Category: Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics

  • OLUYIMBA 184: YESU OMULOKOZI Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 184: YESU OMULOKOZI 1 YESU Omulokozi Yanfiirira ku muti, N’anzigyako ebibi: Yesu Mulokozi wange! 2 Gunsinze,so sirina: Butuukirivu bwonna: Naye ggwe wanfiirira: Yesu Mulokozi wange! 3 Obutukuvu bwange, Bwonna nziina njereere; Kyennaavanga nkweisga, Yesu Mulokozi wange! 4 Ebibi byansonyiyibwa, N’ebbanja lyange lyaggwa; Lwe nakukkiriza ggwe: Yesu Mulokozi wange!…

  • OLUYIMBA 185: ETTENDO LINGI MU GGULU Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 185: ETTENDO LINGI MU GGULU 1 -ETTENDO lingi mu ggulu, Basuuta nnyo Katonda; Olw’ekiragiro kyo Byonna lwe byatondebwa. 2 -Oluyimba-olukulu-ennyo Lwayimbibwa mu ttumbi -Olwa Kabaka-omuwere Lwe yazaalibwa mu nsi 3 Eggulu era n’ensi Lwe birisangulibwa, Walirabika-ebiggya, Balimutendereza. 4 Ffe fekka tusirike Okutuusa lw’alijja? Nedda,Ekkanisa ye Ejja kutendereza. 5…

  • OLUYIMBA 186: OMUSAAYI-OGW’ENSOLO Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 186: OMUSAAYI-OGW’ENSOLO 1 -OMUSAAYI-ogw’ensolo Gwe baayiwa-ab’edda; Gwonna tegwayinza bibi Kubibanaazaako. 2 Yesu Mulpkozi Omwana gw’endiga; Ggwe-oyinza okutugyako ebyonoono byonna. 3 Ssaddaaka yo ntuufu, Emalamu-ebibi; -Omusayi gunaaza byonna, Bye twonoona ku nsi. 4 Ntunuulidde gy’oli, Ggwe Mukama wange, Nga njatula-ebibi byange, Nga mboneredde nnyo. 5 Yesu yeebazibwe; Ebyonoono byange;…

  • OLUYIMBA 187: MUMUTENDE YESU-OMUNUNUZI WAFFE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 187: MUMUTENDE YESU-OMUNUNUZI WAFFE 1 MUMUTENDE Yesu-Omununuzi waffe Ab’omu nsi mwatule-ekisa kye; Mumwebaze bamalayika-abakulu Erinnya lye-eddungi lyebazibwe. Ng’omusumba,anaakuumanga-ababe Alibatwala mu mikono gye. Mumutende,olw’ekitiibwa ky(e) ekingi, Mumwebaze n’ennyimb(a) ez’essanyu. 2 Mumutende Yesu-Omununuzi waffe Yatufiirira-olw’ebibi byaffe, Ye lwe lwazi lwaffe-omuva-obulokozi, Mumwebzae eyakomererwa; Ye yatwala ennaku zaffe zonna, Ye wa maanyi…

  • OLUYIMBA 188: BW’ALIJJA MUKAMA WAFFE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 188: BW’ALIJJA MUKAMA WAFFE 1 BW’ALIJJA Mukama waffe Okuyita gy’ali Abeesigwa be bonna Abamwagala Ng’emmunyeenye mu bbanga Bwe zaaka waggulu Nabo bwe balibeera Abaagalwa be. 2 Alikungaanyiza w’ali Abaana be bonna; abanyiikira ennyo -Okumufaanana. Mumutende,olw’ekitiibwa ky(e) ekingi, Mumwebaze n’ennyimb(a) ez’essanyu. 3 Abakulu-era- n’abato; Abaagala Yesu Talibaawulamu ye Bw’alikomawo.…

  • OLUYIMBA 189: OMUKULU W’EKKANISA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 189: OMUKULU W’EKKANISA 1 -OMUKULU w’Ekkanisa Ffe tukutendereza; Nga tonnaba kulabika, Tukulindirire ggwe. Tuyimuse-eddoboozi Ery’okwebaza kwaffe, Tujaguza nga twewaayo Gyoli Katonda waffe. 2 Nga tukyalumwa-ennaku, Omuliro bwe gwaka; Tusanyukira-okwagala Yesu kwe watulaga. Edda twali basibe Mu kkomera-ery’amaanyi Watujjira,n’enjegere Zaakutuka mangwago. 3 Abantu bo bayita Mu migga si mitnde,…

  • OLUYIMBA 19: MULOKOZI WAFFE GWE TWAGALA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 19: MULOKOZI WAFFE GWE TWAGALA 1 MULOKOZI waffe gwe twagala, Tuyimiridde okusuuta ggwe: Tukwegayiridde tusiibule, N’emirembe,nga tufukamidde. 2 Tuwerekere n’emirembe gyo, Tubeere naawe,nga bwe twakedde; Tukuumenga,tuleme-okwonoona, Ffe abasabidde mu nnyumba yo. 3 Tuwe-emirembe,Mukama waffe Mu budde bw’ekiro-otumulise: Tukuume lwa kisa ffe-abaana bo: Enzikiza gwe musana gy’oli. 4 Tuwe-emirembe…

  • OLUYIMBA 190: KATONDA-EYANNONDA NZE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 190: KATONDA-EYANNONDA NZE 1 KATONDA-eyannonda nze Si lwa bulungi bwange, Eyannonda-obulonzi N’anzigyako ebibi. Nnyinza ntya-okumalayo -Ebbanja lyange-eryenkanaawo-? 2 Yanzigya mu balabe, N’anfuula omwana we; Yanzigya mu bujeemu N’anfuula-omutukuvu; Nnyinza ntya-okumalayo -Ebbanja lyange-eryenkanaawo-? 3 Bwe ndituuka mu ggulu Olw’obutuukirivu; Obwa Yesu,si bwange, Bwe ndiraba-amaaso ge; Ne ndyoka ntegeereraawo- -Ebbanja…

  • OLUYIMBA 191: MWENNA MUSANYUKE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 191: MWENNA MUSANYUKE 1 MWENNA musanyuke Yesu ye Kabaka; Ebitonde byonna, Biyimbe n’essanyu: Muyimuse emitiima, Musanyuke,mujaguze. 2 Yesu-Omulokozi, Ye-afuga n’ekisa; Eyatufiirira Ye-atudde ku ntebe; Muyimuse emitiima, Musanyuke,mujaguze. 3 Obwakabaka bwe Bwe butaliggwaawo; Alina-obuyinza, Mu nsi ne mu ggulu. Muyimuse emitiima, Musanyuke,mujaguze. 4 Ali ku mukono Gwa ddyo gwa…

  • OLUYIMBA 178: NNAATEEKANGA KU YESU OMWANA GW’ENDIGA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 178: NNAATEEKANGA KU YESU OMWANA GW’ENDIGA 1 NNAATEEKANGA ku Yesu Omwana gw’endiga, Ebibi byange byonna ebitasinika; Agwetisse ye yekka omugugu gwange: Ka ntambule n’essanyu,kubanga-agwetisse, 2 Yatwala ennaku zange n’ebibi bingi nnyo, Yatwala-,Omulokozi,endwadde z’omyoyo: Ne nfuna n’emirembe mu linnya lya Yesu; Ayagala nga Yesu,Mukama aluwa? 3 Yesu Mukama wange,Yesu…