MUKONO EXAMINATIONS COUNCIL UACE LUGANDA (Amateeka n’enkozesa y’olulimi, Obuwangwa n’abawandiisi) Paper 1

MUKONO EXAMINATIONS COUNCIL UACE LUGANDA (Amateeka n’enkozesa y’olulimi,
Obuwangwa n’abawandiisi) Paper 1

MUKONO EXAMINATIONS COUNCIL
Uganda Advanced Certificate of Education
LUGANDA
(Amateeka n’enkozesa y’olulimi, Obuwangwa n’abawandiisi)
Paper 1
Essaawa 2 n’ekitundu

EBIGOBERERWA
 Olupapula luno lugabanyiziddwamu ebitundu bisatu A, B ne C.
 Ekitundu A kya buwaze.
 Mu kitundu B, kola nnamba 2, 3 ne 4. Oweereddwa eby’okulandako by’oyagala
okuddamu.
 Mu kitundu C ggyamu ekibuuzo kimu (1) ng’okironda ku bikuweereddwa.

1. a) Nnyonnyola amateeka g’empandiika y’Oluganda entongole agamenyeddwa mu
sentensi zino wammanya.

(Obubonero 5)

(i) Omwana aduse

(ii) Eddwaaliro likooya

(iii) Mbbadde naye olwaleero

(iv) Uliriza bye bakugamba

(v) Akaambe kaakano

b) Weeyambise nakasigirwa entabaluganda enkozi ne nakasiba okugatta emboozi zino.
(Obubonero 10)
(i) Ssaagala musajja oyo. Omusajja oyo yantama.

(ii) Tuligenda e Kyaggwe. Eyo gye tulinywera ku kabisi.

(iii) Omusomesa yatusomesa nnyo. Oyo naffe twamukoowa.

(iv) Empale eyo enkwata nnyo. Sijja kuddamu kujjambala.

(v) Akambe ke kasala nnyo. Kaggyeewo.

c) Ebikolwa ebiweereddwa bikozese mu sentensi nga bikoze nga ebiyambi.
(Obubonero 5)

(i) genda

(ii) va

(iii) sooka

(iv) ja

(v) yinza

d) Saza ku nnyingo y’erinnya mu sentensi ezikuwereeddwa.
(Obubonero 2)

(i) Omusajja adduse

(ii) Ekikopo kyatise

e) Emiwendo egikuweereddwa giwandiike mu bigambo.

(Obubonero 2)

(i) 0.01

(ii) 10021

f) Jjuza mu mabanga agalekeddwa nga weeyambisa nnakafuula entuufu. (Obubonero 2)

(i) Mu kifo ky’okuddamu, obwedda ali mu kuwuuna buwuunyi be ……..

(ii) Bwe baamaze okwekweka ne basirika be …………

g) Ddamu okutulekutule mu bigambo ebikuweereddwa obutundutundu obulina
amakulu mu ggulaama.

(0bubonero 2)

(i) batta

(ii) twadduka

h) Wandiika ebigambo ebikontana n’ebikuweereddwa .

(Obubonero 2)

(i) Okusimba

(ii) Okutunula

EKITUNDU B
Kola nnamba 2, 3 ne 4 ng’ogoberera ebikuweereddwa
2. a) Nnyonnyola emigaso gy’okwabya olumbe mu buwangwa bw’Abaganda.
(Obubonero 20)
b) (i) Omujjwa y’ani?

(Obubonero 2)
(ii) Nnyonnyola bulungi obukulu bw’omujjwa mu buwangwa bw’Abaganda.
(Obubonero 18)

Kola 3(a) ne 3 (b)
3. a) Ku bisoko ebikuweereddwa londako bina (4) onnyonnyole ennono yaabyo.
(Obubonero 8)

(i) Okukola ekintu ne Mukeerere n’amwenya.

(ii) Okwenkanankana Bbuzu ne mpumu.

(iii) Okuba kakejje nantabula ku mbaga

(iv) Okutema ku lwe Namuganga

(v) Okuba ow’e Namataba.
b) Ebisoko ebikuweereddwa bikozese mu mboozi eziggyayo obulungi amakulu gaabyo.

(Obubonero 06)

(i) Ebigere okutunda omuntu

(ii) Okukabubako ne kaalaala

(iii) Okugenda ku nsowera

Kola 4(a) ne 4 (b)
4. a) Maliriza engero ezikuweereddwa nga bwe zoogerebwa.

(Obubonero 06)

(i) Ganyegenya ………………………….

(ii) …………………………..bukaliriza omuwanda

(iii) Balikugwa …………………………………..
b) Wa ebyokuyiga ebiri mu ngero zino wammanga.

(Obubonero 10)

(i) Ennindiriza yamezza Ssemitego.

(ii) Akwatulira akira akugeya.

(iii) Omuggo oguli ewa munno tegugoba ngo.

(iv) Ojjanga n’olya, y’akuyita lubunamiryango.

(v) Lukka enyanja, teruleka nkanga.

EKITUNDU C
Ddamu ekibuuzo kimu okuva mu kitundu kino ng’okiggya mu nnamba 5, 6 oba 7.
Kola 5(a) oba (b)
5. a) Kaswa yeeyolese atya ng’ayagala ebyobuwangwa by’eggwanga lye Buganda ng’ayita
mu bitabo bye.

(Obubonero 20)
Oba
b) Kaswa atunnyonnyola atya ku bino wammanga mu kamu ku butabo bwe?

(i) Obuwangwa bw’enswa.

(Obubonero 10)

(ii) Abalabe b’enswa.

(Obubonero 10)

Kola 6 (a) oba 6 (b)
6. a) Busuulwa y’omu ku balafuubanye mu kuzza Buganda ku ntikko. Wagira endowooza
eno.

(Obubonero 20)
Oba

b) Olugero lwa Gattimpa lukoze ng’ekyagi kya Busuulwa eky’obyobuwangwa. Kakasa
kino.

(Obubonero 20)

7. a) Matovu yeeyolese atya nga bwali omuntu w’abantu.

(Obubonero 20)
Oba
b) Matovu alaze bulungi nga bwamanyi ebigenda mu maaso mu nsi ye ngayita mu katabo
ke Eddaame lya nsimbi. Ttaanya endowooza eno.

(Obubonero 20)

Bikomye wano –

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *