KAMSSA JOINT MOCK EXAMINATIONS
LUGANDA
(Okukyusa, Emboozi, Okusoma bwiino n’okufunza)
Olupapula Olwokubiri
Essaawa Ssatu
EBIGOBERERWA:
•Olupapula luno lugabanyiziddwamu ebitundu bina: A, B,C ne d
•Ebitundu A,Cne D bya buwaze.
•Mu kitundu B oweereddwa eby’okulondako by’oyagala okuddamu.
•Fuba oddemu nga bwolagiddwa mu buli kitundu
© 2022 Kampala Integrated Secondary Schools’ Examinations Bureau
Turn Over 1
EKITUNDU A
1(a) kyusa ekitundu kino okizze mu Luganda.
(Obubonero 15)
The Kikuyu highly valued the practice of men marrying many wives in that they saw the
Christian approach to marriage as completely unacceptable. Many reasons were presented to
support this marriage custom.
When a man married several wives it was an indication that he was prosperous. He would have
to possess plenty of land, numerous cattle, goats and sheep before he would be considered to
‘buy’ many wives. There was an idea too, that a wealthy man should have plenty of children so
that they could manage all his property when he died. Many wives were needed to bear and
bring up such children.
Epidemics were frequent occurrences amongst the traditional Kikuyu and whole families were
known to have been destroyed by these calamities. So the idea of having a big family had its
2
logic-there was more chance that somebody would remain in a family of many wives and many
children to continue the family tree.
When a man married several wives and finally discovered that he could not give them children,
he would marry a divorced mother in the end who would bring her children into his home. They
became his children and everyone else in that home tried to live as if they all one family.
(EXTRACTED FROM :AN AFRICAN PASTOR BY E.N WANYIKE)
(b)
Kyusa ekitundu kino okizze mu luzungu.
(Obubonero 15)
Obwo bwonna obujjulizi nabwebagajja ne mbutwala mu boobuyinza.Olwo kyali kirabika nti
omusango ngufumbiikirizza.Harriss yyanjozayoza bya nsusso ng’alaba mmukoledde ku
musango ogwali gujja okumumala obwoya ku ntumbwe.So ate nze nga ngumalidde mu nnaku
Ssatu zokka.Abantu bangi bankulisa nga bagamba nti “Owonye omusanga ogwo kubanga ffe
twali tugusiba ku ggwe”Abalala bampa n’ebirabo
Omulimu gwe nali nsigazza kwe kutegeka mu buwandiike ebyo byonna bye nali enda
okukwasa abalamuzi.Ate n’ekirala kwe kwozesa ebifaananyi bye nakuba n’okubizimbulukusa
biryoke biyambe mu bujulizi.Eky’omikisa Lugaba yankwtirako byonna ne birama,so nga
byakubibwanga kiro.Naye ebyo byonna nga sinnabikola nzijukira ekyobeera ekyankwata ku
lunaku Olwokusatu nga ndi ewa taata.
Olwatuuka awo bwe nti nga naakava eri ewa kikukuya ne bampa emmere.Nagiryako kitono nga
muli ennaku eyagala kunzite.Olubega nalyako lumu ne enda neebaka.Bwenatuukayo mu
buliri nabulwa yadde empeke y’otulo mu liiso.Ne mbeera omwo mu bikunta nga
nkulungutana.Najjukira engeri gye nasanga Lukido ku tttale nga yaakabebbera okugenda
ezzirakumwa.okwo ne ngattako n’okujjukira engeri omusinde gw’emmundu gye gwabuukula
ate ne guwawaala.
(Bisimbuddwa mu kikonyogo aka C.G.Kiwanuka Musisi)
EKITUNDU B
Kola 2(a) oba 2(b)
2.
(a) Ku mitwe egikuweereddwa wammanga londako gumu oguwandiikeko emboozi ya
bigambo 300-400.
(obubonero 30)
(i) Ekyalo kyajjula ekiyongobero.
(ii) Abatuusa ebbugga beerabira embooge.
(iii) Enkola ya kyegabira emmere (self service) ku mikolo esaanidde okuwerwa.
Kubaganya ebirowoozo.
(iv) Obugunjufu bw’omuganda mu kukuuma omukwano.
OBA
(b) Ku mitwe gino wammanga londako ebiri buli gumu oguwandiikeko nga
bw’olagiddwa.
(obubonero 15)
3
(i)
Wandiikira mukwano gwo abeera mu Ethiopia ebbaluwa mu Luganda ng’omuttottolera
ebirungi ebiri mu muzannyo gw’ebika bya baganda.
(Ebigambo 150)
(ii)
Ggwe Ssentebe w’olukiiko olwakwasibwa omulimu gw’okunoonyereza ku nsonga
ez’enjawulo ezivaako obutabanguko mu maka mu Yuganda yattu ensangi zino:
Wandiika alipoota ekwata ku ebyo bye mwazuula n’olukiiko lwo.
(Ebigambo 150-200)
(iii)
Wandiika omuko mu mawulire ng’olabula bavubuka banno akabi akayinza okubaviira
mu kwetaba mu nsonga z’okwegatta nga bakyali bato.
(Ebigambo 150-200)
(iv)
Ggwe wakiikirira bazadde ba Mwana Muwala Nabiddo ng’agenda mu ddya. Wandiika
ebigambo by’onaayogera ku mukolo gw’embaga yaabwe ng’osibirira
Nakakaawa entanda ku bbaawe basobole okusiimira n’okweyagalira mu bufumbo
bwabwe.
(Ebigambo 150-200)
.
(b) Soma ekitundu kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.
(obubonero 20)
OBULAMU BWA MUTEESA MU BUWAŊŊANGUSE:
Ssekabaka Muteesa II bwe yali mu Bungereza yasooka kusula mu Kalina ey’amatendo nga
eriraanye White hall ekiseera kyatuuka ne yeekengera nga obulamu bwe alaba tebulina
bukuumi bumala nga era Obote n’Abaganda abaali banywanyibe, bamulondoola
bamuttireyo kwe kusalawo okweyongerayo mu kifo Basingtoke mu nnyumba amakula
mu kifo ekisirifu ng’avaayo kugenda ku ssomero lya Mutabani we Tonnie Mutebi e Kings
Mead Public School e Sussex. Oluvannyuma yamutwala mu Bradfied lye yalimu nga
Omuddugavu yekka.
Nazaannya nga naye ku mupiira, cricket ne squash nga bali ne mikwano gya mutabani
we gattako n’okumubuulirira ku bizibu ebyali bimutta n’okwemala ettuula wamu
n’ekiwuubaalo nga era tagwa kuyimba mu kkanisa buli lwa Sande.
Yawandiika ekitabo ekiramba ekikwata ku bulamu bwe n’obwakabaka bwe (Desecration
of Kingdom) ekivvuunulwa nti, “Okuvvoola Obwakabaka bwange” nga era tannakisa
mukono yali amaze n’okuwandiika enjatula y’ennyimba zomu kkanisa naye kyali
tekinnafulumizibwa.
Kigambibwa nti yaterange n’okukola emirimu egy’okulabirira bannamukadde
ng’abayamba mu kino na kiri afune ku nsimbi n’okubaako ky’akola.
Nga Bungereza egaanyi okumuwa ku nsimbi ng’asonderwa mikwano gye egyamuli ku
lusegere. Abantu be baagendanga omulabako n’okumusanyusaamu nga era eyo gye
yabategeerezanga entakera nti luliba lumu n’adda ku butaka mu abo abaamulambulanga
mwe mwali mukyala Sugra Visram Namubiru omuyindi nfa nfe we ne mutowe
Omulangira H. Henry Kimera.
