WJME UACE LUGANDA (OKUKYUSA, OKUWANDIIKA EMBOOZI, OKUSOMA BWINO N’OKUFUNZA) Olupapula Olwokubiri

WJME UACE LUGANDA (OKUKYUSA,
OKUWANDIIKA EMBOOZI, OKUSOMA
BWINO N’OKUFUNZA) Olupapula
Olwokubiri

WESTERN JOINT MOCK EXAMINATIONS

Uganda Advanced Certificate of Education

LUGANDA

(OKUKYUSA, OKUWANDIIKA EMBOOZI, OKUSOMA BWINO

N’OKUFUNZA)

Olupapula Olwokubiri

Essaawa ssatu (3)

EBIGOBERERWA:

Olupapula luno lugabanyiziddwamu ebitundu bina: A, B, C ne D.

Ebitundu A, C ne D bya buwaze.

Mu kitundu B oweereddwa ebyokulondako by’oyagala okuddamu

Ddamu nga bw’olagiddwa mu buli kitundu.

EKITUNDU A

Ddamu 1 (a) ne 1 (b)

1. (a) Kyusa ekitundu kino okizze mu Lungereza.
(Obubonero 15)

Abantu bangi nnyo mu nsi zaffe ezikyakula bwe tulaba Abazungu tubeesiimisa, nga tugamba
nti banaffe bo baatuuka. Tebamanyi kye bayita bwavu. Era balowooza nti buli agenda
okukolera e Bulaaya oba America abeera obwavu abusiibudde. Abantu abo bwe baddako
kuno ne bagenda okulamusa ku beηηanda zaabwe, buli omu abeera amulindiridde
okumuyiira omudidi ogw’obuwa amale ebizibu bye.

Wazira bw’otuula n’abantu abo ne bakulombojjera obuzibu bwe bayitamu okufuna sente
y’ebweru, ennaku y’obwavu bw’eba tekuzinzeeko nnyo osigala ogamba kimu nti ka ngira
nziyiggirako wano sirina gagenda kubonaabonera ku mawanga nga nkola essaawa kkumi na
mukaaga ne nneebakira essaawa nnya zokka olunaku okusobola okufuna ku kasente
akeegasa!

(Kisimbuddwa mu Entanda ya Buganda, Omuzingo ogusooka, Ssebaaseka – Kasambula

2012)

b) Kyusa ekitundu kino okizze mu Luganda
(Obubonero 15)

IMPORTANT TELEPHONE MANNERS

Allow time for answering. If the person you are calling does not answer right away, let the
phone ring for about one minute. When answering the telephone, be polite and natural and
you will make a good impression.

If you call the wrong number, apologise to the person who answers. Be polite if someone
calls your number by mistake. If you answer a call for someone else say “Just a minute,
please,” or something similar. If the person is not around, offer to be of help. “Mary isn’t at
home – may I take a message?”

When you make a call announce your name at once. Do not try to be coy or silly. Never hang
up abruptly on a caller. Speak clearly and directly. A cigarette, chewing gum, or food may
muffle your speech and annoy the person who is trying to understand you. As a safety

measure, do not volunteer your name, address, or telephone number to any caller. Ask whom
the caller wants to talk to or to what number he is calling.

(Extracted with minor modifications from Mind Your Language by Oloya-Otto)

EKITUNDU B

Ddamu 2 (a) oba 2 (b)

2.
a) Ku mitwe egikuweereddwa, londako gumu oguwandiikeko emboozi ya bigambo

350 – 400
(Buli mutwe gwa bubonero 30)

i) Kibombwe y’eyiwa amata

ii) Gavumenti y’evunaanyizibwa ku bubenje obukudde ejjembe mu Uganda ensangi
zino. Kubaganya ebirowoozo

iii) Obukulu bw’omuliraano mu Buganda

iv) “Bwe ntyo bwe nadda ku butaka nga sisigazizza kantu okuggyako engoye ze
nnalimu” Kozesa ebigambo ebyo okuzimba emboozi.

Oba

b)
Ku mitwe egikuweereddwa londako ebiri (2) buli gumu oguwandiikeko emboozi nga

bw’olagiddwa.
(Buli mutwe gwa bubonero 15)

i) Ggwe omu ku babudaabuda abalwadde ba siriimu mu kitundu kyammwe. Mutuuze
munno azuuliddwa ng’alina akawuka akaleeta mukenenya, mubuulirire ku ngeri

gy’alina okweyisaamu okusobola okuwangaala.
(Kozesa ebigambo 200)

ii) Wabaddewo okuddirira mu mutindo gw’emmwanyi mu ggwanga ekizireetedde
n’okudiba ku katale k’ensi yonna. Ggwe muwandiisi w’ekibiina ekigatta abalimu

b’emmwanyi mu kitundu kyammwe, wandiika ebiteeso by’olukiiko olwatuula

okutema empenda ku ngeri y’okumalawo ekizibu ekyo.
(Kozesa ebigambo 200)

iii) Ebbula ly’emirimu erifumbekedde mu Uganda lyakuwaliriza okugenda e Dubai
okunoonya emirimu. Wandiikira muto wo gwe waleka e Uganda ebbaluwa

ng’omulombojjera ennaku gy’oyitamu.
(Kozesa ebigambo 150)

iv) Ggwe obadde okulira abayizi (Head Prefect) mu ssomero mw’osomera. Wandiika
okwogera kwo ku mukolo gw’okuwaayo obukulembeze eri oyo akuddidde mu bigere

(Kozesa ebigambo nga 200)

EKITUNDU C

3.
Soma ekitundu kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.

(Obubonero 20)

Kasookedde Abazungu n’abantu ab’amawanga amalala batuuka mu Buganda, empisa
z’Abaganda n’embeera zaabwe bifuuse nnyo. Waliwo empisa z’Abaganda nnyingiko embi ze
baayisanga edda nga tebamanyi nti mbi, nga okutta abantu, okunyaga abakazi, abaddu,
n’ebintu ebirala mu nsi endala oba mu Buganda mwennyini. Naye ate waliwo empisa nnyingi
nnyo ennungi Abaganda ze baalina okuva edda gamba nga: ekisa ku bantu be batamanyi,
okudduukirira abali mu kabi, okulumirwagana mu nnaku, obuwulize eri abakulu ab’engeri
zonna n’ebirala.

Abazungu n’abantu b’amawanga amalala amayigirize bwe bajja mu Buganda baasanga

Abaganda tebalina kye bamanyi ku bigambo byonna eby’amagezi ag’ensi z’ewaabwe. Naye
eky’amagezi Abazungu kye beewuunya y’enfuga ya Ssaabasajja Kabaka n’Abakungu be gye
baasanga nga yatereezebwa n’amagezi mangi mu kugeerageranya ne Gavumenti z’ewaabwe.

Abazungu Abaminsane okuleeta Eddiini mu Buganda baasanga Abaganda basinza ba lubaale,
n’emisambwa egya buli ngeri.

Abaminsane nga batandise okutegeeza Abaganda ekigambo kya Katonda ow’amazima
kirabika nti baalina obuzibu bunene okwawula empisa z’Abaganda embi n’ennungi kuba
baali tebannazimanya nnyo. Ate Abaganda bennyini baayongera ku buzibu bw’Abaminsane
obw’okwawula empisa z’Abaganda embi n’ennungi, kubanga Abaganda bwe baamala
okulaba ebirungi ebya buli ngeri Abazungu bye bajja nabyo nga bava mu Bulaaya,
ng’emmundu n’engoye, n’ettaala n’ebirala, bakkiriza mangu nti buli kintu ekiva mu Bulaaya
kirungi nti era n’empisa z’Abazungu zonna nnungi era baalowooza nti ze baasaana
okugoberera n’okuleka ezaabwe zonna.

Mu kulowooza okwengeri eyo, Abaganda mwe bajja okwetuuma amannya agalinga gano: a)
Kiveebulaaya – i) Tekiba kiba; ii) Tekisaaga); b) Balijja ddi – Abazungu, ne batuwa
ebirungi). Ekyo kye kyaleetera empisa z’Abaganda ennungi okufiira awamu n’embi, n’ezimu
okusebengerera nga bwe tuziraba kaakano. Bwe kityo olugero lwaffe olugamba nti,

“Nannyini kiggwa y’akiweebuula” lwatuukirira ddala ku Baganda. Naye omusango
gw’okusebengereza empisa z’Abaganda ennungi tetuyinza kugusiba ku Baminsane oba
Abaganda abaaliwo mu biseera ebyo kubanga bonna kye baakola baalabanga nga kye kisinga
obulungi.

Naye mu myaka gino, Abaganda bangi n’Abazungu bekkaanyizza ne balaba nti Abaganda
baalina empisa zaabwe nnyingi ennungi ez’obuzaaliranwa ze baali batasaana kuleka wabula
okutereeza n’okukuuma ennyo. Mu mpisa z’Abaganda ennyingi z’endowooza nti tezisaana
kufa mwe muli emu gye nneegomba ennyo etakabanirwe era erongoosebwe Abaganda
bonna. Empisa eyo y’ey’okutuuma amannya Amaganda aga buli ngeri nga tugoberera
entuuma yaago entuufu.

(Kisimbuddwa nga kikyusiddwamu katono okuva mu Amannya Amaganda n’Ennono Zaago
ekyawandiikibwa M. B. Nsimbi)

Ebibuuzo:

a) Ekitundu ky’osomye kiwe omutwe ogukituukirako
(Obubonero 02)
b) Nokolayo empisa ennungi za mirundi ena (04) Abaganda ze baalina okuva edda
ng’Abazungu tebannajja
(Obubonero 08)
c) Omuwandiisi atulaze atya nti, ‘Nannyini Kiggwa y’akiweebuula’?
(Obubonero 04)

d) Menyayo empisa z’Abaganda bbiri (02) ezaali zisaana okudibizibwa (Obubonero 02)

e) Nnyonnyola amakulu g’ebigambo bino nga bwe byeyambisiddwa mu kitundu

ky’osomye
(Obubonero 04)
i)
gw’okuseebengereza
iii) etakabanirwe
ii) ez’obuzaaliranwa
iv) okunyaga

EKITUNDU D

4. Funza ebifa mu Haiti mu bigambo nga 100
(Obubonero 20)

Nnatuukira wa Muminsane Omumerika eyali amaze emyaka egisoba mu abiri ng’akolera mu
nsi eno. Yansuza okumala ennaku nga ziizo, oluvannyuma ne nfuna akazigo ke nnapangisa

mu kibuga ne nvanga omwo okugenda okukakkalabya egyali gintutteyo. Nnakusuwaza
mangu ebigambo by’Olukuyolo bye nnalina okweyambisa okulamusa, okwebaza, okwegulira
akamere, okubuuza amakubo n’ebirala bitonotono.

Embeera y’ebyobufuzi n’ebyenfuna nga eyungula ezziga. Haiti nga nzi ya busambattuko na
busambagano. Ebyobufuzi nga byabalema okutereeza; gavumenti nga zijja bwe ziwambibwa.
Mu kuwamba okwaliyo nga mbulwayo akabanga katono ηƞendeyo, abayeekera baali
bookezza olubiri lwa pulezidenti nga n’eklezia lutikko ey’eggwanga eryo baagitisse omuliro
n’eteta n’esaanawo. Nze nnatuukayo ng’amagye g’ekibiina ky’amawanga amagatte (UNO)
ge gakuuma emirembe mu kibuga. Ekyanneewuunyisa eri obuyeekera bukolerwa mu
mayumba mu kibuga so si mu nsiko, kuba teri nsiko!

Obwavu bwe nnalaba e Haiti nga bufuuwa malenge! Buli nnali sibulabangako! Eri ensi njavu
yeeyaguza luggyo. Kumpi teri kye batunda. Nnagendanga mu katale nneegulire
akoomuntamu naye ng’osanga abakazi abalenga ennyaanya ezitawera kkumi, ekiro
z’omunnyu nga bbiri, bumukene nga buubwo, kyokka nga nabo bali awo beegayaaza
balowooza bakola! Kirabika baalindirangawo budde kukunira balyoke beeyanike ku nguudo
anti ogwo gwali mulimu mukulu ddala mu kibuga Port Au Prince.

Emmere nga esakibwa bweru wa ggwanga anti nga ebyobulimi tebisoboka kuba ettaka lyali
lya nkalajje. Nga kye basobola okulimako mu butundu obumu bwe butungulu, emboga
n’ennyaanya. Ebyobulambuzi nabyo nga teri anti teri nsiko nti oba balina ebisolo, ate
n’obunyoolagano obutatadde nga tebusikiriza bantu kugenda kukyalayo. Awo we weebuuliza
nti abantu balucoolo babeerawo batya? Ekyo nange nakyebuuza. era n’ennonyereza
okukifuna.

Abaana bangi mu Haiti nga tebasoma, anti nga teri bonnabasome; ebintu byonna nga
byakusasulira ate ng’ennusu baginoonyeza mu kiwato nga mazina! Obuyigirize n’obugunjufu
nga biri wansi ddala. Abaminsane be baagezangako okussaawo obusomero naye nga yo
gavumenti eriwo kwekkusa kyokka tefa ku bantu.

BIKOMYE

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *