ENKOZESA Y’OBUBONERO MU LUGANDA (PUNCTUATION MARKS)

ENKOZESA Y’OBUBONERO MU LUGANDA (PUNCTUATION MARKS)
Mu luganda tulina obubonero bungi ate obw’enjawulo bwe tweyambisa nga
tuwandiika ssentensi awamu n’emboozi okusobola okugifuula ennyuvu n’okuwa
amakulu era nga bwe buno
1. Akafundikira/ akatonnyeze (full stop) (.) Akabonero
kano kakozesebwa bwe kati

Mu kumaliriza ssentensi okugeza Nantongo mulwadde.  Mu kusirisa
ebigambo okugeza Muky. , Mw. U.N.E.B

Mu kwawula emiwendo n’ennaku z’omwezi okugeza
17.04.2018

Singa emboozi ebeera erina ebigambo ebibuukiddwa okugeza
Nakamaanya yagamba nti tayagala kumweraga… era oluvannyuma
n’abavuma.
2. Akabuuza (Question mark) (?)

Kano kakozesebwa singa emboozi eyogerwa yeetaaga ekyokuddamu
oba ng’erimu obugambo obubuuza okugeza Mugenda ddi ku luzzi?
Babadde ki abo abatuleekaanira?
Ani akutumye omuggo ogwo?

Tukakozesa singa emboozi kwe kateereddwa kiba tekikakasibwa
bulungi oba kibuusibwabuusibwa okugeza Obama yazaalibwa mmu 1964 (?)
kubanga alabika ng’atutte emyaka egiwerako.
3. Obuwaabi (quotation Marks) “”
Obubonero buno oluusi buyitibwa buloopi era nga bweyambisibwa bwe buti

Singa wabeerawo ebigambo ebisimbuliziddwa okugeza Bbayibuli
etugamba nti “ataakole n’okulya taalye” kale nno mwewale obunafu.

Singa tuba tukozesa ekigambo ekitali kya lulimi olwo mw’owandiikira
okugeza : akawala ako abasomesa bakatenda okuba “smart”
Omutanda yawayizzaamu ne “president” w’eggwanga kun kola ya “federal”

Singa wabeerawo ekigambo ekyetaaga okussaako essira, ekigambo
ekyo kiteekebwa mu bubonero buno okugeza
“okusoma” kutuusizza bangi mu kwesiima.

Singa ekigambo ekyogerwako kiba n’amakulu agaawuka ku gaabulijjo
ekigambo ekyo kiteekebwa mu bubonero obwo okugeza
Omuyizi “yeesaze” akawero
Omusomesa oyo ayagala nnyo “okusala” anti ne leero teyasomesezza.

Okulaga ebigambo ebyayogerwa/ okuwandiikibwa omulala

4. AKASAZE (hyphen) – Kano kaawulwamu emirundi ebiri Akampi
(-)

Keeyambisibwa mu kugatta ebigambo awamu naddala ebigambo
ebyo bwe bitaba mannya okugeza nnyonyi-ntono, mubuzi-ekogga

Keeyambisibwa mu kwawulamu ekigambo naddala nga tekiweddeeyo
ku nkomerero y’olunyiriri.

Kayinza okukozesebwa mu kuwandiika ennaku z’omwezi okugeza 17-
04-2018

Kayinza n’okutegeeza okutuusa okugeza soma Bukedde olupapula
10-18

Okwawulamu emiwendo oba ennukuta ebyawuddwa Akawanvu (__)
Keeyambisibwa nga kalaga nti mu kifo we kateereddwa waliwo ebigambo
ebibuukiddwa okugeza
Ssaabasajja lwe yajja okutukyalira ebintu bingi byayolesebwa nga mulimu
ebivuga, emmere, ennaanansi__ wabula yasiima nnyo abaabiibya.
5. AKAMENYI (SEMI COLON) (;)

Keeyambisibwa mu kugatta ssentensi ebbiri oba okusingawo era ziba
zisobola buli emu okuyimirirawo ku bwayo okugeza Abayizi abasoma ennyo
bayita;abalagajjavu tebasoma bulungi.

Okwawula ebintu bya ssentensi ebiba bimaze okukozesebwamu
akawummuza okugeza okugeza okusooka, nnamuyita n’agaana; ate olulala
ye n’antumira omwana.
6. OBUKOMERA (brackets) ( )
Bweyambisibwa okulaga nti ekigambo/ ebigambo ebiteereddwa mu bukomera biwa
amakulu g’ebyo bye biddiridde okugeza Maama wa Buganda (Nnaabagereka)
yatukyalidde.
Omulongo omuto (Kato) yabuuka
7. AKASITALE /

Keeyambisibwa mu kuwandiika ennaku z’omwezi awamu n’emiwendo
emirala okugeza 17/04/1994

Keeyambisibwa mu kifo ky’ekigambo ‘oba’ okugeza
omuwala/omulenzi gwe twetaaga.

Keeyambisibwa okulaga nti akabonero mwe biteereddwa birina
amakulu ge gamu okugeza omusawo/omujjanjabi, enniina/ennyaanya
8. AKAWUMMUZA (COMMA) (,)

Keeyambisibwa mu kwawula ebintu ebimenyeddwa okugeza aleese
omunnyo, ssukaali, ebinyeebwa n’amata

Mu kusala mu ssentensi empanvu okusobola okussa omukka oba
okuwummulamu.

EMBU Z’EBIGAMBO (PARTS OF SPEECH)
Ebigambo bye tweyambisa mu lulimi oluganda byonna birina amannya gaabyo aga
ggulama bye gayitibwa. Kale nno amannya gano getuyita embu z’ebigambo. Mu bufunze
olubu tuyinza okuluyita ettuluba ebigambo eby’enjawulo mwe bigwa. Embu z’ebigambo ziri
munaana (8) era nga ze zino;
1)
Amannya (nouns)
2)
Nakasigirwa (pronouns)
3)
Nakongezalinnya (adjectives)
4)
Ebikolwa (verbs)
5)
Nakongezakikolwa (adverbs)
6)
Nakalazi/ Ssenfo (prepositions)
7)
Nakayunzi/ entababigambo (conjunctions)
8)
Nakakunga / obwewuunya (interjections)

Related Content


Comments

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *