Page1
UCE PRE-REG LUGANDA OLUPAPULA OLUSOOKA
Uganda Certificate of Education
PRE-REGISTRATION EXAMINATIONS 2016
LUGANDA
OLUPAPULA OLUSOOKA
ESSAWA BBIRI (2)
EBIRAGIRO
Kola nga bw’olagiddwa ku buli kitundu.
1. a) Ku mitwe gino wammanga, londako gumu oguwandiikeko emboozi ya
bigambo nga 400.
i) Mwogezzabboggo ensawo ye aligyambalira.
ii) Okulondera omwana omuntu ow’okuwasa oba okufumbirwa
tekikyetaagisa kubaganya ebirowoozo.
iii) Enguzi lumbe lwa kubiri
iv) Ebisaanyizo by’olulimi lw’eggwanga.
b) Londako emitwe ebiri okuva ku gino wammanga owandiike ebigambo nga
200.
i) Weeteeke mu kifo ky’omukungu akulira ekitongole ekikola ku kusitula
embeera z’abantu owandiike bye wandyogedde eri abantu ng’obalaga
ebirungi ebiri mu kuyigiriza abantu abakulu okusoma n’okuwandiika
abataafuna mukisa kugenda mu ssomero.
ii) Weefuule Nnaabagereka w’a Buganda okunge abantu balwanyise
obulwadde buno: Omusujja ogwomulubuto (Typhoid) no bw’okutonnya
(Fistula) mu bakyala. Wandiika ebinaafulumira mu Bukedde.
iii) Oli omu kubayizi ataakomawo mu ssomero lye walimu owandiikire
banno be waleka mu ssomero lye wasookeramu ebbaluwa.
iv) Weeteeke mu kifo ky’omukulu akuuma empisa ku kyalo kyammwe
owandiikire Minisita akola ku kukwasisa empisa ng’omwemulugunyiza ku
nguzi ekudde ejjembe mu kitundu kyammwe.
Page2
2. a) Funza ekitundu kino mu bigamba nga 120.
Ennyama yali ku buseere nnyo mu butale bwonna obuli mu Kampala
n’emiriraano mu biseera bya sekukkulu. Kkiro emu bw’eti yali ku nnusu
8000/-. Bakaggwensonyi abamu bagitundanga 10,000/-. Ssekitooleko
abeera e Kibuye mu Kyadondo bwe yatuuka ku mudaala n’abalaabalamu
mu ssente zeyalina ng’alaba tezimuyisaamu, ennyama yagivaako bukumbu
ng’alaba taasobole kugula eyo eyandisobodde okubunya ab’omu maka ge
abawerera ddala ekkumi n’ababiri. Ate nno olwo nga totaddeeko banoo
baηηenze Ssekukkulu kugiriira wa Ssekitooleko ate nga be baali bajja
n’okusinga obungi.
Bwe
yaddayo
eka,
ensonga
n’azibuulira
mukazi
we
Nakibirango.
Nakibirango ne Ssekitooleko baateesanga bulungi ku by’amaka gaabwe era
ku mulundi guno bwe kyali. Baateesa bamale galya nsanyuse n’eddigobe
lyabwe nti kasita olunaku lumu baleme kugwa ku mabanja.
Ku ssekukkulu ekinu kyali ku mulimu gwa maanyi mu maka ga
ssekitooleeko anti olwo basekula ebinyeebwa Nakibirango bye yeetema
okufumba bisinge n’enkoko okuwooma. Baasekula ab’omuliraano bwe
beewuunya n’okusunga ssekitooleeko mbu sso musajja wa nkula ki aliisa
ab’ewuwe omunyeebwa ku ssekukkulu ate nga bwe basaasira Nakibirango
n’abamu okumuyita omusiru nti sso omukazi wa wa agumiikiriza okufumba
mu maka we batagula nnyama ku Ssekukulu ye nno abangi bwe
bakwebaza nga luweze.
Ekyemisana, baakirya bulungi era mu ssaawa ez’akawungeezi ssekitooleeko
yasalawo okwemalako ettulawamu ne yeewungulako n’agenda mu bbaala
eri ekinnya n’empindi n’eewuwe era eriraanye buno obutale bwe
baakazaako erya tonninnyiramukange, mwe batunda buli kijjulo ky’oyinza
okulowoozaako. Musajja wattu bwe yatuuka we baali batunda ebigere
by’ente ebyali bikubiddwa ekijiiko okukamala eyali atunda bye yali
ayimbirira mbu okubirya tojulira Sheraton ate nga n’akawoowo kamala
okubyogerera; yabula okuggwa amalusu mu kamwa anti alwo ng’amira
muganda.
Yasooka n’amagaamaga. Bweyalaba nga tewali amumanyi, ne yeevaamu ne
yeegulirayo essowaani y’ebigere nga bamuteereddeko n’ekitole ky’ettooke
olwo n’adda ku bbali yeggweere.
Abantu abazunza eηηambo babi nnyo kubanga ne Ssekitooleko baamukola
eky’omulokole(ekigambo). Yali akyabwamye akuba ennoga eno nga
bwagajambula ekigere, n’awulira eddoboozi lya Nakibirango ng’amugamba
nti “ee ggwe bw’oba olya toyita banno?”
Ssekitooleko eyali amaze okubatika ekitundu ky’eggumba lye yali
agajambulako ennyama, yabbulula amaaso okutunuulira mukazi we,
ng’eno bw’asaba ettaka limumire. Wano Nakibirango we yabuukira be
ccopa, n’akkakkana ku bba n’amunyiga amatama nga bw’akuba enduulu
Page3
eyasomboola ab’ebuule n’e Bweya era nga bw’aleekeeza nti ‘Mujje
munnyambe nkutte akisajja ekibbi’ Ensi yeekuluumulula okulaba ejjano.
Nakibirango yayomba nakunakkuna, abasajja bonna n’abagatta wamu nga
bw’agamba nti, “Abasajja baasiriwala ne badda ne mu kati. Osobola otya
okuliisa abaana bo ne mukazi wo n’abagenyi ebinyeebwa ku ssekukkulu
ggwe
ne
weemulula
n’ojja
obwabwagala
ku
munyama
obwomu
n’oluvannyuma okomewo weesaanye!’ Nkugambye omukazi by’ataayogera
nga munsi tebiriiyo. Ssekitooleko yakanda kwennyonnyolako ng’omukazi si
y’amuganya okwogera.
Ebbula ly’ensimbi eririwo ndimanyi olw’emmeeme entono alina n’obuliirize
Mmunenya mmuddiramu. Wabula lwaki omukazi y’alinoonyezza emiroboli
ku bba ng’agenda amulondoola gy’alaze? Lwaki?
OBA
2. b) Ekituundu kino kikyuse mu Luganda.
Let me allow Mr. Nsimbi to speak for himself about his life and experience
as a teacher and inspector of Schools.
“My interest in Luganda must have been acquired from my aunt the late
Veronica Nanziri. ‘She always impressed me as a clear speaker of the
Luganda language…’ I do not think I have as yet another person who speaks
Luganda as clearly and as meaningful as she did…..”she always managed to
make her points either through the usage of proverbs, or idioms.’ I have
dedicated my book on proverbs Siwa Muto Lugero to the memory of this
beloved aunt.
“It is difficult to compare standards of education in my school days with
standards in schools today…..May be we did not cover as much ground as
students today are to but during our time, there was no fooling around. It
was always work, work, work……..”
“Teachers still made use of the stick and this drove us to work extremely
hard.” I do not regret having gone through this type of schooling. It taught
many of us to live disciplined lives and to acquire sense of responsibility.” I
think there is too much freedom in our schools today. I agree the old harsh
system had to change with time but I think it would have been better if the
change was more gradual. I am opposed to the view which encourages
school children to dictate each and everything that is done at school.
Children are children and they should be helped to learn how to respect
their elders. They should be helped to distinguish the right from the wrong”.
“1 personally believe that if we believe in African personality, then the
vernaculars must have a place in our system of Education. No community
without a language can really have a distinct personality. I am of the
opinion that two or three vernaculars should survive”. That’s what he
replied when asked about the place of the vernaculars in the system of
Education.
Page4
(Extracted from: the teacher, a Magazine of current ideas for Uganda
Schools, April, 1966. The article was written by Enoka H. Rukare).
3. a) Jjuzaamu ebisoko ebisaaniramu.
(20 marks)
i) Abo ennaku zino omukwano gubasaza mu………………era baagalana nnyo.
ii) Omukazi mukakitange bwe twamuloopye ate ekizimba kyasambye
busambi ….. era n’ayongera okutulugunya.
iii) Omukadde oyo wabula mponga………………….. anti talina wadde ssente
n’emu.
iv) singa tebwabadde budde kundiira …………… nabadde njakuta akaka
bampulire.
v) Abasajja baabadde bakongozze omulangira……..era ne balwana
okukkakkana ng’omu eriiso mmye.
vi) Mulirwana omuti gumugwiridde era bamututte obugere buwala…..
vii) Obufumbo bwa muwala we bw’alemagana anti omusajja gwe yali
afumbiddwa …………………yali yamutomera.
viii) Omusajja oyo buli gy’akola bamwemulugunyiza nti alimu
…………empanvu anti mubbi.
ix) Omwana yalutuviiridde ku…… n’attottola engeri gye baamuwambamu.
ix) Obwedda bamubuuza gye yatadde ssente ng’ayanjala
………………….ng’omuwabutwa asigadde awali omulwadde.
3. b) (10marks)
i) Ebikolwa bino bifuule nnakongezalinnya.
(2 marks)
– Sirika
– Bba
ii) Ebikolwa bino biwandiike mu kawakatirwa akeekola.
(2 marks)
– Yimba
– – Zzannya
iii) Amannya gano gateeke mu mbu mwe gagwa.
(6 marks)
– Kikopo
– Olweyo
– Bitabo
– Bwino
– Muchungwa
– Gucungwa
***BIKOMYE***
Leave a Reply