EMBEERA MU LUGANDA (MOODS)
Embeera z’ebikolwa mu luganda za mirundi etaano era ng’eno y’engeri ekikolwa gye kiyinza
okukolebwamu. Zino ze mbeera
Embeera eya bulijjo etaliiko kkomo
Eno eraga ekikolwa nga kiri mu mbeera eya bulijjo nga si kyanjuluze.
Eragibwa n’akabonero aka ‘oku’ oba ‘ku’ ku ntandikwa y’ekikolwa okugeza okufa, okusoma,
okuyimba, okuzannya
Eby’okulabirako
Maama akooye okufumba
Nyombi tayagala kusoma
Kalema okulima akweyagaliramu
Embeera eyakakwakkulizo
Ebikolwa ebiri mu mbeera eno biba bitulaga ekintu ekirina okusooka okutuukirizibwa
ekikolwa kibeewo. Ebikolwa bino bitandisa n’ebigambo oba ennyingo zino singa -bwe -andi
-aka
Eby’okulabirako
Singa tufuna ssente tujja kugenda mu kibuga
Bwetunaamusangayo tujja kumugamba
Nandi kuwerekeddenaye sirina anankomyawo
Embeera eyookulagira
Ebikolwa ebiri mu mbeera eno biba biduumira oba biragira omuntu okukola ekikolwa. Bwe tuba
nga tulagira, tukikola mu muntu waakubiri yekka era ekikolwa kisembyayo ennyingo eya –e.
Bwe kiba mu bungi
Omuntu
bumu
bungi
Asooka
–
–
Owookubiri
soma
musome
Owookusatu
–
–
Eby’okulabirako
Mugende musome!
Yimba bulungi ng’alina amagezi!
Tambula ng’omuntu omukulu!
Embeera eyagaliza
Ebikolwa mu mbeera eno biba byagaliza ate ebirala nga bisabira omuntu omukisa era
biseembyayo n’ennyingo eya –e
Eby’okulabirako
Osule bulungi mwana wange
Omukama akukuume
Musome bulungi
Embeera endazi
Eno eba etulaga ekikolwa nga kikolwa mu kiseera ekyo mwennyini omwogererwa era
kisembyayo ennyingo eya –a.
Eby’okulabirako
Abaana bazannya mweso.
Kizito alwana ne munne.
Tuula wansi.
Leave a Reply