MUKONO EXAMINATIONS COUNCIL UCE LUGANDA PAPER 1 (Okuwandiika Emboozi, Okukyusa, Okufunza, Ggulama n’Ebisoko)

335/1
LUGANDA
Paper 1
Jul/Aug 2016
2 Hours

MUKONO EXAMINATIONS COUNCIL
Uganda Certificate of Education
LUGANDA
(Okuwandiika Emboozi, Okukyusa, Okufunza, Ggulama n’Ebisoko)
Paper 1
ESSAAWA BBIRI (2)

EBIGOBERERWA
 Olupapula lulimu ebitundu bibiri: A ne B.
 Mu kitundu A mulimu 1(a) ne 1(b).
 Londako (a) oba (b).
 Mu kitundu B mulimu nnamba 2 ne 3.
 Nnamba 2 londako (a) oba (b). w
 Nnamba 3 yonna ya buwaze.

EKITUNDU A
Kola nnamba 1(a) oba 1(b)
1. a) Ku mitwe egiuweereddwa, londako gumu oguwandiikeko emboozi ya bigambo 400.
(Buli mutwe bubonero 50)
i.
Kyaterekera omulamu ……………
ii.
Obutamanya kusoma na kuwandiika kwamusuula ewazibu.
iii.
Abakola omulimu gw’obwayaaya mu maka basaana kuwerebwa. Kubaganya
ebirowoozo.
iv.
Olubugo teruggwa matenda!
Oba
b) Ku mitwe egikuweereddwa, londako ebiri buli gumu oguwandiikeko emboozi nga
bw’olagiddwa.

(Buli mutwe gwa bubonero 25)

i.
Minista wa gavumenti ez’ebitundu akyaddeko mu kitundu kyammwe era
n’oweebwa omukisa okumunnyonnyola ensonga eziremesezza ekyalo kyammwe
okukulaakulana. Wandiika okwogera kwo.
(kozesa ebigambo 200)

ii.
Wandiika omuko mu mawulire ng’onnyonnyola engeri gye tuyinza okwewalamu
obutabanguko mu maka.

(kozesa ebigambo 200)

iii.
Wandiikira muliranwawo ebbaluwa ng’omutegeeza ensonga ezirudde nga zikuluma
era kw’osinsidde okumukuba mu mbuga z’amateeka. (kozesa ebigambo 200)

iv.
Wandiika alipoota ekwata ku byavudde mu kunoonyereza ku bivuddeko obumenyi
bw’amateeka mu kitundu kyammwe.

(Kozesa ebigambo 120)

EKITUNDU B
Kola 2(a) oba 2(b)

2. a) Kyusa ekitundu kino okizze mu Luganda

(obubonero 20)
In carrying out our daily activities, one can accidentally get cut by a piece of metal and if it
is rusty, it puts the individual at risk of infections such as tetanus. Rusty metals such as
nails, iron sheets, wires, even thorns or tree branches that are contaminated put one at risk.

Sometimes, the cuts are small and they do not present any danger provided one is up to
date with their tetanus immunization. Rinse the wound thoroughly with water, cleaning
out the dirt and debris, then wash the wound with mild soap and rinse thoroughly.

Cover the wound with bandage or a plaster, examine the wound and change the bandage
or plaster if soaked with blood. Visit the clinic or call your doctor if the wound becomes
swollen, painful or starts draining pus.

(Extracted from New Vision, February 22, 2016)

Oba
b) Funza ekitundu kino mu bigambo nga 100

Ensangi zino abawala bangi badibbidde ku mpya za bakadde baabwe! Entabwe eno evudde
ku mize emingi abawala bano gye balina era nga gye gitiisa abasajja okubagambako ne
baba nga babeetegula bweteguzinti kooti sseeteekera muswaswangule si kulwa nga
nneetulisizaako bbomu!

