Category: Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics
-
OLUYIMBA 48: YE KIGAMBO WA KATONDA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 48: YE KIGAMBO WA KATONDA 1 YE Kigambo wa Katonda, Kristo Yesu-Omwana we, Ye n’afuuka omubiri N’abeerako gye tuli Ne tulaba omusana -Okumulisa-enzikisa Emirembe n’emirembe. 2 Eyatonda-ebintu byonna, Era awataali ye N’ekimu-ekyakolebwa; Obulamu bw’ali mu ye Atutukuza fenna; Emirembe n’emirembe. 3 Bwe baalagira banabbi -Ab’amagezi-edda n’edda, Mu kitabo-ekyawandiikibwa…
-
OLUYIMBA 49: KU LUNAKU LUNO Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 49: KU LUNAKU LUNO 1 KU lunaku luno, Yesu ow’okwagala, Leero yazaalibwa Eno ye Ssekukkulu. 2 Leka tumusinze, Omulokozi waffe Mumuwe-ekitiibwa Nga mujaguza leero. 3 Yesu ye kwagala, Ye atwagala fenna; Naffe tumwagale, Kubanga ye yasooka.
-
OLUYIMBA 5: JJANGU GYE NDI BWE NZUUKUKA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 5: JJANGU GYE NDI BWE NZUUKUKA 1 JJANGU gye ndi bwe nzuukuka, Obudde nga busaasaanye, Osige mu mwoyo gwange, Ebirowoozo-ebisaana. 2 Jjangu gye ndi mu ggandaalo, Eby’ensi ebitaliimu, Bireme-okusiikiriza, -Omusana ogw’amaaso go. 3 Akawungeezi-ojje gye ndi Era bwe mba nkuvuddeko, Onkomywewo,onzibire; Mu nkwe zonna-eza Ssetaani. 4 Era mu…
-
OLUYIMBA 50: LABA OMWANA MU KIRAALO-OMU Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 50: LABA OMWANA MU KIRAALO-OMU 1 LABA Omwana mu kiraalo-omu; Ye Kabaka wa bakabaka; Talina kifo-okuzaalirwamu Naye yeetikka-ekibi byaffe. 2 Omwana oyo Omutukuvu Omulokozi yeetoowaza Okubeera mu nsi nga muwombeefu; Tulimulaba mu kitiibwa. 3 Banabbi bangi abaamulanga Ne bamalayika baayimba, Bo ne bagamba nti azaaliddwa, Asaanidde nnyo ekitiibwa
-
OLUYIMBA 51: GGWE KIBUGA BEESIREKEMU Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 51: GGWE KIBUGA BEESIREKEMU 1 GGWE kibuga Beesirekemu- Tukutunuulire; Nga osiriikiridde nnyo Mu maaso g’eggulu. Mu nzikiza mu nguudo zo -Omusana gwo guzze; Byonna bye watyanga edda Biweddewo leero. 2 Malyamu-azadde Kristo Omutabaganya; Abantu mu butamanya Katonda-abaagala, Ggwe Kristo-,era ggwe Kabaka Tukusuute leero: Oweebwenga ekitiibwa Eyaleeta-essanyu. 3 Ayi…
-
OLUYIMBA 52: MU KISIBO KY’ENTE-E BEESIREKEMU Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 52: MU KISIBO KY’ENTE-E BEESIREKEMU 1 MU kisibo ky’ente-e Beesirekemu; Mwe yazazikibwa,Yesu Omwana, Ne mmunyeenye ku ggulu nga zaaka nnyo Omwana wa Katonda ng’azaaliddwa. 2 Yesu teyatya nte nga bwe zingoonga, N’abantu tebaamumanya,Omwana. Nze mmwagala Yesu eyazaalibwa, Abeerenga nange wonna we mbeera. 3 Beera kumpi nange,Omulokozi, Nkusaba-okusembera wano…
-
OLUYIMBA 53: YESU OMWANA OW’EKISA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 53: YESU OMWANA OW’EKISA 1 YESU-Omwana ow’ekisa Era-Omwana-omuwombeefu Eyazaalwa mu kiraalo Ggwe asuutibwa bonna. 2 Ggwe azzikiddwa mu mmanvu, Otuggye mu bibi byonna; Okuume mikwano gyaffe, Otuwe-emikisa gyo 3 Yesu-eyajja mg’omuwere Saasira-obunafu bwaffe; Bonna-abaana be watonda Obawe emikisa gyo.
-
OLUYIMBA 54: NSANYUKIRA OLUYIMBA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 54: NSANYUKIRA OLUYIMBA 1 NSANYUKIRA-oluyimba Lwa bamalayika Lwe baayimba okulanga Okujja kwa Yesu. Nze sirina bulungi, Nnina-ebibi bingi; Naye yakka ku lwange Yesu Mulokozi. 2 Mmanyi Mukama waffe Yafuuka omuto, -Okulaga empisa ennungi Ffe tuzikwatenga Era bwe naafubanga Okumufaanana Ye tanneerabirenga, Kubanga-anjagala. 3 Siyinza kumulaba Kaakano n’amaaso Naye…
-
OLUYIMBA 55: LABA -OMWANA AZAALIDWA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 55: LABA -OMWANA AZAALIDWA 1 LABA -Omwana-azaaliddwa, Okuva mu ggulu; Laba azze ng’omuto, Mukama w’abakama. 2 Kristo yeefeebya bw’atyo; Bwe yafuuka -Omwana, Mu kiraalo Malyamu Gye yamuzazikira. 3 Kerode-omukambwe-ennyo Ye yatya nnyo nnyini, N’atuma abantu be Ne batta-abaana bangi 4 Omwana Yesu,kye kisa, -Ekituwaliriza Okukwata-ekkubo-eryo Eritutuusa gy’ali.
-
OLUYIMBA 412: YIMBA GGWE MWOYO GWANGE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 412: YIMBA GGWE MWOYO GWANGE 1 MUJJE mwenna-abalonde,muyimbe nnyo leero Mujje tusinze Yesu eyatulokola; Mumwebaze yekka,Omulokozi w’ensi; Eyajja gye tuli mu kisa kye ekingi: Yimba ggwe mwoyo gwange, Yimba nnyo n’eddoboozi;(ggwe) Tendereza Yesu,Omulokozi wange; Yimba ggwe mwoyo gwange, Yimba nnyo n’eddoboozi;(ggwe) Osanyukenga bulijjo olw’obulokozi. 2 Abantu be,mujje n’emyoyo-emiwombeefu,…