4
Bangi mikwano gye bannamagye b’e Bungereza aba Granadiei Gurards be yasoma nabo
baamuyamba nnyo mu biseera eby’obuwejje nga era bamusaba addeyo mu magye e
Bugereza kuba yali muzira ate omujjukizi ennyo n’akigaana.
Abantu bangi nnyo baamukyaliranga n’okumuyamba okumukolera ku mirimu
n’ekumunyumiza ku mboozi ne bye balaba mu kibuga London n’ebyo bye bawuliza
okuva mu nsi y’e Yuganda. Obote n’abasajja be abakessi baagezaako nnyo okukola
kyonna ekisoboka okulaba nga bamukaluubiririza obulamu; waakiri bamutemule aleme
kudda mu nsi ya boobwe nga anti abaganda bangi gwe bafiirako era nga yeezira
kukumanya nti, oyo akukuta ne Muteesa nga amuttirawo oba kumuggalira mukkomera.
Nnakitegeerako nti Ssekabaka Muteesa II yalina enteekateeka ze zino tebaazimuganya.
Abaganda abatono bakalinkwe olwabitegeera ne babigamba Obote ne basala magezi
agamutta mubwangu. Waaliwo n’omwami omu ow’e Wandegeya eyali omututumufu mu
kitundu yatuuka n’okuziika omwana we owoobulenzi nga mulamu Obote asobole
okuwangula olu talo n’okwenywereza mu buyinza kale bakalinkwe tukyabalina mu
Buganda nammwe mu bamanyi. Ye ate bali ba Jjaasi abaasala ebbujje ery’emyaka esatu
mu maaso ga Musolooza oluvannyuma ne baliziika nga balibisseeko ekibbo ku mutwe
Obote asobole okuwangula.
Waliwo n’eyali mukwano gwe Hajj eyalina ente ze mu bitundu by’e Mubende Muteesa
bwe yalaba ng’ali bubi mu by’ensimbi kwe kumut umiza amutundireko ezimu
amuweereze ku nsimbi oli yamweddiramu nti Obote yazirya ate ng’alimba n’akati
akyazirina omusajja wa UPC OYO, kati mukulu mu bufuzi bwaffe buno obw’ennono
tyanga abantu.
Ebibuuzo
(i) Nnyonnyola ebintu eby’enjawulo Muteesa bye yakolanga ng’ali mu
buwaŋŋanguse.
(obubonero 06)
(ii) Leetayo ebintu eby’enjawulo abantu abaateranga okukyalira Muteesa ng’ali mu
buwaŋŋanguse bye baamugamba.
(obubonero 04)
(iii) Nnyonnyola ebintu eby’enjawulo Obote ne basajja be bye baakola okulumya
Muteesa ng’ali mu buwaŋŋanguse.
(obubonero 04)
(iv) Menyayo ebikolobero eby’enjawulo bibiri abaganda bakalinkwe bye baakola
Obote asobole okwenywereza mubuyinza n’okuwangaala.
(obubonero 02)
(v) Nnyonnyola amakulu agali mu buli kigambo nga bwe bikozeseddwa mu kitundu
ky’osomye.
(i) Ensi ya boobwe
(ii) Ebbujje
5
(iii) Nfaanfe
(iv) entakera
(obubonero 04)
EKITUNDU D
4.
Funza ekitundu kino mu bigambo nga 120.
(obubonero 20)
Nagenda nkiiba ennimiro,nga bwe neekengera okutuusa lwe natuukira ddala ewa
Waddanga.olwokubanga nali sirina we nnyinza kwekisa neewaayo ne ntebenkerera ddala
mu luggya nga ninga agenda okugenyiwa.Nali naatera okutuuka ku nju ne ntandika
okukowoola.Nalaba tewali ampuuna eby’okuyita ne mbivaako,ne ntandika okulingiriza
n’okwekkaanya buli kimu ekyali awo mu luggya.
Awo mu luggya wakati waaliwo emikululo gye mmotoka entono.gyali gifaanana
ng’egyalekebwawo mu kiro ekyali kyakayita,kubanga tegyalimu yadde ekiigere
ekirinnyiddwamu.Nagirondoola
ndabe
gye
gyali
giraga.Bwe
gyagguka
mu
bulungibwansi ne gimenya ne gidda ku ludda lwe Kampala.kwe kugamba nti gikwata
liraga eri ku nnyanja.kino kyali kyangu okuzuula kubanga mu kkubo omwo mwali
temutera kuyita mmotoka.Egyo nno ne ngireka ne nzirayo emabega neetegereze ebintu
ebirala.
Enju ya Waddanga yali ya mabaati ate ng’ebisenge bya ttaka n’emmuli Amadirisa
wewaawo gaali tegannawangibwamu ,naye byo ebituli byago byali birekeddwawo nga
bakuba obudongo.Mu bituli omwo mwali musembekeddwamu essanja,kyokka nga
lyonna liragaya.Oluggi lw’ennyumba eno lwali lwa bibo ebitaakwatagana bulungi ne
binnaabyo.
Bwe nayisa amaaso mu myagaanya gy’ebibo ne ndyoka ndaba ebyali mu nda.Eno ku
ludda olw’ekisenge ekya bbugwe,okuliraana oluggi olufuluma,we waali olubaawo
oluwanvu olwenkana n’ezituulibwako mu masomero.Mu ddumbiizi we waali akameeza
akatono ,ate ku ludda olwa ddyo ng’otunuulidde eennyumba ye yali akakeeka n’eddiba
ebiddugavu.mu mulyango oguyingira eri mu lukuubo,oguva eno mu ddiiro,mwali temuli
luggi,wabula nga mutimbiddwamu akagoye aka kipaapaali.Ebintu ebirala ebyali mu nju
saasobola kubiraba olw’akazikiza akaali kawerakoEbyo bye nalabako bye byamala ne
nzira ku byali ebweru “Nnyama ntono,okaayana eri mu nkwawa”mba kwekunya
nnannyinimu n’ansanga osanga ebirala sandibirabye.
Awo ku lubalaza we waali eryato lugogoma eritaalimu kintu kyonna okuggyako
ekitentegere ekyali kisuuliddwamu.Waggulu ku nju,na wansi we wali eryato,ye yali
oluseregende lw’ebita.Byali bisimbye lwa kasota ng’oluzzi lw’ekisasi bwe
lugenda,ensonda ye nju nga bw’eweta,nabyo bwe byagendera ddala okutuuka
emmanju.Wano nno natandika okwewuunya ebita ebyo byonna omulimu gwabyo;aaaa
Waddanga erinnya lye lyamutuuka,kale omwenge gwe yayiisana mu bita ebyo
yagutwalanga wa?Anti yanywanga munywe.
Nagenda mbalaamiriza ku lusebenju nga bw mbala ebita ebyo mmanye obungi
bwabyo.Nali mpeta bwenti ku nsonda ey’emmanju ne ndaba omuntu eyali atudde ku
6
mugogo
ng’ayota
akasendabazaana.Eno
eyali
ennyumba
yali
akubyeyo
amabega,ng’ataddeko olugoye .olw’obutayagala kweyonoonera ntegeka yange,saalinda
kumwetegereza kusinga awo,si kulwa nga andaba.okuva awo natambula buggererggere.
Bwe natuuka mu luggya emisinde ne giddi ana.Pirya,pirya,pirya,pirya,ekiwummulo
ku muluka.Nasanga owoomuluka ali awo mu luggya anuusa bugolo nga bw’akuba
emyasi egy’okumukumu.yasanyukanga nnyo buli lwe yandabangako.Kubanga
yamanyanga nti nnina eby’okumseetulira.Mange saamulumyanga era nga nga
mmumalirayo buli kye nalabanga nga kisaanidde okumubuulira.Bwe amba bwentyo
sigamba nambuuliranga buli kimu.waliwo bye nalabanga nga bya kyama.
BIKOMYE WANO
Leave a Reply