JINJA JOINT EXAMINATIONS BAORD UCE LUGANDA LITULICA
W’OLUGANDA ESSAAWA SSATU
UGANDA ADVANCED CERTIFICATE OF EDUCATION
LUGANDA
DECEMBER 2020
LITULICA W’OLUGANDA
OLUPAPPULA OLWOKUSATU
ESSAAWA SSATU
EBIGOBERERWA:
–
Olupappula luno lugabanyiziddwamu ebitundu bisatu A, B ne C.
–
Mu kitundu A kolamu ekibuuzo kimu.
–
Mu kitundu B kolamu ebibuuzo bibiri (2), ekimu okuva mu puloozi, n’ekirala
kimu okuva mu bitontome.
–
Mu kitundu C kolamu ekibuuzo kimu.
EKITUNDU A
Ddamu ekibuuzo kimu kyokka ng’okiggya mu nnamba 1,2,3 oba
4
NKATA MUSA MUTYABA: AGAMYUKA OMUTEZI
1. “Abakazi muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira
Omukama……”
(i) Ani ayogera Ebigambo ebyo?
(obubonero 02)
(ii) Bisimbuddwa mu ssuula ki mu lugero?
(obubonero 02)
(iii) Bubaka ki ayogera Ebigambo ebyo bw’alabika okuba nga
atuusa eri abafumbo?
(obubonero 15)
(iv) Ayogera Ebigambo ebyo azimbiddwa atya?
(obubonero 05)
2. Eby’obuwangwa Nkata Musa abitadde ku kifo kya ku mwanjo
nnyo mu lugero lwe, nnyonnyola eby’obuwangwa ebyenjawulo
by’atuwandiikirako.
(obubonero 25)
SSEMWANGA KIVUMBI: GW’OLULAMBUZA
3. Buli asoma ku Gw’olulambuza asigala atendereza omuwandiisi
waalwo olw’obunyuvu obulimu. Kino Ssemwanga Kivumbi
akikola atya?
(Obubonero 25)
4. “Woowe nnyabo omwana abinzalidde, nnyabo anzaala gwe
ssaalabako nze omunaku nnadda wa nnakunkunyedda waabwe
ng’ensowera y’okumugugu….”
(i) Ebigambo ebyo bisimbuddwa mu ssuula ki ey’olugero?
(akabonero 01)
(ii) Ani abyogera?
(akabonero 01)
(iii)
Mwana ki ayogerwako eyali abizaalidde omwogezi?
(akabonero 01)
(iv)
Mu bimpimpi, nnyonnyola ebigwawo mu ssuula eyo
ebituusa omwogezi okwogera ebigambo ebyo,
(obubonero 12)
(v) Biki ebyaddirira oluvannyuma?
(obubonero 10)
EKITUNDU B
Ddamu ekibuuzo kya puloozi n’ekirala kmu okuva mu
bitontome.
5. Soma Ekitundu kino oddemu ebibuuzo:-
Omuntu buli lw’akula akyuka mu bintu bingi era ddala
obukulu buwoomya ttooke naye ku muntu kakulu asomba.
Akasusu akaali akaaliri ne kifuuka ekikapappwa nga gy’obeera
nti kikere lwonna ne lujjula enkanyanya ng’olususu bw’ogezaako
okulusika lulinga zino zebakubisa obunyonyi mu kunaanuuka.
Omuntu yenna eyali yeerolera ayinza okulowooza nti ali
mukulira! Haa………ataakulaba!
Okimanyi nti abamu amaaso gaabazimba ne babeera nga be
basula bafuntula musosola ndaggu, ate agamu ne gakyuka
okukira amabwa nga gyobeera nti bagayiridde mmula. Olwo ku
mutwe ezaali enviiri ezasaalizanga abalabi ezaali empanvu
kagongolo nga kati bw’ozitumulako oyinza okugamba nti
yeesizeemu ekyovu kya ssabuuni nga n’okuzisanirira ekisanirizo
kikuliita nazo olwo omutwe negubeera nga embwa gwe
kombyemu.
Omuntu eyeesibanga n’awogola nayimirizanga n’abayise naye
nga kati engoye ku mubiri ziddukako mudduke tezitereerako
neziba nga ezayombye n’omubiri zonna nga zikunnukidde
ng’ekyayi einaayiwa obugolo. Yenna mukazi wattu eyatambula
nga yeeyagala bweyagazi naye kati akikijjana bukikijjanyi
amagulu buli lw’agasimba gatulika butulisi nga gyobeera nti
musiikirwamu biberenge. Bambi yenna n’abeera nga gwe
basibyeko amasibe nga bano aeesibako obuyungo.
Leero bwe gutuuka ku mannyo gaffe agali gatukula
ng’entembo mu kugasenya nga kati bw’ogatunulako oyinza
okulowooza nti nago gawagira gavumenti eno eriko! Olwo nno
alina ago yeesiimye naye nnyabo waliwo ate abatalina wadde
erigaaya, ekibumba, nga bwayogera bambi n’olaba bwafunta
obufunsi ng’ekkovu erirya akatiko! Mukazi wattu eyali amwenya
nga toyagala amale nga kati bw’akikola weekanga odduse, leero
bwe kituuka ku kuseka nga gy’obeera nti ekkookootezi lye
lisindogomera emmanju w’ennyumba!
Eryali ettutu eryasunsumaliranga ku kifuba, ng’abasajja
okulitunulako bamira mangota nga n’akaleega lijjula kukafumita
liyitemu nga lyonna lyekalakaasa nnyini, nga kati nnyabo wange
ng’akuŋŋanye likuŋŋaanye ayoola liyoole okulissa mu kaleega
ssaako n’okussaamu bippamba liyimukemu waakiri bategeerere
okwo nti eyeesibye ggomesi mukazi.
Mukazi wattu eyali alina akabina ke yatambuzanga nga
katolotooma. Ke balinnyako ne bawanula n’amenvu ku kibanyi
era akaayimirizanga abayise ssaako n’okusuulanga
bamusambampale ennume z’ebigwo nga bavuga bumaanyi,
gaakifumba, nga kati bw’otunula eyali entuumu y’akabina nga
kati muserebende gyobeera nti “landa” yeemuyiseeko ne
kaggwaako, ssinakindi empisi okumukuba oluyi!
Eyali awenyuka nga akaweewo nga kati n’ekibaata
takyasobola kukigoba ne batuuka okumuliisa obuliisa
n’okumunaaza ng’omwana omuto! Gwe ate emmere
okugimugottera. Bwe kituuka ku kukyuka atunule emabega nga
gy’obeera nti lukululana y’ekyuka. Oluusi agayimirira gamubula
olwo n’asalawo okwavula. Kaakati olwo enjawulo n’owebibungu
eba ludda wa?
EBIBUUZO:
a) Muntu ki ayogerwako mu mboozi eyo gy’owulidde? Era
wandigiwadde mutwe ki?
(obubonero 02)
b) Nnyonnyola ebifaananyi ebyenjawulo omuntu byatukubidde
mu mboozi eno.
(obubonero 06)
c) Lambulula omusono gw’olulimi ngabwe gweyambisiddwa
omumyumya.
(obubonero 06)
d) Nnyonnyola ku musono omunyumya gwakozesezza okufuula
emboozi ye ennyuvu.
(obubonero 06)
e) Leeta amakulu g’ebigambo bino nga bwe byeyambisiddwa mu
mboozi gyosomye:-
(i) Musosola ndaggu
(ii) Kikuliita
(iii) Entembo
(iv) Bamusambampale
(v) Okugulu okwokusatu
EBITONTOME
Ddamu ekibuuzo kimu kyokka ng’okiggya mu nnamba 6,7,8 ne
9.
6. H.B. Ssematimba: Abooluganda Ab’enda Emu.
Soma ekitontome kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku
nkomerero yakkyo.
OMULEEBESI 1983
Akeera nnyo n’asitama
Mu kalyango mw’abeera
N’ayayuuya n’akamala
Era talina kye yeekolera
Wabula okuleebeeta
Ng’asuubira obukunkumuka
Ng’embwa wansi w’emmeeza!
Bw’alaba oyo eyeekozesa
Eyaziggya mu ntuuyo
Olwo nno yeekonga
N’akuba pulaani eneemunyaga
Era ayanguwa mangu nnyo
N’amuyozaayoza emirimu.
Ne yeesesaasesa obuseko
Obw’obukuusa obw’embaliga
Mbu omukwano gwanguweko
Alabe ky’amukwakkulako
Bw’afuna ow’emmundu
Olwo ne yeekola ekigenyi
N’amuwaana n’akamala
Era y’amutwala mu bbaala
N’amuwagira anywe bunywi
N’omwenge gw’ataguze
N’amuserengesa ebyalo
Era y’amusangula entuuyo
Kumpi kumusangula minyira!
Y’amulaga ow’ensimbi
N’oyo bwe baayombye
Mbu be bayeekera fuluku!
Ensi yonna n’edaaga
Nga bakola ebya mbyone
N’okuleetawo vvulugu.
Naye ggwe ssebo omuleebeesi
Biki ebyo by’oganyulwa
Mu muvuyo gw’oleeta
Obwa Yuda bw’okola bwaki
Yadde ensimbi ziwoomerera
Ze zikusingira ensi yo
N’abooluganda ab’endayo?!!!!
Ebibuuzo:
(i) Ekitontome kino kisengekeddwa kitya?
(obubonero 6)
(ii) Obukugu bw’omutontomi bweyolese butya? (obubonero 8)
(iii) Omutontomi aggyeeyo atya omulamwa gw’ayogerako?
(obubonero 5)
(iv) Londayo ennyiriri bbiri ezooleka engeri omuntu ayogerwako
gye yeegonzaamu.
(obubonero 2)
(v) Nnyonnyola amakulu g’ebigambo bino nga bwebikozeseddwa
mu kitontome kino
Fuluku
Mbyone
Vvulungu
Obwa Yuda
OBA
7. Ssematimba ayolese atya abasomi be nti ddala ategeera olulimi
Oluganda.
(obubonero 25)
8. Kizza Mukasa; OMULYA MMERE KKOYI
Soma ekitontome kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku
nkomerero yakkyo.
ABAWEERERA TULABYE
Abazadde tuli mu nnaku,
Tubasaala mube balamu,
Tubatwala ku masomero,
Kuba okusoma lye kkula,
Twefiiriza zino empiiya,
Tubaweerere musome.
Bw’obeera okyaweererwa,
Tofaayo ku bulamu bwo,
Buli wonna w’ogendako,
Ggw’obasaba nnusu ezo.
Nti muzimpe bannange,
Beppo bamungoba enkeera.
Baddamu nti tuula awo,
Ozirinde olw’enkeera.
Weekubagiza onyiiga,
Nti zo nkolewo zadda?
Mutusaasire abayiga,
Nkato kwe tutudde ffe.
K’ozeekuula n’ozomuwa,
Ku ssomero tatuuseeyo,
Bw’akuyamba n’atuuka,
Eddalu eryo n’asitula,
Erikuba amayinja gali,
N’erirya ebitajjuddwa!
Abo abasomesa abawemu,
Nabo nno batukeese nnyo,
Badda ku baweererwa baffe,
Nga babatigaatiga amagalo!
Bannakigwanyizi mbuuza,
Mwaggya wa gano amaddu?
Basomesa abamu nammwe,
Bbula zo muzitutimba nnyo
Nti Nnunda oyo munnaffe
Ajja kusoma ayanaamirize!
Bubonero bwe bw’otulaga,
Ng’ate wabuweesa luli?
Ffe abaweerea nga tulabye,
Twevuma ddala ozzaalwa.
N’abatannazaala baaboffe,
Twabinikibwa dda agazito,
Aga buto baffe enfaafa,
Bugenda bubinuka obukula!
Be tuweerera nammwe nno,
Mufune ku nsonyi eŋŋanda,
Mweddeko ddala amazima,
Okwagala ebiwedde bino,
Kujja kubasuula awazibu,
Mugatukaabye ga nsusso!.
EBIBUUZO:
(i) Ani ayogera mu kitontome kino era agamba ani (obubonero 2)
(ii) Omutontomi yeegazannyirizza atya mu musono gw’olulimi?
(obubonero 4)
(iii) Omuwandiisi afubye atya okulaba nti ekitontome kino
kinyumira amatu?
(obubonero 12)
(iv)
Amakulu agali mu mutwe gw’ekitontome kino omuwandiisi
agaggyeeyo na byakulabirako ki?
(obubonero 5)
(v)
Nnyonnyola amakulu g’ebigambo bino:-
Ebitajjuddwa
Babatigaatiga
(obubonero 2)
OBA
9. Omulyammere omulungi omuwandiisi amwogerako atya?
(obubonero 25)
EKITUNDU C: EMIZANNYO
Ddamu ekibuuzo kimu kyokka ng’okiggya mu nnamba 10,
11, 12 oba 13.
MERCY MIREMBE NTANGARE: SSEMITEGO OMUYIZZI
KKUNGWA
10. “Ebiseera ebyo byonna Abantu abatali bamu nga bakola
emisana n’ekiro okulaba nti Ssemitego avaamu nga ali ku
mutindo ogwa waggulu ennyo”. Omutindo ogwagerwako mu
muzannyo Ssemitego guzimbiddwa na bintu ki?
(obubonero 25)
11. “Woo! Zikusanze musajjawattu. Akattu k’olimu tokyasobola
kukavaamu. Obudde bwakuyitako dda!”
(a)
Baani aboogeraganya mu mboozi eyo?
(obubonero 5)
(b)
Akattu omugambibwa k’alimu ke kaliwa mu muzannyo?
(obubonero 20)
WAALABYEKI MAGOBA: NNAMULANDA
12. “Kale vva, ogwo musota ate nga bajjajja baakulabula dda nti
akabi kaliva gy’li ng’otta omukago n’omusota”.
(a)
Laga Abantu abali mu mboozi eyo n’ekitundu
mw’esimbuddwa
(obubonero 4)
(b)
Ekitundu ekyo kirina bubaka ki eri abasomi b’omuzannyo?
(obubonero 11)
(c)
Obusota buzimbiddwa butya mu batonde ba Waalabyeki
Magaba mu muzannyo Namulanda?
(obubonero 10)
13. Omuzannyo guno gw’anika omulugube, enkwe n’obulimba
obwali busenkenyezza Abantu ba kaco ako. Ebiri mu muzannyo
bitwoleka bitya kino?
(obubonero 25)
Leave a Reply