Category: Engero za Baganda – Luganda Proverbs

  • Engero za Baganda eza – B  – Luganda Proverbs prefix – B 

    Engero za Baganda eza – B  – Luganda Proverbs prefix – B

     

    luganda proverbs engero

    1.

    2. Babadde bawoza ogw’embwa : ng’endiga erinnya enju

    3. Babika anzirako : ne batabika nze

    4. Babika enjala : obajja mulawo

    5. Babikidde enfuuzi : okwennyamira

    6. Babikidde omunafu : butalima

    7. Babuulira omwana wa boowo : nga naawe omunaku owulira

    8. Bagabega nga bagaaya? : ng’abaguliza mubezi

    9. Baagala atabaala : tebaagala muyombi

    10. Baagala ayaze

    11. Baagala azimbye

    12. Baagala mugagga

    13. Baganda baamirira alidde (= basanyukira alidde obwami)

    14. Baganda nswa : yeebikka ku mabega, ng’olubuto bwereere

    15. Baggala ekkubo : baba ba maanyi n’abaliggula

    16. Baggyewo eddiba : ennyomo zikolonge

    17. Baggyewo embuzi : batunuulire enkondo

    18. Bagigujumbudde : atereka ya lubiriizi

    19. Bagoba bikere : ng’eminya gijja? ( Bagoba minya: )

    20. Bagoba minya : ng’ebikere bijja bikwetenga

    21. Bagobedde munya mu ssubi

    22. Bagundi bakugamba : nga y’amugamba

    23. Bajula avuddewo

    24. Bakaabira mubikire : naye abakutukidde mu ngalo!

    25. Bakakubye mu nkaatuufu : kukongera kumwa

    26. Bakale boogere : nga bamugambye gw’ayagala

    27. Bakama mpisi : banyiikira

    28. Bakanaanise akaagala : muk’omubbi okuzaala abalongo

    29. Bakidambya : kye kizaala eddenzi

    30. Bakinaanise akyagala : nga mukk’omubbi azadde abalongo

    31. Bakinsimba : ne sireka muwa-butwa mmere

    32. Bakiraasa : ow’embuzi alaasa ow’amaliga

    33. Baakisimba enkumbi

    34. Bakiwadde munnange : bwe buggya

    35. Bakookolo bageyana, nti erya munnange lye lisinga okuwunya

    36. Bakopi mayenje – – ( Abakopi mayenje: )

    37. Bakuba emyali : omubumbi n’aba mulamu (or: ne batatta mubumbi)

    38. Bakubalira amalya : ne batakubalira mirambo

    39. Bakubanja n’otobba

    40. Bakubuulira kirya-nkolo (= nkondo) : obajja mirawo!

    41. Bakubuulira lw’e Mukoko : olatta

    42. Bakubye mu kirimba : kulaba ziyidde

    43. Bakubye mu nkaatuufu : kwongera kumwa

    44. Bakugamba : y’akugamba

    45. Bakugoba mu nju : nti nnaasula mu mulyango

    46. Bakugobanga n’ojja ewaffe : y’akuyita Lubuna-miryango

    47. Bakukiza nsumika : ebijja bituutiira

    48. Bakukyawanga : n’otogya ddogo

    49. Bakulagirira eddagala eritta engabi : oyokya binsambwe?

    50. Bakulagula enfumu : ng’ogalamira? ( Banjula enfumu: So olaba: )

    51. Bakulamulira, nti ka banzite : nti emagombe eriibwa obwami (= nti ogenda kumyuka kitaka)?

    52. Bakuloze katawaano : ke baaloga ow’ebbuba

    53. Bakulu babiri ab’empiiga : si kyalo

    54. Bakulu balya bulungi

    55. Bakumba na mulamu

    56. Bakunyaga n’ente : ne batakunyaga na mukazi-muggya

    57. Bakusaggira okolola : ey’obugoba gy’oyagala? (or: nti osinga kwagala ya bugo-ba?) (ennyama)

    58. Bakuseera mu katale : n’oyombesa ekkubo (or: Bakuseerera)

    59. Bakuseera : takwazika

    60. Bakusinza nsumika : nti ebijja bituutiira (or: nti labs bwe bijja bituutiira)

    61. Bakutenda : akugabya

    62. Bakuwa : afunda ku kya ggumba

    63. Baakuwa obukulu : oliirira?

    64. Bakuyisa ennyindo : oyitabya kamwa?

    65. Bakuyita embuga : si buganzi

    66. Bakwanya mikka : nga makondeere

    67. Bakyaliza ntondo : ng’omusukundu

    68. Bakyassaako agange

    69. Bakyawa mwannyoko : ggwe osaba kibugo?

    70. Bakyewunya : ng’omufumbo alya mu baddu

    71. Balabaganako : mbwa na ngo

    72. Balambula kimeze

    73. Balamu magoma – – ( Abalamu magoma: ) p

    74. Baleke, abaana bazannye – – ( Baana bazannye: )

    75. Baleke baggwe akanyomagano : ng’omwagalwa kungulu

    76. Baleke beemale eggayannano : nga gw’ayagala y’ali kungulu

    77. Balekera ddala : endwadde si ya kuwona

    78. Balenzi, babawa : alya ku vviivi (= atwala ya luyuvuyuvu)

    79. Balenzi, mugawe ebyala! : nga w’atwala w’afunze

    80. Baligikuba kigo : kazzi yeerabira omuliro

    81. Balikomya eyo ne bazza : ye nyolo agenda

    82. Balikuba ku nda eridde : muk’omubbi talamula bba (= talabula)

    83. Bali ku ddembe : bakudaalira ajeera

    84. Balikuta nga : ) kayamba kenkana mmale ) embuzi zibaaga ngo ) enjala zibaaga ngo

    85. Balimutta jjo : tikikulobera (= tikikulayira) kumusenga

    86. Balimwogerako : omuzira gwe batendereza

    87. Balintuma olwange : tafuna

    88. Balireete : eggye talirinda kulwana

    89. Balitta ku lingi : asenga kwa Mukwenda okuli abangi

    90. Balo embogo yamutta : ko Nnampulirazzibi, nti bw’atyo bw’azifumita

    91. Baloolera nkunga : ng’ab’ebbugga balya

    92. Balubuuliza mbazzi : nga luli ku muddo lulya (= lugaaya)

    93. Balugadde batya? (oluggi)

    94. Baluleekeza : ng’omusajja ayombera ensuwa

    95. Balunaayiza : ng’ow’embaliga ayita mu luwenda (= akulembera omusulo)

    96. Balusaggya : ng’omuwuulu agula enkulo nti onooziwa ani okuzifumba? ( Oli balusagya: )

    97. Balweggira : ng’ensimbi egula muwogo

    98. Balya nga ndaba : ) wa kikere omukira mpaako ) y’atoma

    99. Balyegombera ku mugogo

    100. Balya okwabwe : tebalema kuduula

    101. Bambalaganye bukanzu : essuuka ewenjuka

    102. Bampe ne nneeriira, balibuuza ani? : afa tasasudde

    103. Bamulanga ki? : y’akaabya musibe

    104. Bamuloze katawaano : ke baloga ow’ebbuba, nti ddayo gy’ova

    105. Baamutta : akira yafa

    106. Bamututte kya mwanisi wa taaba : ekibaaze

    107. Bamwagala olusuusuuto : lwe baagala mulekwa mu lumbe

    108. Baana ba Kintu – – ( Abaana ba Kintu: )

    109. Baana ba lumonde : bakulira ku muguwa (= ngoye)

    110. Baana ba muno beeyokyayokya nnyo : nga y’amummyeko

    111. Baana bannemye : talamula baana

    112. Baana ba Walumbe : babuna misaasaano

    113. Baana ba Wambwa : baggwa musaasaano

    114. Baana bazannye (= baleke) : bw’avaawo abayita balangira

    115. Banaabegabega ettaka : nga muk’omubbi asindika bba okugenda okubba

    116. Banadda : ba twatumye banadda

    117. Banaagyekanga : taginyiriza

    118. Banaku beekiina : nti nnasuze mu Ggulu (e Mukono)

    119. Banaakutenda okukomaga : n’okomaga n’ensambya

    120. Banaalya ku ago ne beebaka : Abalya nnyingi basula ku kyoto?

    121. Banaalyamu agayidde : ng’erumye omukazi k’egwe amasanda, ng’erumye omusajja

    122. Baana na baana : ng’omu tannakuba munne lubale

    123. Bandaba : ) afunda ku munaabo ) alinda kutoma ) alya kya luyovu

    124. Bandaba wa? : yeeyitira basabi

    125. Banfuuyiridde emmese : alima watono

    126. Banjagala : yeegomba tebanjagala

    127. Banjula enfumu : ogalamira? ( Bakulagula enfumu: )

    128. Bannange bangi : ow’essimba akubula

    129. Bannange banjagala (= bannange bangi) : ) nga tonnagwa wabi ) bw’ofa wabula akukaabira

    130. Bannanze bwemage : bwe balanga enjobe mu lusa

    131. Bansuute : atta obusika

    132. Bantu balamu : mwennyango

    133. Bantu mannyo ga mbizzi : gaseka kungulu, nga munda mulimu bussi

    134. Bantwala olutwe : tava mu ggwaatiro

    135. Basajja kye balya : tekifa bwereere

    136. Basajja mabale : gasannana nga bw’oddira ejjinja n’okuba linnaalyo, n’eryatika

    137. Basajja mivule

    138. Basajja nsolo : bw’omugobera mu nsiko, awaguza maanyi

    139. Basajja ssubi – – ( Abasajja ssubi: )

    140. Basammula ekkere : balinywera mu mazzi (or: basenawo mazzi)

    141. Basa na basa : ng’amagezi bagenkanya

    142. Baseka n’eggimbi

    143. Baseesa gwaka

    144. Basiima bakyagaaya

    145. Basiimira ku mugogo : bw’erigwa wansi, nga bbi

    146. Basindise empisi okuwooza akatale

    147. Basindise enkima mu kibira

    148. Bassa kimu : nga nkuyege

    149. Basse Munyolo : Abaganda baseke

    150. Basugumbira (= abasugumbira) e Mmengo : Kabaka alibookya

    151. Basujju bandidde : abuulira Lubinga, nti anaasala atya okusinga mutabani we, Kasujju ?

    152. Bataka bagunywa kiro : bamukubya akasendwe

    153. Bataka tebeesigwa – – ( Abataka tebeesigwa: )

    154. Baata enkoko) nkulu : kwetakulira

    155. Bateebereza bubi : akuyisa enkya, omuyisa eggulo

    156. Bategeeza akataayonka

    157. Batindira kibaze

    158. Batisse (= batikkidde) mulalu ssanja

    159. Batongole bagaanyi : nga y’agaanyi

    160. Batongole mbuzi : zirundwa kamwa

    161. Batta emiggya : beerabira emikadde

    162. Baatubba, baatulekera kaki? : w’asula akulaga nsiisira

    163. Batuggudde : taggya mutwe wansi

    164. Baatuuka : beerabira abaabatuusa

    165. b Batuusa ebbugga : beerabira embooge

    166. c Batusaze : y’atiisa eggye

    167. d Baatutta baatumalawo : akiina abaafa

    168. Batuvumye e mbuga amatulu : nga ye y’alirina

    169. Baatwaya baatulekera ki? : omugogo alaga gumu

    170. Exaggeration! Much ado about nothing

    171. Baatwongera abaddu : ng’akagugu kali mu nkwawa

    172. Baawunda mpango : nga balidde bakkuse

    173. Bayira ndya : agabira w’ebweru

    174. Bayisaawo ne beeriisa enkuuli (z’entuuyo)

    175. Bayita kungulu : nga muwuzi

    176. Bayita n’omuliika : n’anunula (= awonya) abaana

    177. Bazaala mubiri : tebazaala mwoyo

    178. Bazaala mugagga

    179. Baze wange, onkyawanga : n’ompa enkumbi n’olubugo!

    180. Baazibumbira kwatika : ne ziramira mu kyokero

    181. Bbugubugu : si muliro (nga gw’agifumbira tamwagala)

    182. Bbula bikolwa : likwosa ekigagi

    183. Bbulwa bikolwa : likwasa ebigagi

    184. Bbuno asekera abassi

    185. Bbwa ddene : ligambwako nnyiniryo lumonde bw’alemwa omuggo, enkumbi eyamusimba y’emusima

    186. Beerabye bbiri : tibajjukira nga bayinza kulwalako

    187. Beeyamirira yejjeeredde

    188. Bigambo bikira ennoma – – ( Ebigambo bikira: )

    189. Bigendetanye (= bigendegetanye, = bigendagatanye) : ng’emmese eridde ag’o-muliirize

    190. Bigere biranga essubi

    191. Bigere bitunda nnyinibyo

    192. Bigere bya mbogo : obirinnyamu nga teriiwo (= obyegezaamu ng’evuddewo)

    193. Bigere kkumi ttunda : bwe bil(utuusa w’onoolya n’osanyukirira ate bwe biku- tuusa w’otoolye n’osunguwala

    194. Biggweredde awo : nga gwe bageya ayingira

    195. Biggweredde awo : ng’owuwo y’amezze

    196. Bigooli : babiriisa njala

    197. Bijjula ettama : bye bikuwa engaaya

    198. Bijuulo : omusajja ajuula banne

    199. Bikalu bitaaka : ng’ejjinja ly’omu kyoto

    200. Bikoomi bya mwaka : n’omunafu ayokerera

    201. Bikongo biwunya ttaka : nga nnyoko y’abirimye (= nga mwannyoko abifu- mbye)

    202. Bikongoolo : tibitta nnume

    203. Bikubuze : ebyabula ab’e Mityana, okuyisa e Ttanda ewa Walumbe

    204. Bikutunye : emmese gw’esaba ekigwo, y’addira omuggo

    205. Bikutunye : ng’akulooe wa mu nju

    206. Bikwalira : tibirimbula

    207. Bikya bya mbuzi : tibyekaanya mugwa

    208. Bimanywa nda : nga by’alowooza munne tabimanyi

    209. Bimanywa nda : ng’omulenzi alidde ntulege

    210. Bimanywa nda : omunaku tayogera by’alidde

    211. Bimuyise ku nviiri

    212. Binene : biseega

    213. Binkutte akamwa : ng’akulooe wa mu nju

    214. Binnyo birya : ye mugagga omussi w’ente

    215. Bino byange na bino byange : omukazi alimisa nsimo

    216. Binsanga wano : ze nnimi z’omukadde

    217. Bintabira : biddira emmindi

    218. Bintu bizibu okugaba : gw’owa enkoko atenda munnyu gwokka ggwe eyagimu- wa takwogerako

    219. Binywera bye bigenda : omukazi yasiba embwa ya bba ku mugugu

    220. Biriko akuluma : tibyegaanibwa

    221. Birungi birekwa – – ( Ebirungi birekwa: )

    222. Birungi okwogera : si birungi kuddamu (= okubiddamu kuzibu)

    223. Bisatuuka : ng’omuwuulu ayita we balya bw’onootuuka eka nga bagimaze, onookola otya?

    224. Bisenge bya muyiisa : tibiggwaamu mwenge

    225. Bita bisigale : nga n’enkaaga alina ey’okubizzayo ku buko

    226. Bitambulirwa

    227. Bitannakala : tebisalirwa byayi

    228. Bitono biggwa byokya : omukazi tabegera bba busera

    229. Bitunda nnyinibyo

    230. Biva nju : bidda nju

    231. Biwedde mirembe, akabi kabule : akiina muyiisa

    232. Biyita lukootezo : ng’akoza ettimpa

    233. B’oluganda bye bita : bikoonagana ne bitayatika

    234. Bubulwa mbwa amagunju gakinakkina (= gayinaayina)

    235. Bufa magoba

    236. Bugagga ntuuyo

    237. Bugubugu – – ( Bbugubugu: ) ,

    238. Bugya dda : bukuyisa ku malaalo ng’olya (or: ng’oyimba)

    239. Bukaajumbe : anaabusereka akeera

    240. Bukadde buwoomya ki? : ttooke

    241. Bukadde magezi : takubuulira kyamukuza (= kyamuwangaaza)

    242. Bukira obuzibu

    243. Bukojjange bunjagala : ng’adda ku nnyoko waali

    244. Bukula musaayi : nga bafumise ow’emitala

    245. Bukulu bw’omu : kwesitukira

    246. Bukumbu : enkuyege bw’eva ku ggi (= ng’ogusima ebbumba)

    247. Bukundugga : ) nnyinibwo abusanga ) ne bukula

    248. Bukya mbirya omunya guggiira ku nju (= mu ssubi)

    249. Bukya n’ebigambo

    250. Bukyawe bukira – – ( Obukyawe: ) Rub

    251. Bulamu kye kiwango

    252. Bulangasa : ng’obulago bw’emmese

    253. Bulemeezi teva muto : eva musisiirwa

    254. Buli ggwanga : n’ebyalyo

    255. Buli gw’olaba n’akamyufu : ng’oyo yatabaalira Tororo

    256. Bulikugwa : obukyala si bumbejja

    257. Buli kulya : n’okwasama

    258. Buli mukopi abeera n’ennyanja : olugira awungukidde awo

    259. Buli museveni muwangaazi : agidde awone mu bitter

    260. Bulinde buwere : yawanguza Buvuma

    261. Buli ow’emmamba : asuuta yiye

    262. Buli wanzina n’eyiye : Wajjenje azinya byoya, Wakikere mumiro

    263. Bulungi si ddya

    264. Bulungi si ddya : singa ekkajjoy’enjovu liwangiza Muzibu

    265. Bulyake : si bwa jjo

    266. Buliibwa mukalu

    267. Bumpanga : ng’enkoko egula ettooke

    268. Busa bwa mbogo : bukala kungulu

    269. Busajja : bukirana

    270. Busajja bwa nkuba : bw’agula omwenge, agula Ka-bantende

    271. Busenze : bukala mmuli (Bukalammuli)

    272. Busenze bunnemye – – ( Obusenze bwe bubula enswa: )

    273. Busenze butta munaanya

    274. Busenze muguma : bwe bukonnontera n’osongola

    275. Busiru bwa njoka : butta nnyinizo, nti munaalamira mu ttaka? ( Ssebusiru bwa njoka: ) ,

    276. Busolo bwa kuno – – ( Obusolo bwa kuno: )

    277. Buswagu : oswaguza ne gw’olya naye

    278. Butaka bw’abanaku : kiwaalo

    279. Butalaga : nga njala

    280. Butalima : buzaala enjala

    281. Butamanyiira : bukussa n’omuyombi omukago

    282. Butannaziba : tobusindirako (= tebukusinza) maluma

    283. Butazimbye : bumanyibwa nnyinibwo

    284. Buteeraba – – ( Obuteeraba: ) p

    285. Buteewuliriza : bunyooza ennanga amatu

    286. Butoola : ekibbo n’emmere

    287. Buyisi bw’omu : bulangwa nsega (= nsega y’ebika)

    288. Buuza ataakuldine : musumba wa mbuzi (= omuwa-butwa abuuza musumba wa mbuzi)

    289. Buzaala enge

    290. Buziba bweru : tebuziba mu nju

    291. Bwa ddiba : buli afuluma (= bull muntu, = bull omu) asika wuwe

    292. Bwakedde mpulira : bafumitira ku buliri

    293. Bwakedde mpulira : bw’atabba n’asera

    294. Bwangu bwa kuwa : bukuweesa alikumma

    295. Bwangu na bwangu : ng’omutezi w’enkwale ky’ajje atege ng’ategulula

    296. Bwatukeredde ku ntugu

    297. Bwe babuulirira omwana wa boowo : ng’ow’omunaku okutu akunkumula

    298. Bwe bakubuulira ennaku : ) ng’obalaata ) n’ozanjazamu kati

    299. Bwe bambuulira, saatuula : nga lwali lwa mugagga

    300. Bwe bayita abalungi : ayitaba

    301. Bw’ebinda : si bw’etonnya

    302. Bwe bukya : si bwe buziba

    303. Bwe bukya : si bwe buziba enkoko ebuuza nnyina waayo omuziro

    304. Bwe bukya : si bwe buziba ensega yatta n’Omuyima omukago

    305. Bwe bumu : akuddiriza endwadde

    306. Bwe gayita : bwe galya entanda

    307. Bwe gull gwa bataka : gunadda

    308. Bwe gutyo yazaala bwe gutyo : olukomera luzaala emituba

    309. Bwe katagirya (kataligirya) : enkoko eribiika (erikookolima)

    310. Bwe mubanga mulya enswa : temuzitendanga kuwooma, nga temunnasaasira nkuyege ezaabumba ettaka

    311. Bwe ndi, bwe ndi : y’atunda abaana

    312. Bwe nfanga, banfunyanga : omufu taluma

    313. Bwe nkubuulira ennaku : ozanjazamu kati? (cf, Bwe bakubuulira: )

    314. Bwe nkulabako : ndabye ku nsega ey’omuseera, kubanga erivaayo n’ekiwalaata

    315. Bwe twenkana : abuulira abassi

    316. Bwe weeteeba : akuleka mu kibira

    317. Bw’eyinda : si bw’etonnya

    318. Bw’oba omugezi ogeziwala : bw’oba omusiru osiriwala

    319. Bw’ofumbira atakkuta : toyaya lusuku

    320. Bw’ofuna omuto : olukadde lwo togoba

    321. Bw’ofunda : nnakawere akuyita okulya

    322. Bw’ogenda ebulya nkolo : toleka kambe

    323. Bw’ogeziwala w’ogeziwala : bw’osiriwala ogajjulira ddala ebikonde binaakuyi-tako

    324. Bw’ogoba musajja munno : embiro olekamu ezinadda

    325. Bw’ogwa awabi : eyali munno akwerabira

    326. Bw’okiina omukaba : weeraliikirira ky’anaakuzza

    327. Bw’okuba ekitakaaba : ggw’okaaba

    328. Bw’okyawa gw’oyita naye : weeyongera nnaku

    329. Bw’olaba akukaabirako : naawe weeyongera okukaaba

    330. Bw’olaba embwa ezannyikiriza ekiriba : ng’enaakirya

    331. Bw’olaba emmese ng’esuna omutwalo : ng’ebinnya yasima edda

    332. Bw’olaba nnamunye atubidde : ate ggwe ow’embuzi n’ogoba? ( Embwa bw’olaba: )

    333. Bw’olaba omugenyi asookedde ku kyento : nga taagabe

    334. Bw’olaba omukulu afungiza : nga ky’agoba kiriibwa

    335. Bw’olaba omuwuulu aliko entumbwe : ng’asula mwa jjajjaawe

    336. Bw’omalamu n’oguziika

    337. Bw’omala okusesema mu mwenge : nti alinnyimba ndimutta

    338. Bw’omegga omunafu : ossaako n’okuluma?

    339. Bw’omu : buwola oluuyi

    340. Bw’osekerera ekibya : osekerera yakibumba

    341. Bw’osika (= osikirira) ekitajja : eddiba ly’enkoko oleka mmanju

    342. Bw’otolya embuga : togejja

    343. Bw’otonnava : toyonoona kisulo

    344. Bw’otova ku mbuga : benawo oweebwa omusibe ataliiko kyayi olyoke omu-kuume

    345. Bw’otova ku mulungi : ofa owoza

    346. Bw’otoove : otonnana ogenda

    347. Bw’ottottola ebya kyalo : bw’olwala w’abula akulumika

    348. Bw’otuma abatadda : naawe ogoberera

    349. Bw’owala ekitajja : eddiba ly’enkoko lisigala mu lusuku

    350. Bw’oweeka gw’otozadde : oweeka asoosootoka

    351. Bw’oweetuuka : w’oyagula

    352. Bw’owulira oli ng’agarnba nti gobs embwa : nga mu kisenge eriyo ekyokulya

    353. Byaffe biri : nga biragaane

    354. Bya kagambwa : ng’omuwuulu anaatuuma nnannyinimu erinnya

    355. Bya kulya kubula : bye bikuyisa mwannyoko omugenyi

    356. Bya kuno bwe bityo : avuma bakopi

    357. Bya kuno : tasenguka, agoba abajja

    358. Bya mna : ) ng’emmese eridde ag’omuliriize ) ng’omubbi bamubbye

    359. Bya mudduse : tebiddira ddala

    360. Bya mu nju : bimanyibwa nnyinimu

    361. Byanfudde bingi : agula mutwe gwa nte

    362. Byangu okwogera : naye okubiddamu kuzibu

    363. Bya nswakaba : ng’emmese by’erya mu kifulukwa

    364. Bya nvumbo ebyo : bye biteesebwa mu kyama ababiri n’ababiri

    365. By’ayogedde : omuwa-butwa ku nkoomi

    366. Bye bakubuulira by’otowonga (= Bye bamubuulira by’atawonga) : nti lubaale anzita?

    367. By’empulula : ng’omusale w’amatu ayambala amayembe

    368. Bye ndabye mbirabye : ye mugenyi akkuta

    369. Byenkanye : nga y’alidde ekikira obunene

    370. Byenkanyenkanye : ) adda mu lusuku n’amala atoma ) Buzu ne Mmu ) ng’alidde ekyere ) ng’enkoko egula ettooke ) akamwano ku kizimba

    371. Byeyuna mugagga

    372. By’okulya kubula : amaaso tigakyawa luwombo

    373. By’omuweereza : bye bigula omwenge

    374. By’oyogera tebintama : nga kyajje amulabe

    375. Ddamu mlire : ng’anoonya bya kutwala (or: alinda bya kutwala)

    376. Ddayo ewammwe : si bulamu embwa Nnasirye gy’ekutukira olukuku

    377. Ddaza mwoyo : ng’eridda mu nkovu

    378. Ddiba : kkanda-bakunyi

    379. Ddiba likaze : ennyomo zikolonge

    380. Ddiiro : likunnaanya

     

  • Engero za Baganda eza – E  – Luganda Proverbs prefix – E 

    Engero za Baganda eza – E  – Luganda Proverbs prefix – E

     

    luganda proverbs engero

    1. Ebbala erimu erya nnamunpoona : terintwala mu nnyange

    2. Ebbanja terigenda eri bbanja

    3. Ebbanja terivunda

    4. Ebbula bikola eritemeza enku

    5. Ebemba tekyala : etabaala

    6. Ebibuuka bitalagaanye : bikubagana empawa

    7. Ebiddawo tibyenkanankana : enkaajumbe temala nju

    8. Ebifa mu nnyanja : omuvubi abimanya

    9. Ebifiiramu bye bigunyuza : omugenyi tabuuza mutwe gwa nkoko

    10. Ebigambo bikira ennoma okulawa

    11. Ebigambo bingi : empapula ntono nga tabimalewo

    12. Ebigambo biyita

    13. Ebigambo bya kuno bingi : ng’omwami y’asuza ababbi

    14. Ebigambo bya kuno nga tibyekweka : nga bamugambye gw’ayagala

    15. Ebigambo byangu : omukwano muzibu

    16. Ebigambo maluma : tigaggwa mu kamwa

    17. Ebigambo si mutwalo

    18. Ebigere bya mbogo : babyegera ng’egenze

    19. Ebigere byantunda : amala okutamwa

    20. Ebigere kkumi ttunda : bitunda nnyinibyo

    21. Ebigwamu bye bitwala embwa mu katale

    22. Ebigwawo tebiraga : Wandiga atambula n’omwana we

    23. Ebijjula mu mwoyo : akarnwa bye koogera

    24. Ebikongo biwunya ttaka : nga mukadde wo y’abifumbye

    25. Ebikunku ebigenda embuga : tebidda bwereere

    26. Ebikwatibwa n’omusibe tibitonda : tibibalibwa mu kuliwa

    27. Ebinaku n’ebinaku byagalana : emlogoma bw’erwala, ensiri y’erumika

    28. Ebinene n’ebinene byagalana : enjovu temenya muvule

    29. Ebinene n’ebinene tebisibagana : ttimba singa asiba enjovu

    30. Ebingi bikukula

    31. Ebintu bifunibwa mulamu

    32. Ebintu bwe bigwamu obuzito : ekikere n’emmese benkanya embiro

    33. Ebintu tebifaanana abifuna : singa emmese eyitira mu nveera

    34. Ebinywera bye bigenda : omukazi yasiba embwa ya bba ku mugugu (= mu-gwa)

    35. Ebirabwa si bye bitendwa

    36. Ebireetereze : wa maaso by’aleetereza wa mwoyo

    37. Ebiriko akuluma : tiweegaana ng’akuloopye wa mu nju

    38. Ebirungi birekwa : ) embwa yaleka enseko ) Nsingiisira aleka omuwemba

    39. Ebirungi birekwa ku kibuga : oleka omujaguzo evuga ng’oserengeta mu kyalo

    40. Ebirungi biri wala

    41. Ebirwa bikyuka : amalusu gafuuka engeregeze

    42. Ebirwa byerabirwa : singa abafu baziikulwa

    43. Ebiriibwa mu ttoggo : byogerwa mu ddumbi

    44. Ebisenge by’omuyiisa : tebiggwamu mwenge

    45. Ebisula byefuula : omutabaazi yeefuula omwayi (= omunyazi)

    46. Ebitabira : biddira mmindi

    47. Ebitabo butiko : obutali bulungi butta

    48. Ebitali bigabane : bwe babyanuka (= babinyaga) biba by’omu

    49. Ebitali byetegeke : embwa bwe bagikuba, omukalo edduka

    50. Ebitimba bingi : bitta ensolo

    51. Ebitooke bindaaluseeko : kwata kimu n’okissa mu nvuba, bisooke bijee-mulukuke

    52. Ebitono biggwa byokya : ) eddiba ly’ensiri likalira mu ngalo ) omukazi tabegera bba busera

    53. Ebukojjaabwo : teva wa lubu lwo

    54. Ebukojjange banjagala : ng’adda ku nnyoko waali

    55. Ebunga : teba ya kisibo

    56. Ebweru teremerwa

    57. Ebya bangi biwunya ngalo : nga wali oliddeko

    58. Eby’abasumba biggwera ku ttale

    59. Ebya Buganda : bya kulya na kugula

    60. Ebya gundi bya Mwana wa Mukama

    61. Ebya kuno – – ( Bya kuno: )

    62. Ebya kuno tebiisoboke : nga bamuwaayiriza mukazi mukadde

    63. Ebyali ebyannyu babikuseera : enkejje amazzi bagigaseerera mu luwombo, nti ofukamu matono

    64. Ebyama ebikulungutanye : bye bizaala ensobi

    65. Ebyanfudde bingi : ) agula mutwe gwa nte nti singa oguze enjere eya ssava, ne tumanya bwe bikufa ) enswa eruma mumwa

    66. Ebyange tebinfa bwe bityo : gwe mpola embuzi, ampa nte

    67. Ebya nkwegayiridde : bimenya omukono

    68. Ebyayanga : emmese by’erya mu kifulukwa

    69. Eby’e Buganda – – ( Eby’Obuganda byetegerezebwa: )

    70. Eby’embuga bijja kiro : obireke bijje

    71. Eby’embuga bimalibwa omuzadde

    72. Eby’embuulano tibyala (= tibyeyamba) : ) bw’ofuna nnyoko, kitaawo abula ) gy’osiba (= gy’oterekera) embuzi, enkiringi tizidda ) omuwuulu bw’afuna enkoko, omunnyu gumubula

    73. Eby’enkwatakwatanye : ejjembe ly’enkoko ku kugulu

    74. Ebyo bireetereze : w’amaaso by’aleetereza wa mwoyo

    75. Eby’obugagga ddiba : afuluma awalulira gy’ali

    76. Eby’obugagga ntuuyo : bw’owummula nga bikala

    77. Eby’Obuganda : byetegerezebwa nga kye bakutuma okireese

    78. Eby’obukanga tibiggwerawo : kafumita-bagenge w’akufumitira omuggirawo

    79. Ebyo bya mukazi na bba

    80. Ebyo bye binkanga : ng’omuwa-butwa awulidde kizuuzi

    81. Eby’okufuna : bikanula ttulu

    82. Eby’okulya bigonza engalo : eyakuwa omukazi omulaza olunwe

    83. Eby’okulya tibyandeeta : ng’omugenyi akiina nnyinimu

    84. Eby’okuwa bifa obusa : Abanaawa basuuza bbaabwe

    85. Eby’olutabaalo tibidda ka : nga tibannakosa mu bbwa

    86. Eby’omugagga bijja (= biyingira) kiro : bw’alaba ekikere (or: ekisolo) ng’agoba

    87. Eby’omugagga bijja byokka : omusota tagukkiriza kujja gy’ali

    88. Eby’omugagga bivunda : bw’alwala ebbwa, ng’anyiga (or: sso ng’ebbwa bwe limukwata ng’anyiga)

    89. Eby’omu nju : tebittottolwa

    90. Eby’omuweereza : bye bigula omwenge eddenge teete teete

    91. Eccwampa tebula byayo

    92. Eddagala ekka : lye lituuka ku ndwadde

    93. Eddalu ekkazi : likongooza bba waalyo

    94. Eddiba likaze : ennyomo zikolonge

    95. Eddiba ly’empala-kitale : basoosootola emmere nga bakomerera mmambo (ge maviivi)

    96. Eddiba ly’empala-kitale : erirezebwa amaviivi

    97. Eddiiro likunnaanya

    98. Eddya eddungi : lifumbiza ne waalaga

    99. Eggayana (= eggayano) liggwe ku kyalo eggayannano: )

    100. Eggeyenguzi ligeya omwami

    101. Eggumba ndiwe ani? : nga gw’anaaliwa amulabye

    102. Eggwanga ery’okumpi : terirwa kudda

    103. Eggwanga n’eggwanga : liggwera ku mwenge

    104. Eggwanika ly’omugagga n’ery’omwavu lye limu

    105. Eggye ekkise : lirwanira mu kyama

    106. Eggye lya Kabaka : teriggwa nnyuma (= mabega)

    107. Egindi wala : nga tekuli mumanyi

    108. Egwana mpotofu : ng’alina ky’aliira

    109. Eka egwana mukazi ne bba : atalina mukazi azimba ekibanja? In a home there should be wife and husband : does a man with no wife put up a plantation?

    110. Eka eteefe – – ( Teefe: )

    111. Eka ne mu kibira : nsobeddwa

    112. Ekiba ku mulungi : kimanyibwa dda

    113. Ekibandula enzige : guba musana

    114. Ekibanyi kigudde n’amenvu

    115. Ekibaawo kimala : omukwano guloga enjala

    116. Ekibaawo kye kimala : ennyindo y’enkoko kye kyenvu

    117. Ekibbirize : si kigwo

    118. Ekibi kigwana wala : ne kitaba ku luuyi lwammwe

    119. Ekibi kikira ennoma okulawa

    120. Ekibi tekibula musombi : ekigere kitunda ekiwanga e Bunyolo

    121. Ekibi tekirinda agenze mugga

    122. Ekibojjera ku lwazi : kyesiga mumwa mugumu

    123. Ekibuga kifukamiza ente

    124. Ekibulako obukulu : tikifa

    125. Ekibula omwavu : kye kimutta

    126. Ekibunza eggwaatiro : eba enkuba okuyinga

    127. Ekidiba kidda waabukyo : essaaniiko mu lusuku

    128. Ekifa mu ffumbiro : omufumbi ye y’abika

    129. Ekifa mu nnyanja : kibuuzibwa muvubi

    130. Ekifaananyi : kissa ensekere

    131. Ekifaananyi : si luganda

    132. Ekifo ekimu : tekisala magezi

    133. Ekigaluza ow’ennombe : ng’owa ky’obinda akuli bubi

    134. Ekigambo ekirungi : kisuza mpisi ku lugo

    135. Ekigambo ky’emisana : tekiggwa bumu

    136. Ekigambo si mutwalo : nga gye bakutumye oyagalayo

    137. Ekigambo tekitomera mpagi : singa eby’omu luuma bitomera emiti

    138. Ekigaanira mbegera : mmere kuggwa mu ddiiro

    139. Ekigaanira omuddu : liba bbwa lya mu mutwe

    140. Ekigere kikyali ku ttaka : tikyewala nfuufu

    141. Ekigere ky’omukopi : ye nvujjo ye

    142. Ekigga kibi : tikifa nsonzi

    143. Ekiggwa : tekiba kinene

    144. Ekiggya omwoyo omubi : kiba kitono

    145. Ekigugu kya kabaka : kyeziziko

    146. Ekigwa : toddira

    147. Ekigwo ekimu : tikirobera baana kuyimba

    148. Ekigwo kya lwazi – ( Kigwo kya lwazi: ) Rub

    149. Ekijja obunaku kyemanya : ) ejjanzi terigenda na nzige ) eriiso lijja n’obu-kwina bwalyo

    150. Ekijja omanyi : kikunyaga bitono ekiddukano tekinyaga byenda

    151. Ekika kisiridde : olubugo mu nkwawa

    152. Ekikoloza omubbi (= engabi) : buba buyingirwa

    153. Ekikonyogo bakikasukira kulaalira : kidda na kirimba

    154. Ekikozza alima : kye kimunnyulula

    155. Ekikukubya nkuba : okiriira wakalu

    156. Ekikula kyerabira ekyakikuza

    157. Ekikulejje : ekikubira engalo emabega ne kimala kuyimba bulungi

    158. Ekikuli wala : empenduzo y’enona

    159. Ekikusamiza : kye kikusuula mu muliro

    160. Ekikuwa obulema : kye kikuwa amagezi

    161. Ekikwanguyira naawe okyanguyira : ) ekikajjo olya kibisi bw’olya ekyokye, ng’oli mulwadde ) empogola we yeeyasiza w’ogisusira ) eryenvu olya bbisi

