Category: Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics
-
OLUYIMBA 15: OBUDDE BUZIBYE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 15: OBUDDE BUZIBYE 1 OBUDDE buzibye Enjuba-egenze Enzikiza-ekwata Mu bbanga ly’ensi. 2 Buli nsolo yonna, Era n’ennyonyi, Byonna biwummula Byebaka-otulo. 3 Ayi Mukama waffe, Ontunuulire, Kaakano nkusaba, Ompe-ekisa kyo. 4 Ebyonoono byange, Binkwasa-ensonyi; Naye-olw’ekisa kyo, Tongoba w’oli. 5 Bwe neebaka-otulo, Mu kiro kino; Bamalayika bo Bajje bankuume. 6…
-
OLUYIMBA 150: TUKWEYANZA KITAFFE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 150: TUKWEYANZA KITAFFE 1 TUKWEYANZA Kitaffe Ggwe-atukumye-olw’ekisa Mu budde-obw’emisana, Ne mu mirimu gyaffe; Tukuume,Ayi Mutonzi, Mu nzikiza ya leero. 2 Tukusinza ggwe wekka, Nga tusuuta-erinnya lyo; Emikisa gyo-emingi, Gy’otuwa mu kisa kyo. Ffe abatasaanira; Kyetuva tweyanza-ennyo. 3 Naye-okusinga byonna Tweyanza-okwagala kwo, Olw’Omwana wo Yesu, Eyafiira ku muti, Ku…
-
OLUYIMBA 151: TUMUYIMBIRE MUKAMA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 151: TUMUYIMBIRE MUKAMA 1 TUMUYIMBIRE Mukama, Tuyimbe n’essanyu; Mujje,mujje nno tuyimbe, Tumuyimbire n’essanyu Nnyimba ne Zabbuli. 2 Kabaka waffe Mukama Ye Katonda yekka; Entikko z’ensonzi zize, N’ennyanja ye yagikola, Mulokozi waffe. 3 Ffe fenna tuli zzadde lye, Omutonzi waffe; Mujje, mujje nno tuyimbe, Tumuyimbire Katonda -Omulokozi waffe
-
OLUYIMBA 152: WEEBAZE GGWE EMMEEME YANGE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 152: WEEBAZE GGWE EMMEEME YANGE 1 WEEBAZE ggwe-emmeeme yange, Weebaze mwoyo gwange; -Olw’ekitiibwa kye ekingi-ennyo, Leeta-ettndo lyo lyonna; Aleruuya,Aleruuya! Weebaze Katonda wo. 2 Weebaze-ekisa kye kingi Eri bajjajja-ab’edda. -Olw’ekisa kye-ekitakoma, Eyaliwo edda n’edda. Aleruuya,Aleruuya! Weebaze Katonda wo. 3 Ye Kitaffe,atukuuma, Atuliisa bulijjo Amanyi-obunafu bwaffe, Amanyi-obunafu bwaffe, Atuwonya mu…
-
OLUYIMBA 153: ALERUUYA! MUMWEBAZE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 153: ALERUUYA! MUMWEBAZE 1 ALERUUYA! mumwebaze Yesu,Mukama waffe, Aleruuya! Ye Kabaka, Ye Muwanguzi yekka. Bangi nnyo abaatusooka Okuyita mu kufa, Bagulumiza Mukama Atununudde fenna. 2 Aleruuya! Ye Kitaffe Tetuli bamulekwa Bulijjo abeera naffe Fenna-abamukkiriza. Bwe yatwalibwa mu ggulu N’ekitiibwa mu kire, Yatusuubiriza ddala Okubeeranga naffe. 3 Atusembeza-atuyita, Okusseekimu…
-
OLUYIMBA 154: ESSANYU-ERINGI-ERITAKOMEZEKA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 154: ESSANYU-ERINGI-ERITAKOMEZEKA 1 ESSANYU-eringi-eritakomezeka, Era n’emirembe-egitabuulikika, Byombi birirabika-eyo mu ggulu Byateekerwawo abatukuvu bonna. 2 Mu bwakabaka bwonna-obw’ensi yonna Teri kitiibwa-ekirifaanana ng’ekyo, Katonda gy’ali eyatulokola ffe Abatasaanira bulokozi obwo. 3 Abatuuka eyo singa bayinza Okutegeeza-essanyu lyabwe bwe liri Twandiyanguye-okusseekimu nabo, Tetwandyesiimye na bigambo by’omu nsi 4 Yesu-Omugabe w’eggye lya…
-
OLUYIMBA 155: YESU,TOTEGEEREKEKA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 155: YESU,TOTEGEEREKEKA 1 YESU,totegeerekeka, Ogulumizibwa, Ekitiibwa ky’amaaso go, Kibuna-ensi zonna. 2 Katonda-ow’olubeerera, -Ow’obuntu bwaffe-era, Bonna bakutendereza, -Emisana n’ekiro. 3 Okukulaba n’amaaso, Kusinga-eby’omu nsi, -Amagezi go n’ekisa kyo, Tebikomezrka. 4 Katonda wange nga nkutya Nga neewombeese nnyo: Era nkusinza n’omwoyo, Nga neetereereka. 5 Amaanyi go n’ekisa kyo, Byombi bya…
-
OLUYIMBA 127: GGWE-OMWOYO GWANGE,WEEYONJE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 127: GGWE-OMWOYO GWANGE,WEEYONJE 1 GGWE-omwoyo gwange,weeyonje Ggwe weeyonjenga n’essanyu; Va mu nzikiza y’ennaku, Laba omusana gw’ensi; Jaguzanga nnyo namaanyi, Tenderezanga omwami Ateekawo-embaga eno Okuliisa abalonde. 2 Yesu-emmere-ey’omu ggulu, Yesu agaba-obulamu; -Onsembeze ku mmeeza leero; -Onsembez-omubi-omwereere. Owa,ku lw’embaga eno -Okutegeera-okwagala kwo, Onsembeze-omuddu wo nze Mu lubiri ng’omugenyi.
-
OLUYIMBA 128: GGWE-EMMERE Y’OBUGENYI Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 128: GGWE-EMMERE Y’OBUGENYI 1 GGWE-emmere y’obugenyi, Ggwe maanu y’abalonde, Eriisa-abeesigwa: Abatambuze-abakoowu Tulumibwa enjala Olw’obulungi bwo. 2 Ggwe-oluzzi olutaggwaawo Era-olukulukuta N’essanyu n’ekisa, -Oluwummuza-ab’ennyonta -Okutuusa lwe bawona N’amazzi g’obulamu. 3 Tulabira kaakano Kyokka mu ndabirwamu; Ebitalabika: Naye mu biro biri Tunaatunuuliranga Amaaso ge ddala
-
OLUYIMBA 129: KRISTO,BW’ATYO,BWE YEEWAYO Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 129: KRISTO,BW’ATYO,BWE YEEWAYO 1 KRISTO,bw’atyo,bwe yeewayo Ku lwaffe, ku muti; Bwe tutyo naffe tweweeyo, Okulokolebwa. 2 Omubiri gwe ye mmere Eriisa-abeetaaga Kigambo kye tekiggwaawo Emirembe gyonna. 3 Otuliise-omubiri gwo Tunywe-omusaayi gwo; Nga bwe tusembera gy’oli Tufune-obulamu. 4 Kitiibwa eri Kitaffe Era neri-Omwana. N’eri-Omwoyo-Omutukuvu Emirembe gyonna.