Category: Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics
-
OLUYIMBA 23: KATONDA WANGE NKWEBAZA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 23: KATONDA WANGE NKWEBAZA 1 KATONDA wange nkwebaza Olw’ebirungi ebya leero; Era nkusaba onkuume Mu budde bwonna-obw’ekiro. 2 Onsonyiwe ebyonoono Bye nsobezza olwa leero: Ompe-emirembe mu mwoyo, Nga ngenda-okwebaka otulo. 3 -Onjigirizenga bulijo Ekkubo lye naakwatanga: Bwe ntyo bwe ndituusa-okufa Nneme-okutya-entiisa yonna. 4 Mpummulire mu maaso go Mu…
-
OLUYIMBA 216: LWANANGA MU LUTALO LWO Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 216: LWANANGA MU LUTALO LWO 1 LWANANGA mu lutalo lwo, Okulwana okulungi, Nyweza ggwe obulamu bwo, Yesu atuwa empeera. 2 Wakana ggwe-omuwakanyi, Leeta amaanyi go gonna, Gumira-olugendo lwo, Yesu atuwa empeera. 3 Leka-okweraliikirira, Tulina-Omusaale waffe; Mwesige ye,oliraba Yesu bw’atuwa-ebirungi. 4 Tozirika,ali kumpi, Tajjulula kwagala kwe, Kkiriza ggwe,oliraba Yesu…
-
OLUYIMBA 230: SAAYUUNI MU GGULU Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 230: SAAYUUNI MU GGULU 1 SAAYUUNI mu ggulu, Katonda gy’abeera; Bwe ndifa,ndigenda N’essanyu lingi nnyo. Katonda wang(e),eyo gy’oli Ndituuka dd(i) okukulaba? 2 -Omulokozi gy’ali, Gwe baayigganyanga; Ne bamalayika Bayimba-ettendo lye. Katonda wang(e),eyo gy’oli Ndituuka dd(i) okukulaba? 3 Ab’edda baali-eyo, Baakomekkereza Emgendo Zaabwe,era Baalaba Mukama. Katonda wang(e),eyo gy’oli Ndituuka…
-
OLUYIMBA 217: MMWE BANNANGE-ABALWANYI Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 217: MMWE BANNANGE-ABALWANYI 1 MMWE bannange-abalwanyi, Mujje mangu gye tuli, Abalabe weebali, So nga tetutya. 2 Ku by’ensi tetussaako Myoyo gyaffe kaakano, Yesu atuwanguza. Atuwa-amaanyi. 3 Abalumba ba maanyi, Batutaayiza bubi, Tulina-Omulokozi, Alijja mangu. 4 Kye twegomba kye kino Okuleka-ebyonoono, Yesu anaatuggyako, Ebibi byaffe. 5 Kaakano kizikiza, Mugume…
-
OLUYIMBA 218: YESU,BWE NNAKUSENGA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 218: YESU,BWE NNAKUSENGA 1 YESU,bwe nnakusenga, Ne nsuubiza kino, -Okukugoberenga Obutaddirira. Naye Mukama wange, Beeranga nange ggwe, Nnemenga okwesittala-, Oba kukyamanga. 2 -Abalabe bange bangi, Ba kyejo,ba ttima; Naye ggwe-osinga bonna -Okubeera n’amaanyi, Sijja kuggwaamu mwoyo, Ggwe ononnyinzisanga -Olutalo-olw’entiisa. 3 Bwe mba nga neesittala, Nkwata ku mikono, -Awatali…
-
OLUYIMBA 219: YESU AJJA! ABALABE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 219: YESU AJJA! ABALABE 1 YESU ajja! Abalabe Tulibagoba; Yesu Mulokozi waffe, Alitujuna. Yesu agambaMmwe mugume Nze njija mangu: Tumuddemu Tunaalwana, Olw’ekisa kyo. 2 Laba,eggye-erya Ssetaani, Liba lingi nnyo; Naye Yesu ali wamu, Naffe bulijjo. Yesu agambaMmwe mugume Nze njija mangu: Tumuddemu Tunaalwana, Olw’ekisa kyo. 3 Amafamu ga…
-
OLUYIMBA 22: AYI KITAFFE OMUTONZI Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 22: AYI KITAFFE OMUTONZI 1 AYI Kitaffe Omutonzi, -Ebitonde byo bikusinza; Ku lwa Yesu Omwana wo Tukuume mu kiro kino. 2 Ayi Omwana-0mununuzi Eyatuggya mu busibe, Emyoyo gyaffe gikuume, Tubeere mirembe mu ggwe. 3 Ayi Omwoyo-ow’obuyinza Atukuza Ekkanisa, Mu kiro kya leero, jjangu Tukuza-emitima gyaffe. 4 Otenderezebwenga nnyo…
-
OLUYIMBA 206: KU LWANGE NE KU LW’ENJIRI Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 206: KU LWANGE NE KU LW’ENJIRI 1 KU lwange ne ku lw’enjiri, Mugende baana bange: Ne baddamu Ka tugende; -Ekitiibwa kibe gy’oli, Yajja-okufiirira abantu, Kitaawe ng’amutuma: N’amalawo-ebibi byaffe, Ggwe-okufa tokyaluma. 2 -Amakondere ga Jjubiri, Gavuga mu nsi zonna: Gategeeza-obulokozi Eri-amawanga gonna. Ssetaani n’obuyinza bwe, Binaatera-okuggwaawo: Obwakabaka bwa Yesu,…
-
OLUYIMBA 207: MUGENDE MU NSI ZONNA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 207: MUGENDE MU NSI ZONNA 1 MUGENDE mu nsi zonna, Mubuulire-Enjiri Eri-amawanga gonna Agabeera mu nsi, Balyoke bategeere Yesu gwe tusinza Bw’ali Katonda ddala, Bw’alokola bonna. 2 Mukama waffe Yesu -Otunyiikize fenna Tukolerenga ddala Ebitusaanira; Tweweeyo gy’oli leero -Emibiri n’emyoyo Tuleetenga-ebirabo N’essanyu lingi nnyo 3 Okugaba kwa mukisa…
-
OLUYIMBA 208: OBWAKABAKA BWO Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 208: OBWAKABAKA BWO 1 OBWAKABAKA bwo, Yesu,bujje mu nsi; Menya n’omuggo gwo, Obuddu bw’ekibi. 2 Twetaaga-emirembe N’obutuukirivu -Okukyawagananga -Otumalemu mangu. 3 Ebyasuubizibwa Bye tulindirira; Bituukirizibwe, Ayi Yesu Mukama. 4 Tukwegayiridde, Okutusaasira; Tukemgentererwa, Jjangu otubeere. 5 Enzikiza-ekutte Ebuna-ensi zonna; Musana gw’obulamu, Yaka-obutaggwaawo.