Abawala bangi naddala abakyali abato mu myaka balowooza nti batuukiridde era balungi
bazibu! Bano beewanika nnyo ku basajja ne babajerega ne babanyooma kujula
kubayisaamu lugaayu, ne bababadala leero nga bayita kuli nga mufu y’awunya. Ensimbi ze
bakulembeza mu buli kimu. Omusajja yenna alemererwa okukola ku byetaago byabwe
ebyetaagisa ensimbi bamukyayirawo ne banoonya oyo asobola okubawa ensimbi nga
tabajuza. Oyo gwe bafunye bwe zimuggwaako nga babuuka ate nga banoonyaayo omulala
mugagga ffugge atabazze mu nnaku.

Abawala bano okulimba bakulinamu ebbaluwa ate tebaswala. Teboogera mazima mu bintu
ebisinga obungi. Omuwala alimba emyaka gye, amannya ge, omulimu gwe, gy’abeera,
bakadde be n’ekikula kye! Oyinza okutunuulira omuwala atambula naye nga mu butuufu
yenna mupangirire bupangirizi. Agenda n’ayambala akabina n’olaba omwana eyatereera so
nga wa! Omusajja bw’azuula obulimba bwe ng’adduka.

Ennaku zino abawala bano benzi ba bbaluwa kuba bangi ku bo baba n’abasajja abasukka
mu omu be baganza. Bafuna bangi mbu buli omu abeeko ekizibu ky’amumalira! Omu wa
nviiri, omulala asasula nju, omulala kumukyakazaako omusajja bw’amanya nti omuwala
gw’asuubira okutwala mu ddya malaaya ng’amuvaako bukumbu nkuyege ku ggi.

Abawala naddala abo mu bibuga banyumira nnyo amasanyu. Bano buli lunaku basula mu
ndongo, mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyumirwamu. Abasajja batono abayinza
okunywerera ku mukazi ng’ono. Bannakyala bano beefuula abakola ennyo nga
tebafissizaawo
baganzi
baabwe
budde.
Abasajja
baagala
nnyo
okubafaako
n’obutabasuulirira, naye kasita alaba ng’omukazi tamuliiko nga naye amuggyako
ebirowoozo.

Olw’emyerago gino bangi ku bo bafundiikira bazaalidde ku mpya za bakadde baabwe.
Eky’ennaku abasajja batono abakkiriza okuwasa omuwala eyazaalako, abamu gwe
beeyitira “ggaali ekozeeko.” Omuwala bw’azaalira ku luggya abaana abasukka mu omu
ng’emikisa gye egy’okufuna obufumbo gikendeerera ddala.

Naye nno bambi ate olumu si mize gye gy’egimulemeza ku mpya za bakadde baabwe, naye
kuba kubulwa mukisa gufumbirwa! Oli naba muntumulamu nnyo era omukozi ddala naye
baaba nga yabulwa amugambako nti wo wayi!

3. a) Jjuza ebisoko ebituufu mu mabanga agalekeddwa mu sentensi zino. (Obubonero 20)
i.
Okuva lwe baamubbako ekyapa kye ayita ………………………………..tayambala ngoye.
ii.
Muwala we yamyuka ng’………………………………..buli omu amwewuunya.
iii.
Leero ekyemisana tuli bakukirunga mu ……………………………………….

iv.
Yamubuulirira naye ng’asiwa nsaano ku …………………………ng’omwana tawulira!
v.
Oyo ng’ayita kuli nga ………………………y’awunya!
vi.
Mwana mulenzi oyo alya ng’eyasimattuka …………………………………..
vii.
Yogera bulungi leka kwogerera mu nkwawa nga munywi wa ……………………………..
viii.
Tokiiya mulimi era kati alina n’enguku ezigudde …………………………………
ix.
Paulo yeeyimbamu ogwa ……………………………..bw’atyo ne yeetuga.
x.
Ekyabadde e Mukono nga ………………………………….kinegula.

b) (i) Wandiika ebigambo bina(4) ebiwangaala mu njogera naye ate nga mu mpandiika
tukozesa empeerezi emu.

(obubonero 4)

(ii) Wandiika amannya g’ebibinja agakolebwa amannya gano wammanga. (0bubonero 4)
–
Amayinja
–
essubi
–
enku
–
ebimuli
(iii) Wandiika sentensi bbiri (2) nga buli emu erimu nnakongezalinnya era ogisazeeko.
(0bubonero 2)

Bikomye Wano

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *