OKUKYUSA MU LUGANDA

OKUKYUSA MU LUGANDA
Okukyusa kye ki?
Okukyusa kwe kuddira obubaka obuli mu lulimi olumu n’obuzza mu lulimi olulala naye
nga tokyusizza makulu. Katugambe nti singa oddira obubaka obuli mu lulimi Olungereza
n’obuzza mu lulimi Oluganda olwo oba okyusizza. N’olwekyo, aba akyusa alina okulaba
nga takyusa makulu agaba gali mu bubaka bw’abakyusa. Awo no bwe tuba nga tukyusa
tufuba nnyo okulaba ng’amakulu agali mu lulimi olusooka geego gennyini agali mu
lwokubiri.Obubaka buno buyinza okuba obuwandiike oba obwogere.
Olulimi lwe tuggyamu obubaka lwe luyitibwa source language, oba olusooka oba
oluvvuunulwa, ate lwe tuzzaamu obubaka obaolufuna obubaka ne luyitibwa olwokubiri
oba receiving language.
EBYAFAAYO BY’OKUKYUSA
Awo olwatuuka olulimi olumannyiddwa ng’Olulattini nga lugenda lwatiikirira nnyo mu
nsi z’Ebulaaya yonna ggwe wamma nga lusukka! Ekyaluviirako okwatiikirira ennyo kwe
kuba nga lwali lwogerebwa abantu bangi nnyo nga kino kyali kivudde kukuba emu ku nsi
zikirimaanyiolwo nno eryanyi ne liwagaabakulembeze baayookuwakula entalo ennyingi
ne bawamba ebitundu by’ensi bingi era ne babikakaatikako okuyiga n’ okwogera olulimi
lwabwe Olulattini ng’era bwe gwali ku Bangereza bwe baawamba amawanga ga Afirika
mangi eraamatwale ago ne gakakaatikibwako okwogera Olungereza ate ezaffe ne
zijolongebwa.
Mu ngeri yeemu,era abafuzi b’amatwale bano bwe baasanganga ekintu ekiggya ettwale
lyabwe lyekivumbudde nga bakiriwambako nga beefuula nti bo be baakivumbula. Ggwe
towulira mbu omungereza yeyavumbula Nnalubaale n’ensibuko ya Kiyira? Ggwe
olowooza bannansi bonna baali bamuzibe bonna boobutavumbula bintu ebyo? Kale no
era kinajjukirwa nti ebintu bingi eby’amagezi Abalattini mbu bye baavumbula ng’era mu
byo mwe mwali okusoma n’okuwandiika.Naye no munnange osaana
ojjukirenti,okuwandiika kugambibwa okuba nga kwavumbulwa Basumeriya abo mu nsi
ya Mesopotamiya nga bwe twalaba mu ssomo ly’ennyanjula y’Oluganda.
Awo no munnange ekiseera kyatuuka abantu b’amawanga amalala ne bagenda bafuna
obwetaavu n’ennyonta ey’okukulaakulanya ennimi zaabwe ennansi. Bwe batyo
baatandika okugenda nga bakyusa ebiwandiiko ebitali bimu nga babizza mu nnimi
zaabwe enzaaliranwa. Ekiwandiiko ekyasinze okwettanirwa ennyo okukyusibwa mu
nnimi ennyingiky’ekiwandiiko ekitukuvu-Bayibuli.Bayibuli yakakyusibwa mu nnimi
ezisoba mu 2,000at’era ng’ekyakyusibwa. Emirundi egisinga kye kitabo ebiba kisoose
okuwandiikibwa mu lulimi olwo.
Ebisaanyizo by’omukyusa omulungi.

Nga bwe tulabye, okukyusa si mulimu mwangu nnyo kubanga singa oba nga
tokozesezza bukugu amakulu gayinza okufa.
Bino wammanga bye bisaanyizo by’omukyusa omulungi:
1. Ateekwa okuba ng’amanyi bulungi ennimi zombi (lw’aggyamuate n’olwo lw’aba
azzaamu.) Singa taba mukugu mu nnimi zombi okukyusa kuyinza obutabaamu
makulu.
2. Omukyusa omulungi ateekwa okuba ng’asobola okusoma embeera
y’ommwogezi oba omuwandiisi asooka.Singa kino kimulema okukola obubaka
bw’omwogezi oba omuwandiisi buyinza obutatuuka bulungi ku bannyini bwo.
3. Omukyusa omulungi ateekeddwa okuba ng’asobola okuwuliriza obulungi
n’obwegendereza erang’asobola okussaayo ennyo omwoyo alyoke asobole
okutegeera ebyo by’aba agenda okukyusa naddala singa biba nga bisomebwa
oba nga byogerebwa bwogerebwa.
4. Omukyusa omulungi ateekwa okuba ng’asobola okusoma n’okutegeera ensonga
z’aba agenda okukyusa. Singa aba tategeera by’aba agenda okukyusa,aba ajja
kubikyusa mu bukyamu.Anti aba tategera kye bitegeeza era n’ennonda
y’ebigambo nayo eba nkyamu.
5. Asaana abe nga muwuliriza mulungi.
6. Asaana abe nga mutendeke mu mulimo ko ne mu bukodyo bw’okukyusa.
Omukyusa omutendekeebintu by’akyusa byawukaniraddala kw’ebyo eby’oyo
atali mutendeke olw’ensonga nti yeomutendeke agoberera nnyo bino:
i.
Omukyusa omutendeke ateekwa okusoma mu kiwandiiko ky’aba
agenda okukyusa enfunda eziwera,wakiri emirundi egitakka wansi
w’esatu. Ekimukoza kino kwekwagala okwongera okunnyonyoka ne
kalonda yenna afa ku kiwandiiko ekyo ky’aba agenda okukyusa.
ii.
Bw’aba ng’akyusa agendaakyusa birowoozo so si kigambo ku
kigambo, wadde sentensi ku senetensi nga ky’agenderera amakulu
galeme kufa.
iii.
Afuba nnyo okumanya ebintu ng’enzimba y’essentensi ekkirizibwa mu
lulimi olwo lw’aba azzaamu.Okugeza Oluganda n’Olungereza.
iv.
Bwetuba tukyusa mu ngeri ennungi,omukyusa omutendeke amanya
nti waliwo ebintu byetutalina mu lulimi so ng’ate mu lulimi olulala
mwebiri.
Bino afuba okulaba ng’abigandawaza era ng’abisengese mu butuufu bwabyo.
v.
Omukyusa omulungi atekeddwa okumanya olulimi Oluganda mu
butuufu bwalwo nga talutabiseemu lulimi lulala asobole okwewala
obutategeerwa muntu mulala aba anaasoma ekiwandiiko

ekyo.Omukyusa omulungi alina okukitwala nti abo b’aba akyusiza
tebamanyi lulimi lulala lwonna okuggyako olwo lw’aba
akyusizaamu.N’olwekyo asaana yeewaale okutabiikiriza ennimi.
vi.
Omukyusa omulungi oluusi ayinza okulaba nga ssentensi eyitiridde
obuwanvu mu lulimi lw’aba akyusa aggyamu .Wano omukyusa
omulungiaba wa bbeetu okugikutulamu bw’aba akyusa kasita aba nga
takyusizza makulu.
vii.
Omukyusa omulungi ateekwa okwegendereza bw’aba ng’akyusa n’aba
ng’akyusa birowozo so sibigambo.Era yeegendereza nnyo okusobola
okulaba ng’ebirowoozo by’aba akyusa bigoberegana bulungi mu ngeri
ewa amakulu.So si kumala gakyusa.
Singa omukyusa omulunga aba akyusa naye nga mu kiwandiiko ky’akyusa mulimu
ebisoko n’engero oba enjogera,naye afuba okulaba ngayeeyambisa ebisoko,engero
n’enjogera ezituukira obulungi kw’ezo z’aba asanze mw’ekyoky’aba akyusa. Okugeza mu
Luganda mulimu engero ezaagala okukwatagana n’ezo ez’Olungereza.Okugeza
Bwetuba tukyusa, amannya agamugasobola okukyusibwa ne gadda mu
lulimi lw’oba okyusizaamu .Okugeza: a-Europe–Bulaaya b-Overseas- Emitala
w’amayanja c- Belgium- Bubirigi e- Turkey–Butuluuki f- Holland- Budaaki g-
Greece- Buyonaani h-Egypt- Misiri
i-Yugoslavia-Yugoyugo
j-German- Bugirimaani
Mwattu naawe noonyaayo amannya amalala kkumi ogongererezeeko.
Ate waliwo amannyaamalala go nga tetusobola kugakyusa ago tugaleka nga bwegaba
gali naddala singa gaba nga gankalakkalira .Mpozzi kyetuyinza okukola kwe kunyonnyola
amakulu gaagomu bigambo,okugeza:
UNEB-Ekitongole ekikola ku bigezo bya Uganda.
UNO-Ekibiina ky’amawanga amagatte.
African Union-Ekibiina ekigatta amawanga ga Africa.
East African Federation- Ekibiina gy’omukago gw’amawanga gw’obuvanjuba bwa Africa.
Mwattu jjukira nti amannya agamu tugaleka nga bwegaba gali tetugakyusa.

EBINTUBYETAAGIBWA MU KUKYUSA
Omuntu yenna aba agenda okukyusa yeetaaga ebintu ebinaamusobozesa okukola
omulimu ogwo obulungi.
i. Ekiwandiiko ky’aba agenda okukyusa(Text).Kino kikulu nnyo mu mulimu
gw’okukyusa anti wekitali mpaawo kiyinza kukolebwa, anti oba tolina ky’okyusa. ii.

Enkuluze(dictionaries) zino zikuyamba okuzuula ebigambo ebiyinza
okukubeerera ebizibu mukukyusa ekiwandiiko. Ng’oggyeeko enkuluzey’olulimi
lw’oba oggyamu, omukyusa yeetaaga enkuluze y’olulimi mw’aba azza.So ate era
weetaaga n’enkuluze ey’ekikugu eyeefunyiridde kumulimu/ ekwata kw’ekyo ky’aba
akyusaako. Okugeza enkuluze ey’eddini,ey’ebyobufuzi, ey’amateeka ,ey’ekisawo
n’endala. Kino kimuyamba okunyonnyoka kw’ekyo ky’aba
akyusaako.N’okweyambisa olulimi olutuukirakw’ekyo ky’aba akyusaako.
iii.
Ekyuma ekikyusa (translating machine)Mu nsi ezaakulaakulana
edda,omukyusa aba n’ekyuma kyikakyusabigambo. Kinokimuyamba nnyo mu
mulimugw’okukyusa kubanga kibeeramu enkuluze z’ennimi endala
nnyingiezaakula edda.Okugeza
Olufalansa, Olujamani, Olungereza, Oluyonaani, Oluwalabu, n’endala nnyingi ddala.
iv.
Ekyuma ekikuba mu kyapa(computer) Kino kikuyamba mu kukwanguyiza
omulimu gw’okukyusa olw’ensonga nti oluusiempandiika eyinza okukaluba
mu kusoma.So ng’ate ekyuma kino kyanguyako eddimu lino.Anti bwe liba mu
kyapa lyanguwa okusoma.
v.
Weetaaga okuba n’ebikozesebwa ng’ekkalaamu, empapula, peeni/bbayiro,
akasiimuula, nga tonnaba kuwandiika kiwandiiko kisembayo.
vi.
Weetaaga okubera ne banno b’okyusa nabo oba giyite tiimu. Bwetuba
tukyusa omulimu ogw’okukyusa guyanguwa bwe tuba nga tulinawo
abayambi. Tiimu eno ebaamu abantu ab’enjawulo okusobola okukola
omulimu gunoobulungi. Ebika by’abantu bano bye bino:
a.Omukyusa omukulu(chief transilator),
b.Abayambi (co-translators)
c.Abasoma mu mulimu (reviewers),
d. Abeekebejja mu mulimu oguba gukyisiddwa okulaba oba ebintu
ng’empandiika entongole, ensengeka n’ebiringa ebyo biri bulungi.(editorsand
proof readers) e.Abagezeza omulimu oguba gukyusiddwa (testers),
f. Abebuubuuzibwako (consultants)

EMITENDERA EGIYITIBWAMU NGA TUKYUSA EKIWANDIIKO KYONNA.
Nga tonnaba kukyusa kiwandiiko kyonna, waliwo emitendera egy’enjawulo
omukyusa omulungi yenna gy’alina okuyitamu ng’akyusa. Emitendera egyo gye gino
wammanga:
i. Omutendera ogw’okwetegeka.Bw’oba nga weetegeka oba olina okukola ebintu
bino wammanga:
a- Funa ekiwandiiko ky’oba ogenda okukyusa kubanga bwekitabaawo oba tolina
ky’oba ogenda kukyusa. b- Noonya ebintu by’oba ogenda okweyambisa (tools)
c- Noonya abantu b’oba ogenda okukola nabo.(team)
d- Manya abantu b’oba ogenda okukyusiza (target audience analysis) Kiba kirungi
nnyo okumanya abantu bano kubanga kikuyamba okukozesa olulimi
olubatuukirako.Awo no kirungi okumanya oba nga baana bato,bayivu, bakadde,
bamisomogyalema,ba nzikiriza ki (mu by’obufuzi oba mu ddiini)baamioba
bakyala, balina biruubirirwa ki,biki ebibanyumira ,babuwangwa ki?
e- Zuula obubaka obuli mu kitundu ky’oba ogenda okukyusa. Nga tonnaba
kutandika kukyusa, sooka osome mu kiwandiiko ekyo kyonna omanye kikikye
kyogerako. Kiba kya magezi okusooka okukisomamu emirundi egitakka wansi
w’esatu oba okusingawo. Bw’oba ng’osoma bulilw’osangaekigamboekiggya oba
ekigumu sooka okisazeeko omusittale era oluvannyumaokikebere mu
nkuluzeosobole okuzuula oba okufuna amakulu amatuufu. Mwattu eraoli
waddembeokwebuuzaako kw’abo b’osuubira nti bandiba nga bakusingako
nebasobola okukuyamba
f- Tandika okukyusa kwennyini.Bw’oba ng’okyusa kiba kirungi n’ovakumu ng’alya
akatogo. Ku mutendera guno oyinzaokugira ng’ebigambo ebikulemaobireka. So
ate era bw’oba olina ebigambo ebisukka mu kimu nga tonnasalawo ku kiriwa
kw’ebyo kiriwa ky’oba okozesa era ne wano gira nga byonna obiteekawo. Ku
mutendera guno oyinza obutafaayo nnyo ku mpandiika ntongole.
g- Okwekenneenya ebintu by’oba okyusizza. Ku mutendera guno, tunuulira ebintu
bino wammanga:
Obutangaavu – (transparance) wano tuba tunoonya obutangaavu bw’ekitundu
kye tuba tukyusizza.Weebuuze oba ng’amakulu gavaayo bulungi era omusomi
wo gw’oba oyagala aganyulwe mu ky’okyusa oba nga ddala anaategeera ebyo

by’oba okyusizza. Obanga ddalaanaafuna amakulu ago g’oba ogenderedde
afune era omuwandiisi waakyo geyagenderera afune.
Obutuukirivu (accuracy) Wano oba onoonya ebigambo ebireeta amakulu agaba
gali mu kiwandiiko kiri ky’okyusa. Ate era fuba okulaba nga by’okyusizza
bituufuera bitegeerekeka bulungi eri bannyini lulimi.
Kozesa ebigambo ebikkirizika eri bannyini lulimi (Natural language/ words). Bwe
tuba tikyusa twewala okugunja ebigambo ebitaliiyo.
Obutegerekefu (clarity) Fuba okulaba ng’ekitundu ky’okyusizza kitegeerekeka era
nga kikwataganaoba nga kidiriŋŋana bulungi.Obakatugambenti nga kikola
amakulueri oyo yenna aba akisoma.
Weewale okuwemula oba tugambe nti weewale okukozesa ebigambo
ebyesisiwaza (obsinity). Okuggyako ng’ekiwandiiko kye nnyini nga kye kiwemula,
naye ggwe weewale okukozesa olulimi oluwemula. Fuba nga bw’osobola
okwewala okukozesa olulimi olwesisiwaza bannyini lwo.
Weewale okukozesa ebigambo ebitalina mugaso mu kiwandiiko ky’oba okyusa.
Oba katugambe nti tolandagga kiteetagisa. Anti bw’olandagga amakuli gayinza
okufa oba okubula.
h.
Okugezesa ekitundu ekiba kikyusiddwa (Testing the translated text).Bw’omala
okukyusa, osaana n’ofunayo abantu mu tiimu yo obeyambise okugezesa ekiwandiiko
ky’oba okyusizza okulabaoba nga by’okyusizza ddala by’ebyo era ddala nga biwa
amakulu.
i.
Okwebuuza ku bakugu (consultations). Ku mutendera guno noonya abakugu mu
kisaawe ky’okyusizaamu obasabe bakuyitire mu kiwandiiko ky’oba okyusizza.
Ekigendrerwa nga kwekulaba oba nga tewali nsobi yonna ekuwubidde n’esigala mu
kiwandiiko ky’oba okyusizza. Era buli nsobi yonna gye baba bakulaze fuba okulaba
ng’ogigolola bulungi mbagirawo.
j.
Okuwandiika ekiwandiiko ekisembayo (final draft). Ng’omaze okuyita mu
mitendera egyo gyonna waggulu, ddamu owandiike ekisembayo. Kino tukisuubira
obutabaamu nsobi yonna,okugeza empandiika entongole etekeddwa okubera
ng’egobereddwa bulungi, ebigambo by’okozesezza biteekwa okuba nga by’ebyo
ebisaanirabannanyini lulimi ng’era ddala tebibeesisiwaza.Enkozesa y’obubonera nga
ddala y’esaanira.
EBIZIBU BYETUSAANGA MU MULIMUGW’OKUKYUSA.
Bwe tuba tukyusa okuva mu lulimi olumu okuzza mu lulala,tusanga ebizibu
eby’enjawulo.Ebimu ku byo bye bino:

i.
Ebyobuwangwa:
Buli ggwanga lirina olulimi lwalyo ko n’ebyobuwangwa byalwo.Mwattu era jjukira nti
olulimi ly’eggwanga. Olulimi lw’eggwanga eryo lwe lwokka olusobola okunyonnyola

byobuwangwa by’eggwanga eryo mu bujjuvu ne mu butuufu bwabyo. Kale no tusanga
obuzibu singa tuba tukyusa ku nsonga emu okugizza mu lulimi olulalakubanga olulimi
n’ebyobuwangwa tebiteŋŋana biringa birongo.Ye no ate singa ekyo kye tukyusa kiba nga
si kinnansangwa mu byobuwangwa by’olulimi olwo.Okugeza;
i.
Enjawulo eriwo mu kulamusa/okubuusa.Ekyokulabirako; olulimi
Olungereza n’Oluganda zirina enjawulo mu kulamusa.Anti mu Luganda
tugamba nti;Bannange tulabira wa?Nga tusanyuse nnyo
okubalabako!Abange!Yii.Muyogeeyoge nnyo.Eradde,nnyooge,maamu
,mirembe..Yii ngamutusuulidde omwoyo!Ab’eka mulesse bali
batya?Nnungi? Ate ye Omungereza agamba atya? Y’ate Omugishu?
ii.
Enjawulo eriwo mu kwebaza/kweyanza wakati w’olirimi Oluganda
n’Olungereza.Olulimi Oluganda lugagga nnyo mu bigambo by’okwebaza
n’okweyanza.Mu Luganda mulimu ebigambo ebiyinza okukaluba okuzza
mu Lungereza okugeza;Weebale nnyo weebalire ddala,ow’e Nkajja ,ow’e
Nnakatu,ndikumma okulya n’enkulyowa omwoyo.Nsiimye nnyo
,nsiimidde ddala ,toggyanga okwo.Ow’entamu enjaaliire, omubi okulya,
omulungi emirimu.Mwattu olimbula bazinga,ttojjanga okwo.Owange
….otukubye enkata ,eyaluggudde yaluggulanga! Kizzeeyo,nga
mw’asiimira!
iii.Olulimi olukozesebwa mu kufumba:
Mu byobuwanga by’Abaganda mulimu olulimi olukwata ku kufumba.Muno mwetusanga
olulimi olufa ku kuteekateka emmere mwetusanga ebigambo ebiyinza okuba ebizibu
okukyusa gamba nga;okuyisa omukka,okuseruza,okuteekako omugondoli,okuteekako
obuwuuwo,okusiba
oluyina,okusaliraemmere,obukunkumuka,oluvuutu,olujjuliro,essaaniiko,olwaliiro,enva
endiirwa,katunkuma,enkolwa,eddigobe,n’ebirala.
So ate n’Abangereza nabo balina ebigambo ebiyinza okuba ebizibu okukyusa okuzza
muLuganda ,gamba nga;hot dogs,french fries,cababos,sourceges,menu n’ebirala.
Bwe tuba tulya tulina obugambo bwetukozesa obuyinza okuba obuzibu okukyusa
gamba nga;okukuba ennoga,okusolobeza,okuwuuta,okuvuubiika, okuswankula
okuddiza ebigagu n’ebirala.
Mu kufiirwa;
Mu kufiirwa tulina ebigambo byetukozesa ebiyinza obutaba byangu bya
kukyusa.Okugeza;Nga kitalo nnyo nnyini!Nga kuboonaabona! Okussaako
omusika,okukuma olumbe,lubuga, omuyima,okusumika n’okusumikira.

Mu kwalula abaana waliwo ebigambo ebizibu;okugeza okuzina
abalongo,ekibululu,okulinnya mu mmere,Ssaalongo omuto,okukuba
enkanamu,okumenya olukandan’ebirala bingi nnyo.
2.Waliwo ebigambo ebirina amakulu ag’enjawulo mu buwangwa obw’enjawulo nabyo
oluusi bikalubya omulimu gw’okukyusa.Okugeza ebigambo nga ‘ ninnyenda’,Omusoga
aba ategeeza kwagala ate Omuganda aba ategeeza ‘okwenda’.Ate ‘Sitama ‘ mu
Lunnyaankole.
Amabeere mu Lugishu, mulembemayi,
3.Ebigambo ebivudde mu nkyukakyuka eziva ku by’obufuzi nga’ democracy,gender
balance,fraternity,liberty,women empowerment,globalisation…
4.Ebigambo ebigungiddwawo olwa tekinologiya omuggya gamba
nga;eyepard,earphones, socket, switch, whatsapp.
5.Enjawulo mu biro by’amawanga agali ku lukalu lwa Africa ate ne zi ssemazinga endala
gamba nga;mu Bungereza balina winte, summe,spring,autum.Ebitali mu Luganda.
6.Enjawulo mu biseera by’obudde.Okugeza mu Luganda tulina ebiseera ebikulu
mukaaga .Okugeza;ekyabulijjo,ekiriwo,ekyayita,ekyakayita, ekinajja,ate n’ekirijja.
7.
Enjawulo mu kifo n’ekiseera ekintu ekyogerwako we kyabeererawo.Okugeza
ebintu ebimu ng’ebiri mu Bayibuli byaliwo dda nnyo kale oluusi nga n’ebifo we
byatuukirawo oba bye bikwatako byakyusa dda amannya nga kati biyitibwa
bulala.Okugeza ‘Give us our daily bread’Kino mu Luganda tekiwa makulu kubanga ffe
Abaganda tetutwala migati ng’emmere wabula ng’ekyokunywera ku ccaayi.So ng’ate
mu ggwanga ly’Abayisirayiri emmere y’eŋŋanoy’emmere yabwe enkulu.
8.
Ebigambo eby’amakulu agasukka mu gamu.Waliwo ebigambo ebirina amakulu
agasukka mu gamu. Ebigamboebyo biyinza okuba ebizibu mu kukyusa, okugeza
ng’omusana,okulembeka, okukolola.
9.
Waliwo ebigambo ebirina amakulu agaagala okufaanagana okugeza nga
barn,embago, sanctions oba speak, talk,say.
10.
Tulina ebigambo ebizibu ebiyinza okutuleetera okukaluubirirwa mu kukyusa
okugeza nga tolina bikifaana mu Luganda okugeza nga globalisation
11.Okuwubwa mu kutegeera amakulu n’otegeeramu malala. Okugeza;Bannabyabufuzi
basaana kuwera.Wano aba ategeeza kuwera mu bungi oba okubateekako etteeka
eribayimiriza? Ate oluusi omukyusa ayinza okufuna amakulu amakyamu olw’okuba nga
si mukugu mu mulimo ogwo oba nga wakibogwe mu kumanya ennimi z’akyusa. Awo no
omukyusa omulungi kimukakatako okwemanyiiza ennimi zonna n’aba nga
azikuguseemu naddala ezo z’atera okukyusizamu.

12.
Okwongera ku makulu g’oba okyusa oba ekiwandiiko ky’oba okyusa (extraneous
material) Abantu bangi abeenyigira mu kukyusa balina omuze gw’okwongera ebigambo /
amakulu mu kiwandiiko kye baba bakyusa olwo amakulu agaba gali mu kisooka ne
gabula.
13.
Enjawulo mu nkozesa y’olulimi (figures of speech) .Buli lulimi lulina engeri gye
lukozesebwamu gamba ng’okukozesa ebisoko, engero, enjogera, ebikokko, n’ebirala
ebiringa ebyo. So ate oluusi nga bizibu’okutegeera mu makulu. Okugeza On a rainny day.
Politicians let us down. Great men and women turned the world upside down.Do not go
tothe HM because he is boiling.
Ebikaby’okukyusa
Abakyusa ab’enjawulo basobola okukyusa mu ngeri ez’enjawulo kasita bye baba
bakyusizza bisigaza amakulu nga geegamu. Jjukira nti ensonga enkulu ennyo mu
kukyusa kwe kukuuma amakulu obutiribiri ne gatakyuka. Okukyusa kulina ebika ebikulu
bisatu era nga bye bino;
1. Okutaputa:
Kuno kwe kukyusa ebirowoozo okubiggya mu lulimi olumu okubizza mu lulala kyokka
ng’omukyusa by’akyusa ayogera byogere. Awono, okukyusa okw’engeri eno kutera
kukolebwa ku mboozi enjogere nga bwe tulaba mu kubuulira enjiri kko ne mu buzannyo
bw’oku ntimbe obukyase ennyo ensangi zino.Omwogezi abeera ayogera ebirowoozo bye
mu lulimi olumu, ate olwo omutaputa nga bw’abizza mu lulimi olulala.
2. Okuvvuunula:
Kuno kwe kukyusa ebirowoozo okuva mululimi olumu okubizza mu lulimi olulala,
kyokka n’omukyusa agenda anyonnyola amakulu g’ebigambo ebiba bikyusibwa.
N’olwekyo okuvvuunula kwe kunyonnyola

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *