Category: Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics

  • OLUYIMBA 20: OLUNAKU LWAFE LUNO Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 20: OLUNAKU LWAFE LUNO 1 OLUNAKU lwaffe luno, Kaakano luweddeko, Enkya twebazizza Yesu, Tumusuute-era-ekiro. 2 Naye wano nga buzibye, Awalala bukedde, Buli ssawa wanaabeera Abasuuta-erinnya lye. 3 Omusaana nga bwe gujja Mu nsi-ezitali zimu Nga gwetooloola-olukalu, Nga gugoba-enzikiza. 4 Bwe kutyo-okutendereza Okw’abaana bo leero, Tekusirika mu bantu, Tekukoma…

  • OLUYIMBA 200: NZE NZIKIRIZA DDALA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 200: NZE NZIKIRIZA DDALA 1 NZE nzikiriza ddala Katonda Obusatu, Ne Yesu-okufuuka-omuntu, Nkyatulira ddala. 2 Neesiga era nsuubira Yesu-eyanfiirira Ebikolwa-ebibi byonna Bife nga bwe yafa. 3 Amaanyi era n’obulamu- Biri gy’ali yekka, Gwe nsinga-okwagala yekka Mutukuvu ddala. 4 Nze ntenda ne Kkanisa yo Ggwe wagitonda-edda; Ne by’eyigiriza byonna,…

  • OLUYIMBA 201: GGWE MUKULU WEKKA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 201: GGWE MUKULU WEKKA 1 GGWE Mukulu wekka, Byonna ggwe-obifuga, Tukusinza; Tega okutu kwo Eri byr tusaba, Bunya-ekigambo kyo Mu nsi zonna. 2 Ggwe-eyatuweereza, Obulukozo bwo, Tukusinza; Ggwe bulamu bwabwe, Bonna-abakwesiga, Yasa-omusana gwo Ku nsi zonna. 3 Omwoyo-ow’ekisa, Nannyini kwagala, Tukusuuta; Tuula mu nda zaffe Omalemu-ebibi, N’enzikiza y’ensi…

  • OLUYIMBA 202: MUKAMA TWAGALA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 202: MUKAMA TWAGALA 1 MUKAMA twagala, Ekifo mw’obeera, Kye kitusanyusa Okukijjukira. 2 Ye nnyumba yo ddala Mwe tukumgaanira, -Otusembeze gy’oli Abazze-okusaba 3 Gye babatiriza Abava mu kibi; Wonna watukuvu, Kye kifo-ekirungi. 4 We wali-emmeeza yo, Gye tulira naawe N’owa-abakwagala -Emmere y’obulamu. 5 Bwe batubuulira Ebyawandiikibwa; Ennaku ziggwaawo, Tubeera…

  • OLUYIMBA 203: ENDAGAANO-ENTUKUVU Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 203: ENDAGAANO-ENTUKUVU 1 ENDAGAANO-entukuvu, Gye njagalira ddala, Byonna bye neetaaga nze, Birabikira mu yo. 2 Omwoyo-Omutukuvu, Yagiwandiisa edda; Teyagunjibwa bantu, Kyenaavanga ngyesiga. 3 Bwe nkyama enkomyawo, Bwemba ngwa ennyimusa, Bwe siraba mu kkubo, Eba gye ndi-omusana. 4 Mu nnaku ensanyusa Yesu ng’anjigiriza, Era-ewoomesa gye ndi Obulamu,n’okufa.

  • OLUYIMBA 204: JJANGU! KOLA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 204: JJANGU! KOLA 1 JJANGU! Kola. Ayinza-ani leero okugayaala, Ebikungulwa bingi byengedde; Wulira Yesu ng’akuyita nti: Jjangu1 Kola 2 Jjangu! Kola. Kino kitiibwa kyaffe ky’atuwa: Bamalayika tabakkiriza -Okubuulira nti-Obwakabaka bwe Busembedde. 3 Jjangu! Kola. Mu nnimiro eno-eya Katonda Mulimu-ebbanga ddene mwebali Abantu bangi abatamanyi Mulokozi. 4 Jjangu! Kola.…

  • OLUYIMBA 205: AYI YESU NKWEGAYIRIDDE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 205: AYI YESU NKWEGAYIRIDDE 1 AYI Yesu nkwegayyiridde, Okunjigiriza wekka; Kaakano mbuulire-abantu Abali mu kizikiza. 2 Bwe nnali nkyali mu bibi, Wampita okujja gy’oli N’osasula-ebbanja lyange N’ompa-obulamu bwa buwa. 3 Ku lw’ekisa kyo ekingi Ombeere leero-omuddu wo; Nkole by’oyagala byonna, Mgende gy’ondagira yonna. 4 Ayi Yesu,nkwegayiridde, Okunnongoosa-eby’omunda, Mbeere-ekibya-ekisaanira…

  • OLUYIMBA 178: NNAATEEKANGA KU YESU OMWANA GW’ENDIGA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 178: NNAATEEKANGA KU YESU OMWANA GW’ENDIGA 1 NNAATEEKANGA ku Yesu Omwana gw’endiga, Ebibi byange byonna ebitasinika; Agwetisse ye yekka omugugu gwange: Ka ntambule n’essanyu,kubanga-agwetisse, 2 Yatwala ennaku zange n’ebibi bingi nnyo, Yatwala-,Omulokozi,endwadde z’omyoyo: Ne nfuna n’emirembe mu linnya lya Yesu; Ayagala nga Yesu,Mukama aluwa? 3 Yesu Mukama wange,Yesu…

  • OLUYIMBA 192: GGWE-EKKUBO LYAFFE,-ERA MU GGWE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 192: GGWE-EKKUBO LYAFFE,-ERA MU GGWE 1 GGWE-ekkubo lyaffe,-era mu ggwe Mwe twekweka-okufa Tuyita mu ggwe,Mukama -Okulaba Kitaffe. 2 Ggwe ow’amazima ddala Ggwe-ogaba-okumanya; Omatiza-ebirowoozo Onaaza emitima. 3 Ggwe bulamu ggwe-ow’amaanyi; Wawangula-okufa; Abo bonna-abakwesiga Bawonye okufa. 4 Tuwe-okumanya,ggwe kkubo; Era ggwe mazima. -Obulamu bwo bwe twetaaga, Obw’essanyu-eringi.

  • OLUYIMBA 179: ENNAKU BWE ZIFUMITA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 179: ENNAKU BWE ZIFUMITA 1 ENNAKU bwe zifumita Omwoyo gw’omuntu Omu,eyafumitibwa Ye-anyita ekiwundu. 2 Omwoyo bwe gunyolwa-ennyo, -Amaziga ne gajja, Ayinza-omu,eyanyolwa, Okugusanyusa. 3 -Ebibi bwe tubijjukira Ebitanaazika; Omugga gumu-,ogw’omusaayi, Guyinza-okunaaza. 4 Ogwa Yesu gwe gunaaza Gunaaliza ddala; Era y’ayinza-okunyiga N’okutusanyusa. 5 Kale,otusanyusa Yesu -Otunyige-ebiwundu -Otunaaze n’omusaayi gwo Ogunaaza…