UCE MOCK LUGANDA Paper 1 OKUWANDIIKA EMBOOZI, OKUFUNZA, GGULAMA NEBISOKO

1

RESOURCE MOCK EXAMINATIONS, 2017
Uganda Certificate of Education
S.4
LUGANDA
Paper 1
OKUWANDIIKA EMBOOZI, OKUFUNZA, GGULAMA N’EBISOKO

2 Hours 30 minutes

EBIGOBERERWA:

Olupapula luno lulimu ebitundu bibiri: A ne B
Mu Kitundu A, mulimu nnamba 1(a) ne (b)
Londako (a) oba (b)
Mu kitundu B, mulimu nnamba 2 ne 3
Nnamba 2, londako (a) oba (b)
Mu kitundu B, nnamba 3 yonna ya buwaze

2
EKITUNDU: A

Kola nnamba 1(a) oba 1(b) mu kitundu kino

1. a) Wandiika emboozi ya bigambo 400 ku mutwe wammanga.

i) Abayizi tebasaanye kusoma mu luwumuula. Kubaganya ebirowoozo.

Oba
b) Wanddika emboozi etakka wansi 200 ku mitwe egikuweereddwa
wammanga.
i) Ggwe mukungu wa Ssaabasajja avunaanyizibwa ku byenkulaakulana.
Wandiikira Katikkiro wa Buganda ku nteekateeka z’olina okutumbula
enkulaakulana mu Buganda. (Kozesa ebigambo nga 150)

ii) Weefuule omusawo w’abalwadde ba mukenenya, owandiike alipoota
gy’ogenda okwanjulira abantu ku ngeri y’okulabiriramu abalwadde ba
mukenenya. (Kozesa ebigambo nga 200)

EKITUNDU B
Kola ekibuuzo 2(a) oba 2(b). (Buli kibuuzo kya bubonero 20)

2. a) Funza ekitundu kino mu bigambo nga 100.
Omufu tayogerwako kibi naye omugenzi Birabwa tosobola kumuviirako awo!
Ono omukazi yali muzibu nnyo nnyo wabula ekyamuyamba obizibu bwe
bwategeerekeka amaze okufa. Naye maama baba kumutegeera ng’akyali
mlamu era ng’enkuyege zikyamukubira enduulu, teyandibuliddwa w’anywa
otuzzi! Ddala eyamwalula oboolyawo yandisiridde! Naye tewali yamanya!

Birabwa yali mutuze ku kyalo Myanzi mu disitulikiti y’e Mubende. Yali amaze
emyaka egisuuk mu asatu ng’atudde ntende ku kyalo okwo. Yabeeranga ne
muwalawe Asiimwe ko ne kazzukuluke akayitibwa Kigongo. Tewali yalaba
bagenyi bakyala wa Birabwa mu bbanga lye yamala kukyalo okwo naye tewali
mutuuze yasiinya ku nsonga eno kuba tewali kikyamu kyonna kye yakola
kutuuka kumwekengera.

Ekiseera kyatuuka nga muwalawe takyalabika ku kyalo. Olw’omukwano
abatuuze gwe baalina ku maka ga mukyala Birabwa baatandika okumubuuza
muwala we Asiimwe gye yali yalaga. Bangi baamusaasira nw bamuwa
amagezi ayise ebirango ng’alanga muwalawe eyamubulako naye ye yagaana

3
era yabaddangamu nti alidda bw’aliba ayagadde. Ebbanga lyagenda liyita
mpola ebya Asiimwe ne byerabirwa era ne biva ku mimwa gy’abantu.

Nga wayise ekiseera ekiwerako mokadde Birabwa yafa bw’atyo n’agenda e
zirakumwa. Abatuuze baateesa bamenyewo akayumba akakadde Birabwa
mwe yali asula, omulambo baguzze mu eri empya eyali emaliriziddwa obulungi,
nti waakiri nnyiniyo Birabwa agisulemu olunaku ne bwe lunaaba lumu yadde
nga mufu naye era ng’agisuzeemu. Era bwe gwali. Nga basitula mulambo nga
bagutwala mu nju mpya!

Tebaalwa
nga
batandika
kukoonawo
nnyum,ba
nkadde
basoboleokugyerabira ddala. Ho! Ekyama kigenda okubotolwa! Kigongo
ky’ava akabatema nti mu kisenge ekimu mwalimu omulambo gwa ssengaawe
Asiimwe. Abatuuze kata bagwewo ekigwo! Poliisi eyitiddwa bukubirireejje erabe
ogubadde. Nayo yasitukiramu ng’eyatega ogw’ekyayi. Olwali okuggula
ekisenge nga ku ŋŋumbagumba kwe balaba. Abatuuze beewuunya okulaba
nti Birabwa yali asula mu nnyumba n’omufu okumala emyaka 12 be ddu!

3. a) Jjuza ebisoko ebituufu mu mabanga agalekeddwawo. (obubonero 20)
i) Bulijjo nkugamba ng’ontunuulira …………… nti omaze okusoba ojja weegonza
nkukolereki?
ii) Ensimbi mwana mulenzi z’alina zitotoogana nga ……. era wa kugula ekyalo
kyonna akimalewo.
iii) Vvaawo naawe teweekyusiza mu kiti nga ……. Ng’obwedda ggwe
tugumiddeko nti onootuwerekerako!
iv) Bwe yagaana okuwuliriza nnyina nange ebyokumubuulirira ne …… enta.
v) Okudda kw’ebibuuzo by’omwana oyo kuli mu ………… engeri gye
baamukwata lubona ng’akoppa.
vi) Oyo omusajja ye muveeko, bw’ayogera asuula ne ………….. tomwesimbamu
n’om usobola.
vii) Mu baddusi b’omwaka guno olukoba tulusibidde ku mwana mulenzi Mukasa
anti tadduka aweneenya …………………………….
viii) Omulwadde olwakubye ku …………… ne bamusiibula era kati ali waka.
ix) Okusalawo okulya emmere ew’omukyala oyo kuba ……. Mwoyo ng’enkoko
emira ensanafu anti mbu tawa butwa yeereka atyo!

4
x) SSekinyomo yagudde ku …………. eriko omwana bwe yagenze okulaba
omusibe mu kkomera ate naye ne bamuggulako omusango.

b) i) Ddamu owandiike sentensi zino ng’ogoberera ebiragiro ebiri mu bukomera.

(obubonero 5)
–
Aligaweesa mukulembeze. Obua mukulembeze. (Yunga sentesi ezo nga
weeyambisa akagambo akayunzi)
–
Mu luggya omwo temuli muntumulamu. (Sentensi gizze mu bungi ‘Plural’)
–
Owaange Nakato otambula bulungi. (golola ensobi mu sentensi eno)
–
Waata bulungi bano bakulabireko olwaleero. (Saza ku nakongezakikolwa
ey’empisa)
–
Tunaasanyuka nga tumaze ebigezo (Saza ekiseera ekijja)

ii) Amannya gano gateeke mu mbu z’amannya mwe gagwa:-

(Obubonero 5)
–
Bbaati
–
Kutiya
–
Mmunyeenye
–
Ssere
–
Omwango

**BIKOMYE WANO**

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *