Category: Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics
-
OLUYIMBA 265: YIMIRIRA MU FFE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 265: YIMIRIRA MU FFE 1 YIMIRIRA mu ffe; Mukama-ow’amaanyi; Ffe abakusaba Otuwe-omukisa. 2 Fuka Omwoyo wo, Mu mitima gyaffe; Tugobeemu-okutya N’okunakuwala. 3 Tulyoke tugende Nga tujjudde-essanyu Nga tulindirira Okukomawo kwo.
-
OLUYIMBA 251: YIMUKA! OJJE-ERI YESU Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 251: YIMUKA! OJJE-ERI YESU 1 YIMUKA-! ojje-eri Yesu Akuli kumpi nnyo; Oyatule-ebibi byo Osenge Mukama Yimuka ojje! Yimuka ojje! akulindiridde: Oyatul(e) ebibi byo,oweebwe n’omukisa Gw’agabira obuwa; aweebw(e) ekitiibwa. 2 Yimuka-!ojje-eri Yesu Va mu kizikiza: Leka-okubuusabuusa, Obudde buyita. Yimuka ojje! Yimuka ojje! akulindiridde: Oyatul(e) ebibi byo,oweebwe n’omukisa Gw’agabira obuwa;…
-
OLUYIMBA 266: YESU BULIJJO NKWETAAGA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 266: YESU BULIJJO NKWETAAGA 1 YESU bulijjo nkwetaaga, Tondeka bw’omu; Beera nange ggwe okumoi, So tonvaamu. 2 Bwe mba nsanyuka nkugamba ebinsanyusa; Era-ombeere okukola, Ky’oyagala. 3 Bwe mba ndaba-ennaku nnyingi Ezintengezza; Ggwe-ozimanyi ggwe Mukama N’onsaasira 4 Bwe mba nsobya ku ggwe Yesu Olw’obunafu; Nsaasira-obunafu bwange Ompe-amaanyi.
-
OLUYIMBA 252: MMWE MWENNA ABANOONYA-OKUTUUKA MU GGULU Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 252: MMWE MWENNA ABANOONYA-OKUTUUKA MU GGULU 1 MMWE mwenna abanoonya-okutuuka mu ggulu, Mulabe ku Mukama,mubeere n’essanyu; Tewali kkubo ddala,bwe mutayingira Mu luggi lw’omu ggulu olwalagirirwa. 2 Oluggi olwo ye Yesu-eyatugamba nti: Buli akkiriza nze asonyiyibwa-ebibi; Mmwe mwenna abakooye,kale mujje gye ndi Nammwe aboonoonyi be najja-okulokola. 3 Leero terunnaggalwa…
-
OLUYIMBA 267: KATONDA-ONSEMBEZE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 267: KATONDA-ONSEMBEZE 1 KATONDA-onsembezw Kumpi naawe, Ne bwe ndikwatibwa -Obuyinike. Neeyongerenga-era Okusemberera -Okumpi naawe. 2 Obudde-obw’obulamu Buwungeera: So siraba n’omu Anambeera, Nga nkwegayirira Olw’ekyo,sembera -Okumpi nange. 3 Kale-okwolesebwa Kuve-eri ggwe; Era-awalinnyibwa Walabike. Nga bamalayika Bampenyezza-okujja -Okumpi naawe 4 Kyenva nsanyukira Ekisa kyo, Kubanga-owulira Omuddu wo Katonda tondeka, Nga…
-
OLUYIMBA 253: TWAGALANE;-OKWAGALA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 253: TWAGALANE;-OKWAGALA 1 TWAGALANE-; okwagala Kwe kuva-eri Katonda: Kale,ffe-abooluganda, Tube nnyo n’okwagala. Twagalanenga;twagalanenga; Twagalanenga;Katonda kwagala. 2 Twali tulina-ebibi Yesu n’afa ku muti: Oyo gwe yafiirira, Ffe tunaaakyawa tutya? Twagalanenga;twagalanenga; Twagalanenga;Katonda kwagala. 3 Bonna ffe tubaagale, Twagale-abatukyaye N’abo abalina-ebibi Twagalenga bwagazi. Twagalanenga;twagalanenga; Twagalanenga;Katonda kwagala. 4 Kale-ekisa mu myoyo Kyakenga…
-
OLUYIMBA 254: TEMUSOOKANGA KUNOONYA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 254: TEMUSOOKANGA KUNOONYA 1 TEMUSOOKANGA kunoonya Ssanyu na bugagga bwa nsi, Na kwesiima kwa mubiri Biriggwaawo-,biriggwaawo-. 2 Temusookanga-kunoonya Bwami bwa nsi na kitiibwa: Oliba-oli-awo mangwago Ne biggwaawo-,ne biggwaawo-. 3 Temusookanga kunoonya Bisusunku na birerya Ebitali bya Katonda: Bisusunku na birerya Ebitali bya Katonda: Biriggwaawo-,birigwaawo-. 4 Mmwe musookenga-okunoonya Obwakabaka…
-
OLUYIMBA 255: MU NSI Y’ABAGENYI Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 255: MU NSI Y’ABAGENYI 1 MU nsi y’abagenyi, Gye wagenda ggwe, Wulira-eddoboozi -Enkuyita: Komaw(o) omutambuze Komawo mangu, Ggwe wakyamira ddala, Naye jjangu. 2 Enjala-ey’omwoyo Ekuluma nnyo Tolina mukwano, Oli muyi. Komaw(o) omutambuze Komawo mangu, Ggwe wakyamira ddala, Naye jjangu. 3 Ebibi byo byonna Lekera ddala, Gye ndi kye…
-
OLUYIMBA 256: AYI YESU-OW’EKISA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 256: AYI YESU-OW’EKISA 1 AYI Yesu-ow’ekisa Ggwe bulamu-obw’abantu, Omutonzi wa byonna, Otuwulire. 2 Ebibi bwe byabunya Ku bantu bonna-okufa Ggwe eyabalokola, Otusonyiwe. 3 Ggwe-eyalinnya mu ggulu -Okulya-obwakabaka bwo, Mukama w’abakama, Otuwulire. Ggwe-olikomawo nate Okusala-omusango Gw’abalamu n’abafu, Otulokole
-
OLUYIMBA 257: NZE NKUTUNUULIDDE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 257: NZE NKUTUNUULIDDE 1 NZE nkutunuulidde N’amaaso g’omwoyo, Mulokozi. Ompulire leero, Onnaazeko-ebibi, Ontuule-omwana wo Omwesigwa. 2 Ekisa kyo kimpe, Kindeetere-amaanyi Ag’omwoyo. Ggwe eyafiirira, Onjijukizenga -Ekisa kyo bwe kiri Ekinkuuma. 3 Bwe mba nkyatambula, Mu nsi,neetooloddwa -Ebibi bingi: Naye ggwe-onsaasire Mu nzikiza muno: -Onjakize lwa kisa Omusana. 4 Era…