OMUGANDA OMUTUUFU Y’ANI?
EBIKA BY’ABAGANDA
Abaganda baawulwamu okusinziira ku ngeri gyewajjamu mu Buganda era n’engeri gye
baakufuulamu. Abaganda n’olwekyo amannya ag’enjawulo gaabayitibwanga era nga ge
gano
OMUGANDA
Omuganda ye muntu alina ensibuko ye mu Buganda era ono tayongerezebwako
kawakatirwa konna
OMUGANDA WAWU
Ono mukusooka aba teyali muganda wabula aba alina gye yava mu ggwanga eddala
wabula empisa z’eggwanga lye ne bazimuwawulako olwo n’afuuka omuganda era
n’ayiga empisa z’ekiganda.
OMUGANDA GGERE
Ono aba aliko gye yava ebigere bye ne bimutuusa e Buganda. Olwo n’atuula e Buganda
n’ayiga empisa z’ekiganda n’ayitibwa omuganda.
OMUGANDA KASWA
Ono aba yali wa ggwanga ddala naye bwalwa mu Buganda n’atandika okulya enswa
olwo n’afuuka omuganda kaswa. Anti ab’amawanga amalala abamu tebalya nswa.
OMUGANDA DDALA
Ono ye muntu aba yajja ng’ava yonna gye yava n’afuuka muganda naye ng’alinayo
eggwanga eddala mwe yava ettuufu.
Leave a Reply