Category: Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics

  • OLUYIMBA 201: GGWE MUKULU WEKKA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 201: GGWE MUKULU WEKKA 1 GGWE Mukulu wekka, Byonna ggwe-obifuga, Tukusinza; Tega okutu kwo Eri byr tusaba, Bunya-ekigambo kyo Mu nsi zonna. 2 Ggwe-eyatuweereza, Obulukozo bwo, Tukusinza; Ggwe bulamu bwabwe, Bonna-abakwesiga, Yasa-omusana gwo Ku nsi zonna. 3 Omwoyo-ow’ekisa, Nannyini kwagala, Tukusuuta; Tuula mu nda zaffe Omalemu-ebibi, N’enzikiza y’ensi…

  • OLUYIMBA 202: MUKAMA TWAGALA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 202: MUKAMA TWAGALA 1 MUKAMA twagala, Ekifo mw’obeera, Kye kitusanyusa Okukijjukira. 2 Ye nnyumba yo ddala Mwe tukumgaanira, -Otusembeze gy’oli Abazze-okusaba 3 Gye babatiriza Abava mu kibi; Wonna watukuvu, Kye kifo-ekirungi. 4 We wali-emmeeza yo, Gye tulira naawe N’owa-abakwagala -Emmere y’obulamu. 5 Bwe batubuulira Ebyawandiikibwa; Ennaku ziggwaawo, Tubeera…

  • OLUYIMBA 203: ENDAGAANO-ENTUKUVU Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 203: ENDAGAANO-ENTUKUVU 1 ENDAGAANO-entukuvu, Gye njagalira ddala, Byonna bye neetaaga nze, Birabikira mu yo. 2 Omwoyo-Omutukuvu, Yagiwandiisa edda; Teyagunjibwa bantu, Kyenaavanga ngyesiga. 3 Bwe nkyama enkomyawo, Bwemba ngwa ennyimusa, Bwe siraba mu kkubo, Eba gye ndi-omusana. 4 Mu nnaku ensanyusa Yesu ng’anjigiriza, Era-ewoomesa gye ndi Obulamu,n’okufa.

  • OLUYIMBA 204: JJANGU! KOLA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 204: JJANGU! KOLA 1 JJANGU! Kola. Ayinza-ani leero okugayaala, Ebikungulwa bingi byengedde; Wulira Yesu ng’akuyita nti: Jjangu1 Kola 2 Jjangu! Kola. Kino kitiibwa kyaffe ky’atuwa: Bamalayika tabakkiriza -Okubuulira nti-Obwakabaka bwe Busembedde. 3 Jjangu! Kola. Mu nnimiro eno-eya Katonda Mulimu-ebbanga ddene mwebali Abantu bangi abatamanyi Mulokozi. 4 Jjangu! Kola.…

  • OLUYIMBA 205: AYI YESU NKWEGAYIRIDDE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 205: AYI YESU NKWEGAYIRIDDE 1 AYI Yesu nkwegayyiridde, Okunjigiriza wekka; Kaakano mbuulire-abantu Abali mu kizikiza. 2 Bwe nnali nkyali mu bibi, Wampita okujja gy’oli N’osasula-ebbanja lyange N’ompa-obulamu bwa buwa. 3 Ku lw’ekisa kyo ekingi Ombeere leero-omuddu wo; Nkole by’oyagala byonna, Mgende gy’ondagira yonna. 4 Ayi Yesu,nkwegayiridde, Okunnongoosa-eby’omunda, Mbeere-ekibya-ekisaanira…

  • OLUYIMBA 206: KU LWANGE NE KU LW’ENJIRI Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 206: KU LWANGE NE KU LW’ENJIRI 1 KU lwange ne ku lw’enjiri, Mugende baana bange: Ne baddamu Ka tugende; -Ekitiibwa kibe gy’oli, Yajja-okufiirira abantu, Kitaawe ng’amutuma: N’amalawo-ebibi byaffe, Ggwe-okufa tokyaluma. 2 -Amakondere ga Jjubiri, Gavuga mu nsi zonna: Gategeeza-obulokozi Eri-amawanga gonna. Ssetaani n’obuyinza bwe, Binaatera-okuggwaawo: Obwakabaka bwa Yesu,…

  • OLUYIMBA 207: MUGENDE MU NSI ZONNA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 207: MUGENDE MU NSI ZONNA 1 MUGENDE mu nsi zonna, Mubuulire-Enjiri Eri-amawanga gonna Agabeera mu nsi, Balyoke bategeere Yesu gwe tusinza Bw’ali Katonda ddala, Bw’alokola bonna. 2 Mukama waffe Yesu -Otunyiikize fenna Tukolerenga ddala Ebitusaanira; Tweweeyo gy’oli leero -Emibiri n’emyoyo Tuleetenga-ebirabo N’essanyu lingi nnyo 3 Okugaba kwa mukisa…

  • OLUYIMBA 208: OBWAKABAKA BWO Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 208: OBWAKABAKA BWO 1 OBWAKABAKA bwo, Yesu,bujje mu nsi; Menya n’omuggo gwo, Obuddu bw’ekibi. 2 Twetaaga-emirembe N’obutuukirivu -Okukyawagananga -Otumalemu mangu. 3 Ebyasuubizibwa Bye tulindirira; Bituukirizibwe, Ayi Yesu Mukama. 4 Tukwegayiridde, Okutusaasira; Tukemgentererwa, Jjangu otubeere. 5 Enzikiza-ekutte Ebuna-ensi zonna; Musana gw’obulamu, Yaka-obutaggwaawo.

  • OLUYIMBA 209: OBWAKABAKA BWO BUJJE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 209: OBWAKABAKA BWO BUJJE 1 OBWAKABAKA bwo bujje Kaakano tukyogedde: Yesu onjigirize -Okukisabira ddala. 2 Yesu,sooka oyigire Muno mu mwoyo gwange: Naakusembeza gye ndi, Ongobemu ebibi. 3 Ombeerenga bulijjo Mbuulire-ekigambo kyo; Olyoke ojje nate, Mu mwoyo gya bannange. 4 Ebiro bwe biriggwaawo-; Kitaawo bye yalaga, Olijja n’ettendo lyo,…

  • OLUYIMBA 196: KABAKA W’EGGULU Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 196: KABAKA W’EGGULU 1 KABAKA w’eggulu, Jjangu-Omusanyusa, Omwoyo abeere naffe Atubeere. 2 Ggwe-ensalo y’obulamu- Otugaggawaze, Otuwe emirembe gyo -Ennaku zonna. 3 Kka-okuva mu ggulu Obeerenga naffe; Otwetoolooze-okwagala -Ennaku zonna.