Category: Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics

  • OLUYIMBA 30: EKIRO KIYISE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 30: EKIRO KIYISE 1 EKIRO kiyise, Obudde bukedde; Kale twambule-ebikolwa Eby’ekizikiza. 2 Twambale-amazima, Ng’eby’okulwanyisa; Tutambule nga tuwoomye, Nga tujjudde-essanyu. 3 Ebyonoono byonna N’ebinyumu by’ensi N’embaga-ez’okutamiira, Byonna tubyambule.

  • OLUYIMBA 287: EKITIIBWA KYO KINENE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 287: EKITIIBWA KYO KINENE 1 EKITIIBWA kyo kinene, -Omununuzi waffe; Emimwa gy’abantu bonna Giyimba-ettendo lyo! 2 Erinnya lya Yesu ddungi Limalawo-okutya; Lituleetera-obulamu N’emirembe mu nda. 3 Amaanyi g’ekibi gonna Yesu yagamenya; Ffe abaali abasibe Twafuuka ba ddembe! 4 Buli akkiriza Yesu Alirokolebwa; N’abo abaafiira mu ye Kaakano balamu!…

  • OLUYIMBA 300: OMWOYO N’OMUBIRI Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 300: OMWOYO N’OMUBIRI 1 OMWOYO n’omubiri, Yesu ka mbikuwe; Neewaayo nga ssaddaaka; Omuliro gujje. Omwoyo n’oomubiri, Yesu ka mbikuwe; Neewaayo nga ssaddaaka; Omuliro gujje. 2 Yesu Omulokozi, Neesiga-erinnya lyo; Era nga bwe wagamba, Kibeere bwe kityo. Omwoyo n’oomubiri, Yesu ka mbikuwe; Neewaayo nga ssaddaaka; Omuliro gujje. 3 Toola-ebitundu…

  • OLUYIMBA 288: ABAALUMWA-EMISOTA-ABAYISIRAYIRI Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 288: ABAALUMWA-EMISOTA-ABAYISIRAYIRI 1 ABAALUMWA-emisota-Abayisirayiri. Mu lukoola bwe baatambula; Buli muntu yawona eyatunnuulira Omusota ogwo ku muti. Mutunule:munaawona mwenna,bwe mukkiriza Yesu: Munaawona kaakano mwenna. 2 Temulwa,mumutunuulire Mulokozi, Mmwe mwenna abalumwa-ebibi: Munaawona mwenna bwe mukkiriza Yesu, Eyatufiirira ku muti. Mutunule:munaawona mwenna,bwe mukkiriza Yesu: Munaawona kaakano mwenna. 3 Naye ku lw’ebikolwa…

  • OLUYIMBA 301: KATONDA WANGE BYE NKYAMA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 301: KATONDA WANGE BYE NKYAMA 1 KATONDA wange bye nkyama, Ewala mu kkubo lyange, -onjigirize-okkukiriza Byonna, byonna, by’oyagala. 2 Mu nzikiza bwe ntambula, Onjakize-omusana gwo; Nneme-okubulira ddala; Beera nange, Mulokozi. 3 -Obuyinike bwe bunsanga, Nga nfiiriddwa be njagala, Oyimuse-omwoyo gwange Onnyimuse, onnyimuse, 4 Bw’obanga-ompita-okuleka Bye nsinga-okwagala, byonna Bitwale,…

  • OLUYIMBA 289: YESU YAJJA ALOKOLE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 289: YESU YAJJA ALOKOLE 1 YESU yajja alokole Abalina-ebibi: Naffe fenna aboonoonyi Anaatusonyiwa. Neeyanz(e)nno Yesu ku lw’okwagal(a) okunene, Ne ndaba-essanyu lingi nnyo, Kubanga ndokose. 2 Tegwatuyiikira-omusaayi- Ogusinga byonna? Tewali gw’atayinza ye Okulongoosa-ennyo. Neeyanz(e)nno Yesu ku lw’okwagal(a) okunene, Ne ndaba-essanyu lingi nnyo, Kubanga ndokose. 3 Tetuyinza ffe-okwetuusa Mu ggulu…

  • OLUYIMBA 302: EKISA KYO TEKITEGEEREKEKA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 302: EKISA KYO TEKITEGEEREKEKA 1 EKISA kyo tekitegeerekeka; Mukama wannge, naye njagala -Okuyiga bulijjo n’okwongera Okutegeera mu mwoyo gwange Bwe kyenkana. 2 Okwagala kwo kukira byonna Bye tulowooza ffe-abantu, naye Neegomba nnyo-okubuulira wonna Ekisa kyo-ekinene bwe kiri Eri bonna. 3 Ekisa kyo kinnemedde ddala Okukitendereza-obulungi: Naye emimwa gyannge…

  • OLUYIMBA 275: WULIRA-OKUSABA KWANGE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 275: WULIRA-OKUSABA KWANGE 1 WULIRA-okusaba kwange, Okw’omwana wo-omuto nze, Fuka ebirabo byo, Fuka ku nze bulijjo: Ssasira-omunafu bwange Obw’omwana wo-omuto nze Saasira-omunafu nze; Nsaasiranga bulijjo. 2 Sonyiwa-ebyonoono byange Ng’obinaaza n’omussayi- -Ogw’Omulokozi Yesu; Nsonyiwanga bulijjo, Ne mu maanyi ga Ssetaani; Lokola omwoyo gwange; Lokla omwaoyo nga nsaba ggwe, Ndokolanga…

  • OLUYIMBA 276: AYI KITAFFE-OW’OMU GGULU Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 276: AYI KITAFFE-OW’OMU GGULU 1 AYI Kitaffe-ow’omu ggulu Leero twewaayo gy’oli; Mu nsi eno-ejjudde-ennaku Kuuma-obulamu bwaffe Tewali mubeezi yenna Wabula ggwe Kitaffe. 2 Ayi Mukama waffe Yesu, Tusaba-otusonyiwe Kubanga-obunafu bwaffe Gggwe-obumanyidde ddala; Omanyi bwe buli-obungi Otusnyiwe Yesu. 3 Naawe-Omwoyo-Omutukuvu Kka leero mu nda zaffe Tujjuze okwagala kwo Okw’enkalakkalira,…

  • OLUYIMBA 277: OTUKULEMBERE,MUSUMBA WAFFE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 277: OTUKULEMBERE,MUSUMBA WAFFE 1 -OTUKULEMBERE,Musumba waffe Tukwetaaga bulijjo; -Otugalamize mu ddundiro lyo Ery’omuddo omuto. Watugula n’omusaayi-gwo Otukuume mu kabi; Watugula n’omusaayi-gwo Otukuume mu kabi. 2 Tuli baana bo-otuzibirenga Mu balabe ab’-amaanyi Otuyingize mu kisibo kyo Mwe tubeera-obulungi. Nga bwe tukaabirira ggwe Otuwulire mangu. 3 Ajja gye ndi;bwe wagamba…