Category: Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics

  • OLUYIMBA 75: TUSAASIRE FFE-ABANAKU Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 75: TUSAASIRE FFE-ABANAKU 1 TUSAASIRE ffe-abanaku, Tuzirise olw’ebibi; Otubeere-Omulokozi Kubanga ggwe osaasira. 2 Tusonyiwe abeeneya, Tutambule mu maaso go Ng’aboonoonyi-abasonyiwe, Tukwebaze-Omulokozi. 3 Tuzze gy’oli-Omulokozi, Ggwe eyafa ku lw’abantu Naffe fenna aboonoonyi Tumanyi nti osaasira. 4 Tetukyatya omulabe, Takyalina maanyi gonna: Kale leka tukwesige, Tusaasire -Omulokozi

  • OLUYIMBA 61: AYI KITANGE,NKWESIGA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 61: AYI KITANGE,NKWESIGA 1 AYI Kitange,nkwesiga Okumbeeranga Mu-ebyo-ebinambangako Mu mwaka guno: Sisaba kuggyibwako Bizibu byonna, Kyokka nsaba-erinnya lyo Lyebazibwenga. 2 Mwana ki-eyeerondera Ye by’ayagala? Ebirungi kitaawe Tabimugaana. Bulijjo-otuweereza Emikisa gyo; Kyenvu nsaba-erinnya lyo Lyebazibwenga 3 Bw’onompa mu bulamu Ebisanyusa, -Essanyu lyange lye nnina Lineeyongera: Ka nnyimbenga bulijjo Amatendo…

  • OLUYIMBA 76: OWEEBWE NNYO-EKITIBWA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 76: OWEEBWE NNYO-EKITIBWA 1 OWEEBWE nny(o) ekitiibwa, Ggw(e) eyatununula; Eyagulumizibwa N’emimwa gy’abaana. 2 Kabaka-agaba-obuwa, Omwana wa Dawudi, Mu linnya lya Mukama, Eyajja gye tuli. Oweebwe,nny(o) ekitiibwa, Ggw(e) eyatununula; Eyagulumizibwa N’emimwa gy’abaana. 3 Bamalayika nabo Baasuuta-erinnya lyo; Abantu n’enitonde Mu nsi ne baddamu Oweebwe,nny(o) ekitiibwa, Ggw(e) eyatununula; Eyagulumizibwa N’emimwa…

  • OLUYIMBA 62: TWEYANZIZA-EKISA KYO Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 62: TWEYANZIZA-EKISA KYO 1 TWEYANZIZA-ekisa kyo Okututuusa fenna, Mu mwaka guno-omuggya Ayi Kitaffe, wulira. 2 Mu bunafu n’ennaku, Ka tuddukire gy’oli Ng’ekkubo litubula; Yesu-otukulembere. 3 Bwe tulisemberera Ekiwonvu-eky’okufa, -Omuggo gwo n’oluga lwo Bye biritusanyusa. 4 Bulijjo tubeerenga Beesigwa,balongoofu; Ka tugumiikirize, Otusaayize-engule. 5 Mu nsi ey’omu ggulu, Tulikuba-ennanga-empya Nga…

  • OLUYIMBA 77: BWE NDOWOOZA-OMUSAALABA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 77: BWE NDOWOOZA-OMUSAALABA 1 BWE ndowooza-omusaalaba Mukama gwe yafiirako, -Obugagga bwonna obw’ensi Mbulaba nga tebuliimu. 2 Bwe ndaba-amazzi n’omusaayi- Ebyava mu mbiriizi ze, Ne ntegeera-okusaasira N’okwagala kwe bwe kuli. 3 Yesu Mukama onkuume, Nneme-okwenyumirizanga, Kino kyokka kinsanyuse Wanjagala n’onfiirira. 4 Singa mbadde n’ensi zonna Ne nziwaayo Yesu gy’oli;…

  • OLUYIMBA 63: ABAGEZIGEZI-EDDA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 63: ABAGEZIGEZI-EDDA 1 ABAGEZIGEZI-edda Bwe baalaba-emmunyeenye Baagiraba n’essanyu Ne bagigoberera; Naffe Yesu Mukama, Twagala-okukulaba 2 Bo baagenda mangu nnyo Okunoonya-Omwana-oyo; Eyafuga-ensi zonna N’akka ku lwaffe-ababi; Bwe tutyo twanguweko Tunoonye-Omulokozi. 3 Bo baawaayo-ebirabo Eby’omuwendo-omungi Ne babimutonera Asinga bonna-ab’ensi; Bwe tutyo naffe leero Tweweeyo Yesu gy’oli. 4 Yesu ggwe-ennaku zonna…

  • OLUYIMBA 64: MMUNYEENYE- EYAKIRA BONNA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 64: MMUNYEENYE- EYAKIRA BONNA 1 MMUNYEENYE-eyakira bonna -Abatambula-ekiro! Otwakire otuwonye Mu nzikiza yaffe. 2 Jjangu! Muwanguzi waffe, Yolesa-amaanyi go, Ensi zonna zikusuute, Zikugulumize. 3 Leero-ebitonde byo byonna Bikaaba bisinda, Awamu n’emyoyo gyaffe Nga tukusuubira. 4 Ggwe-eyeetikka-omusaalaba Otuwonye-okufa. Musuutwa waffe, labika, Jjangu:tukwetaaga. 5 Labika n’ekitiibwa kyo, Weetikkira-engule, Naffe ne…

  • OLUYIMBA 65: OTUBEERE MMUNYEENYE ENNUNGI Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 65: OTUBEERE MMUNYEENYE ENNUNGI 1 OTUBEERE Mmunyeenye ennungi, Laga-ekifo Mukama gy’ali; Oyakire mu nzikiza yaffe, Tukwate-ekkubo-eridda gy’ali: -Omununuzi ow’abantu bonna, Kabaka,Omutonzi wa byonna, Yeewombeeka ng’omwana-omuto. 2 Kale tumuwe eby’obugagga, -Akaloosa-ak’omuwendo-omungi? Oba kumuwa zaabu n’eruulu, -Obuyinja obumasamasa? -Obugagga tumuweere bwereere, Asinga-okwagala emitima Gy’abantu n’okusaba kwabwe. 3 Otubeere Mmunyeenye ennungi,…

  • OLUYIMBA 66: LABA-EMMUNYEENYE-ENNUNGI-ENNYO Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 66: LABA-EMMUNYEENYE-ENNUNGI-ENNYO 1 LABA-emmunyeenye_ennungi_ennyo Ey’ekisa n’amazima Emasamasa leero! Omwana wa Dawudi ggwe, Kannoonyenga amaaso go, Omuva omusana. Yesu wange, Gw’oli-okumpi,ayi Kabaka ow’ekitiibwa, Omuwanguzi wa byonna. 2 Emmeeme yange essanyuka Kubanga amaaso ga Yesu Galaba omuddu we. Yesu gw’oli-omulungi enyo, -Omutima gwange n’obulamu, Era-amagezigange, Beera nange Emirembe n’emirembe ,Ozaana!…

  • OLUYIMBA 67: ABANTU ABAABEERANGA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 67: ABANTU ABAABEERANGA 1 ABANTU abaabeeranga Mu nzikiza y’ensi Omusana gubaakidde Okugoba-okufa. 2 Watutikkula-emigugu N’omenya-omujoozi, Nga bwe wakola-omulabe, Ku lwa Midiyaani. 3 Anaayitibwanga-erinnya Kabaka-ow’amaanyi, Kabaka ow’emirembe, Katonda-omwagalwa, 4 Jjangu Enjuba-Entukuvu Mulisa-ensi zonna; Bonna bajjule-essanyu lyo; Mu mitima gyabwe. 5 Omwana atuzaaliddwa -Omwana-atuweereddwa; -Obuyinza bwe bulifuga, Mu ggulu ne…