DEPARTMENT OF LOCAL LANGUAGES
LUGANDA SECTION
MID TERM TWO ACTIVITY OF INTEGRATION
S.2 LUGANDA
Obudde :Essaawa bbiri
No1. Liisoddene yatonda ebinyonyi eby’enjawulo kuno kunsi. Abamu ku ffe tetubimanyi naye
biwerera ddala ate nga byamugaso newankubadde nga ebimu bya bulabe. Mu bintu
ebikyasinze okuwoomera omuntu, ennyama y’ekinyonyi yo yetaaga kuwa kadde. Ebintu binji
byetuyigira ku binyonyi eby’enjawulo.
Task
a). Kenya bulungi ebinyonyi ebirundibwa awaka.
b). Leeta engero kkumi nga zikwata ku binyonyi lugaba bye yatonda.
c). Leeta ebisoko mukaaga ebigendera ku binyonyi.
2. Amannya kye kintu ekyewuunyisa kuba omuntu kasita osiinya ku linnya lye bwoti ,
akyukirawo. Abantu bangi tebamanyi nti amannya galina ebika mwe gagwa. Okuviira ddala ku
mulembe gwa jajjaffe kintu wamu ne Ssekabaka Bbemba Musota . Amannya gano galina ebiti
mwe gagwa.
Task
Nyonnyola ebiti eby’enjawulo amannya mwe gagwa era buli kiti okiweereko amannya ataano (5)
okusobola okukitegeera obulungi.
3.Nakasigirwa kitegeeza okusigira erinnya era oluusi ziyitibwa zi Nnakasigirwa linnya. Bwe kityo
tulina eziwerako omuli ezeemala n’eziteemala.
Task
Menya Nnakasigirwa linnya ez’obuntu ezeemala era buli emu ogikozese mu mboozi okulaga nti
kigambo kusigira okitegeera bulungi.
4. Omwezi oguwedde amawulire gabadde gatambula ku bikwata ku mukyala Enrica Pinneti
asuubirwa okuweebwa olukusa okugula emmwanyi mu Uganda era negasasaanira ku mikutu gi
mukwanira wala. Buli eyalina buli wendi nkufuna gaamugwa mugatawunyirwa vvumbe. Sabbiiti
ewedde omukulembeze w’eggwanga, Munnamagye eyagannyuka, Ssentebe wa NRM mu
Uganda, yategeezezza nti mukyala Pinneti tamanyi nnyo bikwata ku mmwanyi era tamanyi na
bwezirimwa wabula eby’obusuubuzi byo abitegeera.
Task
Kitwale nti mukyala Pinete mukwano gwo, muwandiikire ebbaluwa ng’omutegeeza engeri
emitendera egyiyitibwamu okusimba emmwanyi okutuusa wezikungulibwa.
Bikomye wano
Leave a Reply