Category: Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics

  • OLUYIMBA 192: GGWE-EKKUBO LYAFFE,-ERA MU GGWE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 192: GGWE-EKKUBO LYAFFE,-ERA MU GGWE 1 GGWE-ekkubo lyaffe,-era mu ggwe Mwe twekweka-okufa Tuyita mu ggwe,Mukama -Okulaba Kitaffe. 2 Ggwe ow’amazima ddala Ggwe-ogaba-okumanya; Omatiza-ebirowoozo Onaaza emitima. 3 Ggwe bulamu ggwe-ow’amaanyi; Wawangula-okufa; Abo bonna-abakwesiga Bawonye okufa. 4 Tuwe-okumanya,ggwe kkubo; Era ggwe mazima. -Obulamu bwo bwe twetaaga, Obw’essanyu-eringi.

  • OLUYIMBA 179: ENNAKU BWE ZIFUMITA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 179: ENNAKU BWE ZIFUMITA 1 ENNAKU bwe zifumita Omwoyo gw’omuntu Omu,eyafumitibwa Ye-anyita ekiwundu. 2 Omwoyo bwe gunyolwa-ennyo, -Amaziga ne gajja, Ayinza-omu,eyanyolwa, Okugusanyusa. 3 -Ebibi bwe tubijjukira Ebitanaazika; Omugga gumu-,ogw’omusaayi, Guyinza-okunaaza. 4 Ogwa Yesu gwe gunaaza Gunaaliza ddala; Era y’ayinza-okunyiga N’okutusanyusa. 5 Kale,otusanyusa Yesu -Otunyige-ebiwundu -Otunaaze n’omusaayi gwo Ogunaaza…

  • OLUYIMBA 193: MUGABI W’EBIRABO-EBIRUNGI Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 193: MUGABI W’EBIRABO-EBIRUNGI 1 MUGABI w’ebirabo-ebirungi, Ebiva-eri Katonda Kitaffe, Otuwe ffe-abeetaaga okwagala; Kye kirabo ekitenkanika. 2 Engabo yaffe kwe kukkiriza, N’effumu kye Kigambo kya Yesu; Ekyo ku kifuba butukuvu, Tunaanika mu bigere-ekisa. 3 Naye-ekirabo kyo tukyetaaga, Ekisinga-ebirala-obulungi, Kwe kwagalana,nga bw’otwaga Yesu,bwe tutyo twagalanenga 4 Okwagala kugumiikiriza, Kulina ekisa…

  • OLUYIMBA 18: BEERA NANGE,OBUDDE BUZIBYE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 18: BEERA NANGE,OBUDDE BUZIBYE 1 BEERA nange,obudde buzibye; Enzikiza-ekwata,beera nange: Sirina nze mubeezi mulala, Ggwe-abeera-abanaku,nange mbeera. 2 Obudde bw’obulamu buziba, Bwaka katono ne buwungeera; Byonna eby’ensi bifuuka bidiba; Ggwe-atadiba-,atafuuka,tondeka. 3 Nkwetaaga ggwe-emisana n’ekiro; Kisa kyo kyokka Ssetaani ky’atya; Katonda wange, bwe bijja-ebire; -Omusana bwe gwaka,beera nange. 4 Siriiko…

  • OLUYIMBA 194: YESU EKISA KYO-EKINGI Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 194: YESU EKISA KYO-EKINGI 1 YESU ekisa kyo-ekingi Kinjiike ku mwoyo, Guleme-okukyama nate Gunywerere ku ggwe. 2 Omuliro gwa Katonda Gwake mu nze leero; Gwokye-amasengere gonna, Guntukuze-omwoyo. 3 Eyakka-edda ku baddu bo, Omwoyo,kka ku nze; Omwana wo nkukoowoola, Ebyonoono-obyokye. 4 Omuliro-ogutukuza, Gunjiike ku mwoyo: Leeta-omnusana n’obulamu, Byake bintukuze.…

  • OLUYIMBA 180: YESU EYAKUBIBWA-EDDA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 180: YESU EYAKUBIBWA-EDDA 1 YESU eyakubibwa-edda, -Era eyafa ku lwaffe; Laba-amaanyi n’ekitiibwa Leero bwe bifaananye. Ggwe mukulu,ggwe Kabaka, Eyafiirira fenna. 2 Mulabe Yesu bw’ajja ng’ayambadde- Ekitiibwa kye; Ye ng’amaze okusinga Abalabe be bonna. Ggwe mukulu,ggwe Kabaka, Eyafiirira fenna. 3 Eyalaba-ennaku-ennyingi, Edda eyakaaba-ennyo; Mulabe n’essanyu lingi Bw’amasamasa leero. Ggwe…

  • OLUYIMBA 195: OMWOYO OMUTUKUVU Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 195: OMWOYO OMUTUKUVU 1 OMWOYO Omutukuvu, Omugabi w’obulamu; Jjangu,tukwegayiridde, Jjangu-,okke mu myoyo gyaffe. 2 Tutegeeze ffe bwe tuli, Tunakuwalire-ebibi: Tutegeeze Yesu bw’ali, Tumwebaze-obulokozi. 3 Twewadde mu mikono gyo; Twesiga amagezi go. Tumaleemu-ebibi byaffe; Twewaddeyo-,otulokole. 4 Eddagala bwe likaawa, akmbe ko bwe kasala, Twesiga-,Omusawo waffe; Endwadde yaffe-etuyinze. 5 Kale,omuliro…

  • OLUYIMBA 167: YESU,GGWE-EYANJAGALA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 167: YESU,GGWE-EYANJAGALA 1 YESU,ggwe-eyanjagala Ka nzirukire gy’oli, Amayengo-ag’ennaku Nga gankubira ddala; Nkweka mu mikono gyo Abannumba ba maanyi, Sirina magezi nze, Kkiriza-omwoyo gwange. 2 Tewali kiddukiro Wabula mu mwoyoy gwo; Tondeka nga nteetera Nnaatera kugwa bugwi. Essanyu lyange lyonna Ndiggya mu kubeerwa kwo, -Onsenseze-omutwe gwange Wansi w’emikono gyo.…

  • OLUYIMBA 168: YESU ALIFUGA WONNA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 168: YESU ALIFUGA WONNA 1 YESU alifuga wonna, Wonna-omusana we gwaka; -Obwakabaka bwe bulibuna -Okutuusa ennaku zonna. 2 Abantu b’ennimi zonna Batendenga-okwagala kwe; Abaana banaabuuliranga, Obulungi bw’erinnya lye. 3 Omukisa gwebwe guli -Abasibe bafuna-eddembe; -Abakooye banaawummulanga, Abeetaaga ne bakkuta. 4 Buli muntu-ayimirire Atende nnyo Kabaka we, Bamalayika ne…

  • OLUYIMBA 169: NEEGOMBA NNYO-OKUWULIRA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 169: NEEGOMBA NNYO-OKUWULIRA 1 NEEGOMBA nnyo-okuwulira Ku linnya lya Yesu; Tewali na limu ku nsi Eririfaanana. 2 Lintegeeza-Omulokozi Bwe yafa ku lwange, Era-okufa kwe-okw’ensonyi Kwanfuula-ow’eddembe. 3 Erinnya-eryo linsanyusa Mu biro-eby’ennaku; Era bwe mba nga nkooye nnyo Linzizaamu-amaanyi. 4 Ka nnyimbenga nnyo n’essanyu: Awamu n’essubi; Kubanga Yesu yamgamba, Nti…