EMBU Z’AMANNYA

EMBU Z’AMANNYA
Olubu ly’ettuluba amannya ag’enjawulo mwe gagenda. Mu luganda tulinamu embu
z’amannya 23 era ze zino
1MU
11LU
21O
2BA
12KA
22GA
3MU
13TU
23E
4MI
14BU

5LI
15KU

6MA
16WA

7KI
17KU

8BI
18MU

9N
19O

10N
20GU

1MU
Muno mugendamu amannya gonna ag’abantu, agenkalakkalira okugeza Namitala,
Nakyanzi, Mulema, Kayirebwa, Jjunju
Mugendamu n’amannya g’ensolo nga gafuuliddwa ag’abantu okugeza Wampologoma,
Wante, Wambuzi, Wakayima
Mugendamu n’amannya amalala nga ssabbuuni, Kkaamulali, Ppulofeesa
Amannya ago galagibwa ne Nnakasigirwa endazi eya ono/ oli/ oyo
2BA
Muno mugendamu amannya agali mu 1MU nga gali mu bungi okugeza bawala,
bannamusisi, bavubuka, bawampologoma
Amannya gano galagibwa Nakasigirwa endazi eya bali/ abo/ bano
3MU
Muno mugendamu amannya gano
Ag’ebimera okugeza muyembe, mucuungwa, muwogo

Ag’ebisolo okugeza munya, musota
Ag’endwadde okugeza musujja, mutwe
Nnakasigirwa endazi guno/ guli/ ogwo
4MI
Muno mugendamu amannya getulabye mu 3MU bwe gabeera mu bungi okugeza emiwogo,
eminya, emisujja, miyembe
Nnakasigirwa endazi gino/giri/ egyo
5LI
Muno mugendamu amannya agatandisa n’ennyingo “li” okugeza linnyo, lyato, linnya,
liggwa, liiso
Mugendamu n’amannya agaba galaga obunene bw’ekintu okugeza
kkazi, ssolo, lisota, lisajja, liwala
Mugendamu n’amannya amalala nga bbala, jjuuni, ttaka, ttama
Nnakasigirwa endazi lino/ liri/ eryo
6MA
Amannya agagenda mu lubu luno gatandika n’ennyingo eya ‘ma’ era nga galaga obungi
bw’amannya agali mu5LI okugeza amannyo, amaaso, amaato, amaggwa
Mugendamu n’amannya amalala ng’obumu bwago tebuli mu 5LI naye nga gatandisa
n’ennyingo eya ‘ma’ okugeza magulu, matu
Nnakasigirwa endazi gano/ gali/ ago
7KI
Muno mugendamu amannya agatandika n’ennyingo ‘ki’ okugeza ekiti, ekikopo, ekyoto,
kigiiko, kitabo
Mugendamu n’amannya agagezaako okuvumaganya ekintu okugeza kisajja, kikazi
Nnakasigirwa endazi kino/ ekyo/ kiri
8BI
Olubu luno lugendamu amannya agali mu 7KI nga gali mu bungi okugeza
ebisero, bigiiko, bikopo, biwala Nnakasigirwa endazi bino/ ebyo/ biri
9N
Muno mugendamu amannya agatandika Nnakinnyindwa naye ng’egattiddwako ensirifu
endala okugeza embwa, enkumbi, engatto, engoma, engano
Mugendamu amannya agaagandawazibwa okugeza essaawa, essaati, eggaali, emmotoka

Nnakasigirwa endazi eri eno/ eyo/ eri
10N
Mugendamu amannya agali mu 9N nga gali mu bungi okugeza embuzi, enkoko, kkaali
wabula tekikyuka wabula nnakasigirwa endazi y’ekyuka
Nnakasigirwa endazi zino/ ziri/ ezo
11LU
Muno mugendamu amannya agatandisa n’ennyingo ‘lu’ okugeza luku, luzzi, lusuku, lugoye,
lupapula
Nakasigirwa endazi luno/ luli/ olwo
12KA
Mugendamu amannya agatandika n’ennyingo eya ‘ka’ okugeza katale, kawunga, kambe,
katungulu
Mugendamu amannya agalaga obutono bw’ekintu okugeza kasajja, kawala, katabo,
kasumuluzo, katebe
Nnakasigirwa endazi kano/ ako/ kali
13TU
Mugendamu amannya agatandisa n’ennyingo eya ‘tu’ okugeza otulo Mugendamu amannya
agalaga obutono bw’ekintu nga gatandisa n’ennyingo ‘tu’ okugeza tujazi, tuwala, tusajja,
tuzzi, tunnyo
Nakasigirwa endazi ziri tuno,/ otwo/ tuli
14BU
Mugendamu amannya agali mu 12KA ne 13TU nga gali mu bungi okugeza butale,
butungulu, bwambe, busaati
Nnakasigirwa endazi buno/ buli/ obwo
15KU
Mugendamu amannya agatandika n’ennyingo ‘ku’ okugeza kutu, kugulu
Mugendamu n’amannya agatandisa n’ennyingo ‘ku’ nga gava mu bikolwa okugeza okulya,
okuwaata, okulima
Nnakasigirwa endazi kuno/ kuli/ okwo
16WA
Mugendamu amannya agatandisa n’ennyingo ‘wa’ nga galaga bifo okugeza wansi, waggulu,
wambeeri

Nnakasigirwa endazi wano/ wali/ awo
17KU
Mugendamu amannya agatandisa n’ennyingo ‘ku’ nga galaga bifo okugeza kungulu,
kummeeza
Nnakasigirwa endazi kuno/ kuli/ okwo
18MU
Mugendamu amannya agatandisa n’ennyingo ‘mu’ nayo ngera eraga ebifo okugeza munda,
mukisero, mukikebe, mummotoka Nnakasigirwa endazi muno/ muli/ omwo
19O
Muno tetulina mannya gagendamu
20GU
Mugendamu amannya agatandisa n’ennyingo ‘gu’ naye nga galaga obunene bw’ekintu era
gaggya ennono zaago mu mbu endala okugeza guwala, gusajja, guyumba, gulenzi
Nnakasigirwa endazi guno/ ogwo/ guli
21O
Muno tetulina mannya gagendamu
22GA
Mugenda amannya agali mu 20GU nga gali mu bungi okugeza gasajja, galenzi, gawala
Nnakasigirwa endazi gano/ gali/ ago
23E
Mu lubu luno mugendamu amannya agatandisa ennyingo eya ‘e’ naye nga galaga bifo
okugeza ewaffe, ebbali, egindi, emmanga
Nnakasigirwa endazi eno/ eri/ eyo

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *