
Okugeza

Nnyabo osazeewo ove ku by’okusoma ogende n’oyo omulenzi? Nze
ndaba olidde ggi kwesubya muwuura, era simanyi oba oyo omulenzi
anaakuyamba mu maaso eyo.
90. Okusambira emabega ng’ejjanzi – Kusanyuka nnyo olwokufuna ekirungi oba
okutuuka ku buwanguzi.
Okugeza
Nnalugo bwe yayita ebigezo bye eby’ekibiina eky’omusanvu yasa-
mbira waggulu nga jjanzi anti ng’essanyu lijula okumutta.
91. Okuba nnampulira zzibi – Kwe kuba nga towuliriza bye bakugamba oba amagezi
ge bakuwa.
Okugeza
Okuva omwana oyo lwe yava ewa jajjaawe yafuuka nnampulira zzibi
kuba kati takyawulira bye bamugamba ne bw’omubuulirira otya!
92. Okuttira ku liiso – Kulabula muntu.
Okugeza
Namugga bwe nnalabye bamukazaakaza ku by’okutoloka ku ssomero
ng’eno bwe bamubuuza be yabadde nabo ne mmuttira ku liiso aleme kwogera
bya kalebule kubanga nnabadde mmaze okukitegeera nti bali baabadde ba-
mukema bukemi.
93. Okulumya engabo amannyo – Kugaanira ddala.
Okugeza
Bbo bwe baalaba ng’olutalo lunyiinyiitidde naye nga tebaagala kuwa-
nika kye baava basalawo lwakiri okulumya engabo amannyo naye nga teba-
wanguddwa.
94. Okugoba obumale – Kukolerawo kintu.
Okugeza
Bwe twafunye amawulire nti yeekwese eyo mu kyalo ky’ekabu- mbiro
twagobye bumale era ne tubisuulamu engatto tugende tumuyigge ate
tumukomye eka atere abitebye.
95. Okuba nga enkuyege zikyakukubira enduulu – kuba ng’okyali mulamu.
Okugeza
Taata wange baamulongoosa emirundi ebiri era abamu baali balo-
wooza nti yagenda dda ezzira kumwa,naye gy’ali eyo e mmengo enkuyege
zikyamukubira enduulu.
96. Ekintu okuba eby’ekkekwa – Buntu kuba bitono nnyo ate nga tebirabika- rabika.
Okugeza
Ennaku zino obukeedo obuluka ebibbo bwafuuka bwa kkekwa so
ng’ate mu biseera eby’edda lwakiri mu buli maka abantu baabeeranga
nabwo era mu bungi.

97. Okuyita ttembo – kugwa ddalu.
Okugeza
Bulijjo Mukasa okubulirira nga baamuloga dda eddalu era kati ayita
ttembo.
98. Okukunnumba ng’embuzi eyasizza entamu – Butafaayo ng’omuntu alina
ky’akugamba. Okugeza
Bwe baamuyise agezeeko okunnyonnyola ekyabadde kigenda mu
maaso teyabanyeze wabula yakunnumbye bukunnumbi ng’embuzi eyasizza
entamu era bw’atyo n’abasegulira.
99. Ekintu okugula enseko obuseko – nga bakitunda emiwendo mitono nnyo.
Okugeza
Ffena tusaanye tugule ssabbuuni ‘kanga’ kuba ayoza bulungi engoye
ate nga n’ensimbi agula nseko buseko,kale ani ataasobole kumwetuusaako?
100. Okubuna amadiiro – kwetala ng’odda eno n’eri. Okugeza
Amawulire g’okukwatibwa kwa muganda waffe bwe gaatugudde mu
matu olw ffena ne tutandika okubuna amadiiro anti nga twebuuza eky’o-
kukola n’ewokutandikira nga tetulabawo.
101. Okutunula mpwangali ng’embwa essudde ekyuma – Kitegeeza butaba na
Ky’addamu ng’abuuziddwa ekibuuzo.
Okugeza
Bwe baamubuuzizza nnyini lubuto, mukifo ky’okuddamu nti ye gundi
Yenna yabadde atunula butunuzi mpwangali ng’embwa esudde ekyuma.
102. Okugwa ku kintu ababiri kw’omu – Kukola kintu na maanyi.
Okugeza
Waliwo akataka kange aka bbulooka akaali kannemeddewo naye
eggulo Busuulwa yakaguddeko mu ngeri y’ababiri kw’omu era bwagenze
okuziba ng’akamalirizza okukatabula.
103. Okubuuka enswa – Kitegeeza kuyomba oba okwecwacwaana.
Okugeza
Bwe baamugambye olw’okuyooza bbi w’abaana ebiveera olwo
n’alyoka abuuka enswa era n’ayombera ddala okutuusa akawungeezi.
104. Okulaba omuntu mu nkoona – Kitegeeza kuwangula muntu oba
kumugoba. Okugeza
JJuuzi wano ndaba Floyd Maywether bwe yali alwana ne Manur
Packiyao, Maywether yamulaba mu nkoona lwakuba Packiyao yagaana
Okukkiriza nti bamusinze.
105. Okuba olwa mannyowenu – Bintu kuba bya lusaago. Okugeza

Kale mmwe gabalemye okutandika okusoma ebitabo bya mmwe ng’-
obudde bukya, ndowooza ebintu mukyabiyita bya mmannyowenu naye muli-
ebigezo byammwe lwe bilikomawo nga mubigudde!
106. Okuyita ku lw’enkwale – kuwonera watono okugwa mu buzibu.
Okugeza
JJuuzi nno twayita ku lwa nkwale bwe twali tugenda e kibaale
okunona abaana kuba kaabula kata tukole akabenje n’emmotoka emu eyali
eyalimu omugoba eyali avuga ng’anywedde.
107. Okwesaza ng’owakagatto akamu – kuba ng’omuntu yeetawula ada
eno n’eri oba nga tatereera mu kifo kimu.
Okugeza
Munno yeesaza ng’owakagatto akamu gira omugambe akka-
Kkaneko wansi.
108. Okukuba obulatti – Kitegeeza butafaayo.
Okugeza
Mutebi bwe yabadde amaze akujjuzaamu obubonero bw’ekibiina kye
eky’okubiri ye neyeddira mu kwekubira bulatti era ng’alaba banne olwo
banfaafaagana n’ebyabwe.
109. Okuwala enswaswa ku mazzi – Kukola kintu kizibu. Okugeza
Nze ebyo eby’okuwalampa ensozi nnabyeviirako nga ssirina gawala
nswaaswa ku mazzi,gw’ate olaba abaabisooka baafiirangamu ! 110.
Okwesimba nga ssettaaba w’omulutobazzi – Kitegeeza kuyimirira
butengerera. Okugeza
Mu kifo ky’okugenda okuntegekera amazzi nnaabe oli awo wee-
weesimbye bwesiimbi nga ssettaaba w’omulutobazzi.
112. Omutuggunda okubala emmwanyi – Ekintu ekitabangawo.
Okugeza
Bwe twawulira nti Kikomeko omusajja wa katonda ate yakutte omwana
atanneetuuka olwo ne tumanyi nti omutuggunda gubaze emmwanyi. 113.
Okutuuka omuntu nga Nalunga bwe yatuuka Jjuuko – Kitegeeza kwaga- Lana
nnyo oba kwagala nnyo muntu.
Okugeza
Nze nno ssisuubira nti waliwo ekiritwawula n’owange kuba yantuuka
nga Nnalunga bwe yatuuka JJuuko.
114. Okuva ku luguudo – Kitegeeza kintu kukaddiwa oba okuggwa ku mulembe.
Okugeza
Obwo obugatto nze ssikyabwambala kubanga bwava dda ku luguudo
era abantu abasinga obungi ensangi zino tebabumanyi.
115. Okusattira ng’omukunku eyeekoonye – Butatereera wantu wamu.

Okugeza
Ekiro bwe twabadde twebase ne tuwulira abakoonakoona ebweru,
olwo ne tutandika okusattira ng’omukunku eyeekoonye ; ng’anti mu nju muli
tetutereera mu kifo kimu.
116. Okusiba enkumbi enkalu – Kudda ku lubimbi n’okangalala ne weesimba.
Okugeza
Nzijukira edda bwe twalinga tukyalima nga taata atusalidde emimbi,
ebiseera ebimu twakoowanga enkumbi nentuuka n’okugisiba enkalu anti
olwo nga mpulira n’agagikwata gabuze.
117. Okubuuza akaana n’akaataano – Kubuuza muntu bibuuzo bingi.
Okugeza
Bwe twatuuka ku ppoliisi awo aba ppoliisi n batandika okutubuuza
akaana n’akataano anti nga baagala okumanya engeri omusango gye gwazzi-
ddwamu.
118. Okukuba ppokopoko – Kwogereza muntu ng’omusendasenda akole ky’oyagala.
Okugeza
Ffe twali tetugenda kumulonda ku bukulembeze naye bwe yajja
okwogerako naffe nalyoka atukuba ppokopoko olwo ekyalo kyonna ne
kitandika okumukkiririzaamu.
119. Okusalwako ensiliba – Kuba Nnamukisa.
Okugeza
Haa…….owange mwana muwala oyo omukisa kubanga buli ky’akwa-
tako kirama bulami,alinga eyasalwako ensiriba !
120. Okuwanika ku bantu empale – Kitegeeza kwepankira ku bantu kisusse.
Okugeza
Ka Nnamatovu nzijukira bwe kaali kaakajja wano kaalinga katuwa-
nikako empale nga kalinga akagamba nti ffe tuli bakozi baako, naye ebiro bino
kakyusaamu; ndowooza kaategeera obuzibu bwaako.
121. Omuntu okuba ow’emmizi – Omuntu okuba ng’asirikira ebintu oba ebigambo.
Okugeza
Nze njagala nnyo mwannyinaze oyo muntu wa mmizi er a tamala
gasamwasamwa na bigambo naddala ebyo by’atamanyiiko mutwe na magulu.
122. Obutaba na nkoko etakula waka – Kuba mwavu ekiyitiridde.
Okugeza
Bazadde ba Gadafi baali baavu nga tebalina na nkoko etakula waka
naye mutabani waabwe yakula nga abaagala nnyo.
123. Okuba ku kannaayokya ani – Kitegeeza kuba ku mitawaana.
Okugeza

Ewa muliraanwa waffe eggulo omuti gwagwiriidde omwana era we
nnatuukiddeyo nga bali ku kanaayokya ani kubanga n’omwana gwe gwa-
gwiridde teyabadde waabwe !
124. Okuba ow’amatama – Kuba ng’omuntu ayogera nnyo mu ngeri y’okuje- rega oba
okwewaanawaana.
Okugeza
Omusajja oyo yalibadde muntu mulungi naye kye yantamako kwe
Kuba nti wa matama, anti buli kaseera aba ayagala nnyo okwegulumiza.
125. Okuba omuntu obukiika – Kitegeeza kubeera ku muntu oba ku kintu
buli kaseera oba kuwalana muntu.
Okugeza
Bannansi ba Bulundi nno omukulembeze waabwe bamuli bukiika
anti mbu baagala alekulire obuyinza, gw’ate tolaba bwe beekalakaasa buli
nga bawakanya obukulembeze bwe.
126. Ekintu okuba eky’ekiyita muluggya – Kitegeeza kintu kumala kaseera katono.
Okugeza
Essanyu Masambu lye yafuna ne Mugalu lyali lya kiyita muluggya anti baali
bakyali awo amasannyalaze ne gagenda nga tebannamaliriza bye bakola era ne
basoberwa.
127. Okuba n’akatiiro – Kitegeeza kwepankira ku bintu ebitakukwatako oba ebitali
bibyo. Okugeza
Mwana gwe olinga alina akatiiro kuba engeri gy’ogenda nga weepankira ku bintu
by’abasirikale, kati olwo singa baddira awo ne bakusanga oyinza kukola otya
essaawa eno?
128. Okubaga ekintu – Kitegeeza kutandika kintu. Okugeza
Omwaka ogujja njagala kubaga ku kuzimba nju yange,omanyi kati wentuuse
nkooye obupangisa.
129. Okuwoza olutabaalo – Kitegeeza muntu kunyumiza banne ku lugendo
lweyabaddeko.
Okugeza
Nze ka nsooke nnaabeko ndy’oke nzije mpoze olutabaalo, anti
Obwedda tutawuka tudda eno n’eri , wabula twatambudde era simanyi oba nga
waliwo gye tutatuuse !
130. Okuba omulere gwa Ssuuna – Kitegeeza kuyimba luyimba lukoobo oba
kunyumya mboozi emu olutata.
Okugeza
Ekikulu omukazi oyo naye oba yabaaki, alinga mulere gwa Ssuuna ate
gwe buli gw’alabako n’amunyumiza ekyo ekintu kimu oba takoowa !

131. Okuzza omuntu mu kyama – Kitegeeza kugamba muntu kukola kintu nga muli
babiri.
Okugeza
Bwe nnalaba abantu bangi nensooka mmuzza mu kyama era ne mmubuulira
obuzibu obwali bumwolekedde neky’ayinza okukola okubu- vvuunuka.
132. Obutagatta mmandwa na mugugu – Kitegeeza buteetaba na muntu
bwemutakkaanya.
Okugeza
Bw’oba oyagala okukola lwakiri genda osabe omulimu awalala naye nga
tokoledde Joyce oyo kuba okimanyi nti kuva dda temukwatagana kuba nze
ssandyagadde ogatte mmandwa na mugugu !
133. Okugenda n’eggoogoonyo – KItegeeza kufa nga tozadde mwana. Yii……mwana
wattu oyo mukama yamukola bubi okugenda n’eggoogoonyo gw’ate nafa nga
tannazaalayo kaana yadde akamu kati !
134. Okugoba obuufu – Kitegeeza kugenda ng’ogoberera obubonero oba ebigere
ebiraga ensolo oba omuntu weyayise naddala abayizzi.
Okugeza
Abatuuze okusobola okuzuula omulambo gw’omusajja eyabadde attiddwa,
baagobye buufu nga bwe beetegereza emikululo gy’engatto z’o- mugenzi
we gyayise nga bamuwalula.
135. Okugula ennyonyi – Kitegeeza kudduka.
Ssekabaka Muteesa ow’oluberyeberye bwe yamanya nti abasirikare ba kawenkene
Milton Obote bamunoonya, n’agula ennyonyi yogaayoga nga
ali Bungereza gye yeekukumye.
136. Okugwamu ekya wakayima – Kitegeeza kuddukana okujja amangu olw’okutya.
Okugeza
JJuuzi muzeeyi bwe baamutegeeza nti ettaka lye ely’emitala balibbye, yatya nnyo era
n’agwamu n’ekya wakayima ;yogaayoga mu kaabuyonjo.
137. Okugwamu ekidumusi – Kitegeeza kuddukana okw’amaanyi okujja
olw’okutya.
Okugeza
JJuuzi muzeeyi bwe baamutegeeza nti attaka lye ely’emitala balibbye,yatya
nnyo era n’agwamu n’ekidumusi ; yogaayoga mu kaabuyonjo. 138.
Okusuula omuntu mu ntata – Kitegeeza kuleetera muntu mitawaana.
Okugeza
Kale olaba bwe nakugambye weesonyiwe omwana wa bandi nga gwe
towulira kati olaba bw’omusudde mu ntata! Engoye zaabandi mugenze
kuzisuula mu ttaka,banyini zo munaabagamba mutya?

139. Okujja mu nsiike – Kitegeeza kwenyigiramu oba okuyingira mu kintu naddala
eby’obufuzi oba emizannyo.
Okugeza
Leero n’omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga wakujja mu nsiike z’okuvuganya
ku bukulembeze bw’eggwanga omwaka guno.
140. Omusango okukka omuntu mu vvi – Kitegeeza musango kusinga muntu.
Okugeza
Bagenda kumuwozesa mu kkooti era omusango bwe gunaamukka mu vvi olwo
asibwe emyaka ena be ddu.
141. Okukoma ku muntu – Kitegeeza kutangira muntu kukola kintu mpozzi ekiyinza
okumuviiramu obuzibu.
Okugeza
Bwe yali yakatandika okwagala omulenzi oyo mikwano gye ne bamukomako naye ye
teyabawuliriza era kati ndowooza olaba ebimuviiriddemu; omulenzi ate tamulekedde
lubuto n’adduka ?
142. Okukomera omuntu – Kitegeeza kuzibira muntu kkubo mu byonna by’ayagala
okukola. Okugeza
Musitafa oyo nno yandibadde musajja mugagga nnyo naye bassengaabe
baamukomeranga nga tebaagala mbu abe bulungi mu bulamu bwe obw’emmaaso;
naye lwakuba omukisa gw’omuntu teguzibirwa.
143. Okwekomya ekintu – Kitegeeza omuntu okwefuga ekintu yekka.
Okugeza
Kale taata omugenzi yatulekera ekibanja kinene naye mukulu waffe oyo ye yasalawo
kukyekomya yekka era ffe baganda be abalala tatufaako.
144. Okukuba ekintu oluku mu mutwe – Kitegeeza kumaliriza kintu.
Okugeza
Olusoma olw’okusatu we lunaggweerako nga n’emisomo gy’ekibiina eky’okuna
tugikuba oluku mu mutwe, awo tugende mu luwummula lwa myezi ng’ena. 145.
Okukuba ennanda endobo – Kitegeeza kulima.
Okugeza
Buli ku makya ssaawa nga kuminabbiri n’ekitundu taata akeera kutuzuukusa era buli
omu n’amulagira aggyeyo enkumbi ye tutere tugende tukube ennanda endobo. 146.
Okukuba omuntu enkata – Kitegeeza kuwa muntu kintu oba okuyamba.
Okugeza
Weebale nnyo Ssebo weebalire ddala enkata gy’otukubye ey’emitwalo ataano
ez’okuzimba essinzizo lyaffe lino, era mukama lugaba w’oggye akuddizeewo. 147.
Okukuba omutwe – kitegeeza kusooka kusisinkana muntu ng’agenda
okutambula olugendo.
Okugeza

Edda ewaffe eyo waaliyo ekisajja eky’agaviiri, nga ne kimala kikukuba omutwe ku
makya ng’olina gy’olaga okugeza ng’ogenda okukola olwo ng’omanya nti tojja kufuna
ssente.
148. Okukukwata mu ka waliggo – Kitegeeza kukwata mu nsawo y’empale.
Okugeza
Bwe twabadde ku ssinzizo nga tusaba essaawa y’okuwaayo ebirabo bwe yatuuse
awo buli omu n’akwata mu ka waliggo n’aggyo ensimbi n’agenda ateeka mu kibbo
ekyabadde kiteekeddwa mu maaso.
149. Okukwata omugemera wala – Kitegeeza kukwata mmundu.
Okugeza
Omukuumi wa bbanka twamuyiseeko ku ssaawa nga nnya ez’ekiro ng’akutte
omugemera wala era bwe yatulabye n’atyamu , awo ekyaddiridde kwe
kuwandagazaayo essasi mu bwengula ng’alowooza nti alumbiddwa ababbi. 150.
Okuleka omuntu esseke – Kitegeeza kubba muntu ne bamuleka nga talina
kantu konna (mu bbanga).
Okugeza
Mwami Kabugo abazigu baamuyingirira ne batwala buli kantu konna akaali mu nju
ye, era kyenkana baamuleka sseke kuba okuleka ssaatu ze ze yali yaakagula ; tewali
kantu kalala konna ke baalekamu.
151. Akataayi obutasala kkubo – Kitegeeza kintu kubaawo mangu.
Okugeza
Yeewerera okwokyera abantu mu nssiisira era akataayi tekaasala na kkubo
ng’ensiisira ya Pawulo etuntumuka.

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *