S2 LUGANDA EXAM MERRYLAND HIGH SCHOOL – ENTEBBE (2)

MERRYLAND HIGH SCHOOL – ENTEBBE
LUGANDA
S.2

DDAMU EBIBUUZO BYOONA.
1.
Mumabanga agalekeddwa jjuzaamu nakataba (conjunction) entuufu.
a) Ssaasomye …………………nabadde mulwadde
b) Taata yandese …………….. ate nga maama yabadde amugaanye.
c) Tuligenda ffena ……………… nze nnina okubalaga yo.
d) Twala ekidomola kino …………………….. bbinika
e) Yankubye ……………….. saakaabye.

2.
Jjuza nakongezalinnya (Adjective) entuukira awalekeddwa gy’okozesezza togiddamu.
a) Ente eyo ……………………..
b) Omwana …………………….
c) Taata asoma ekitabo …………………………
d) Yawasa omukazi ………………………………
e) Omuti guli ……………………………..

3.
Wandiika ennukuta za Walifu ezitatandika kigambo kyonna mu luganda.

4.
Wandiika ennukuta za Walifu ezitaggumira mu mpandiika y’oluganda.

5.
Ebikuweereddwa biwandiike mubungi (Plural)

Ente …………………

Ettaka ……………….

Ekitabo ………………

Ssente ……………….

Omuliro ……………..

Omupiira ……………

Ejjuuni ……………..

Lumonde …………..

6.
Wandiikira mukwano gwo ebbaluwa ng’omunyonnyola engeri gy’alina okwewalamu obulwadde
bwa COVD19 mu nsangi zino. (1 page).

7.
Wandiika obubonero bw’oluganda (punctuation marks) mukaaga (6). Buli kamu keeyambise
n’ekyokulabirako kya sentensi.

8.
Ddamu owandiike ebigambo bino mu luganda olutuufu.

Omwaana

Edwalilo

Esawa

Omurwade

Teleela nawe

Omutandda

Katikilo

Okusaga

Omukiala

Mamaa.

9. Wandiika ebiseera (Tenses) by’oluganda byonna.

10. Wandiika ebikolwa (verbs) 10.

BIKOMWE AWO.

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *