EBSS UCE LUGANDA Paper 2

EBSS UCE LUGANDA Paper 2

ENTEBBE BRIGHT SECONDARY SCHOOL
Uganda Certification of Education
LUGANDA
Paper 2
2 hours 30 minutes

INSTRUCTIONS TO CANDIDATES:


Olupapula luno lulimu ebitundu bisatu; A, B ne C.

Ddamu ebibuuzo byonna mu kitundu A ne B.

Mu kitundu c ddamu ebibuuzo bibiri byokka mubutabo obwenjawulo.

EKITUNDU A.

1.
Soma ekitundu ekikuweereddwa n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku
nkomerero yaakyo.

(Obub:25)

Embaata kinyonyi, kiyonjo nnyo newankubadde abasinga obungi tebakikakasa
balina kyekubiira ku ndowooza egamba nti embaata kye kinyonyi ekisinga
obubi n’obukyafu. Tobanenya kibanga embaata abasinga bagimanyi naye
tebagitegeera bulungi kubanga tennaweza myaka bikumi bibiri bukya muntu
agisenza okuva mu ttale, entobazzi, emigga n’ennyanja. Olw’okuba omuntu
embaata ebirowoozo abigeteekako bbalirirwe tannaba kwetegereza bulungi
nneeyisa yaayo.

Ekinyonyi kino kiyita nnyo mu bifo ebikyafu, bambi ne kigenda n’obukyafu
obwo. Ate bw’ogattako n’empeevuuma yaakyo ng’ekiva okudduka abasinga
obungi ne bakyetamwa. Embaata buli lw’eba ewummuddemu nga yeesokoola
esobole okwegolola mu mmanda, ebiwaawaatiro n’ekyensuti, wadde teyeetuuka
bulungi nga ekozesa omumwa gwayo.

Waliwo embaata za kibika bingi, entono n’ennene kabedwa, era zaawukana ne
mu nfaanana. Ezaffe wano mu Uganda ze ntono bw’oba ozigeraageranyizza
n’ezisangibwa mu bitundu ebirala eby’ensi.

Embaata kinyonyi kizito naye ate kisobola bulungi okubuuka yadde ebika
byonna tebisobola kwenkanankana mu buwanvu bwa kubuuka. Embaata za
wano mu Uganda zibuuka kitono nnyo. Abantu abawaddeyo obudde
okwekkenenya enyonyi eno bagamba nti esobola okubuuka n’etambula
olugendo oluweza kkirommita bisatu mu abiri olunaku.

Embaata ya ddembe, erina obulamu, bw’oba togikubye ku mutwe era
mpangaazi. Esobola okuwangaala emyaka ena okutuuka ku kkumi n’ebiri.
Omumwa n’ebigere byayo kyenkana biwawankulo ebiri awo omutali musaayi

naye ate bigiyamba mu mbeera ez’enjawulo ky’ova olaba nga esobola okutoola
ekifi ky’ennyama mu nsaka eyokya n’ekisuula wali, kyokka n’esigala nga
tekyuseeko. Enkuba efudemba etya oba amataba okuzingako ensi eno,
embaata esigala ebbinkana nago nga bw’eseeyeeya nga ekozesa ebigere
byayo, ebiwawaatiro n’ekyensuti era eba ntaanya okusanga embaata enkulu
nga efudde nnamutikwa w’enkuba oba omujjuzo.

Bw’omala okugimaanya ogyoza n’akaziηηoonyo k’olulagala n’etukula bulungi.
Bw’otokikola ennyama yaayo ewunya olwaayo era teriika. Ennyama yaayo
ekaluba okukamala era okugiggiisa yeetaaga okusooka okugikaliza ate
n’ogizaamu.

Kirowoozebwa nti Abacayina be baavumbula embaata okuva mu nsiko ne
bagifuula ennyonyi enfuge anti nnyonyi ya ddembe. Eyo nno amagezi gye
gaava ne gasaasaanira ensi yonna.

Ebibuuzo:

(a)
Omuwandiisi atumatizza atya nti abantu bangi embaata
tebagitegeera?

(Obub:4)
(b)
Leeta eby’okulabirako bibiri okuva mu kiwandiiko kino
ebikozeseddwa okukakasa obulamu obuli mu mbaata.

(Obub:4)

(c)
Lwaki abantu ab’enjawulo bettanira nnyo okulunda embaata?

(Akab.1)

(d)
Omuwandiisi ayolesezza atya enneyisa y’embaata mu kiwandiiko
kino? (Obub:6)

(e)
Ennyonyi eno obulamu bw’omuntu ebukalubya etya?

(Obub:2)

(f)
Nyonnyola amakulu g’ebigambo bino nga bwe bikozeseddwa mu
kitundu ky’osomye.

(Obub:4)

(i)
Kyekubiira.

(ii)
Efudemba

(iii)
Omujjuzo

(iv)
Enfuge

Mu bibuuzo ( g, h, i, j ) londako ekisingako obutuufu.

(Obub:4)

(g)
Embaata terojjeka mu mbeera zaayo kubanga:-

(i)
Tefugwa
(ii)
Si mbuusi
(iii)
Ya ddembe.
(iv)
Tegumira mbeera.

(h)
Ekinyonyi kino tekiba kiramu singa:

(i)
Kikwatibwa mu byoya.
(ii)
Kikubwa enkuba

(iii)
Tekiwuga
(iv)
Bakikuba awabi.

(i)
Omuntu okutegeera obulungi ebikwata ku mbaata asana:

(i)
Kugifuula nfuge
(ii)
Kutuuka mu ntobazzi, ennyanja n’emigga.
(iii)
Kubuuza Bacayina.
(iv)
Kuwaayo budde bwe n’agyekaliriza.
(j)
Omuwandiisi alaga nti omuntu ebbanga ly’amaze nga yeetegereza
embaata,

(i)
Ddene limuleetedde okwerabira ebigifaako.
(ii)
Ttono ate nga tetera kulabika.
(iii)
Ttono naye nga ddene ekimala okugyetegereza.
(iv)
Ttono ate nga n’abagifuga baton.

EKITUNDU B.

Kola nnamba 2 (a) ne 2 (b)

2.
(a)
Maliriza engero zino wammanga.

(Obub:10)

(i)
……………………………………………………tabaaga mbwa.

(ii)
Basajjassubi…………………………………………………………………………
.

(iii)
Gayita……………………………………………………………………..

(iv)
……………………………………………………………………………..nsega
y’ebika.

(v)
……………………………………………….omusanga mitala wamayanja
nga yawungula.

(vi)
…………………………………………………………………teyekweka
kamunye.

(vii)
Abangi bwe
bakwebaza…………………………………………………………..

(viii)
Magezi
ntakke…………………………………………………………………………

(ix)
Lukka………………………………………………………………………………

(x)
Embiro entono
………………………………………………………………………..

(b)
Engero zino zituyigiriza ki?

(Obub:5)

(i)
Mpolampola ayiisa obusera.

(ii)
Ogutateganya teguzza nvuma.

(iii)
Baagala ayaze.

(iv)
Gw’olulambuza y’alusalako

(v)
Omuto mbuzi erundwa wa kamwa.

EKITUNDU C.

Ddamu ebibuuzo bisatu (3) byokka mu kitundu kino ng’obiggya mu butabo
obw’enjawulo. Toddamu bibuuzo bisukka kimu ku buli katabo.

KALINDA:
PAWULO KIRIMUTTU.

Kola 4 (a) oba 4 ( b )

4.
(a)
Omuwandiisi alaga obwenkanya ng’agabira Pawulo essanyu
n’ennaku mu
lugero Pawulo Kirimuttu. Kino akikoze atya?

(Obub:20)

O B A

5. nyonyola e bizibu Pawulo byafuna ng’ali e Bulaaya. (Obub:10)

ROBERT G. MUKASA:
TOKIIYA ONGE NTO

Kola 5 (a) oba 5 (b)

6
(a)
“………………….Abange ate ono agaala emimwa ng’ayita Ana abadde
ki? Ffe
totukungula!”

(i)
Ani ayogera ebigambo ebyo ara abigamba ani?

(Obub.2)

(ii)
Biki ebyali byakamala okugwawo?

(Obub:8)
(ii)
Bintu ki ebikukyayisa omwogezi w’ebigambo ebyo mu lugero
luno?

(Obub:10)
O B A .

(b)
Ttiina ye yaviirako Tokiiya okwonooneka. Kubaganya ebirowoozo.
(Obub.20)

BIKOMYE

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *