NNAKASIGIRWA (PRONOUNS)

NNAKASIGIRWA (PRONOUNS)
Nnakasigirwa ky’ekigambo ekisigira oba ekiyimirirawo ku bw’erinnya ly’omuntu oba ekintu
okugeza ffe. Mmwe ggwe, nze, mu, ba, ye, ku, bo Weetegereze ekigambo Nakasigirwa kiva
mu kusigira ekitegeeza nti wabeerawo omulala addidde munne mu bigere
EBIKA BYA NNAKASIGIRWA
Mu luganda tulinamu Nakasigirwa ez’enjawulo era nga ze zino
I.
Ezoobuntu (personal pronouns)
II.
Ezoobwannannyini (possessive pronons)
III.
Endazi (demonstrative pronouns)
IV.
Embuuzi (interrogative pronouns)
V.
Entabaluganda (relative pronouns)
Ezoobuntu (personal pronouns)
Zino ziyimirirawo ku bw’omuntu era nga zaawulwamu ebika bina (4)
a) Nnakasigirwa ezoobuntu ezeemala
Zino bwe ziba nga zikozeseddwa mu mboozi zibeera nga ziyimirirawo ku bwazo era zisobola
okuwa amakulu ne bwe zibeera mu mboozi oba sentensi okugeza bo, mmwe, ffe,
• Eby’okulabirako

Ggwe watuyise ne tuva ku byetukola.

Singa teyabadde ye kutuvuma, tetwandimukubye.

Nze nnamugambye abireete wano.
b) Nakasigirwa ezoobuntu eziteemala
Mu luganda tulinamu Nakasigirwa Zino tezisobola kuyimirirawo zokka okuggyako nga
zikozeseddwa mu mboozi oba sentensi okugeza a-, o-, ku-, mu-, -n-, -ku-
Nakasigirwa zino eziteemala zaawulwamu emirundi ebiri
i.
Enkozi: zino zibeera ziraga omuntu akola (subject ) ekikolwa era ze zino
Eby’okulabirako

Ndya emmere ewooma

Oyagala kutukola ki mwana wattu? ❖ Nayiga ayimba bulungi nnyo.

Tumulabye ng’ava ku luzzi. ❖ Abaana babatutte nga bali bubi. ii. Ezikolebwako:
zino ziraga omuntu abeera akolebwako ekikolwa (object) era ze zino;
Eby’okulabirako

Babakubye nga baluddeyo ebweru.

Amutuze era n’afiirawo.

Yatugulira ebirabo bingi bwe twayita ebibuuzo. ▪ Ggwe onkubye olweyo mu mutwe.
Nnakasigirwa ezoobwannannyini(possessive pronouns)
Zino zibeera ziraga omuntu alina obuyinza ku kintu okugeza –ange, -affe, -o, -e, -abwe,
-ammwe.

Asooka (1st person)
-ange

-affe
Owookubiri (2nd person)
-o

-ammwe
Owookusatu (3rd person)
-e

-abwe
Eby’okulabirako
Genda ondeetere ensawo yange yokka Mugambe akuwe ku yiye owandiiseeko Amaato ago
gaabwe gonna.
Twabadde tumuwadde ku byaffe naye teyabizzizza.
Nnakasigirwa endazi(demonstrative pronouns)
Zino zikozesebwa okulaga wekiri era za mirundi essatu era nga ze zino

i.
Eraga ekintu ekiri okumpi n’ayogera era eragibwa n’ennyingo
–no okugeza

Bano bonna abali wano twabayise ggulo.

Bano balina ekyejo okusinga ku ba Kayemba.

Ekitabo kiri wano
ii.
Eziraga ekiri okumpi ne gwe balaga so nga ate kiri wala n’oyo alaga era alagibwa
n’ennyingo eya –o okugeza

Eyo gy’oleese tewandiika bulungi.

Genda omugambe akuwe obwo bwe butyo.

Wabula ako kewamuwa katonnya. iii.
Eziraga ekintu ekiri ewala wa bombi
(alaga ne gwe balaga). Eno eragibwa n’ennyingo eya –li okugeza • Kiri kye mmutumye kijja
kukola bulungi.

Oli gwe twatumye anaatera okudda.

Ndeetera kali ke njagala.
Nnakasigirwa ezibuuza/ embuuzi (interrogative pronouns)
Zino ziwandiikibwa singa sentensi ebaamu okubuuza. Zino ziba zibuuza ekifo, obudde,
ensonga, oba omuwendo gw’ekintu era ze zino Wa? Tya? Ddi? Ani? Lwaki?
Mmeka?
Eby’okulabirako

Lwaki oyambadde olugoye olwo?

Okomawo ddi ewaka?

Ani akukubye?

Bameka abaagala engoye?
Weetegereze
Waliwo sentensi ezimu ezibuuza wadde nga temuli nakasigirwa zibuuza okugeza
-onoolya amatooke?
-oyo mwana y’akaaba?
-obadde olya kasooli?
Nnakasigirwa entabaluganda (relative pronouns)
Eno nakasigirwa eba ereetawo oluganda oba enkolagana wakati w’erinnya n’ekikolwa.
Erinnya liyinza okuba nga lye likola ekikolwa oba ng’ekikolwa kikolebwa ku lyo lye nnyini
okugeza bye, kye, ge, lwe, ze, be
Nnakasigirwa entabaluganda zaawulwamu emirundi esatu era nga gye gino
a.
Entabaluganda enkozi
b.
Entabaluganda ekolebwako
c.
Nnakasiba
Entabaluganda enkozi
Eno ebeera ereetawo oluganda oba enkolagana wakati w’erinnya erikola ekikolwa
n’ekikolwa ekikolebwako. Nakasigirwa entabaluganda enkozi egattibwa ku kikolwa
n’eyongera amaanyi mu linnya
Eby’okulabirako
i.
Omwana akaaba ekiro gwe baleese.
ii.
Abasomesa abakubye Abaana abo bagenze. iii.
Oguwala ogutuleekaanira
mugufulumye. iv.
Agalenzi agabbya ge batutte.

Entabaluganda ekolebwako

Zino ziba zireetawo oluganda wakati w’erinnya erikolebwako ekikolwa n’ekikolwa
ekikolebwa. Nakasigirwa entabaluganda enkozi egattibwako ku kikolwa n’eyongera amaanyi
mu linnya..
Eby’okulabirako
i.
Abaana be walabye babbi. ii. Omuti gwe watemye gugudde. iii.
Ebikajjo by’oleese
babatutte. iv. Omwana gw’okubye akaaba nnyo.
NNAKASIBA
Kino kiba kigambo ekyongera okuleetawo oluganda wakati w’erinnya n’ebigambo ebirala.
Wabula yo ebeera eyongera amaanyi mu kyogerwako era n’okumalawo okubuusabuusa.
Eby’okulabirako
i.
Amatu ge basazeeko. ii.
Omuti gwe gugudde.
iii.
Enkoko z’ompadde ze babbye.
Weetegereze
Sisnga Nnakasigirwa entabaluganda ekolebwako eri mu sentensi emu ne Nnakasiba, bulijjo
entabaluganda ekolebwako y’esooka, olwo ne kuddako nnakasiba okugeza
Enkoko ze baaleese ze batutte.
Amagi ge bamuwadde ge gaatise.
NNAKASIGIRWA EZIGGUMIZA/ ENZIGUMIZI
Zino zibeera ziggumiza ekyo ekiba kyogerwako n’olwekyo ziba zoongera amaanyi ku linnya
eryogerwako mu sentensi oba erigukulembedde.
Eby’okulabirako
i.
Ennyumba yo y’etonnya. ii. Abaana bo be bakubye empi. iii.
Amagumba go ge
ganfumise.
Nnakasigirwa ezoobuntu ezeemala zonna zisobola okukola ng’enzigumuzi okugeza

Ggwe obbye ebinyeebwa byange. ❖ Nze mmuwadde obugatto obwo.

Mmwe mubadde mutuleekaanira.
OKWEGEZAAMU
Saza ku nakasigirwa eziri mu sentensi zino era oluvannyuma ozituume amannya gaazo.
1.
Omwana waffe twamusanze mulwadde.
2.
Akatabo ako kalian eddiba eddungi.
3.
Ettaala gye tuleese egaanye okwaka.
4.
Ekkalaamu ye tewandiika bulungi era ngimuddizza.
5.
Omuntu gwe mwagenze okulaba yabadde wamyaka emeka?
6.
Tumugambye atwesonyiwe.
7.
Akambe kano tekasala bulungi.
8.
Omwana we tayagala ku muwulira ng’akaaba.
9.
Muleete wano ndabe ekimuluma.
10.
Olugoye lwayuzizza terubadde lulwe.

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *