S4 UACE LUGANDA 2017

Luganda Department 2017
Page 1

UACE LUGANDA 2017
UGANDA CERTIFICATE OF EDUCATION
Internal MOCK EXAMINATIONS 2017
LUGANDA
335/2
OBUDDE: ESSAAWA BBIRI (2 HRS)

EBYOKUGOBERA:
 Olupapula lulimu ebitundu bisatu; A, Bne C.
 Ddamu ebibuuzo byonna mu kitundu A ne B.
 Mu kitundu C londayo ebibuuzo bisatu (3) byokka.
 Toddamu bibuuzo bisukka mu kimu okuva mu katabo akamu.

EKITUNDU A

1.
Soma ekitundu ekikuweereddwa n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku
nkomerero yaakyo.

Ffe
Abaddugavu,
abantu
b’endyo
eza
langi
endala,
okugeza,
abazungu
n’Abakiboggwe, tebannalabira daala bisaanyizo bye tulina kwe bayinza okusinziira okutuwa
ekitiibwa ekisibuka ku buttoned bwaffe. Bwe twagulibwa ng’abaddu ne tutwalibwa ku nkalu
endala nga olw’America, era Abazungu bwe beegabanya ensi zaffe ne bazifuula amatwale
gaabwe, twafiirwa ebyaffe mwe twandiggye ekitiibwa ekitali kyazike. Okufiirwa obutongole
mu nnimi zaffe ez’ennono, amawanga gaffe ag’ennono agasinga obungi gaatyemulwa
obulere, ate obulere obwo ne bagenda nga babugattagatta nga ebiraka mu lugoye
olukadde, eby’enfuna byaffe ne babirengezza, olwo ne batukolera amawanga gaffe agaliwo
kaakati.

Tebaafa ku byetaago byaffe ebisibuka ku by’obuwangwa. Ffe mu mawanga ago
ekiseera eky’okwefuga we kituukidde nga n’eby’obuzaale bwaffe, amagezi gaffe, eby’enfuna
byaffe ko n’endowooza zaffe nga tubyerabidde oba nga tetukyabifaako, kaakati kye tuva
tubeera ng’abantu Katonda be yatonda n’atabaako k’atuwadde mu by’amagezi: Abaliwo ku
lw’ekisa kya baganda baffe ab’ensi endala.

So mu butuufu, buli ggwanga Katonda yalyawuliza ku bitone bye. Mulimu gwa buli
ggwanga okutegeera n’okukuza ebitone byalyo. Bwe liremwa okubifaako be ligulumiza
eby’amawanga amalala byokka ebyalyo tebikula. Ebiro bino osanga abaana mu maka
agamu nga bakuluusanyizibwa n’okwogera Olungereza: mbu nga ke kabonero akalaga
amagezi era nga ye nsibuko y’ekitiibwa mu maka. Okufumbira obuyindiyindi n’ensugga mu
binyeebwa, mbu ke kabonero akooleka obuwejjere mu maka! Endowooza ey’engeri eyo,
etaliimu kwewa kitiibwa terema kuleetera mawanga gaffe nga Yuganda, okuyisibwa nga
ery’abato abasaanidde okugabirirwa, okulagirirwa, okujjukiza kye lisaanye okukola,
n’okuyigirizibwanga bulijjo.
Ekitone kayingo omutonzi kye yawa abantu kwe kutegeera n’okwemanya, ate
n’okusobola okunyonnyola ebirowoozo nga babyogera mu bigambo. Olulimi kye luva lubeera
empisa ey’obuzaaliranwa enkulu eweesa eggwanga ekitiibwa. Abantu abatasobola
kwenyonnyola mu lulimi lwabwe, kizibu okubawa ekitiibwa ekisibuka mu bo bennyini.
Abantu abalabufu bateekwa okumanya n’okutegeera obulungi olulimi lwabwe ate
n’okulikuza nga bwe kiyinzika, lusobole okutuukana n’embeera y’obulamu bwabwe egenda
ekyuka. Anti embeera y’abantu bw’ekyuka n’olulimi nga lukyuka okutuukana n’embeera
eyo. Bwe kityo embeera ereetera olulimi okuzaalibwa, okukula, ate n’okufa.

Luganda Department 2017
Page 2

Buli
ggwanga
ly’Abaddugavu
eririna
olulimi
oluweza
ebisaanyizo
kirungi
okukulaakulanya olulimi lwalyo. Afirika yonna erwetaga, kubanga “Tufaanane si kyalo,” ate
kirungi kimanyibwe nti buli ggwanga terikikola lwa kwesukkulumya ku malala, wabula lwa
kulwanirira kitiibwa kya luse lwaffe Abaddugavu, n’okwetusaako eby’amagezi mu ngeri
esinga obwangu n’omugaso; n’eby’amagezi bye tuyigidde mu mawanga gonna amakulu bwe
gaakola.

(Kismbuddwa mu Musizi, Feb. 1983, bya P. J. Kaddu Nnamba 330 Olup. 29, nga
mulimu ebyongeddamu).

Ebibuuzo:

(a)
Olugero “Tufaanane si kyalo” omuwandiisi aleese lwaki?
(Obubonero 3)
(b)
“Embeera z’olulimi omuwandiisi azigeraageranyiza ku mbeera z’omuntu” kino akiraze
atya?

(Obubonero 3)

(c)
Nyonnyola engeri za mirundi musanvu (7) abazungu gye bakonzibyamu amawanga
g”Abaddugavu.

(Obubonero 7)

(d)
Omuwandiisi kifaananyi ki ky’atuwadde Afrika kye yandibadde nakyo? (Obubonero 2)
(e)
Singa Abaddugavu bakulaakulanya ennimi zaabwe Afrika ey’enkya eneefaanana
etya?

(Obubonero 4)

(f)
Nyonnyola ensonga egaana Ab’ekibogwe okuwa Abaddugavu ekitiibwa.
(Obubonero 2)

Mu bibuuzo ebiddako (g, h, I, j) londako ekyokuddamu ekisingako obutuufu ku
bikuweereddwa.

(Obubonero 4)

(g)
Omutwe ogusaanidde ekiwandiiko kino ye

(i)
Obulabufu

(iii)
Okwekubagiza

(ii)
Obuyigirize

(iv)
Ebiraka

(h)
Abaddugavu bwe baatwaibwa mu buddu

(i)
kyaweesa abaddugavu ekitiibwa eky’ennono mu America

(ii)
ye yali ensibuko y’Abazungu okulengezza eby’enfuna y’Abaddugavu
(iii)
ennimi z’Abaddugavu zaakulakulana nnyo olw’abaddugavu okusomesa ennimi
zaabwe mu America

(iv)
Abazungu baatendereza nnyo abaddugavu

(i)
“Ebiro bino osanga abaana mu maka agamu nga bakuluusanyizibwa n’okwogera
Olungereza”. Wano omuwandiisi ayagala kukkaatiriza nsonga ki?

(i)
Eno ye nsibuko y’ekitiibwa eky’ennono.

(ii)
Eno ye nsibuko y’ekitiibwa ekyazike.

(iii)
Ke kabonero akalaga enkulaakulana mu by’amagezi.
(iv)
Kino kye kitiibwa ekisaanidde mu maka.
(j)
Omuwandiisi kifaananyi ki ky’atuwa ku mawanga agaakula edda?

(i)
Gaakula nga geesukkulumya ku gannaago.

(ii)
Abazungu bwe bakyuka mu mbeera zaabwe, olulimi lwabwe lwo terukyuka.

(iii)
Bawa Abaddugavu ekitiibwa ekisibuka ku buttoned bwabwe.
(iv)
Buli ggwanga mu Bulaaya lyafuba okwekuŋŋaanyiza eby’amagezi okuva
awalala ne ligafuulira ddala agaalyo.

EKITUNDU B

Luganda Department 2017
Page 3

Kola nnamba 2(a) ne 2(b).

2.(a) Maliriza engero zino nga bwe zoogerebwa.

(Obubonero 10)

(i)
……………………………………, be balima akambugu.
(ii)
………………………………….., gookya engalo.
(iii)
…………………………………….., empewo ekusuuza minyira.
(iv)
…………………………, si y’amusikira.
(v)
………………………., Katonda azitunga kiro.
(vi)
Awagenda ekkovu, ………………………
(vii)
Akutwala ekiro, ……………………………
(viii)
Akuvuma obuto, ……………………………
(ix)
Ebibuuka bitalagaanye, …………………………..
(x)
Ataalugende, ………………………………………………

(b)
Nyonnyola amakulu ag’omunda agali mu ngero zino.
(Obubonero 5)

(i)
Akuwaaniriza okulinnya, bw’ogwa y’akuyita “kaddu wannema”.
(ii)
Atunda ayolesa y’atera okumaza.
(iii)
Asooka okufuna yeerabira munne by’alifuna.
(iv)
Obwavu tebukumanyisa akwagala.
(v)
Akunoonya ameewola takunoonya masasula.

EKITUNDU C


Ddamu ebibuuzo bisatu buokka ng’obiggya mu butabo obw’enjawulo.

Toddamu bibuuzo bisukka kimu ku buli katabo.

3.(a) Soma ekitontome kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero
yaakyo.

F. MASAGAZI NE BANNE:
Balya N’enseekeezi

OMUGOTTEKO MU KIBUGA

Ebibuga bya leero,

Ffumbiro ne buyonjo,
Sseffuliya effumba,
Migotteko katogo,

Byawulwa mizigo.

Kyogero kya mwana.
Nju ku nnyumba,

Olubalaza emisana,
Ebbaafu enaaba,
Mpaawo bussizo.

Kinaabiro ekiro.

Yeegoyera lya ccapati.

Empitambi efulumwa,

Abavubuka okwenda
Esibwa mu matu.

Bakeera maliiri
Amazzi amajama,

Abakadde okutala,
Gawooma butunda.

Abato badd’eri.

Omwana ne nnyina,

Obuyisa amatendo,
Bagabana musajja.

Bumiringuswa agaze.
Omuvubuka ne taata

Omuzigo n’omuliro,
Bawaanyisa bakazi.

Okusuzibwa mu kattu!

Luganda Department 2017
Page 4

Ebibuuzo:

(i)
Omanyira ku ki nti kino kitontome?

(Obubonero 4)
(ii)
Ng’osinziira ku kitontome kino, laga ebizibu ebisangibwa mu kibuga. (Obubonero 4)
(iii)
Amaloboozi gazimbiddwa gatya mu kitontome kino?

(Obubhonero 8)
(iv)
Bw’osoma ekitontome kino kikusa mu mbeera ki?

(Obubonero 4)

OBA

(b)
Bw’osoma ebitontome Balya N’enseekeezi, okizuula mangu nti abawandiisi baakyo
boogera ku biseera eby’akaco kano. Lambulula endowooza eyo n’ebyokulabirako.

(Obubonero 20)

P. MUKASA:
Jjangu Tutontome

Kola nnamba 4(a) oba 4(b).

4.(a) Soma ekitontome kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkuomerero
yaakyo.

OBWOMU

Nzuuno nkaddiye nyenjebuse, Wuliriza!

Nzuuno nkaddiye mpootedde, Wuliriza!
Bonna abanzaala baweddewo, Wuliriza!

Otulo neebaka mpawamuka, Wuliriza!

Munnange eyandeeta yasomoka, Wuliriza!
Ebisalabatta bimpawamula, Wuliriza!
Kaakati nsigadde kwekubagiza!

Kaakati nsigadde kuwuniikirira!

Nzuuno nkaddiye nsensebuse, Wuliriza!

Nzuuno nkaddiye ng’enderera, Wuliriza!
Abaana baabuna dda emiwabo, Wuliriza!
N’ekiwuubalo kimpitirira, Wuliriza!
Eŋŋanda ez’essimba zinserebyeko, Wuliriza!
Gye nkyala siraba nayo. Wuliriza!
Kaakati nsigadde kuwuluguma!

Kaakati nsigadde kukoona mimiro!

Nzuuno nkaddiye nyongobera, Wuliriza!

Nzuuno nkaddiye nyenjebuse, Wuliriza!
Nzuuno nkaddiye njabirira, Wuliriza!

Ndowoolereza ne nsumagira, Wuliriza!
Eyalina abangi batokomose, Wuliriza!

Emmere nayo tempoomera, Wuliriza!
Abankyalira abo balusuluugi, Wuliriza!

Kaakati nsigadde kwenakuwaza!
Kaakati nsigadde kuwuluguma!

Nzuuno nkaddiye nyongobera. Wuliriza!

Ab’emikwano besulubabba, Wuliriza!
Annyumiza emboozi si mulabako, Wuliriza!
Kaakati nsigadde kutolotooma!

Obwomu buterebula, Wuliriza!
Ennaku yeetuma ng’oli bwa ppeke, Wuliriza!
N’ossa ebikkowe eby’okumukumu, Wuliriza!
N’ogakaaba ate ne gakala!

Obwomu nga bukaluba, Wuliriza!
Buli akakuba n’okawulira, Wuliriza!
Eyalina abantu n’owuluguma, Wuliriza!
Kaakati nsabirira kusomoka!

Luganda Department 2017
Page 5

Ebibuuzo:

(i)
Laga ebintu bina (4) omutontomi by’akola mu kitontome kino. (Obubonero 4)
(ii)
Omuwandiisi bintu ki by’akoze okunyumisa ekitontome kye?
(iii)
Bw’osoma ekitontome kino kikussa mu mbeera ki? Lwaki? Nyonnyola bulungi.

(Obubonero 4)
(iv)
Nyonnyola omutontomi kya’ategeeza mu sitanza esembayo.
(Obubonero 4)

OBA

(b)
Menya emize etaano (5) Mukasa gy’atontomako mu katabo ke Jjangu Tutontome
olage n’obubaka bw’atutuusako ng’ayita mu mize egyo.
(Obubonero 20)

C. KALINDA:
Pawulo Kirimuttu

Kola nnamba 5(a) oba 5(b).

5.(a) Nyonnyolla omusomo gwa Kalinda mu kuwandiika gye gufuula akatabo ke
ak’omulembe.

(Obubonero 20)

OBA

(b) Nyonnyola engeri abantu b’e Wabinoga gye baakuumamu empisa zaabwe
ez’ekinnansi.

(Obubonero 20)

W. KIYINGI:
Gw’osussa Emmwanyi

Kola nnamba 6(a) oba 6(b).

6.(a) Omuzannyo Gwosussa Emmwanyi gugenderera kukyayisa bantu butettanira kibuga
nga bava mu kyalo. Laga obutuufu bw’endoooza eno.

(Obubonero 20)

OBA

(b)
“Abantu abalabye Gwosussa Emmwanyi bonna bakakasirizza ddala eddekende
erigulimu n’obukugu bw’omuyiiya waagwo? Nyonnyola eddekende n’obukugu bwa
Kiyingi nga bwe bweyolekera mu muzannyo guno.

(Obubonero 20)

R.G. MUKASA:
Tokiiya ŋŋonge Nto

Kola nnamba 7(a) oba 7(b).

7.(a) Nyonnyola bulungi abantu abakiiya eŋŋonge ento n’engeri gye bagikiiyaamu mu
lugero luno.

(Obubonero 20)

Luganda Department 2017
Page 6

OBA

(b)
Bintu ki ebifuula olugero luno okuba olunyuvu era kino omuwandiisi akikola atya?

(Obubonero 20)

BIKOMYE WANO!

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *