UTIS UACE LUGANDA (LITULICA W’OLUGANDA) Olupapula olw’okusatu

UGANDA TEACHERS’ INTERVENTION SCHEME
Joint Mock Examinations
UGANDA ADVANCED CERTIFICATE OF EDUCATION
LUGANDA
(LITULICA W’OLUGANDA)
Olupapula olw’okusatu
Essaawa ssatu

INSTRUCTIONS TO CANDIDATES:
Olupapula luno lugabanyiziddwamu ebitintu bisatu A, B ne C .
Mu kitundu A kolamu ekibuuzo kimu.
Mu kitundu B kolamu ebibuuzo bibiri (2), namba ttaano(5) ya buwaze ne kirala
kimu okuva mu bitontome.
Mu kitundu C kolamu ekibuuzo kimu.

EKITUNDU A
ENGERO ENSIIYE.

Ddamu ekibuuzo kimu kyokka ng’okiggya mu nnamba 1, 2, 3 oba 4.

M.B NSIMBI: Bwali Butamanya.
1.
Nyonnyola bulungi ebintu ebitukakasa nti olugero lunolwawandiikibwa

oluvannyuma lw’okujja kw’omuzungu. (obubonero 25)
2.
“…………. Oswadde nnyo okuddira abaana b’osomesa n’obafuula bakazi bo.

Tetukyakuwa na kitiibwa. Ffe abakusekerera”

(i)
Nyonnyola ekivaako ebigambo ebyo okweyolekera mu lugero

luno.

(obubonero 05)

(ii)
Omuntu ayogerwako mu kaboozi ako omuwandiisi amuzimbye

atya?

(obubonero 10)

(iii)
Omuwandiisi alina ssomo ki ly’ayagala tuggye mu ssuula

omugiddwa ebigambo ebyo? (obubonero 10)

E.K.N KAWERE: Zinunula Omunaku.
3.
Gaba galinnya gati olunnyo nga nnyinimu zikomyawo yali yakatuula

ngatubuuza gye twasuze era n’ensonga eyatututte nga tetumubuulidde

……….. nga wayiseewo ekiseera mikolo n’amunnyonnyola ebyatutuuseeko.

Ng’amaze okubiwulira n’assa ekikkowe nga yennyamidde n’atugamba nti,

“Ekinywi n’abaana b’omwami bwe mutaakite baana bange mujja kutuleetera

kalunsambulira.”

(i)
Ebigambo ebyo biggiddwa mu ssuula ki? (obubonero 02)

(ii)
Nyonnyola embeera evaako okwogera ebigambo ebyo?

(obubonero 08)

(iii)
Olowooza bintu ki mikolo bye yannyonnyola omuntu

ayogerwako?

(obubonero 05)

(iv)
Nyonnyola ensonga ezireetera omuntu ayogerwako

okwennyamira.

(obubonero 10)

4.
Omuwandiisi yagenderera ki okussa abantu bano mu lugero luno?

(i)
Kulwawo

(obubonero 05)

(ii)
Kagulukankwale

(obubonero 05)

(iii)
Mulanga

(obubonero 05)

(iv)
Mpago

(obubonero 05)

(v)
Meeya

(obubonero 05)
EKITUNDU B
PULOOZI
5.
Soma ekitundu kino wammanga n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo

ebikikwatako.

Omuntu alaga nti ayagala obwakabaka Abaganda kwe bafiira ne bw’ataba

muganda, era kino kyeyolekedde nnyo ne mu by’obufuzi bwa Buganda.

Milton Obote (Omulaŋŋo) bwe yeeraga nti muwulize eri Kabaka wa

Buganda ne yeeyala n’akuta akalevu Abaganda baagamba nti ono kwe

tufiira era baamuyiiyamu n’oluyimba olugamba nti:

“Okugenda ne Ben ŋŋenda ne Obote Omulaŋŋo x2” kuba amateeka ga

Rooma sigasobole

Abaganda baasibira ben Kiwanuka ekikwa ne Bamumma obululu mu

kulonda kwa 1962 lwa kuba yagamba nti “Nja kuyita Kabaka tuteese”

Beecwacwana ne bagamba nti “omukopi ayita atya Kabaka?” ye omukopi

ateesa ki ne Kabaka?

Mu 1971 Amini bwe yawamba Obote Abaganda basanyuka kubanga Obote

yali amaze okukola ebinyiiza Abaganda nkumu okwagala kwe balina gyali

mu kusooka kwali kuweddewo anti yali aggyeewo Obwakabaka

n’awaŋŋangusa ne Kabaka amale afiire ku mawanga. Obote bwe yakuba

olubiri nga 25/05/1966 emisana ttuku Abaganda tebaamusonyiwa era

tebagenda kukyerabira.

Ensonga endala eyaletera Abaganda okusanyukira Amin okumaamulako

Obote kuba Amin yasuubiza okuzza enjole ya Ssekabaka Edward muteesa II

ate ekintu kye yatuukiriza. Abantu baayiiya ennyimba n’ebitontome

ebiwaana n’okusuuta Amin. Abantu baatuuma n’abaana baabwe Dada.

Abamu baabijweteka mbu Amin mwana wa Mwanga II mbu yamuzaalira

mu kiseera we yalwanyisizanga Abangereza ng’ali ne kabalega bwe baali

enguulu eyo. Ssebo Amin baamutuuma n’erinnya Muzzaŋŋanda.

Musevenio bw’alwanye olutalo mu 1985, omulangira Mutebi n’alabwako

mu bitundu ebyali mu mikono gy’abayekera. Abaganda baamanya bumanya

nti ensolo ku kizigo kweri. Baawa abayeekera obuyambi bwonna obusoboka

era mu 1985 gavumenti ya Obote II n’ewambibwa Lutwa ne banne ate mu

1986 Museveni n’awamba Lutwa. Tetugaanyi waliwo ebintu gavumenti

by’ekoze ne binyiiza Buganda okugeza federo, engeri ensonga y’ettaka gye

yakwatibwamu okuggya ekibuga kampala mu Buganda n’ebirala. Wabula

gavumenti bwe yamanya ng’Abaganda bafiira ku Kabaka ne ku bwakabaka

n’egamba nti kiwedde.

Ebibuuzo:

(a)
Ekitundu ekyo kiwe omutwe ogukituukirako.
(obubonero 02)

(b)
Nyonnyola n’ebyokulabirako engeri Abaganda gye bagalamu abantu

abagala Obuganda?

(obubonero 07)

(c)
Mbeera ki omuwandiisi mwawandiikidde?
(obubonero 06)

(d)
Nyonnyola engeri omuwandiisi gye ye yambisizamu olulimi?

(obubonero 06)

(e)
Nyonnyola amakulu g’ebigambo bino nga bwe kikozeseddwa mu

kitundu ky’osomye.

(obubonero 04)

(i)
Yeeyala.

(ii)
Ekizigo

(iii)
Federo

(iv)
Beecwacwana

EBITONTOME
Ddamu ekibuuzo kimu kyokka ng’okiggya mu nnamba 6, 7, 8 oba 9.

OKOT P. BITEK. Omulanga gwa Hawino (kyakyusibwa Abasi Kiyimba)
6.
EKIRYO KY’ENSUJJU

Mwami wangali ocol

Bino olabika wa byerabira

Kati ka mbikujjukize

Bajjajjafe bwe baabanga basenguka

Ng’ekiryo ky’ensujju tebakikuula

Baakiddaabirizanga bulungi

Baakiyiwangako evvu n’obusa ku kikolo.

N’okukitemera ne bakitemera

Era tewali yakyegezaamu ku kitemawo.

Bw’oba nga ddala gwe musika wa kitaawo

Ngo nnyoko teyakusiiga busiizi mu kika,

Kakkana ku maviivi

Oddaabirize ekiryo ky’ensujju

Kikuulemu omuddo,

Okireke kirande bulungi,

Leka kwekaniikiriza nti okitemewo

Ekyo kivve mu mpisa Z’Abachili,

Era nze nkuze okutuuka wano

Siwuriranga yali akikoze.

Taata w’abaana bange

Oli muzzukulu wa Lutany-mou

Eby’okweyisa nga omuwere biveeko,

Tuula weebulire

Olowooze ku buggagga obw’ensibo

Bajjajjaabo bwe baakuletera

Kati bw’oyagala okweggyako

Nga weesiba ku buwangwa bw’abagwira

Ekiryo ky’ensujju ekisigala mu kibanja

Ng’abantu basenguse

Ffe Abacholi tukiwa nnyo ekitiibwa

Anti eba mmere

Mu mpisa zaffe nga Abacholi

Omwana ne bw’akkuta n’abwegera.

Tetumukkiriza kuzannyisa mmere

Okuva edda n’edda

Mu buwangwa bwa bajjajjaffe

Ekiryo ky’ensujju bwe bulamu

Ebikoola tubifumba ne tubirya

Ate ensigo bw’ozisiika obulungi

Ng’oziwadde n’omunnyo by’ekyeya.

Ensujju yennyini bw’ekula

Tugisalaasalamu ebibajjo

Ne tubyanika ne bikala ne tubitereka,

Byaniriza abagenyi abagudde obugwi,

Ate enjala bw’egwa nga gyebiri mu kyaga

Abaana basigala baligita

N’ab’ekkanda to beekanya

Kati ggwe musajja wattu

Ayagala okukuula ekiryo ky’ensujju.

Enjala bw’eneegwa onoddukira wa?

Ekiryo ekisigala mu kibanja kye basenguseemu

Kiyamba abatambuze n’abeggami b’enkuba,

Kubanga bw’otambula olugendo.

Toyinza kumanya gy’anooba.

Ng’enjuba egolooba.

Waakiri osula mu kifulukwa.

Ng’olubuto lubuguma.

Ebibuuzo

(i)
Omuwandiisi atusengekedde atya ebirowoozo bye?

(obubonero 07)

(ii)
Laga bulungi omugaso gw’ekintu ekikulu ekyogerwako mu

kitontome kino.

(iii)
Omutontomi ali mu mbeera ki era ali mukitontome.

(iv)
Kiki ekyogerwako ng’ekivve ara lwaki kiyitibwa ekivve.

(obubonero 04)
7.
Ebitontome byonna ebiri mu katabo omulanga gwa hawino binyuma biki

ebifudde ebitontome bino ebinyuvu.

F.M MASAGAZI: Mpawo Kitakya.
8.
Soma ekitomtome kino n’oluvanyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero

yaakyo.
OMUZADDE KATONDA W’OKUNSI

Nzijukira maama waffe by’alafuubanye nabyo tube kye tuli.

Ate n’oluyimba olwannyumira ku muzadde.

Omwana bw’okula weebaza omuzadde

Omuwala bw’awasa ng’addiza abazadde

Omusajja ow’amaka, jjukira abazadde

Alina ebisente, tonyooma yazaala.

Ne bwe baba bakadde, baddize kubyabwe.

Eggulu libanja, oyagala omuzadde

Buli kyonna ky’oli, omuzadde ye yali oyo!

Kati laba oli musajja, omusajja mu maka

Kati oyitwa na maama, maama w’abato

Singa tewali muzadde, tewandibadde bw’otyo

Omuzadde ye yateesa, ofuuke omusajja

Era yali muzadde, otuuke obe maama

Ye yanywa makaayi,

Luleeba lw’olutimpa,

Olubuto n’alutenga,

Amakiro n’obusobe,

Byonna n’abiganda

Omwana wa akula

Weebaze era siima, okufaayo kw’omuzadde.

Kati weemanyi obukyala, kuba ggwe mukyala,

Kati olina mukyala, n’omusajja mu maka!

Singa teyali muzadde, tewandikyalawadde

Maama ye yateesa, ofuuke nga bw’oli,

Mulimu gwa muzadde ogwakuwa olunenda

Empisa z’amaka

Ggatako ez’ekikyala

Okufuuka omusuutwa,

Mu maka g’omusajja,

Bazadde b’omusajja

Nabo bakutenda

Osaana kuddiza omuzadde, eyatema oluwenda!

Kati oli musajja, mu maka amasajja

Abaana bo ozadde, okkukuza ng’omusajja

Wandirabye okuboolwa abaagala abasajja

Kati lwaki tomuweera?

Nga yafuba akutuuse,

Omusajja mu basajja,

Tolina wadde anyooma,

Nti toli mu basajja

Otambula musajja

Ovaayo mu basajja

Weeyisa kisajja

Kubanga oli musajja

Gwe gira omusiime, kuba ye yalwana!

Omusente olina, kuba ggwe wayiiya

Bakuyita na muloodi olwokuweza omusente

Naye jjukira eyazaala, n’omukisa gwe nno

Olweza lwe yanaaza, gwe mukisa gw’ebisente.

Nasaba katonda

N’akuwonya ebitta

Obeerewo bulungi

Kussomera atutte,

Otandike obuyiiya,

Bye kuvudde omusente

Gwe muddize omussime, yakuwa omusingi!

Mu bakadde bwabwe, baddize obagambe

Tobaguza byansi, anti gwe omuzadde kati

Mu bulwadde bwabwe, kabube bubwo

Akanyama n’ekyenda, bakalye basiime

Ekikunta obazaale, bawereze ebujjajja

Bazannye, bazimbe, bakube ku lwali

Bawone ekiwubaalo, ekibeenyiya ensi eno

Kye baakola ng’okyali, okibaddize kati ggwe!

Bw’olikola amatendo, ngeggulu olituuse

Eggulu mu kusooka libeeramu bazadde.

Ekisa ky’obawadde, nga katonda akuweera

Ettima ly’obawadde, ne katonda omunyiiza

Kaakati tukole nnyo, tusanyuse abazadde

Eggulu litutuke, kuba tubawadde.

Katonda atubeere, n’abazadde baffe

Ebibuuzo

(i)
Ekitontome kino kisengekeddwa kitya.
(obubonero 08)

(ii)
Olulimi omuwandiisi lw’akozesezza luggeeyo lutya obubaka

mu kitontome.

(obubonero 04)

(iii)
obukugu bw’omuwandiisi bweyolese butya mu kitontome kino.

(obubonero 08)

(iv)
Omutontomi ali mu mbeera ki era lwaki?
(obubonero 05)

9.
Bwosoma ebitontome bya F.M. Masagazi mu katabo ke mpaawo

kitakya toyagala kuva mu kifo nsonga ki eziyiinza okuleeta embeera

eno?
EKITUNDU C
EMIZANNYO
Ddamu ekibuuzo kimu kyokka ng’okiggya mu nnamba 10, 11, 12 oba 13.

W. KIYINGI: Lozio Bba Ssesiria
10.
Well, that’s obvious ……………… Omwami y’oyo omuntu aliko bw’ali

(enseko) naye omusajja, well. Ye omuntu owa bulijjo (enseko) ………

(i)
Ebigambo ebyo bigiddwa mu kitundu ki eky’omuzannyo?

(obubonero 02)

(ii)
Laga omwogezi w’ebigambo ebyo ne gw’abigamba.

(obubonero 03)

(iii)
Weesigame kumuzannyo guno olage abantu abatuukirako

omwami n’omusajja aboogerwako mu kaboozi ako

(obubonero 10)

(iv)
Emboozi eno abasomi ebabikkulira bubaka ki? (obubonero 10)
11.

(i)
Ssesiria y’ani mu muzannyo guno.

(obubonero 05)

(ii)
Laga engeri gy’azimbiddwamu.

(obubonero 10)

(iii)
Engeri gy’azimbiddwamu efuuka etya ekyokuyiga eri abakyala

ab’omulembe guno?

(obubonero 10)

ELLY. N. KYEYUNE: Bemba Musota.
12.
(a)
Nyonnyola ku bino:

(i)
Entunujju

(obubonero 05)

(ii)
Akawulula

(obubonero 05)

(iii)
Ebirombojjo

(obubonero 05)

(b)
Ebyo by’onnyonyodde mu (a) waggulu omuwandiisi abyeyambisizza

atya okuzimba omuzannyo gwe?

(obubonero 10)
13.
Nyonnyola emiramwa kyeyune kwazimbira omuzannyo Bemba musota.

(obubonero 25)
Bikomye

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *