Luganda Department 2017
Page 1
UGANDA ADVANCED CERTIFICATE OF EDUCATION
RESOURCEFUL MOCK EXAMINATIONS 2017
LUGANDA
LITULICA MU LUGANDA
P360/3
OBUDDE: ESSAAWA SSATU (3 HRS)
EBYOKUGOBERERA:
Olupapula luno lugabanyiziddwamu ebitundu bisatu A, B ne C.
Mu kitundu A ddamu ekibuuzo kimu.
Mu kitundu B, ddamu ebibuuzo bibiri (2), ekimu kya puloozi n’ekirala kimu
kiggye mu bitontome.
Mu kitundu C, ddamu ekibuuzo kimu.
Awamu ddamu ebibuuzo bina byokka.
EKITUNDU A
Ddamu ekibuuzo kimu mu kitundu kino.
M. B. NSIMBI:
BWALI BUTAMANYA
1.(a) Nnyonnyola ebintu eby’enjawulo omuntu eyettanira okusomesa omwana by’ayiga mu
ssuula “Ntwalibwa mu Kabubbu Primary School ne Nnyingira mu Mirembe Primary
School.
(Obubonero 15)
(b)
Amasomero M. B. Nsimbi gaayogerako mu “Bwalibutamanya” gafaanana gatya
n’amasomero ge nnakuzino mu Uganda?
(Obubonero 10)
2.
“Ekyekango kye nnasooka okufuna mu bufumbo bwange kwe kulaba ng’omwami
wange adda eka ku ssaawa ezo mu matumbi budde.”
(a)
Laga ebyekango eby’enjawulo omunyumya by’atuukako mu lugero luno.
(Obubonero 10)
(b)
Nnyonnyola ekigendererwa ky’omuwandiisi mu kusa ebyekango ebyo mu lugero
luno.
(Obubonero 15)
E. K. N. KAWERE:
ZINUNULA OMUNAKU
3.
Obukugu bwa Kawere mu kuyiiya n’okuwandiika Zinunula Omunaku bulagiddwa
butya mu lugeroluno?
(Obubonero 25)
Luganda Department 2017
Page 2
4.
“Ebigambo bisirikitu ddala ebyawambia ne bisimba amakanda era ne bitebenkera mu
mmeeme yange nga biva mu ebyo JJajjange bye yannombojjera ebyaliwo mu
kuzaalibwa kwange.”
(a)
Omunyumya yazaalibwa mu mbeera ki?
(Obubonero 10)
(b)
Lwaki omunyumya anyumya bwatyo?
(Obubonero 5)
(c)
Vyanyumya biyamba bitya omuwandiisi okutuzimbira olugero? (Obubonero 10)
EKITUNDU B – PULOOZI
5.
Soma ekitundu kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ebikikwatako.
Abaatusooka baabiraba nti, ‘Nnaku musana tegwokya omu.’ Naye nno nange
saamanya nsonga lwaki jjajjange Buyisebwomu yeeyitanga bw’atyo. Wabula okusinga
twmuyitanga linnya lya Nnakumusana enkuyege bwe zaali nga zikyamukubira enduulu, era
oluusi twamweyitiranga jjajja ‘Musana’ wabula bwe nkuze ne ntandika okulowooza ennyo ku
nsonga y’erinnya eryo lye twayitanga jjajja oyo omubuze!
Ku nsi kuno tekuli mulungi atuukiridde era tuyinza nti n’omubi asembayo ayinza
obutafunika, kunbanga buli muntu alina akalungi k’omuggyako. Ng’oggyeeko bazadde bo ne
baganda bo abamu, abantu abasinga beerowoozaako bokka anti, K’ezaala ….., ate ne
Bukadde magezi takubuulira kyamukaddiya naye era be bamu abagamba nti omuntu
w’okulira nga by’olabye bingi era wamma ddala nga kafukunya nga ke bagamba akaagula
Mukono.
Ennaku, ensaalwa n’obukyayi omuntu by’alaba ng’akyali mulamu bye njagala
okukuseetulira kubanga biyinza obutanva ku mwoyo naddala nze abikuliddemu kabe
kasinge nga nagenda n’okutonnya ku nsi nga bijjudde wonna era ddala nga biteese nga ga
Lubigi. Olw’okuba saakula na mmange ndowooza y’ensonga eyanviirako okuloza ku bukyayi,
enge n’okutuntuzibwa nga nkyali bbujje nnyini. Kale bwe nkugamba nti effitina n’obukyayi
mwe nkulidde toyinza kumpakanya.
Weebuuze ebbujje eritayogera wadde ebigambo ekkumi biti omuntu alikyayira ki?
Naye abantu balamu magoma anti gavugira aliwo, ate n’eyatya okwogerwako yasigala mu
lubuto. Omuntu akulaga nti wadde tolina ky’omukoze, ye takwagala n’kamu n’akeddagala,
wadde nga ggwe tolina ky’omanyi.
Weewuunya, omuntu oyo buli lw’akulabako awulira ng’emmeeme emukyekeera. Kye
saamanya nti muka kitange ono yali talina mwana mulenzi era nga tasuubira kumufuna.
Bulijjo kitange essuubi lye lyonna lyamuli mu kuzaala mwana mulenzi ate bwe kyatuukirira
ne gujjabagira ku ludda lwa mmange.
Muka kitange ono yali mukambwe ataddwamu ate nga mu kwekoboggoza akirako
eddebe omutali mazzi. Omukazi ono yali wa ngeri nga siiti …., anti taata bwe yabangawo
ng’ampembejja n’ambiita muli naye n’alowooza nti wamma ddala omutima nagwo bwe guli
sso nga bambi yali Katula kennyini.
Luganda Department 2017
Page 3
Eky’omukisa, Lugaba yannyamba ne nkula ate n’okusoma ne kunyanguyira era nga
n’enfuna yange si mbi nange kati nsobola okuzzibwako mu kyama!
Nga bwe bagamba nti okulwawo kulumya emmese ku ddiba lya kkappa ate nga
n’ebirwa bikyuka anti amalusu gafuuka engeregeze, ekiseera kyatuuka ensi naye
n’emukyukira anti essanyu baalyogerako dda nti teribeerera, ate nga n’akuyisa enkya ggwe
omuyisa ggulo! Ensimbi oba ziyite lupiiya zaamuggwaako n’ezzadde lye ne litandika
okuwogoka mpola mpola era kati alinga mulalu, atambula yeeyogeza kumpi kuyitira ddala
Ttembo. Wamma ggwe, ataakulaba akunyooma!
Ebibuuzo:
(i)
Mulamwa ki omunyumya gw’aseetula mu kitundu kino?
(Obubonero 4)
(ii)
Laga
embeera
omunyumya
mw’aseetulidde
emboozi
eno,
owe
n’ensonga
emuviiriddeko okuba mu mbeera eno.
(Obubonero 6)
(iii)
Laga bulungi ebifaananyi omunyumya by’atuukubidde okuggyayo omulamwa
gw’ayogerako.
(Obubonero 6)
(iv)
Musono ki ogw’olulimi omunyumya gwe yeeyambisa?
(Obubonero 6)
(v)
Mutwe ki omusomi gw’ayinza okuwa emboozi eno era lwaki?
(Obubonero 3)
EBITONTOME
Ddamu ekibuuzo kimu kyokka ng’okiggya mu nnamba 6, 7, 8, 9 oba 10.
Okot P’Bitek:
Omulanga Gwa Lawino (kyakyusibwa Abasi Kiyimba)
6.
Soma ekitontome kino n’oluvannyuma oddemu ebikikwatako.
EKIRYO KY’ENSUJJU …………..”
1.
Mwami wange Ocol
3.
Bw’oba nga ddala gwe musika wa kitaawo
Bino olabika wabyerabira
Nga nnyoko teyakusiiga busiizi mu kika,
Kati ka mbikujjukize.
Kakkana ku maviivi
Oddaabirize ekiryo ky’ensujju
2.
Bajjajjafe bwe baabanga basenguka
Kikuulemu omuddo,
Ng’ekiryo ky’ensujju tebakikuula
Okireke kirande bulungi,
Baakiddaabirizanga bulungi
Leka kwekannikirira nti okitemewo;
Baakiyiwangako evvu n’obusa ku kikolo
Ekyo kivve mu mpisa z’Abacholi,
N’okukitemera ne bakitera
Era nze nkuze okutuuka wano
Era tewali yakyegezaamu kukitemawo.
Siwuliranga yali akikoze.
4.
Taata w’abaana bange
6.
Okuva edda n’edda
Oli muzzukulu wa Lutany-mon
Mu buwangwa bwa bajjajjaffe
Eby’okweyisa nga omuwere biveeko;
Ekiryo ky’ensujju bwe bulamu
Tuula weebulirire.
Ebikoola tubifumba ne tubirya
Olowooze ku buggagga obw’ensibo
Ate ensigo bw’ozisiika obulungi
Bajjajjaabo bwe baakulekera
Ng’oziwadde n’omunnyo ogwemala,
Kati bw’oyagala okweggyako
Zikukyusa mu biseera by’ekyeya.
Nga weesiba ku buwangwa bw’abagwira
Ensujju yennyini bw’ekula
Tugisalaasalamu ebibajjo
Luganda Department 2017
Page 4
5.
Ekiyo ky’ensujju ekisigala mu kibanja
Ne tubyanika ne bikala, ne tubitereka.
Ng’abantu basenguse
Byaniriza abagenyi abagudde obugwi,
Ffe Abacholi tukiwa nnyo ekitiibwa
Ate enjala bw’egwa nga gyebiri mu kyagi,
Anti eba mmera
Abaana basigala baligita,
Sso si kya kuzannyisa
N’ab’eŋŋanda tobeekaanya.
Mu mpisa zaffe nga Abacholi
Kati ggwe musajja wattu
Omwana ne bw’akkuta n’abwegera
Ayagala okukuula ekiryo ky’ensujju,
Tetumukkiriza kuzannyisa mmere.
Enjala bw’eneegwa onoduukira wa?
7.
Ekiryo ekisigala mu kibanja kye baseenguseemu
Kiyamba abatambuze n’abeggami b’enkuba,
Kubanga bw’otambula olugendo
Toyinza kumanya gy’onooba
Ng’enjuba egolooba;
Waakiri osula mu kifulukwa
Ng’olubuto lubuguma.
Ebibuuzo:
(i)
Omuwandiisi atusengekedde atya ebirowoozo bye?
(Obubonero 7)
(ii)
Laga bulungi omugaso gw’ekintu ekikulu ekyogerwako mu kitontome kino.
(Obubonero 4)
(iii)
Omutontomi ali mu mbeera ki era lwaki ali mu mbeera eyo?
(Obubonero 3)
(iv)
Kiki ekyogerwako ng’ekivve era lwaki kiyitibwa ekivve?
(Obubonero 4)
(v)
Obukugu bw’omuwandiisi mu kitontome kino bweyolese butya. (Obubonero 7)
(vi)
Nnyonyola ensonga ezireetedde Lawino okukyawa ekitonde ekikazi.(Obubonero 25)
F. M. MASAGAZI:
MPAAWO KITAKYA
7.
Soma
ekitontome
kino
wammanga
n’oluvannyuma
oddemu
ebikuweereddwa.
OMUZADDE KATONDA W’OKUNSI
Luganda Department 2017
Page 5
Nzijukira maama waffe by’alafuubanye nabyo tube kye tuli. Ate n’oluyimba olwannyumira
ennyo ku muzadde.
1.
Omwana bw’okula, weebaza omuzadde
Omuwala bw’owaswa, ng’oddiza abazadde
Omusajja ow’amaka, jjukira abazadde
Alina ebisente, tonyooma yazaala
Ne bwe baba bakadde, baddize ku byabwe
Eggulu libanja, oyagale omuzadde
Buli kyonna ky’oli, muzadde ye yali oyo!
2.
Kati laba oli musajja, omusajja mu maka
Kati oyitwa na maama, maama w’abato
Singa teyali muzadde, tewandibadde bw’otyo
Omuzadde ye yateesa, ofuuke omusajja
Era yali muzadde, otuuke obe maama
Ye yanywa makaayi,
Luleeba lw’olutimpa,
Olubuto n’alutenga,
Amakiro n’obiganga
Omwana we akule
Weebaze era siima, okufaayo kw’omuzadde.
3.
Kati weemanyi obukyala, kuba ggwe mukyala,
Kati oli na mukyala, n’omusajja mu maka!
Singa teyali muzadde, tewandikyalawadde
Maama ye yateesa, ofuuke nga bw’oli
Mulimu gwa muzadde, ogwakuwa oluwenda
Empisa z’amaka,
Gattako ez’ekikyala,
Okufuuka omusuutwa,
Mu maka g’omusajja,
Bazadde b’omusajja
Nabo bakutenda,
Osaana kuddiza omuzadde, eyatema oluwenda!
4.
Kati oli musajja, mu maka amasajja
Abaana bo ozadde, olw’okuba omusajja
Singa teyalwana, okkukuza ng’omusajja
Wandirabye okuboolwa abaagala abasajja
Kati lwaki tomuweera?
5.
Nga yafuba akutuuse,
Omusajja mu basajja,
Tolina wadde anyooma,
Nti toil mu basajja!
Otambula masajja
Ovaayo mu basajja
Weeyise kisajja
Luganda Department 2017
Page 6
Kubanga oli musajja
Ggwe gira omusiime, kuba ye yalwana!
6.
Omusente olina, kuba ggwe wayiiya
Bakuyita na muloodi, olw’okuweza omusente
Naye jjukira eyazaala, n’omukisa gwe nno
Olweza lwe yanaaza, gwe mukisa gw’ebisente
N’asaba Katonda.
N’emizimu abalongo,
N’akuwonya ebitta,
Obeerewo bulungi
Ku ssomero atuttee,
Otandike obuyiiya,
Bye wasoma ebingi,
Kwe kuvudde omusente,
Gwe muddize omusiime, yakuwa omusingi!
7.
Mu bukadde bwabwe, baddize obayambe
Tobajjuza byansi, anti ggwe muzadde kati
Mu bulwadde bwabwe, kabube bubwo
Akanyama n’ekyenda, bakalye basiime
Ekikunta obabikke, nga bwe baakubikka
Abaana bo abazaale, baweereze e bujjajja
Bazannye, bayimbe, bakube ku lwali
Bawone ekiwubaalo, ekibeenyiya ensi eno
Kye baakola ng’okyali, okibaddize kati ggwe!
8.
Bw’olikola amatendo, ng’eggulo olituuse
Eggulu mu kusooka, libeera mu bazadde
Ekisa ky’obawadde, nga Katonda akuweera
Ettima ly’obawadde ne Katonda omunyiiza
Kaakati tukole nnyo, tusanyuse abazadde
Eggulu litutuuke, kuba tubawadde.
Katonda atubeere, n’abazadde baffe.
Ebibuuzo:
(i)
Ekitontome kino kisengekeddwa kitya?
(Obubonero 8)
(ii)
Olulimi omuwandiisi lw’akozesezza luggyeeyo lutya obubaka mu kitontome?
(Obubonero 4)
(iii)
Obukugu bw’omuwandiisi bweyolese butya mu kitontome kino? (Obubonero 8)
(iv)
Omutontomi alimu mbeera ki era lwaki?
(Obubonero 5)
8.
Weeyambise ebyokulabirako okuva mu bitontome eby’enjawulo olage engeri
omuwandiisi gy’alafuubanyeemu okusomesa abasomi be ku kintu ekikulu mu bulamu
ky’okwegendereza omuntu.
(Obubonero 25)
Luganda Department 2017
Page 7
EKITUNDU
W. KIYINGI:
LOZIO BBA SSESSIRIA
9.
“Ee, kale nzija, oyo gw’olabye alingiza mutabani wange yafumbirwa ono owa muno
(abuulirira) era mwana wange ka nkubuulire okyali mulenzi muto, tokkirizanga
sitaani kukukema kutuuka awo.”
(a)
Lwaki ayogera akozesa ebigambo “owa muno” ku gw’ayogerako? (Obubonero 3)
(b)
Mbeera ki omwogezi kw’asinzidde okwogera ebigambo ebyo?
(Obubonero 10)
(c)
Okusinziira ku ky’osomye mu muzannyo guno lwaki tewandikkirizza sitaani
kukukema kutuuka awo?
(Obubonero 12)
10.
Nnyonnyola bulungi essomo omuwandiisi ly’ayagala abasomi bayige ku mbeera
n’enneeyisa ya Jane, Mukasa ne Lozio mu muzannyo Lozio Bba Ssessiria.
(Obubonero 25)
11(a) Okusinziira ku nteekateeka y’omuzannyo guno, bintu ki ebiyinza okukaluubiriza
abazannyi baagwo?
(Obubonero 12)
(b)
Omuzannyo guno Kyeyune agwesigamizza ku kulombojja nfumo. Nnyonnyola bulungi
n’ebyokulabirako.
(Obubonero 13)
12.
Okubaawo kwa Walukagga mu muzannyo Bemba Musota kwe kuvaako obuwanguzi
bwa Kintu. Kubaganya ebirowoozo.
(Obubonero 25)
BIKOMYE WANO!
Leave a Reply