Page1
UCE PRE REG LUGANDA (OKUSOMA BWINO, EBYOMUWANGWA
NE LITULICIA)
UGANDA CERTIFICATE OF EDUCATION
PRE-REGISTRATION EXAMINATIONS 2016
LUGANDA 335/2
TIME: 2 ½ HOURS
(OKUSOMA BWINO, EBYOMUWANGWA NE LITULICIA)
Ebigobererwa:
Olupapula luno lulimu ebitundu bisatu A,B ne C.
Ddamu ebibuuzo byonna mu kitundu A ne B.
Mu kitundu C, ddamu ebibuuzo bisatu(3) byonna.
EKITUNDU A
1. Soma ekitundu kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero
yaakyo.
Ensi yonna okukula n’okugenda mu maaso erina okuba n’abantu
abagunjufu. Obugunjufu kitegeeza abantu ababanguse mu ndowooza,
endaba n’enkola y’ebintu. Omuntu omugunjufu amanya ekisaanidde
okwogera, okukola ate oluusi era ne ky’atasaanidde kukola.
Abagwira bwe batuuka mu Buganda awo mukyasa eky’ekkumi n’omwenda
baasanga abantu abaali ku ddaala ly’obugunjufu eryabeewuunyisa.
Beewunya entereeza y’obukulembeza, ennyaniriza y’abagenyi, enneeyisa,
enguudo ennungi ezaagendanga ku kibuga, enimba y’amayu, enzizi
engogole obulungi n’ebirala bingi.
Beewuunya kubnaga ku ssemazinga wa Africa abantu baali batono nnyo
abaali batuuse awo mu budde obwo.
Bangi
baali
bakyayita
bukunya,
abalala
tebaalina
bukulembeze
butegeerekeka, abandi nga babungeeta bubungeesi, ate waaliyo abaali
beeyisiza ddala kumpi ng’ensolo.
Abaganda boogerwako ng’abaali abagunjufu kyokka tebaali bayigirize mu
ntegeera y’obuyigirize nga bwe buli mu Nsangi zino. Obuyigirize kati
butegeeza kugenda mu ssomero era n’okubangulwa okundera ku ssomero
era okusangibwa mu bitabo.
Obugunjufu obwedda bwafunibanga mu maka, mu bisakaate by’abaami ate
ne mulubiri eri abatono abasiingibwangayo. Empisa ez’obuntubulamu,
enkola y’emirimu, ebyafaayo n’obulombolombo mu Lubiri. Naye ate
obugunjufu bwe gattamu n’obuyigirize buno obw’essomero. Obugunjufu
obutaliimu kusoma na kuwandiika bubeera tebutukiridde. Newankubadde
bajjajjaffe
baatuulanga
ku
byoto
ne
banyumya
abyaliwo
tewali
Page2
kubuusabuusa bingi ebigenda berabirwa
olw’akakeesedde k’emyaka
egigenda giyitawo. Bonna abo be tulaba ng’abazira mu byafaayo
by’Abazungu, no’kuba byagingibwagingibwa okwongera ettutumu mu
bantu abo, naye tetusobola kubiwakanya kubanga tetulinaayo bujulzi
bukontana nabyo.
Ekyokulabirako kiikino: bagamba nti bakabaka ba Misiri ab’edda ennyo,
n’abantu baamu abaali abasaale ennyo mu bugunjufu bw’omuntu (anti be
baavumbula
okuwandiika,
okulaba,
obukulembeze
obulambulukufu,
amagezi g’omu bwengula n’ebirala) baali bakaddugala.
Kyokka emirembe bwe gyagenda giyitawo n’abalangi endala ne balya ensi
ebyo ebyawandiikibwa bitulowoozesa nti obugunjufu bw’omu Misiri
obwedda bwaleetebwa beeru. Tewali buwandiike bulambulukufu kwe
tuyinza kunywereza ekigambibwa nti abaddugavu be baaleetaera ensi eno
obugunjufu, anti n’ebyo bye baayiiya ebyasookera ddala tebyawandiikibwa
mu bwino ayinza kujulibwa mu budde buno bisobole okutumala empaka.
(kisimbuddwa mu C.P.Mayiga, (2013): Buganda ku ntikko)
Ebibuuzo:
a) Lwaki Abaganda bayitibwa bagunjufu?
(obubonero 7)
b) Nsonga ki ankulu omuwandiisi gy’awadde okupimirwa obugunjufu
bw’omuntu ennaku zino?
(obubonero 2)
c) Nnyonnyola ebifo Abaganda we baabangulirwanga okubeera abagunjufu.
(obubonero 3)
d) Omuwandiisi atulaze bantu ki abaakiikirivu mu byafaayo by’abagunjufu?
(obubonero 2)
e) Omuwandiisi akozesa lupimo ki okutumanyisa omuntu omubisi?
(obubonero 3)
f) Nnyonnyola amakulu g’ebigambo bino nga bwe bikozeseddwa mu kitundu
kino.
(obubonero 4)
Bukunya
Byagingibwagingibwa
Balya ensi
Abagwira
Ku buli kibuuzo(g, h, I, j), koppolola ekyokuddamu ekisingako
obutuufu.
(obubonero 4)
g) Lwaki abafirika abasing baali batwalibwa okuba emabega mu
by’ekigunjufu mu kyasa eky’ekkumi n’omwenda?
i) Abantu baali batono
ii) Abantu baali tebasooma
iii) abagwira baali tebanajja
iv) Lwa nkola etaali ya mulembe
h) Omuwandiisi atwolese atya abunafu bw’ebiwandiiko?
i) Oluusi bibaamu obulimba
ii) Biva ku mulembe
iii) Bikontana
Page3
iv) Bikyusibwakyusibwa
i) Omuwandiisi abuusabuusa ki ku bagwira?
i) Baalina obufuzi obutali bulambulukufu
ii) Baja ne baawamba amawanga g’Africa
iii) Oluusi beepaatikako obugunjufu obutaali bwabwe
iv) Baleeta okuwandiika
j) Mutwe ki ogutuukira ku kiwandiiko kino?
i) Abeera mu Uganda
ii) Obugunjufu
iii) Obukulu bw’okusoma
iv) Buganda ku ntikko
Soma emboozi wammanga n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo.
EKITUNDU 3
Ddamu 2(a) ne 2(b)
2. a) Maliriza engero zino nga bwe zoogerebwa.
(obubonero 10)
i) Ayeeyereza omunafu
ii) Akamira eyiye ………………………………………………………………….
iii) Akuba owuwe ………………………………………………………………..
iv) Asuubira ………………………………………………………………………
v) Atalukutambulire …………………………………………………………..
vi) Atabyetisse ……………………………………………………………………
vii) ………………………………………………………………………. taba muti
viii) Eyeesitukidde …………………………………………………………………..
ix) Akabimbi akatono……………………………………………………………….
x) ………………………………………… ogyambalako eddiba.
Page4
2. b) Nyonnyola amakulu g’engero zino ag’omunda.
(obubonero 5)
i) Addiηηana amawolu, y’agaggyamu omukutto.
ii) Omwogeza bboggo, ensawo ye aligyambalira.
iii) Omweyogereze takusuuza kayanzi ko.
iv) Abikka ebibiri, tabojjerera.
v) Lubaale mbeera, nga n’embiro kw’otadde.
EKITUNDU C
Ddamu ebibuuzo bisatu(3) byonna.
C. Kalinda: Pawulo Kirimuttu
3. Singa ggwe ogenda okuwa obubaka ku maziika ga Pawulo Kirimuttu,
nsonga ki ze wandyesigamyeko okumatiza abakungubazi nti omugenzi
asana kujjukirwanga?
(obubonero 20)
Robert .G. Mukasa: Tokiiya ηηonge nto.
4. weesigane ku binyumizibwa mu katabo Tokiiya ηηonge nto olage engeri
omuwandiisi gyatulazeemu enneyisa y’abavubuka etazimba.(obubonero 20)
Wycliffe Kiyingi: Gw’ossusa Emmwanyi.
5. Laga engeri omuwandiisi wa gw’ssusa gy’azimbamu abazannyi bano;
(obubonero 20)
Ssekalegga
Musoke
Ntonio
Ritah
***END***
Leave a Reply