Category: Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics

  • OLUYIMBA 337: YESU MUKAMA OMULOKOZI Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 337: YESU MUKAMA OMULOKOZI 1 YESU Mukama Omulokozi Yajja mu nsi okunoonya- ababi; Nga kwa kitalo okwagala kwe, Yajja-okunnoonye nze, Yajja okunnoonya-nze, Nga kwa kitalo okwagala kwe, Yajja-okunnoonya nze. 2 Yesu Mukama Omulokozi Bwe nnali mu nvuba ya Ssetaani, Yannunula n’omusaayi gwe ye, Yesu yanfiirira. Yesu yanfiirira, Yesu…

  • OLUYIMBA 323: OMUTAMBUZE NG’AKOOYE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 323: OMUTAMBUZE NG’AKOOYE 1 -OMUTAMBUZE ng’akooye Bw’alengera-ekisulo kye,[ennyo, Newankubadde nga wala, Omwoyo ne gumuddamu. 2 -Omukristaayo era bw’atyo; Bwe yeddamu omwoyo gwe, Bw’alaba-olw’okukkiriza, Ekifo kye eky’omu ggulu 3 Ensi-eyo emusanyusa, So takyakaabira bya dda; So n’eby’okujja tabitya, Kasita alituuka eyo. 4 Naabeeranga eyo ne Yesu; Bw’agamba bw’atyo;ennaku Zirinvaako,n’amaziga,…

  • OLUYIMBA 338: NALYOKA NE NKUSENGA GGWE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 338: NALYOKA NE NKUSENGA GGWE 1 NALYOKA ne nkusenga ggwe, Omulokozi Katonda: Kyenvudde nsanyuka nnyini, Ne njatula bwe nsanyuse Nsanyuse,nsanyuse, Yesu yannaazaak(o) ebibi; Y(e) anjagaza by’ayagala; Ansanyus(a) ennaku zonna; Nsanyuse,nsanyuse; Yesu yannaazaak(o) ebibi. 2 Namusenga n’atangoba, Nze ndi wuwe,naye wange Yampita ne nditegeera, -Eddoboozi lye nga lya Yesu…

  • OLUYIMBA 324: OMUZIRA YENNA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 324: OMUZIRA YENNA 1 OMUZIRA yenna Ayagala-ennyo -Okugobereranga Mukama we ye; Tewali na kabi -Akalimuziyiza, Bw’alayira-okubeera- -Omutambuze. 2 Abamubuulira -Eby’okumutiisa, Balemwa-okumalawo- Obuzira bwe: Tewali mulabe Alimuwangula; Alituukiriza Ng’omutambuze. 3 Mukama bw’anaaba Ng’atukuuma ffe, Tulifuna-obulamu- Obutaliggwaawo-: -Eby’omu nsi biriggwaaawo-! Siityenga-eby’abantu; Naabeeranga bulijjo- Omutambuze

  • OLUYIMBA 339: KATONDA MUSUMBA WANGE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 339: KATONDA MUSUMBA WANGE 1 KATONDA Musumba wange Era ye andiisa; Nze ndi wuwe naye wange, Byonna-ebibye byange. 2 Andiisa-omuddo-omulungi, Nzikuta,mpummula; N’awali-emigga-emirungi, Annywea lwa kisa. 3 Bwe nkyama ye ankomyawo N’amggumya omwoyo; So si lwa bulungi bwange, Lwa linnya lye lyokka. 4 Mu kiwonvu eky’okufa Ndiyita nga sitya;…

  • OLUYIMBA 325: BULIJJO,BULIJJO Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 325: BULIJJO,BULIJJO 1 BULIJJO,bulijjo, Sooka-omulimu ku nkya; Nyiikira,beeera muteefu, Tambula mu bwesigwa, Saanira n’okolera nnyo Mpeera yo-ey’obutuukirirvu, Bulijjo,bulijjo. 2 Bulijjo,bulijjo, Ddayo-eka wo ekiro Omubiri gwo longoosa, Lya emmere ya leero Era weebake-otulo two, Nga bwe kikusaanidde ddala; Bulijjo,bulijjo. 3 Bulijjo,bulijjo; Jjukira Katonda wo, Bw’akulembera,bw’akuuma Amakubo go gonna; Era…

  • OLUYIMBA 34: MMWE MWENNA-ABALONDE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 34: MMWE MWENNA-ABALONDE 1 MMWE mwenna-abalonde, Mujje musanyuke Mujje tugende e Beesirekemu, Gy’azaaliddwa Omwana wa Katonda Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze Mukama. 2 Katonda, Katonda; Ye musana gwa nsi: Teyagaana kufuuka omuntu; Katonda ddala,-Omwana si mutonde. Mujje nno tumweyanze, Mujje nno tumweyanze, Mujje nno…

  • OLUYIMBA 310: AYI KATONDA,ONNUMGGAMYE Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 310: AYI KATONDA,ONNUMGGAMYE 1 AYI Katonda,onnumggamye Okumpisa mu ddungu; Ndi munafu:ggwe w’amaanyi, Nnyweza mu mikono gyo. Ggwe-oli mmere y’omu ggulu, Ondisenga,nzikute. 2 Omusaayi gwo-ogunaaza Gunnaaze,guntukuze; Empagi ey’omuliro Ggwe Mubeezi ow’amaanyi Onkuume n’engabo yo. 3 Bwe ndituuka ku Yoludaani Ombeere nneme-okutya. Ggwe-eyawangula okufa Ontuuse mu kanani. Nnyimbe-ennyimba-ez’amatendo Bulijjo nga…

  • OLUYIMBA 312: BWE TUTAMBULIRA AWAMU NE YESU Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 312: BWE TUTAMBULIRA AWAMU NE YESU 1 BWE tutambulira awmau ne Yesu Mu musana ogw’enjiri ye, Tubeera mu kkubo ery’ekitiibwa kye Wamu n’abeesigwa be boona. Mugondere era omwesige, Tewali kkubo ddala Erireet(a) essanyu. 2 Ebisiikirize n’ebire biggwaawo Okutya n’okubuusabuusa; Era n’amaziga nago tegabaawo Eri abeesigwa be boona. Mugondere…

  • OLUYIMBA 313: NG’EMPEEWO BW’EWEJJAWEJJA Song Lyrics

    Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 313: NG’EMPEEWO BW’EWEJJAWEJJA 1 NG’EMPEEWO bw’ewejjawejja. Olw’amazzi-ewummule Abayizzi gye bagoba -Ewala nnyo mu kibira, Bw’atyo omutambuze Ye bw’awejjawejjera Ggwe,amazzi g’obulamu, Ggwe,omugga-ogutaggwaawo. 2 -Emmeeme yange-erumwa-enjala Ku lw’Oyo-Omutukuvu, -Emmere yange ge maziga Emisana n’ekiro; Abayigganya bonna Nga banvuma-edda n’edda Nti -Omulokozi yeekweka. Ali ludda wa Katonda? 3 Kiki-ekikukutamizza, Ky’ozitoowereddwa ggwe?…