BISHOP’S SENIOR SCHOOL MUKONO S.3 LUGANDA
PAPER 1 TIME: 1 HOURS.
EBIGOBERERWA:
– Olupapula lulimu ebitundu bibiri; A ne B.
– Mu kitundu A londako 1(a) oba 1(b).
– Mu kitundu B ebibuuzo byonna bya buwaze.
EKITUNDU A:
Kola nnamba 1(a) oba 1(b) mu kitundu kino.
1.a) Ku mitwe egikuweereddwa, londako gumu oguwandiikeko emboozi ya
bigambo 400. (Buli mutwe gwe bubonero 50)
i)
Abalungi Mbwa zannamaaso …………………………… ii)
Omwenge lumbe lwa kirago!
iii)
Abakazi be basinga okuleeta obutabanguko mu maka . Kubaganya
ebirowozo.
iv)
Siryerabira mulenzi oyo.
OBA:
1.b) Ku mitwe gino londako ebiri (2) buli gumu oguwandiikeko emboozi nga
bw’olagiddwa. (Buli mutwe gwa bubonero 25)
i)
Wandiikira Maama wo ali ebweru n’eggwanga ng’omunyumiza ebigenda
mu maaso mu ggwanga.
ii)
Wandiika ebbaluwa ng’osaba omulimu gw’obusomesa ku somero erimu
mu kitundu kyo.
iii)
Mukyaziza omukulu w’eby’enjigiriza ku somero lyamwe. Bakulonze
oyogere ky lwa bano nga weebaza Omukulu olw’ebigambo by’abalisiza.
EKITUNDU B:
KOLA EBIBUUZO 2(A) NE 2(B).
2.A) Jjuza ebisoko ebituufu mu mabanga agalekeddwawo. (Obubonero 20)
1. Nali nkyatudde awo gye nakuba ……………………… nga maama ono ne nsanyuka.
2. Mazima ddala omusaja gwe yayanjudde tayisikamu…………………………………….
3. Ndeka maama nze ndi …………..nga nkumbi sirina wannuma era abo ababadde
balowooza nti sisobola kutambula beerimbye.
4. Mwattu situkiramu ogende osabe omulimu gwe baakulagiridde ate
akutemyako oyagala wa ……………………………………
5. Kyokka omusaja oyo busa bwa……………..kale laba bwe yeefulidde munne.
6. Ffenna twadduka za ……………………..twerabire ku muva bulaaya.
7. Ekyali ku mboga ya Ssonko eyali kinyeenya …………………………..
8. Kirimuttu yanoonya emirimu n’obuwoya ne bumuggwa ku ……………………
9. Yawasa akakazi ka mumpi awunya…………….era tayagala kutambula nako.
10.
Yeewerera okwokyera abantu mu nsisira era akutaayi tekaasala na…………
ng’ensiisira ya Pawulo etuntumuka.
2.B)i. Wandiika Nnampawenggwa zetulina mu Luganda. ( 2mks)
ii) Wandiika embigambo bina(4) nga birimu okuggumira n’ebirala bina(4) nga
birimu okuwangaala. (8mks)
– BIKOMYE WANO –
Leave a Reply