Category: Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics
-
OLUYIMBA 363: KATONDA MU GGULU Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 363: KATONDA MU GGULU 1 KATONDA mu ggulu, Ggwe-otukuza byonna; N’okwagala kwo-okw’ensusso Tukuza-ennyumba-eno 2 Mwe tukakasibwa Nga tubatizibwa, N’okunaazibwako-ebibi, -Olw’ekisa kyo-ekingi. 3 Kristo ye kennyini, Mw’aliisiza-ababe -Omubiri n’Omusaayi ggwe, Ye mmere y’obulamu-. 4 Abantu-aboonoonyi, Mwe basaasirirwa; Bonna-abfiira mu kibi, Mwe basonyiyirwa. 5 Amaanyi g’omubi Gawangulwa mangu; Bwe gakoona…
-
OLUYIMBA 364: EDDA BONNA ABALWADDE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 364: EDDA BONNA ABALWADDE 1 EDDA bonna abalwadde Baakunoonyanga Yesu, So tewali n’omu-eyadda Awatali kuwona. Otuwulire ggwe Yesu, Ffe abakukaabidde. 2 Abanaku n’abakooye, Abalwala n’abafa; Bakyetaaga-Omulokozi, Obawonyeze ddala. Otuwe ggwe bye twetaaga Okuliisa-abayala. 3 Bonna-abzitoowereddwa Ebibi bajje gy’oli, Obatikkule-emigugu. -Ebibazitoowerera. Emibiri era-emyoyo Yesu,-obiuule bibyo. 4 Obuyinike n’endwadde Byombi…
-
OLUYIMBA 365: EDDA MU NSI ABAYUDAAYA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 365: EDDA MU NSI ABAYUDAAYA 1 EDDA mu nsi-Abayudaaya Bwe baatambulanga Omukono gwo-ogw’amaanyi Gwawonya-abalwadde: Bamuzibe n’abalema Baakweyunanga ggwe; Gy’oli abanaku bonna Basanyusibwanga. 2 Abo be wakomangako Mu kisa kyo-ekingi Baafunanga obulamu -Essanyu n’emirembe: Okulwala-era n’okufa Byonna byaddukanga Ne leero jjangu gye tuli N’ekisa kyo-ekingi. 3 Naffe tukwegayiridde Ggwe-agaba-obulamu;…
-
OLUYIMBA 366: OBUDDE BWE BWAWUNGEERA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 366: OBUDDE BWE BWAWUNGEERA 1 OBUDDE bwe bwawungeera Abalwadde bajja gy’oli, Baatuuka nga balumwa nnyo Ne badda nga basanyuka. 2 Naffe leero tuzze gy’oli, Emyoyo nga gituluma; Tetukulaba n’amaaso, Naye tumanyi nga wooli. 3 Ayi-Yesu otusaasire, Ffe-abaana bo,tulwadde nnyo Endwadde nnyingi-ez’emwoyo N’ennaku zitusanze nnyo. 4 Abamu tebakwesiga, Babuusabuusa…
-
OLUYIMBA 367: OMULOKOZI WAFFE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 367: OMULOKOZI WAFFE 1 OMULOKOZI waffe Ekisa kyo kingi; Wansanyusa-abalwadde Bwe wabeera mu nsi. Kaakano ffe tuutuno Mu nnaku nnyingi nnyo; Mu kwagala kwo-okungi Otega-amatu go 2 Ffe-abakumggaanye wano Twetaaga-ekisa kyo; Kubanga mu mibiri Naye Katonda waffe Bw’otuula gye tuli, Endwadde zaffe zonna Zinaafuuka-amaanyi. 3 Jjangu-,otubeere Yesu, Tuleme…
-
OLUYIMBA 368: AMAZE-OMULIMU GWE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 368: AMAZE-OMULIMU GWE 1 AMAZE-omulimu gwe Alwanye-olutalo lwe; Avudde mu mayengo, Yeesiimye-okuwunguka. Kitaffe tuwaayo gy’oli, Omwana w(o) eyeebase 2 Eyo teri kukaaba; Awonye-ennaku-ez’ensi; Atuuse mu maaso ge, Oyo eyatonda-ensi. Kitaffe tuwaayo gy’oli, Omwana w(o) eyeebase 3 Eyo-amaanyi g’okufa Tegakyamutuutako; Omununuzi gy’ali Eyawangula-okufa Kitaffe tuwaayo gy’oli, Omwana w(o) eyeebase…
-
OLUYIMBA 369: BAWEEREDDWA-ABAFU Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 369: BAWEEREDDWA-ABAFU 1 BAWEEREDDWA-abafu Bonna-abeebakira Mu mukama waffe, Kuba bawummula. 2 So,nga basanyuka; -Okulaba n’amaaso Gwe baali baagala Nga tannalabika! 3 Katonda-asangula Amaziga gaabwe; Abawa-essanyu lye Erituukiridde. 4 Ffe tubakaabira Fenna ku ntaana-eno Nga tulowoozezza Ku mikwano gyaffe. 5 -Ekiseera kitono Naffe-alituyita, Okwetaba nabo Emirembe gyonna. 6 Obudde…
-
OLUYIMBA 340: LABA-OMUSUMBA-OMULUNGI Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 340: LABA-OMUSUMBA-OMULUNGI 1 LABA-Omusumba-omulungi Bw’ayita-endiga ze: Ennafu azisitula, Ento azirisa. 2 Azitwala ku mabbali -Ag’amazzi g’obulamu-; Era n’awali omuddo -Omulungi omuto. 3 Bwe zikyama nga zireka Ekkubo lye-effunda; -Omusumba oyo-omwesigwa Azigoberera. 4 Bwe tutyo ffe tutambule, Tugende n’essanyu; Ye ng’atukuuma bulijjo Mu kkubo lye-eddungi.
-
OLUYIMBA 355: OMUTAMBUZE-OMUTO NZE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 355: OMUTAMBUZE-OMUTO NZE 1 -OMUTAMBUZE-omuto nze Natandise leero; Nnumggamya okumala -Olugendo lwo lwonna. 2 Mulwanyi wo-omuto nze, Atalina maanyi; Mbeeranga ggwe-ow’amaanyi Nnwanenga n’ebibi. 3 Omwana wo-omto nze, Nkweyabiza wekka; Mulokozi,ompenga -Ekisa kyo kye nsabye. 4 Mmanyi bwe ndi-omunafu Naye ntunuulira; Ompe-okukuweereza Leero ne bulijjo.
-
OLUYIMBA 341: JJO NE LEERO N’OKUTUUSA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 341: JJO NE LEERO N’OKUTUUSA 1 JJO ne leero n’okutuusa Emirembe gyonna,Yesu Aba bumu. 2 Kye kiddukiro-eky’amaanyi Mwe tuwummulira fenna Nga tukooye. 3 Edda twabula,twatuula Mu kizikiza-ekikutte, Yatunoonya. 4 Yatunoonya mu lukoola Mwe twabulubuutiranag, Nga tubula. 5 N’atuleetera-obulamu, N’atutikkula-omugugu, Gw’ebyonoono. 6 Ebibi bye twakolanga. Yesu abinaaza byonna, Mu…