    162. Ekikyo kikyo : n’ekya munno kya munno

    163. Ekimala mpaka : kusirika

    164. Ekimala omugole ensonyi : byeyazike nga babizzaayo

    165. Ekimanyire bwe kiba : emmese tetomera buziizi

    166. Ekimmanyimmanyi kikwasa – – ( Olummanyimmanyi: )

    167. Ekinaagomba : tikibuulirwa mulunnyanja

    168. Ekinaakulya kijja olaba : ekiwalaata mu masega

    169. Ekinaakulyako amenvu : kisookera ku kususa

    170. Ekinaakulya ogoba kijja (= okubirira kijja)

    171. Ekinatta amaka (= nnyini maka) : tekyeramba luggya

    172. Ekinaawola kikwokeza ki?

    173. Ekinene kigenda na kusingirwa : enseenene zigenda na vvu

    174. Ekinene kigenda na nduulu

    175. Ekinene kye kimira ekitono : emmamba emira enkejje

    176. Ekinene tikyetwala : kabaka ayingira ewa Kibaale

    177. Ekinogezi ekibeera mu ttimpa : kye kikukombya (kikongobya) engalo

    178. Ekintawa : naawe kirikutawa

    179. Ekintu ekirungi : kikuleetera obubbi

    180. Ekintu tekiwoomera matama abiri

    181. Ekinuuno tekimala munnyu

    182. Ekinyiigo : tekinyuza lubugo (or: bulago)

    183. Ekinyonyezebwa abangi : tikibula alaba

    184. Ekinyonyi ekibi : kibaagirwa (kimaanyirwa) mu bangi

    185. Ekinyumu ekingi (= ekiyinga) : kireka (= kyaleka) emmese obuwuulu

    186. Ekinywa ky’amaggwa : akisiba y’amanya bw’akyetikka

    187. Ekiragala kya kibira : tikibikka lusuku

    188. Ekiri wala – – ( Kiri ewala: )

    189. Ekiriggwa jjo : ) tekikuggyako munno ) tekikutunuza ng’alira

    190. Ekiriko atuma : ne nnamukago atuga

    191. Ekirikutta kye nditta : wabula ennyanja n’omuliro

    192. Ekiri mu bbanja – – ( Kiri mu bbanja: )

    193. Ekiri mu ttu : kimanyibwa nnyiniryo

    194. Ekiri omwange : akwettira obufumbo

    195. Ekiri waggulu bwe kiribwatuka : omwana aliyita nnyina

    196. Ekiri waggulu : kirwaza enkoko olukya

    197. Ekiroga emka : kusirika

    198. Ekiro kyakulimbye ki? : y’aleeta olugambo lw’enkya

    199. Ekirungi kyeresebwa : n’okiwa munno

    200. Ekirungi mannyo : oseka obikkako

    201. Ekirwa mu mutwalo : kiwumba

    202. Ekirya atabaala : kye kirya n’asigadde eka (= n’asigadde eka kimulya)

    203. Ekirya omunaku : tikimalawo (ekisolo)

    204. Ekiriibwa omukulu : tikibula nsaanu

    205. Ekiriisa enkoko omuddo : budde kuziba

    206. Ekiryo ekinaakuwonya : kikusooka obugujju

    207. Ekisa ekitagaana : kizaala obulimba

    208. Ekisa ekiyinga : kikulumya ejjenje

    209. Ekisa ekingi : kitta obwami

    210. Ekisa kitta : n’enge (etta)

    211. Ekisa ky’omugumba : kijja emmere eggwawo

    212. Ekisa ky’omuzadde : kijja emmere eggwawo

    213. Ekisala : kye kikuwa enjaliira

    214. Ekiseke ky’omunyumya : kijjula malusu

    215. Ekisigula ennyana : kiva mu kibeere (= kigiva mu kibeere)

    216. Ekisiimibwa omuyise : omutwalibwa tasiima

    217. Ekisinde kyo n’ekya munno gw’oyita naye : kye kimu

    218. Ekisirisa afumba : ajja okulya takimanya

    219. Ekisooka kye kikulu : ebigere bisula mirannamiro

    220. Ekisolo tekirya munaku

    221. Ekissa omukwano gwabwe mawolu

    222. Ekisuula entabi : kye kikuwa entindira

    223. Ekita ekitava ku ssengejjero : ye wankindo (= ya nkindo)

    224. Ekitagaanwa musana : bwe bakugoba mu luggya ogwotera mu nsiko

    225. Ekitaggwa ku ssengejjero : ye wankindo

    226. Ekitaakule : kizimba mu lumuli

    227. Ekitakusaagirako : naawe tokisaagirako evvuuvuumira tirisaagira ku mwennya-ngo

    228. Ekitali kikyo : bbeere lya muto

    229. Ekitaliiko bukojja tikiriibwa : ekitooke n’ekitembe

    230. Ekitali kyetegeke : omukalo gugoba embwa

    231. Ekitali kyogere : enseko zikiyitako

    232. Ekitali kyogere : kizimba ku mwoyo

    233. Ekitaliiwo : tekikaabya (= tekiriza) muto (= mwana)

    234. Ekitalo mazuuku : omwana okulya munne

    235. Ekitaliibwa tikirema kwala : ekikere kyayaza ennyama ku mutwe

    236. Ekitamba (= ekiziyiza) mka : kusirika

    237. Ekitasala kizigigwa omutaka

    238. Ekitatengezza : tikizza nvuma

    239. Ekitatta Muyima : tekimumalako nte

    240. Ekitava ku ssengejjero – – ( Ekita ekitava: )

    241. Ekitayogera : tikirema ayogera

    242. Ekitembe tikissa mirundi ebiri : wabula ekya Nnanteza

    243. Ekitentegere bw’okisubula tokivaako nga tikikusiize masanda

    244. Ekitentegere gye bakyagala : gye bakyaliirira omusala (or: gye kituula ku nketo)

    245. Ekiteezadde (= ekiteezaala) tekyala : kasooli agoberera muyini kwekoota

    246. a Ekitooke : kidda walime

    247. Ekitooke kyenkanya ne bannannyinimu

    248. Ekitta akimanyidde – – ( Kitta nkimanyidde: )

    249. Ekitta amaka : tikyeramba (= tikyewanga) luggya olumbe lwa ndiga luva mu luggi

    250. Ekitta engo : kigiyinga buzito

    251. Ekitta obuliirawamu : gaba mawolu

    252. Ekitta obusenze : buba bunaanya (= bunafu)

    253. Ekitta omukwano gw’abato : nseko

    254. Ekituuliriro (= ekituulirizi) : kimala enku n’amazzi

    255. Ekitundu kya gonja : kyamponya enjala ku Mulago

    256. Ekitwala omwaka ewala : nkuba kubula (= eba nkuba obutatonnya)

    257. Ekivume : tekimenya ggumba

    258. Ekiwemula omukuumi w’awaka : mawolu

    259. Ekiwera mbegera : emmere okuggwa ku lujjuliro

    260. Ekiwera mu ttama : kye kikuwa envunyuula (= engaaya)

    261. Ekiwooma : kye kifulula obukulu

    262. Ekiwoomereze ekitata (= ekitaggwa) : kizaala enkenku

    263. Ekiwotoka tikyala : omukalo gwa njovu bagufumba mu nsaka

    264. Ekiwuugulu bwe kikaabira mu luggya Iwo : ng’ennyumba omenyawo

    265. Ekiwuka ekitaluma : ye nte y’abaana (abato)

    266. Ekiwumbya engalabi : guba mwenge okubula

    267. Ekiyini kibi – – ( Kiyini kibi: )

    268. Ekiyinula ennyana – – ( Ekisigula ennyana: ) Munno

    269. Ekiyiira omunaku : kigwa mu vvu

    270. Ekiyisanyo : amalusu n’eddookooli

    271. Ekiyita waggulu : kirwaza enkoko olukya

    272. Ekiyita waggulu : otega wansi emngu terya bire

    273. Ekiyombya mwannyoko : ky’otenderako balo mumwa?

    274. Ekiyonjo ekitono – – ( Omuyonjo omufunda: ) Munno

    275. Ekizeezengere kibaguliza okukaaba

    276. Ekwata omwami : tereka muganzi waka

    277. Ekya bangi : kibuna engalo

    278. Ekyagaza omubi : omulungi takimanya

    279. Ekyajja obunaku : ejjanzi sirigenda na nzige

    280. Ekyakutuma okusamira : kirikwokya omuliro kinaakusuula mu muliro)

    281. Ekyalo ddiba lya mbogo : terizingibwa omu

    282. Ekyalo ekitaliimu busikwasikwa : kizikirira

    283. Ekyalo ekivuddeko omumanye : okiraza mumwa

    284. Ekyalo ky’omukadde : jjingirizi

    285. Ekyana ky’endiga : kiwooma kikyali kito

    286. Ekizikiza kiyamba mumizi

    287. Ekizirakizira : omukazi tabegera bba busera

    288. Ekkerenda liva mu lubaya

    289. Ekkonde evannyuma : lyasa omutwe

    290. Ekkonkomi ebbi : lye linnannyini kigagi

    291. Ekkubo erimu : lyassa wamusu

    292. Ekkubo litemwa mukulu : nga tebannabagoba

    293. Ekkubo ly’omulimba : liba ku lusebenju (= likala emanju)

    294. Ekkumi limu : terikyawa omu

    295. Ekkoma-mwaka : n’ebyayi osala bingi

    296. Ekuba omunaku tekya : esigala ku mutwe

    297. Ekyanika taaba bwe kikubirwa enkuba ebweru : nga nnannyinikyo taliiwo

    298. Ekyasooka kye kikulu : akakowekowe ke kakulira ekirevu (= enkowekowe zikulira ekirevu)

    299. Ekyasooka kye kikulu : eky’ensuuti ky’enkoko sikyetikka

    300. Ekyatta omwami nnakimanya : nti lwaki tewakyogera nga tannafa (= nti ekyakulobera okwogera awo kiki)? ( Olwatta: )

    301. Ekya weeraba : tikikuzibiriza budde

    302. Ekyekango : tekitya (= tekimanya) muzira

    303. Ekyekulumbaza tikituuka wangulu : singa enjovu etuuka ku bire

    304. Ekyengera amangu : kivunda mangu

    305. Ekyenyi ky’omubi : kye kisabira omulungi amazzi

    306. Ekyesiga omumwa omugumu : kye kibojjera ku lwazi

    307. Ekyetimbwa : kikira ekyebikkwa

    308. Ekyeyagalire : tekiri nga kikwatire (= tekikalaza)

    309. Eky’okulya : kikalula ttulu

    310. Eky’okwebikka kirintwala ekialo (= ekiwaalo) : ng’alabye bwesigiro (or: ng’olina gy’okisuubira)

    311. Ekyonooneka nga mmwenna mulaba : tokinenyeza munno

    312. Ekyuma eky’omuto : kikuggya empeesa embi

    313. Ekyuma kitya muweesi

    314. Ekyuma okikube nga tikinnafuyibwako mpewo

    315. Embaga enyuma kiro : bw’atagenda kubba, agenda kulwana

    316. Embaga ya mangu : n’ow’ettimpa aleeta

    317. Embazzi bagisaasira amalinnya

    318. Embi erumira ennungi okugitta

    319. Embiro entono – – ( Mbiro ntono: a)

    320. Embiro za wakayiba : tezimalako lusuku

    321. Embooge bw’ekona : ) enjagi totegana kusumulula ) muwogo tosumulula

    322. Embogo ezaala : n’omutyuma guzaala (or: ne Mucuuma azaala)

    323. Emboozi endagirize : egwana bayomba

    324. Emboozi ennungi : ekaatuula (= ekaatuusa) eminyira

    325. Emboozi ensuulane : egwana abayomba

    326. Emboozi k’egwe amakerenda : ng’omuyala atuuse we bafumba

    327. Emboozi teba nkadde : nnyiniyo y’agikaddiya

    328. Emboozi tenyumye : ng’asanze eky’okulya kiwedde

    329. Embuga ekwagala – – ( Mbuga ekwagala: ) Rub

    330. Embuga ky’ekuwa : kye kibeera ekikyo

    331. Embuga teba lusuubo

    332. Embuga tesiibulwa : nga si muganzi

    333. Embuga tezannyirwa

    334. Embugo ziwooma ntono : nga yeebikka bbiri, nga yeesiga ezo okumumala

    335. Embuulire tefa yonna

    336. Embuuze ze nva : nga mwannyoko y’azifumbye

    337. Embuzi bw’eva ku nnyiniyo : era n’omusumba tagisobola

    338. Embuzi ekogga : nnyiniyo n’agisanga

    339. Embuzi mulanga : amaziga bbule

    340. Embuzi terya ntula : nga yalabira ku nnyina waayo

    341. Embwa bw’ebula agyasira : teyigga

    342. Embwa bw’eggwa amaanyi : nga n’amaddu gawedde

    343. Embwa bw’olaba egoba ow’ekiwempe : ng’ow’eddiba tooyite

    344. Embwa engizzi (= enjizzi) : ezaala enkolya

    345. Embwa ennyingi : ziwabya omusu

    346. Embwa eyiggira gaayo : n’aga mukama we

    347. Embwa tiyeerabira yagyola

    348. Embwa yange tebba : ng’eyise ku lwa taaba

    349. Embwa zaafa : amagunju gayinaayina

    350. Embwege ziwa emmere obwami : nti emyuse ey’eggulo gye banaafumba jjo eriba Ssekiboobo nandiki Mukwenda?

    351. Emikkuto egyenkanankana : gye mikkuto

    352. Emikwano efa : ow’omuliraano n’atakukyawa

    353. Emirembe ngalo : buli ogujja gukira gunnaagwo (= tigyenkanankana)

    354. Emitawaana emingi : gikukuliza enjala ku ngalo

    355. Emitawaana emingi : gyaziyiza wannyindo okwekolera oluggi

    356. Emiti emito : gye giggumiza ekibira (= gye kibira)

    357. Emitwe emingi : gye givaamu ebigambo

    358. Emitwe emingi : mwe muva ekigambo ekituufu

    359. Emmamba tefa ttama

    360. Emmandwa lwe bagisingira : tesula (= ng’egenda)

    361. Emmeeme ekutundugga : nga kanyonyi akakwate mu ngalo

    362. Emmeeme engwa : ng’olabye akuwa

    363. Emmeeme etujuba (= etefumba) kigambo : ekwogeza munno ky’atalyerabira

    364. Emmeeme ewuula n’etefa

    365. Emmeeme gy’esula : ebigere gye bikeera

    366. Emmeeme katale : ky’esiima ky’egula (= oli ky’asiimamu ky’agula)

    367. Emmeeme si bigere : etuuka gy’otootuuke nga olowoozayo

    368. Emmeeme y’omukulu : esirikira bingi

    369. Emmeeme y’omutambuze : eruma madda

    370. Emmere embisi tekubya mukazi : kubanga akusaasidde enjala

    371. Emmere ennyingi : etta mwana wa boowo

    372. Emmere ewooma eggwaawo ng’oyagala

    373. Emmere ey’abatabaazi gye bagenda balya : twayita muno nga tweriisa enkuuli

    374. Emmere ey’omu : ewooma kwa njala

    375. Emmere y’eky’emisana : tegerebwa

    376. Emmese egenda okubba eby’omu nnyumba : ng’obunnya emaze kuweza

    377. Emmese ennenyi : tiyeesimira bunnya esinnana busime

    378. Emmese bw’olaba eruma omutwalo : ng’obunnya ewezezza

    379. Emmuli zigula ki? : y’akaza obusenze

    380. Emmundu w’eraga : ettawo

    381. Emmwanyi emu : yalima junwa

    382. Emmwanyi gye weesiga : tebaamu mulamwa (-= muwula)

    383. Emmya : kabootongo z’amala enkwale

    384. Empabati : esaabala mu luwero

    385. Empafu enkununkirize zimezza

    386. Empagi bw’ekukuba : toli muzimbi

    387. Empaguka ekendeeza atayunja

    388. Emka ennemeremu : zikubya mukyawe

    389. Empale ya lucoolo eba emu : y’ekyala, y’ekola emirimu

    390. Empande emu : eyiwa ekisero

    391. Empanga ebbiri tezisibibwa mu luwombo lumu

    392. Empape mpologoma : bw’erwala, ensiri erumika tebula byayo

    393. Empemukira busa : esuuza enkoko ejjanzi

    394. Empera tekwata magulu : ekwata akamwa

    395. Emperekeze tefuuka nnyini dda

    396. Emperese efa : ng’ewaabwe mirembe

    397. Empiiga n’empiiga : terima kyalo

    398. Empiima teseera – – ( Mpiima teseera: )

    399. Empindi zaafa : eggobe mu mutwalo

    400. Empisa gy’omanyi – ( Omuze gw’omanyi: )

    401. Empisi enzitira omwana : nga bali ku wuwe

    402. Emsi ey’amaddu : efa kiteteme

    403. Empola mpola : tyiisa obusera

    404. Empologoma ye bba obusolo

    405. Empooza eva eka : ng’emanyiddwa

    406. Empoza mbi : tebongola mannyo

    407. Empummumpu mu lusuku : kubanga zikoonola nnyingi

    408. Empunyiwunyi : ziramusa awaggale

    409. Emtte baaziwa okulya Masaka (Kyalugo) : ne zirya Kasaka (Bbaale)

    410. Emyasira ebiri : giwabya embwa

    411. Emyungu emiwagiikirize : gyasa entamu

    412. Encwampa tebula byayo : empologoma bw’erwala, kivu kye kirumika

    413. Enda mawogo : ezaala abalungi n’ababi (= ng’omubi azze ku mulungi)

    414. Enda ziraba

    415. Endege ziba nnyingi : ne ziyoogaana (= ne ziyomba, = ne zivuga)

    416. Endiga okusulika omutwe : tekugigaana kumanya mbuzi gye zizze

    417. Endiga w’ekootakoota : emanyi nga waggulu nga wala

    418. Endwadde ekula ekiro : y’aziika omuliro

    419. Endwadde ennene tewonera lumu : embogo bagifumita effumu limu?

    420. Endwadde etewona : ) ekuggyako erinnya ) emala eddagala

    421. Endwadde teriira mu nnamu

    422. Endwadde ya kibiribiri : ng’olangira (= nga n’okulangira eddogo)?

    423. Endwadde y’omukwano : busobya

    424. Endwadde y’omuto tekwata : ng’amuzaala muganzi

    425. Endya birungi : tegomoka (= tegimuka)

    426. Endya lumu : yazisa lajje

    427. Endiiro (= endiira) ewedde

    428. Endiiro (= endiira) y’okumpi terwa kudda : ejjobyo liddira mu mutwe

    429. Eneefa : tewulira nnombe

    430. Enfumo eyidde : ng’eri ku mugenyi

    431. Enfuna embi : ekira obwavu

    432. Enfuuzi : tefa nto

    433. Engabi eneefa : tewulira nnombe

    434. Engabi eyeewala : y’ekalubya ennyama (= ewangaala)

    435. Engabi tekooyera : awatali kibira

    436. Engabo enzira – – ( Ngabo nzira: )

    437. Engabo gy’otonnakwatamu : gy’oyita ennyangu (= gy’otenda obwangu)

    438. Engajaba : yeebakira emikono gyombi ne yeerabira ababbi

    439. Engalangasi aginoonyeza mu banne : nti banno balima, tolaba?

    440. Engalo ebbiri : ziwa obutwa

    441. Engalo ennyingi : ziwa obutwa

    442. Engalo ensa (enjereere) : ziwoomera nnyinizo

    443. Enge ensasulanye : y’erima kyalo? ( Empiiga n’empiiga: )

    444. Engobya n’engobya : zaasisinkana Kijonjo

    445. Engo ennafu : erya bbumba

    446. Ennoma tezirawa npumba : ng’ababo bakomyewo

    447. Epnombe y’ekikaayi (= ey’ekireku) : tekulagaanyisa na munno

    448. Eombo ekwata omwami : ) ebuna ekyalo ) tereka muganzi (waka)

    449. Ennombo ennungi : ekwogeza ku mufu

    450. Ennonza-oluganda : gye bayita ensebeezi

    451. Enjala akukulidde – – ( Njala: )

    452. Enjala bugumba : bukutumya n’ataakuweereze

    453. Enjala ekeeta

    454. Enjala eruma omuwuulu : y’etuumisa nnyinimu erinnya, nti Byakagambwa, emmere yaffe eyasuze tunaagirya ddi?

    455. Enjala esaza amagezi

    456. Enjala gw’eruma : y’atereka amawolu

    457. Enjasira ennyingi : ewabya embwa

    458. Enjogera embi teyuza bulago (= kamwa) : singa obw’ennaana bujjudde nkindo

    459. Enjogera ennungi : ) ereeta ekiswa mu luggya ) ereeta entunda mu luggya

    460. Enjogeziyogezi : etuuka nnyinimu ku muze

    461. Enjogeziyogezi : eziza enkoko amagi

    462. Enjovu teremererwa masanga gaayo

    463. Enjuba n’omwezi bwe byalwana : ne bigwa e Bakka, Wanga n’abiwanga

    464. Enjuba yeekisa (= yeekisizza) mu kire

    465. Enju y’omu nnungi : okuba ennoga akalanga

    466. Enkaaba ennyingi : tezza mulambo

    467. Enkaaga n’enkaaga e Ggomba tebanja

    468. Enkaliriza : y ‘eriisa enkoko y ‘omugenyi

    469. Enkalubo ekira amaluma

    470. Enkanula maaso yagoba olubende mu nju ne lugenda lubeera mu nsiko

    471. Enkasuka ennungi : y’ezza omusu

    472. Enkejje bwe muzirya enjokerere ( Gw’olya naye enkejje: )

    473. Enkejje enfu – – ( Nkejje nfu: )

    474. Enkerettanyi bw’ogitega amenvu : erya bibombo

    475. Enkima tesala gwa kibira

    476. Enkira ogirimba (= erimbwa) mukadde

    477. Enkoba z’embogo – – ( Nkoba za mbogo: )

    478. Enkobe ento eseka ekibira nga kiggya

    479. Enkodomali enywera amazzi ku nsuwa : sso nga waliwo olwendo

    480. Enkoko bw’ebulwa amagi : tebiika byenda

    481. Enkoko ekkuta : y’ebiibya essakiro

    482. Enkoko tebiika byenda

    483. Enkoko tekuba mpiiyi

    484. Enkoko y’omwavu : teggwa nneebaza (= meebaza)

    485. Enkoozikoozi : tekooza waaboyo w’etudde, = waayo)

    486. Enkuba bw’etonnya : ne bannamunye banaaba mu bitaba

    487. Enkuba ekuba omunaku : tekya

    488. Enkuba eritonnya ddi? : emutonnya (= ekutonnya) mu kamwa

    489. Enkuba eritonnya ddi? : ne tulya ku mpwankimpwanki w’alaba ekkovu asammuza oluti (= olusirinnanyi bw’alaba luyingira, ng’asammulira bweru)

    490. Enkuba eryokanga n’etonnya ne tulaba nsiisira we zenkanya omwoyo

    491. Enkuba eyinze : erobera emngu okweyanjuluza

    492. Enkuba ka etonnye : tulabe ensiisira we zenkanya emyoyo

    493. Enkuba teyaza kyayo : singa ekitoogo (ky’omu Kajjansi) bakitemya mbazzi

    494. Enku ennyingi : zitta mutyabi enziku etta mwenzi

    495. Enkula embi : ekaddiya ekikere nga kito

    496. Enkumbi bw’eggweerera : baginazako

    497. Enkumbi okubula : ewa munafu empoza

    498. Enkumbi tebba w’erimye

    499. Enkunguutale : etezebwa amayinja

    500. Enkusu eyali ekulabye : ekusuula omuzima

    501. Enkuyege esenda nswa

    502. Enkwale emu : ng’ebigere ossa mu kisasi

    503. Enkyukira : omugenyi gy’akuba ku lumonde

    504. Ennaku azanjazaamu kati : tafaanana kuzibaako

    505. Ennaku ennindiza : zitta amenvu

    506. Ennaku ennungi : tezikya bbiri

    507. Ennaku mufunza : tegwokya omu

    508. Ennaku teziba nkadde

    509. Ennaku z’abakyala : buli omu azisinda bubwe

    510. Ennaku z’abasajja : teziggwa matenda

    511. Ennaku z’embwa : n’atagifuna aboggoza

    512. Ennaku zigwana muto : bw’omubikira n’aseka

    513. Ennaku zikulaga omulimo

    514. Ennaku ziri wa zuukuka olye!

    515. Ennaku ziri mu kufiirwa : eyali mwannyoko, okufuuka kitaawo!

    516. Ennaku zisembera nga kikande

    517. Ennimi ennamu : tizisoboka

    518. Ennimira waabo : terimira mu bufumbo

    519. Ennimiro y’ewala : tekuleetera kisa

    520. Ennindiza etta amenvu

    521. Ennindiza yamezza Ssemitego

    522. Ennongoosereza : emasula omutego

    523. Ennume : ekula bigwo

    524. Ennume gy’egwa : we batemera

    525. Ennungu enkalirize ekisa : teziwona

    526. Ennyama enkapa esinga nva : enkalubo ekira amaluma

    527. Ennyama entono : okaayana eri mu nkwawa

    528. Ennyange teyita na kimbagaya

    529. Ennyanja ey’omukopi : ebeera ku lusebenju

    530. Ennyooma bakama : tenyooma omu

    531. Ennyongereza teba ntono : oluwandaggirize ku nnyanja

    532. Ennyongeza : tetta buguzi

    533. Ennyonyi enkulu : y’eragira (= ebuulirira) ento okwonoona (= okunya) mu kisulo

    534. Ennyonyi entono : yeekemba (= eyala) byoya

    535. Ennyonyi eteyise : ekololera makaayi

    536. Ennyumba bunyonyi : eteesa bwayo

    537. Ennyumba eteriimu mukyala : abaana tibakkuta

    538. Ennyumba ezimbwa ku bugenyi

    539. Ennyumba kibira : tegeyerwamu muntu

    540. Ennyumba kisaka

    541. Ennyumba y’ewaffe ngyeyabyamu : bw’aba yeesiba, ng’adda mu kisenge

    542. Ensawo ey’ataliiwo : ejjula amayinja

    543. Ensawo ey’omusango ebeera mu vviivi : olugira, nti gunzise mu vvi

    544. Ensawo ya mukulu wo : tekuterekera

    545. Ensawo y’omukulu : tebulamu zziika

    546. Ensega tegwa ku mulamu

    547. Ensekere ekulumye evudde mu lubugo

    548. Ensenza ennafu : etikka mukama waayo omugugu

    549. Ensiba embi : edibya mutere

    550. Ensi egula mirambo : nga tebasse wuwe

    551. Ensigalira : ebanjwa mugezi

    552. Ensimbi emu : ekummisa ekyasa

    553. Ensimbi emu kanyonyi : bw’otokatega tokakwasa

    554. Ensimbi emu : tekuba nnyonyi

    555. Ensimbi tezaalira mu ttaka

    556. Ensimbi ze nfuna zimpita mu ngalo : tatungiramu maliba, zireme kuyitamu

    557. Ensimbo efuna ginnaayo

    558. Ensi okufa : nnakasugga afuuka njagi

    559. Ensisinkano teba ya lumu : enkejje amazzi egaleka mu nnyanja, egasanga mu luwombo

    560. Ensi tekula lumu nga katiko

    561. Ensi tugituulidde : nga bagimenya

    562. Ensonzi bw’ekukuba mu ttosi : ogikuba mu vvu

    563. Ensowera ekwagala : y’ekugwa ku bbwa

    564. Ensowera ey’amaddu : y’efa ekigu

    565. Ensugga zigoba kisambu

    566. Enswa emu : ekira eddembwe

    567. Enswaswa eteeyanula : y’ereega engalabi

    568. Entajjukira : erireka omukadde ku lusozi

    569. Entalambula : eboza ennyama

    570. Entalowooza : tekuba bbiri

    571. Entamu bw’eyatikira omugoyo : tewaba anenya

    572. Entamu ennene : terya ka mufumbi nti suula empiso mu nnyanja tulabe oba onoogiggyamu

    573. Entamu ennyangu : bagitenda nnyo

    574. Entamu ewulira gwa luberyeberye

    575. Entamu gye wali ofumbyemu : togamba, nti ya nfumba mbi

    576. Entanya : y’ekonya amenvu (= etta amenvu)

    577. Entaanya : ow’amaanyi okulwala omunafu ne yeesekera

    578. Entasiima : ebula agiwa

    579. Entasumika : bagitenda wabiri

    580. Entate tezaalwa : amakondeere bagafuyira Sseguku, ng’enkumbi eyagalima bakweka

    581. Ente bwe zifa : amaliba gakyalira omwenge

    582. Ente enkulu evaako ennyuma : n’abaana bakulembera

    583. Ente ensibe : lw’efa lw’emanyibwako nnyiniyo

    584. Ente esomoka – – ( Esomoka: )

    585. Ente etali yiyo : togikubira kisibo

    586. Entetenkanya : ekonya obuto (= ezaala bigambo)

    587. Ente yange bbuuka-maziba : bwe wagifuna n’obuuka ennyanja

    588. Entokotoko ezadde embette : ng’omunafu azadde kaliira

    589. Entubiro eteekumire : tekukwasa ku nkanaga

    590. Entujjo ennungi : ekusanga na gwa lwayi

    591. Entumwa tettirwa gye bagituma

    592. Enva ez’amazzi : tezikuliisa maluma

    593. Enva ennungi : sizirwa kugaga

    594. Envuba temulya : nga gwe bakutte gw’otomanyi

    595. Envumbulira : eriibwa munaku

    596. Enzaala mbi : ekira obugumba

    597. Eradde, eradde : gye migogo

    598. Eriggwa likufumitira ku ttale : ate oddira eriggwa n’oggyaamu erikufumise

    599. Erigwa amakerenda

    600. Eri omugga gye tugenda : nti mala okundaga ku ntumbwe nti onooziraba nga tusomoka

    601. Eriiso ly’omukulu : awaddugala we walaba

    602. Eriiso nnamwanjula : likulabisa ky’otoolye

    603. Eruma nnyinimu : omugenyi agiyita biseera

    604. Erwanira obuko (= ku buko) : ekuuka ejjembe

    605. Erya mteeyite : si kkubo

    606. Eryato erikuwungudde : toliyita gwato

    607. Eryato lifa amagoba

    608. Eryato limanyibwa mugolomozi

    609. Eryokanga n’etonnya : ne balaba ensiisira we zenkanya emyoyo

    610. Esomoka tewoloma

    611. Essanyu lye nnina mulalu : baba bamubajjira envuba, nga ye azina (= babajja envuba eno ng’azina)

    612. Essanyu ly’omwokyi wa gonja : tannaggya, ng’akuba mu ngalo

    613. Essesema erimu : terikuziza ntula

    614. Essolo eggumba : bwe lidduka teribalira

    615. Essujju bbi likunamira – – ( Nsujju mbi: )

    616. Essuku eggimu : likummya obwami

    617. Eteefe – – ( Teefe: ) Ap

    618. Eteekutte : tekwefunguliza mwami waakalwala ejjute nga weefungula, nti liirino linzita

    619. Etemwa omukulu : tenyiiga (= tenyligwa, = tenyiigirwa)

    620. Etewulira mukama waayo : ebiika masumba

    621. Ettaka lirya : ageya mufu

    622. Ettufu liba wala : akatale k’emmese mu Busoga

    623. Ettutu lifumita likyali tto : bwe likula lisogola mwenge

    624. Eva ku mugendo : y’efuuka kaasa

    625. Eva olulagala : edda lulagala

    626. Evviivi : we livaako – – ( Vviivi: )

    627. Ewaabo bbanja : tegenda bbanja

    628. Ewaffe tutudde kitebe : enjala ky’etuula mu lubuto

    629. Ewaffe zirya ngugo : akuddiza maliba

    630. Ewooma mpotofu : ng’aliko ky’anaaliira

    631. Ey’ababiri : evunda

     

  • Engero za Baganda eza – F  – Luganda Proverbs prefix – F 

    Engero za Baganda eza – F  – Luganda Proverbs prefix – F

     

    luganda proverbs engero

    1. Ffe bamu! : bw’akwata aka munne, ng’assa mu nsawo

    2. Ffenna tuli byuma : twasisinkana mu ssasa

    3. Funa bangi : n’okuleekaana gy’akomya

    4. Funa eby’okuwola : nga n’ebintu eby’okuwoza mu mbuga olina (= nga n’eby’o-kuwoza)

     

  • Engero za Baganda eza – G  – Luganda Proverbs prefix – G 

    Engero za Baganda eza – G  – Luganda Proverbs prefix – G

     

    luganda proverbs engero

    1. Gabwatuka : ne gawera omuwumbo

    2. Gadibe ngalye : ng’embwa ebunza omuzigo

    3. Gafuma (= gamala okufuma) : bagabejjereza taaba nti nnabangogoma alina emmindi?

    4. Gakuweebwa munno : empogola egawa mususi

    5. Gakuweddeko : ng’ayombera gy’asaka nti jjo toliddayo? ( Amagezi gaku- weddeko: )

    6. Gakyali mabaga

    7. Gaali masane : ate ente enzirugavu okuzaala amata ameeru!

    8. Gaali masane : omusota okulinnya omuti, nga sigulina magulu!

    9. Ga luleeba : ganywebwa wa mwoyo

    10. Ga mulubaale : osiima olabyeko

    11. Gamuweddeko : ng’ayombera gy’asaka

    12. Ganaafa : nago gasalirwa essubi

    13. Ganaakalira ku nnyago : tiyekkaanya agafumbye

    14. Ganaakona : tegabuulirwa muliro mungi

    15. Ga nnyana : ganywebwa muwangaazi

    16. Gaanya bba : ng’alabye obugyo

    17. Gaasaaka ge gattula : ng’amuddako mulungi

    18. Gatutabye : tatta wa ggwanga

    19. Gava mu kulya

    20. Gayita ku kibi : ne gasekera ekirungi

    21. Genda eri e Mbaale mu Baganda banno

    22. Genkanyenkanye : y’amala atoma

    23. Geerwanyalwanya : gaagala nnyini nnyama

    24. Ggambo bbi :,lisangwa ku mwoyo (or: wamwenge alisanga ku mwoyo)

    25. Ggufa kkalu : bbula bulumo

    26. Ggwanga lya mwenge : liggwa na mwenge

    27. Ggwe bw’olaba ng’oli agalula effunfugu : nga talissangako?

    28. Ggwe oh mu kulya – – ( Oh mu kulya: ) Rub

    29. Ggwe oh mulimba nga jjembe : lisula ku kikondo, bwe bukeera enkya, nti nva Buvuma

    30. Ggyako omwoyo : nga muk’omubbi bwe yaggya ku kwebaza

    31. Ggyawo ekikyo ng’omwana aliko nnyina tannajja

    32. Gindi wala : nga tekuliiko muganda wo

    33. Gira tunyumye : bw’ovaawo akwetissa enju

    34. G’oziriza omulyango : ogasanga ku Mayanja

    35. Gubasaza mu kabu : enswa nnene

    36. Gubula yeeguya : tegukala

    37. Gugaba : munnange nno okoze!

    38. Guggwereddewo : ng’akukubye ku nnyindo wa luganda

    39. Gujabagidde gujabagiza) : ) ng’omunafu azadde kaliira ) nga ku ndali kuliko ensenke

    40. Gujaala : gwe gusibirwa empina

    41. Gulemye : eyalemera e Mmengo

    42. Guliko omuseesa : tiguzikira

    43. Guluma yaguzza : enziku teruma kkundi

    44. Gunadda ne nnywa : ) alinda okutoma ) talwa kuwuuba ndeku, nti mugu- mazeemu? ) asamba endeku

    45. Gunaanyula : tegubuulirwa muwemba – – ( Ogunaanyula: )

    46. Gundi apalappalanya : ng’atatte mukago

    47. Gundi ky’ajje yeetikke : ng’akootakoota

    48. Gundi oyo takuba : nga b’afuga bamuwulira

    49. Gundi wamu : ng’akubye ne kojjaawe akaliga

    50. Gundi yeetala : ng’omufumbo atalina ngabo

    51. Gundi yeeyolodde : atyatyala butyatyazi

    52. Gunsinze : aliwa bitono

    53. Gunzise mu vvi : nga ye yamwezaalira (= nga wa luganda, omusango gwe gusi- nze)

    54. Gusula : ) ne gutakusinga, nga mulungi ) gwe gukuwa empoza

    55. Gute ngutole : ng’Omuganda awoza n’Omunyolo (= Omuyima anaawoza n’Omuganda)

    56. Gutta bingi – – ( Omukwano gutta bingi: ) P

    57. Gutta nnyinigwo : nga guzise

    58. Gutta ento : ne gutasubwa

    59. Gutusse mu vvi – – ( Gunzise mu vvi: )

    60. Guva mu ngabo

    61. Guweddeko entontogolo : ennyonyi ziyita e ttale (= kkuutwe)

    62. Guwedde mirembe : akiina muyiisa

    63. Guwedde : ng’afunye gw’engabo (= ekyengabo)

    64. Guyimbye embwa n’okugulu : nga gulemye omusigire

    65. Guzzibwa omuganzi : omukyawe y’aguliwa

    66. Guzzibwa omwagale : ne bavuma omukyawe

    67. Gwa gonja gunadda : nga yayiisizza gwa mazzi

    68. Gwaka nga musana : kaakiro tabulamu (or: ak’ekiro tabulamu)

    69. Gwala mubisi : tegwala mwenge

    70. Gwali musala : gwafuuka kitentegere

    71. Gwa menvu teguggwe? ( Ogwa gonja: ) p

    72. Gwa ngalabi : tegunywebwa atudde wamu bagunywa na kuleekaana

    73. Gwannema : tateganyako

    74. Gwansinga : asinga emmere ewooma

    75. Gwa ntendewala : ) nga w’ayunja wagazi ) nga yazimba Bukoba mu ma- tooke amangi

    76. Gwayambadde : teguyitira awo (= tiguyita bwereere)

    77. Gwe bakwatira mu kituli : nga ye mubbi

    78. Gwe batakigambye : ) gwe kitalumya mutwe ) y’agamba nti atadde ebiga- mbo

    79. Gwe batakutte : talema kwegaana

    80. Gwe battira nnyina, si gwe bamuliyira : Lubya baamuliyira emituba

    81. Gwe batuma okuwera engalabi : tamala kuzina n’alyoka awera ngalabi

    82. Gwe baayogeddeko kambe kaawaase : tekaggwa masanda

    83. Gwe kitaliiridde nnyina : nti linda bukye (= nti ka bukye)

    84. Gwe nnywedde : gukwata engo mu mannyo

    85. Gwe wabbanga naye : bw’asula emiryango teweebaka

    86. Gwe wajjirira : teguba mulimu?

    87. Gwe watumanga : ng’agenda mbiro naye bw’olaba yekkaanya, ng’agenda ku- senguka

    88. Gwe wazaala jjo : akukubira pnoma n’ozina

    89. Gwe weeyigira : gwe gukussa (= gukukubya) ejjenje lifa bulanzi

    90. Gwe zisanga azigumira : ejjanzi terigenda na nzige

    91. Gw’ogaliirako : gw’oseera? Do you cheat the one from whose food (matooke) you eat?

    92. Gw’ogayunjira : y’akuyita Nnalyambe

    93. Gw’okiiya : oluvannyuma gw’obeera naye

    94. Gwokya bbiri

    95. Gw’olekera abato : gwe gunyuma

    96. Gw’olinda obuto : akulinda bukadde

    97. Gw’ologa amaaso : y’akugoba oluwufu

    98. Gw’ologa (= owonya) eggere : y’alikusambya

    99. Gw’olulambuza : y’alusalako

    100. Gw’olumirwa omutwe : akulumirwa bigere

    101. Gw’olumirwa omwoyo : alumwa (= akulumirwa) mutwe

    102. Gw’oluteebeza : si gwe lutta

    103. Gw’olya naye enkejje enjokerere : y’akuyita dduma bikalu

    104. Gw’olya naye : ) y’akubala embiriizi ) y’akuziga

    105. Gw’omanyi enfumita : tomulinda kugalula

    106. Gw’omanyi gw’osaagirasaagirako : evvuuvutunira lisaagira ku mutta-mpindi, eri omwennyango terigendayo

    107. Gw’omenyera mu nkejje : ewuwe alya luti

    108. Gw’omma amazzi : omusanga ku ssengejjero

    109. Gw’onooyota : togulinda kugwa manda

    110. Gw’onyoomera mu kkubo : eka we nga mugagga

    111. Gw’osenvuza mu buto : akusenvuza mu bukadde

    112. Gw’osoose obuliika : ow’omukago talawa

    113. Gw’osussa emmwanyi : omusanga ku yanja, ng’awungula

    114. Gw’otaayogereza naye : olaba awerekera ensusso

    115. Gw’oteeresezza mu mboozi, gw’owasa : nga mukyayogera bulungi

    116. Gw’otogenze naye – – ( Gw’otoyise naye: )

    117. Gw’otokuza : tomubuulirira

    118. Gw’otooliyise : takwonoonera kikyo

    119. Gw’otonnakaddiya : toguyita gugwo

    120. Gw’otoyise (= otayise) naye : si muzibu kulimba

    121. Gw’otozinanga naye : bw’asituka okuzina nga ggwe otuula

    122. Gw’owola otudde : omubanja oyimiridde

    123. Gw’owonya eggere – – ( Gw’ologa eggere: ) ,

    124. Gw’oyagala : omusalira omusango n’omuweerera ebintu by’okuliwa

    125. Gw’oyigiriza okulima : bw’ayeza takuwa

    126. Gw’oyigiriza okwesa (= ekyeso) : akugobya enkaaga

    127. Gw’oyita obulungi : y’akuyitaba kkabyo

    128. Gw’ozadde : akukubira ennoma – – ( Gwe wazaala jjo: )

    129. Gy’ava gaggya : ne gy’agenda gaggya

    130. Gye babitta gye bigenda : ettooke eddene libala mu ggwaatiro

    131. Gye babiyigga gye bidda : gonja omunene omusanga mu ssogolero

    132. Gye babutta : gye bweyuna ettooke eddene mu ggwaatiro

    133. Gye banzaalira mmanyiyo : ng’alina mukadde we amubuulirayo

    134. Gye bazireegera : si gye zivugira

    135. Gye biva tibirirema kuddayo : gw’okwata ku nkoona, naye akukwata ku nkoo- na

    136. Gye nva bangobyeyo : gye pnenda bannyazeeyo

    137. Gye watudde : nga bakulaga mulage

    138. Gy’ossa embazzi : tossaayo matu

    139. Gy’otega amaggwa gye bakuzza

    140. Gy’oterekera embazzi – – ( Gy’oyazika: )

    141. Gy’otosula : togerekerawo bibya

    142. Gy’oyazika embazzi : tossaayo matu

     

  • Engero za Baganda eza – J  – Luganda Proverbs prefix – J 

    Engero za Baganda eza – J  – Luganda Proverbs prefix – J

     

    luganda proverbs engero

    Jjembe ddulumi : olikwasa omwana n’akuba wansi

     

  • Engero za Baganda eza – K  – Luganda Proverbs prefix – K 

    Engero za Baganda eza – K  – Luganda Proverbs prefix – K

     

    luganda proverbs engero

    Kabaka afugira wala
    Kabaka akira oluganda
    Kabaka akussa owuwo : essanja libabula endagala (sso nga ba luganda)
    Kabaka muzaawula : nga wa malibu asanze we bafumba emyungu (= we balya ekibumba)
    Kabaka nnamunswa : alya ku nswa ze
    Kabaka nnyanja : etta n’atavuba
    Kabaka nnyanja : temanyiirwa
    Kabaka nnyondo : ekussa buzito
    Kabaka omuggya : agoba omukadde
    Kabaka tamanyi birungi : singa ekitoogo ky’afuusa olunyago
    Kabaka tatta : omusaakiriza y’atta
    Kabaka tayotebwa nga muliro
    Kabaka w’akuleka : si w’akusanga
    Kabamba-ggulu : ng’obwoya obw’omu kifuba
    Kabambaala : taganya nzige kusula
    Kabanda-majjwa : n’enkanaga azibuuka
    Ka bantende : asigaza misiwa
    Kabbiiri akira omutumba
    Kabbo ka muwala : kajja kajjudde, kaddayo kajjudde (ng’alina essimba)
    Ka beene : ng’akummye; we kenkana : ng’akuwadde
    Kabeera kannya : kanditumaze
    Kabine abina abasajja banne
    Kabirinnage : obulungi bwamulobera okuwanvuwa
    Kabizzi kato : kasigulidde enkulu ekkolero
    Kabootongo asigira ennungu
    Kabuga ente : ensimbi aina emu (nti ente egwe)
    Kabugumire : ng’ensingo y’omunafu
    Kabula-bugyo : ng’omukazi ow’envuma
    Kabula butegero : ng’ow’obusa asala omunnyu
    Kabula we kalaga : bakatema ngalo (or lunwe)
    Kaabulindiridde : ng’ekinnya ekiri mu mulyango ; bwe kitayasa nsuwa, kime-nya kugulu
    Kaabulindiridde : ng’enkonge y’oku kkubo; bw’etekukuba magenda, ekukuba amadda
    Kaabulindiridde : ng’omusanvu oguli ku nju; bwe gutakuba nnyinimu, ne gugi-ggala
    Ka buwere : yawanguza Buvuma
    Kabuze n’empulutu : anti oluwande lw’ekiwuubiiro
    Kabwa kabbi : kagumya mugongo
    Kadduubaale tanfuga : nga si mugole wo
    Kafa omukkuto – – ( Akafa omukkuto: )
    Kaafuma : ng’ensawo ey’ekiwero; bw’egwa mu mugga, towonya kantu, byonna bitobera ddala
    Kafumu ka muwunda : kafumitira eruuyi n’eruuyi
    Kagenda kalya : tikalaba nnaku
    Kagenderere ng’omukadde awuula (= akogga)
    Kagere kampadde : w’osanga nga balya
    Kaggwa ensonyi 🙂 ng’omwana abba nnyina (= kitaawe); ) ng’omukazi awoza ne bba; ) ng’alya ne mulamu we enswa
    Kaggwa ka ttovu : kasonsomolera ne gye katafumise
    Kaggye taba wabiri : ekitembe kissa lumu, wabula ekya Nnanteza
    Kagubiiru : nga mutwe gw’omusasi (= ng’ensikya y’omunafu); gugenda gwetisse, ate gudda gwetisse (= gugendera mu nku ne guddira mu matooke)
    Kagulumale : ng’omukazi alya n’abaddu
    Kagumba tekanyigirwa mu nnoga
    Kagumba weegoge : ng’emmere y’omulima
    Kajagira obuguzi : ddamu lye limugoba
    Kajjamni abalagadde ku bbwa
    Kakejje ntabula ku mbaga
    Kakerenda : kaava ku lubaya
    Kakowekowe kanda : katemereza ne we kataalye
    Kakoloboto Kabaka yamutuma okuwera ekisiibo : n’ate n’alya
    Kakulu asomba
    Kakulu : awo omy a ttooke
    Kakutungidde enkanamu : ng’ayomba n’ayonsa
    Kakyama mamera – ( Akaakyama: ) Munno
    Kakyali kansununwa : leka kaweze oluwombo
    Kalaba-njuki : y’addira omuliro
    Kalazaane : tekaggya buliika
    Kalema ka nsinjo : ekyuma kitema kinnaakyo
    Kaalengeera : ng’akakka k’abatabaazi
    Kaliba akendo : okalabira ku mukonda
    Kaliba kaki akalikugwa ku liiso? : ng’omunaku ayombye n’omwana wa boo- wo
    Kaliba kasajja : akuliisa engo
    Kakulu takulirwa : ekyuma tikikulira jjinja (= ennyondo tekulira jjinja)
    Kalifa aleka kalifa : ekiteme okulekawo ensukusa
    Kalimi ka mwewoze : kaweweera majja (= kajja kawewedde)
    Kalimi ka mwewozi : kwegonza; kajja ne sembera, nkubuuze
    Kalimi ke keeru
    Kalimi-ngobya : nga Kanyolo ak’oku muzibo
    Kalifa abiri : olonda ejjinja nga kalaba
    Kalinnimi : ng’omuganzi aloo awolereza
    Kalonda : ng’omusiri gw’omunafu
    Kalulwe : ) nnantaliirwa mu nnyama; ) tabula ku nnyama; omumyuka tabula ku mwami
    Kalya amaggwa : ke kamanya bwe kagakyusa
    Kalya bugalula : ng’omumwa gw’emmandwa
    Kalya buguga : ng’ow’obusa atatereka bugenyi; nti baganda bo bwe balijja, oli- bafumbira ki?
    Kalya kokka : keetenda okulya mpola
    Ka maanyi – kaliibwa na mbiro (= na ngabo)
    Kambayaaya kakaabya : nnamube olw’eggulo
    Kambe kaawaase : tekaggwako masanda
    Ka mbuukire baaba w’abuukidde : agwa mu ntubiro
    Kamegga enjovu : kenkana wa? ( Akamegga: ) III
    Kameze mu luggya : ng’osima? (akatiko) ( Asimba kasooli: )
    Kaami katono : okanyoomera (= okagayira) mitala wa mugga
    Kampwerenda : ng’ensimbi egula amaduudu
    Kamukago : okalya dda, kadda dda; ejjobyo liddira mu mutwe
    Kamu, kamu : gwe muganda
    Kaamukuulo : embuzi ennume erya olw’eggulo, ng’eraba enjuba egwa ng’efu- ndikiriza
    Kaamukuulo : ng’ensambu ya kasooli
    Kamuli kansaze : nga ggwe okagoogodde (= okagogombodde)
    Kamunye nnamukwakkula
    Kamunye ow’empaka : y’akubya nnyinimu enduulu
    Kamunye w’agwa : ) tewabula luyoogaano; ) we waba olugambo
    Kaamuwuube : ng’engalabi y’ekyengera
    Kamwa kabi : katta Siroganga (= kassa Siroganga)
    Kamwa kanfudde : ayomba n’ow’omuliraano
    Kamwa nga ggiira (= ng’eggiira) : aktunwesa omukyala
    Kamwenyumwenyu : embwa k’eseka mu luinbe lw’ente
    Kannabubwo : tikakirwa
    Kanaakuloopa : bw’okawa (= olumuwa) omwenge, kafuka ku mpagi
    Kanaakutanda : akuwa amazzi, ng’akulekera olwendo
    Kanaalusomba : ng’omuwuulu amuzza ku mmere
    Kanaaluzaaln : ng’omuwuulu amulisa ku mmere, y’azuula ekkovu
    Ka ndabe omusika : bw’alya azaala balongo
    Ka nduve (= ka nguve) ku ntono : ng’ow’ekibuga asanze (= ng’omuyala atuuse) we bafumba
    Ka ndye mmalewo : yeerabira olumbe
    Kaneene : ssala (= bunza) miya
    Ka nnananyi : mubbi tagenda na ndege
    Kange kakira kaffe
    Ka nguve ku ntono : ng’ow’ekibuga asanze we bafumba
    Ka nkuggye amaggwa
    Ka nkukyukire : omwana akyukira omulezi
    Ka nkutte kibwamo : wambwa ky’atta amagi
    Ka nkwasire : omusamaavu w’amannyo ayasira kasooli
    Ka nkwetegule : ejjanzi lyetegula mukazi muzadde
    Kannabwala : Omuyima k’akwata eminyira
    Kannantebya : ) ng’omubbi w’omunju; okumala okubba ate ne yeetaakiriza; ) ng’omulubaale ow’okumpi; kye yawulidde enkya, ky’alagula eggulo
    Kano nno keewaniko ng’aka makobe : gabala waggulu ne gagenda kubala nnu- nda
    Ka nsale (wo) eggoye : omuwa-butwa y’alisalirawo Bubiro
    Ka-ntanyi kaggweerawo : kafumita-bagenge w’akufumitira w’omweggiramu
    Kanyinyiggi : omukazi omunafu k’akaaba mu lumbe
    Ka nzigyewo akabega : Lukoda Baluubu
    Kapa w’etali : emmese yeekola ebigenyi
    Kasakkya : n’ataayanike abuuza omusana
    Kaasa ttaka, nga ggw’osima? : kalisansulira mu ttaka?
    Kasala becca (= bekkya) : ng’Omunyolo akubagiza Omuganda
    Kasennya-nku ze yeetyabira : ze zimwokya
    Kasiru akulembera : kagezi n’ava oluvannyuma
    Kasiru y’asooka : kagezi ajja luvannyuma
    Kasita guwedde – – ( Guwedde mirembe: )
    Kasobeza nga kutu : tikunywa taaba ne kumala kuleeta ebifeetete
    Kasobeza ng’enneebaza y’omwavu : ajja akaaba bw’omuwa, nti onnanze ki ssebo? ( Omwavu taweeka: )
    Kasobeza ng’omubbi ow’omu nju
    Kasobeza ng’ow’ekiwalaata : atudde mu mulyango nga balya; ogamba nti mpozzi atunula eno, kazzi atunula mu nju gye balya
    Kaaso ka mpanga : kalaba n’ekiro
    Kasookedde obirya (= kasooka mbirya) : leero toobisobole
    Kasooli alituyombya
    Kasooli w’e Ggomba : aliibwa na mbiro
    Kasolo akagenda (akanya) obwoya – – ( Akasuula obwoya: )
    Kasugga kagoba Idsambu : amazzi tigeerabira gye galaga
    Kaswa akam : bwe buzannyiro bw’endiga
    Kasiikuuzi akakubya emmomboze
    Kataggwa buto : ng’akafuba k’ennyonyi
    Katagirya : enkoko eribiika
    Kataligirya : erizaala
    Katangaala : kakira omuggyemu eriiso (= eriiso eriggyemu)
    Kateebulanya (= kubennanya) : ng’olutta ow’ettulu
    Kateegaya : ayingirira basajja banne
    Kateetemera : alifa olw’okubambira
    Kateeyanira : kafa omutego
    Kateezaala : tikaala
    Katikkiro yafa ndi Mugongo : nti kaakati oli muluusi? ( Okekkera ng’Omu- naawa: )
    Katiko ka mukyala : okakuba nnoga, nako kakukuba nvuba
    Kati onsanze : tokasikira mbazzi!
    Katonda akuwa nswa : ggwe okubirira?
    Katonda mbeera! : n’embiro naawe ng’otadde
    Katono : kazira mu liiso
    Katono keewaza : kakira eddene eddwadde (= erinafu)
    Katono ko (= akako) : kakira eddene erya munno
    Katubidde : ng’ow’ekirevu ageregeza
    Katula keebisse buka : naye mu mwoyo ng’ayogeza ekisa
    Ka tuwulire : asaabulula eriri mu kamwa
    Katyupya (= Kacupya) : ng’omunnyu ogukoza lumonde
    Kawakuzi : awakula ennombo ku bugenyi
    Kawuulu kagezi : kagenda okunywa ogw’obusogozi, nga kamaze okweyalira
    Kawuulu-ppumi : ng’omutwe gw’omunafu; gugendera mu nku, guddira mu ttooke
    Kawummunta okw’enjala : okw’ekyengera aba mulambuzi
    Kawumpuli agenda : n’okuba misota?
    Kawundo ka mputtu – – ( Akawundo: )
    Kawunguko : ng’ow’enkedi mu nnimiro
    Kayaayu : olukaatula erinnya, keekuba ensiko
    Kayemba nnantabuulirirwa : alisaabala obw’ebbumba
    Kayindiyindi kalangudde ebijanjaalo
    Kayinja tekanyigirwa wamu na ttooke
    Kayisanyo : amalusu n’eddookooli
    Kayita pirya : ng’ow’obusa agoba akayaayu
    K’eoma : kamanywa mubambi
    Ke weerimidde : kakira mbegeraako
    K’ezaala : k’ekomberera
    Keezimbira : tikaba kato; bw’ogenda okukwata akasanke, ogenda osooba
    Kiba kibi, kiba kikyo : gwe tikube ekyalo nga balangidde omukadde we – – ( Tekiibe kyalo: ; Ebya kuno tebiisoboke: )
    Kibatto : ow’ennungu ku mayinja
    Kibaawo kimala : amaaso g’omulungi galoga enjala (= amaaso g’omuganzi gama- la enjala)
    Kibaawo kimala : ennyindo y’enkoko kye kyenyi
    Kibaawo : ng’ekibugo ekikuuma empindi
    Kibaaze : ) ng’eky’omwanisi wa taaba; ) ensekere ky’eyita mu kiwalaata
    Kibi kigwana wala – – ( Ekibi kigwana: )
    Kibojjera ku lwazi : kyesiga mumwa bugumu
    Kibula abuuza : ng’erigenda emugga
    Kibula buguzi : kiddira nnyinikyo
    Kibuyaga agwe mu lusuku : kamunye agwe mu nkoko
    Kidda walime
    Kiddimusi (= kiddumusi) : tekinyaga byenda
    Kidiba kidda wabookyo : essaaniko mu lusuku
    Kifa mukokko : ng’etonnya mu balaalo
    Kifa omusana : nkuba y’ekinnyulula
    Kifundikwa kirinsabira : tafuna bwami (or: ng’asubwa)
    Kigabo kikadde : akyagala yakissaako omuwambiro
    Kigambo si mutwalo : nga bakutumye gy’oyagala
    Kigaanira omuddu : (liba) bbwa lya mu mutwe
    Kigenda kudda wa? : bw’asanga bw’ayisa bwe kisanga, bwe kikola)
    Kiggweeso : nga ne gw’oyagala mw’agendedde (= agenze)
    Kigya n’abagya
    Kigobero : kikira obugenyi
    Kigomba kikira omwana
    Kigudde mu ndira : ekimonde ekinene mu maaso ga muwuulu
    Kigula engabo kiddawo : ng’eyagigula wa maanyi
    Kiguumaaza : ng’ente esula ku kyoto; bw’owulira efuuwa, nti ekuma muliro; obudde okukya osanga vvu jjereere mu kyoto
    Kiguumaaza : ng’ow’ettulu atemya
    a Kigwa mu muliro : ng’embaala (= ng’ekiwojjolo)
    Kigwana gonja : nga bamuzaala mu Busiro
    Kigwo kya lwazi : bwe kitakumenya mukono, ne kikwasa omutwe
    Kijja omanyi – – ( Ekijja omanyi: )
    Kikere : ky’osammuza omuti, oluvannyuma okikwasako ngalo
    Kikira ennoma okulawa
    Kikira obusa : afumbirwa muggavu w’amatu
    Kikonde : kikuba all kum
    Kikonyogo : bakikasukira (= bakikanyugira) kulaalira ne kijja n’ekirimba
    Kilcoyo : tekiriisibwa maddu (= bw’okifumbya amaddu tokirya)
    Kikubuuseeko : ekyabuuka ku mugenyi omu
    Kikuffiriddeko : ng’endwadde y’enkoko
    Kikujjuko : ng’ow’ennungu ayita ku mayinja
    Kikulejje : ekigenda emug,ga n’emmindi
    Kikuuno : ng’olabye akukuunirako
    Kikwanguyira : ky’olya
    Kimala mpaka : kusirika
    Kimala okwola : bakikwasa engalo
    Kimaza bbiri (= nnya) : y’aliwa ogw’omugenyi
    Kimira mwoyo : ng’enkoko emira ensanafu
    Kimmanje : bwe kita (= okuta), ensuwa nga luggyo
    Kimpowooze : ng’ogw’amenvu
    Kimunkumunku : ng’omukira gw’endiga omuliire ku bijanjaalo
    Kimwa kya mugole : kijja ne siirye, kimala omuwumbo
    Kimwa-kitoole : ) ng’omukazi alya emmamba; ) ng’omusajja alya ebbumba
    Kimyanku ye mugabe
    Kinaabataya (= kinaabasobeza) : ng’amatooke amatono; bw’ogalya omu, toga-mala; bwe mugalya babiri simukkuta
    Kinaagomba : tikibuulirwa mulunnyanja
    Kinaakulyako amenvu : kituukira ku kususa; olumala okususa ng’alya
    Kinaataama : tekikomerekeka
    Kinaayokya nkimize
    Kinene kya nkukunyi : owanda mu ngalo amalusu n’olyoka okisitula
    Kinnanga : tekiggwaamu (= tikiggwaako) lumonde
    Kinnya kya mulyango : bw’otokigwamu mafuluma, okigwamu amayingira
    Kino kibatto : ow’ennungu ku mayinja
    a Kino kiggweeso : nga ne gw’ayagala mw’ajjidde
    Kino kiggweeso : nga gw’ayagala agenze
    Kino kinyeenya magi! : ng’enkoko ebiika endege
    Kino kirungi : na kino kirungi
    Kinsanze n’oluku
    Kintabuli : amalibu n’omuzigo
    Kinyiigo tikiyuza lubugo
    Kinyoola mumwa : nga gw’ageya wa kumpi
    Kinyonyi kibi – – ( Ekinyonyi: )
    Kirabise ng’Abaseveni bangi bajja kuddayo mu maggye : kubanga amagatto ne kabuuti baabitunda
    Kirabwa abangi : omunafu alima ku kkubo
    Kiralire : wa ddalu tawulira
    Kiraza mwoyo : ng’ebbwa eridda mu nkovu
    Kiraza mwoyo : ng’omuwuulu ayimba, nti ndibula naye; nti simanyi alibula na wange?
    Kirevu ntende : kyalekerera wante ne kikwata wambuzi
    Kireebereebe : ) ng’empagi ey’omu ddiiro; ) ng’amazzi g’omukonda gw’essu- nsa
    Kiriba edda : mmese ya ku mutala
    Kiriba edda : bw’aliba akootakoota, alingoberera
    Kiridde obwami : ekyamusengusanga akyerabira
    Kiridde obwami : tabula muganda we (= tekibula anda zaakyo)
    Kiridde nnamube : omunaku lw’ayiga okulonda
    Kiri ewala : mnduzo (= mndo) y’ekireeta (= y’ekiggya)
    Kiriggwa jjo : ) tekikutunuza ng’alira; ) tekikuggyaako munno
    Kiri mu bbanja : tekinunula mwana
    Kiri mulaala : ) teyeekolera luggi; ) omusigire teyeegulira ngabo
    Kiri mu ttu : kimanyibwa nnyinikyo (= nnyiniryo)
    Kirinde kiggweeyo – – ( Linda kiggweeyo: )
    Kirindizo : ng’aga Lubuga
    Kirinsanga ewange : emmese efiira mu bunnya
    Kirintwala ekipaalo : nga ne gy’alikiggya amanyiiyo
    Kiro kyakulimbye ki? : y’akuzaaza olugambo lw’enkya
    Kiruyi kya muzaana : kiggwera ku mmere
    Kiryango kibi : ekiyingiza ababi n’abalungi
    Kiriibwa atabaala : tikifa busa
    Kiriibwa omukulu : tekibula nsaano
    Kiryoka embi : kye kiryoka n’ennungi
    Kisaala munyazi : nti nnyinikyo eyakifuna anaakaaba musaayi (= okukira ald-funa)
    Kisala obulungi : kye kikuwa embikka
    Kisasa : n’ataaweese aganzika
    Kisawo ky’ataliiwo : kijjula mayinja
    Kisaayire okitte : akirinda kwa mweya (= kwa kyeya)
    Kiseke kya munyumya : kijjula malusu
    Kisekwa abangi
    Kisenyi (= kyoto) : nnantayombooza
    Kiserebetu : ng’omukkuto gw’amenvu
    Kisiibule : omusota bwoya
    Kisige : tikigatta na nviiri
    Kisigula ennyana : kigiva mu kibeere
    Kisikirize (= ekisikirize) : kyeggamwamu musana
    Kisiimwa omuyise : omutwalirwa tasiima
    Kisinde kyo n’ekya munno gw’oyita naye : kye kimu
    Kisisinkana ataakitte : ng’omutamanyapnamba asanze omwenda
    Kisookondwe : bw’okifumbira mu nva, tozirya
    Kiiso kya mbuzi : kirekerera omussi ne kitunuulira omubaazi
    Kisosonkole (kya ggi) : bakisuula mu luguudo
    Kisugga kya munafu : kye kitema omulima enkizi
    Kitagenda : azaala abagenzi (= kizaala abagenyi); ekikonde kisindika effumu
    Kitaka talya : atereka buteresi
    Kita kitava ku ssengejjero : ye ya nkindo
    Kitaakule : kizimba mu lumuli
    Kitali kibbe : eggufa osuula mu mulyango
    Kitange mmulaba : tekirobera musibe kubomba
    Kitamu kya muyiga : omuguzi akyegaanagaana
    Kitasimbwa : kyajja ne mukoka, kimala kibala emyungu emingi (= kibala ebita)
    Kitatta yima : tekimumalako nte
    Kitembe kissa lumu : wabula Nnanteza, kye kyassa emirundi ebiri
    Kitentebere : ng’omusajja alya (= alega) ebbumba
    Kitentebere : ng’omusajja akubira nva ekifo
    Kitentegere : bw’okisubula tokivaako nga tekikusiize masanda
    Kitentegere : we bakyagala we bakituuza ku musala
    Kiteezaala tekyala
    Kiti kya muwogo : gy’okisuula gye kimerera (= bakisuula obutadda ne kirokera)
    Kitonto(golo) : ggumbya ennyonyi
    Kitta nkimanyidde (= akimanyidde) : ennyanja etta muvubi
    Kitta engo : kigiyinga buzito
    Kituuliriro kimala enku n’amazzi
    Kitundu kya muwogo : bakisuulira butadda gye kimerera
    Kivu : kijjirira okuluma n’okutwalana
    Kiwaluko : tikinyaga byenda
    Kiwanga kya musenguse : kiva we bandikiziise, kigwa ku kubbo
    Kiweddeko abamanye : akiraza mumwa
    Kiweddeko endere
    Kiwola (= ekiwola) : bakikwasa ngalo
    Kiwooma magaaya : bw’oba okimize tokisesema
    Kiwombe y’eyiwa amata (ameeru)
    Kiwotoka tekyala : ) omukalo gw’embogo gugendera mu nkwawa; ) eddiba ly’engo balyesiba mu kiwato
    Kibuuka lubona mawano
    Kiyenjeezi : kigya n’abagya
    Kiyiifuyiifu : omugole ky’agwa ku nkyakya
    Kiyini kibi : kijjukirwa malima
    Kiyiira omunaku : kigwa mu vvu; bazibumbira okufa, ziramira mu kyokero
    Kiyirikiti kirinnyibwa buwaze : embwa bagikirinnyisa efudde
    Kiyita waggulu : otega wansi
    Kiyuuni kiriibwa omukulu : tekibulamu nsaano
    Kizeezengere : kitta wa mputtu
    Kizibu okulaba : ng’ekimuli ky’ekira (= ndaggu)
    Kiziribano : nga gonja omwokere musasa
    Kizzeeyo : mw’asiimira
    Kkomekkome : ng’erigenda emugga (= e Bubebbere)
    Kkomekkome omuzaalisa ku lubugo : bw’olaba ng’atutte olubugo, ng’omwana omu; bw’olaba ng’atutte embuzi, nga balongo
    Kkonde vannyuma – – ( Ekkonde evannyuma: )
    Kkonkomi bbi – – ( Ekkonkomi: )
    Kkubo likozza
    Kkubo litemwa omukulu – – ( Ekkubo litemwa: )
    Kkubo ly’omulimba – – ( Ekkubo ly’omulimba: )
    Kkumi limn – – ( Ekkumi )
    Kkumi lya mpisi : n’obuto nga bugenda
    Koogera ekibi : ne katatuulira awo
    Kojjange ammanyi : ekikere kyasubwa omukira
    Kookolo bba mabwa
    Kola ng’omuddu : olye ng’omwami
    K’olya enkya : k’ogwa nako
    K’onooweeka : tokalinda kusaabaana ttosi (= kusaaba ttaka)
    Kope : ng’amasavu g’engabi
    K’osima : k’olya
    K’otonnaba kumwesa : k’otenda obwogi
    Kozo mpola, tumalirize : nga munda yanyiize dda
    Kubennanya : ng’olutta ow’ettulu
    Kubula mwana : kwesitukira
    Kufuuyira mbuzi mulere : sso nga teezine
    Kukaddiwa : kudda buto
    Kulaba binene : si kuwangaala
    Kulaba nsega ya museera
    Kulaba obukulu : akuteebeza Obunyolo
    Kulemberamu : akulega ntumbwe
    Kulika empewo y’enkya! Praise for (the work in the field during) the cold of the morning
    Kulumwetu : ng’ensekere emnga
    Kulya mungu : buteesokoola
    Ku mbuga ndivaako bwereere : ennyama anyaga ya vviivi embi; nti nno singa anyaze ennungi
    Kumira mwoyo : ng’enkoko emira ensanafu
    Ku mumwa kuliko ekkubo
    Kunaaba kumirungusa : ng’ow’amalibu asanze bafumba emyungu n’ettooke
    Kunaabeera kubennanya – – ( Okubennanya: )
    Kunaaza mulungi mabega
    Kunguyiza : ng’omubbi owa mu nju
    Kunogola nsingo : ng’ow’ettulu alamusa ababiri
    Kuno kuseereza : ligenda mugga
    Kuno kwe kwaffe : takulaga gy’asula
    Kuno tekuli kabi : yeerabira ekigenyi
    Ku ntujjo : sikubula musiiwuufu
    Kuseka kamwenyumwenyu : embwa k’esekera mu lumbe lw’ente
    Kuseereza ligenda mugga
    Kusigalawo kuzirinda : ng’omwana w’omufu asaba ow’omulamu olubugo
    Kusooba si kubba
    Kusula kudda buto
    Kutta : kulimu ki? Killing? What good is in that? Referring to war or a skirmish
    Kutussako-akasiiso : ow’endali k’assa omukukumi
    Kuwala nswaswa ku lwazi
    Kuwerekera nsusso : owa busa bw’awerekera ab’ewaabwe
    Kuwoleza mukazi gye yanobera
    Kuyitaba wangi – – ( Okuyitaba: ) Rowl
    Kuyita kulaba ow’amalibu ng’asanze bafumba ebikongo
    Kuyitira mu biryo : ng’akwagaza olutalo
    Kuzaala kulimu ki? : nga gwe waza?la takuwulira
    Kuzaala kulungi : nga gwe wazaala akuwulira
    Kwa mwezi : baamuleka aale
    Kwana bangi : weesige batono
    Kwata n’owaayo : nga yasikira musikire
    Kwebaka kufa – – ( Okwebaka: )
    Kwe galaba : omugumba ku bba
    Kwegendereza : ng’ow’amayuuga ayita ku lutindo
    Kwe kuwamnya : ng’abulidde embiro; nti aligoba wa mmindi
    Kwemmembekedde : ng’eya wakati
    Kwe nkuba omuggo
    Kwerinda si buti
    Kwetaganya : ng’akyawa gw’ayita naye
    Kwolera mri (= essalambwa) mu bunnya
    Kya bangi : ) kibuna ngalo; ) kijjula ngalo ng’olabye akwolesako; ) kinoga (= kirondamu) nnawalubwa
    Kyafa kirina ki? : nsawo y’omuwuulu
    Kyaffe babiri : bw’efa esula
    Kyajja na mazzi : ne kibala ennunda
    Kya kagambwa : ng’omuwuulu anaatuuma nnyinimu erinnya
    Kyakatuuka : tekibula mutengeetero (= mutengeeto)
    Kyakayiga bw’akuba engalabi : tayimbirira
    Kyakonye : tekiwulira muliro
    Kya kuba : tagaanira muggya we
    Kyakula ggala : ng’emmese esula omw’omunafu
    Kyakula ndaba : ennyanja etta omuvubi
    Kyakulumbye : tekizzikayo
    Kya kuno bwe kityo : avuma mwami
    Kyakuwangaaza : k’omere ejjobyo ku mutwe
    Kya kwambala : kitambye amagero
    Ky’aleeta : tokizzaayo
    Kyalemye : ng’omwana alemye nnyina okumubuulira
    Ky’aligamba : ndikikola
    Kyali ky’obulungi : kifuuka kya bubi
    Kyaliiro kya mmere : bakyagalira mu ddiiro
    Kya maanyi : kiriibwa na ngabo
    Ky’amukoze : enkoko ekikola baana baayo; ky’ejje ebazaale ng’ebafuula ntebe
    Ky’amukubye : Kawuta akikuba ente mu lubiri
    Kya mummi : okiriira ku mwana
    Kyassanga : akomereza ndu
    Ky’atalabangako bwe kituuka : taldtegeera
    Ky’aterekera omulamu : tekivunda
    Kyazze : tekizzikaayo
    Kye banjagaza : bw’atabaala tadda
    Kye baanoonyezanga embazzi : kibuyaga asudde
    Kye bavumagana : kye balya
    Kyebonere : ng’amasavu g’engabi
    Kyebonere : ow’entumbi ng’ameze ebbango
    Kyegombe : tekirwa kubula (= kuggwawo)
    Kyejjusa : ng’eyakwana ow’amayuuga
    Kyekango : tikimanya muzira
    Kyekulumbaza sikirya : effa-mpewo ndiwa nnyinimu
    Kyemanyikiriza : ng’abaleeta omumbejja omubi
    Kyemanyikiriza : nga Munnabusiro omubbi; nti ndi ku Bbira awo
    Kyemanyikiriza : ng’omulungi eyeetuuma Nnabiweke
    Kye ndikuwa olikwasaako ebbiri : akuwa lumonde wa bikuta
    Kye nkola bannange : saagala bakinkole; ng’omubbi bamubbye (or: ng’omu-sezi bamuseze)
    Kinkubidde mu nnimiro : ) n’okubunga ng’obunga; ) ng’ezzimu eggumba
    Kye nkulekera olyanga : bwe yeerabira ensawo, akoma mu luggya ng’agiddira
    Kye nkwagala : kin mu jjinja
    Kye nnalaba ewattu : sikitenda mu ddya
    Kyenyi kibi : tekirukirwa nkundulu; omala nga bambalikawo
    Kyenyi ky’empumi : tekirukirwa nkundulu
    Kyenyi ky’omubi : kisabira omulungi amazzi
    Kyerabirwa mugambi : naye omugambibwa takyerabira
    Kyeresebwa : n’okiwa munno
    Kyereeta : ng’omususi w’amenvu
    Kyerondera : taba mubbi
    Kyeroopa : nga w’ettu ly’empande
    Kye sirya, mbuusa : omuyaayu ndaba ddiba
    Kyetta ng’eya zigoto : amayembe ezza mu kyenyi
    Kyetunda : ng’ow’ettulu asima enju
    Kye wajja okulaba, olyekkaanya : omunya gwekkaanya omunyale
    Kye walabye : kye kiba ekikyo
    Kye-walyanga : bw’olaba ennaku olekayo
    Kye wazadde : tekiba kibi
    Kye weetema olwadde : bw’owona tokiwa
    Kyeyagalire : bbwa lya njola
    Kyeyendere : bbwa lya njola; bwe likutanirira, tonyiiga
    Ky’ofa togabye : Walumbe y’agaba (= akigaba, = akikugabira)
    Ky’ofuna oyagala : bwe kikudibirira (= bwe kikutamirira) oyita Katonda, nti Ayi Katonda, singa okinzigyeko!
    Kyogereko : tekirema kubaawo
    Ky’ojje obege : ng’oli ku bbiririvu
    Ky’okisa ewannyu : omulubaale y’akyogera
    Ky’okoze, enkoko – – ( Ky’onkoze: )
    Ky’olabako ky’obuuza? : nti Endiga yazaala bumeka?
    Ky’olaba omu : kikussa matenda (= makunga)
    Ky’olabye : gonja akiraba kwa njala
    Ky’oleka ennyuma : kye kikusinza
    Ky’olimba obuko : kye kibutta; ndikuttira enswa, ng’ekiswa kikotera
    Ky’olyako omuddu : kye kikuseenyeza enviiri ku mutwe
    Ky’olyako omujjwa : kye kimuyombya
    Ky’omanyiira bwe kiba : emmese tetomera mpagi
    Ky’omanyiira bwe kiba : amaaso g’omunya tegafa munyale
    Ky’omanyiira tokitya : envubu tetya nnyanja
    Ky’omummi – – ( Kya mummi: ) ,
    Ky’onkoze, enkoko ekikola bwana bwayo : ky’ejje ebuzaale, ng’ebufuula ente- be yaayo
    Ky’osimba onaanya : ky’olyako ettooke
    Ky’oteebeza embazzi : kibuyaga asudde
    Ky’oterekera omuganzi : mukyawe y’akirya
    Ky’otobuulirako munno : ) enseko zikiyitako; ) emmese ekibba
    Ky’otolya : okiwa banno ne bakirya
    Ky’otoolye kukkuta : okirekera abaana ne balya; nnasswi takwata ku nkejje
    Ky’otoolye : tokigobako mbwa
    Ky’otomanyi bwe kiba : amazina ag’ekirevu olabira ku mmere
    Ky’otomanyi : matooke magoye; togamanyi muwendo
    Ky’otonnalya : tokyesunga; ettooke balitutte kiro
    Ky’otonnalya : tosooka kwasama
    Ky’otoowe mukulu : tokimulimba
    Ky’owa omutomi : olyako
    Ky’owola otudde : okibanja oyimiridde
    Ky’oyagala kikuseeza : Omunyolo amalibu gaamuttira olubimbi
    Ky’oyagala : okigundiza
    Ky’oyagala tekijja gy’oli : Nnabuzaana akwata Banyolo
    Ky’oyagala tekikwagala : gy’okuba olubuto, entumbwe ekubayo mabega
    Ky’oyagala tekikwagala : omwana wa mwannyoko akula nga nsujju
    Ky’oyagala tekikwagala : singa emmere esula mu ttama
    Ky’oyagaliza embazzi : kibuyaga asudde
    Kyuma kitya muweesi

     

  • Engero za Baganda eza – L  – Luganda Proverbs prefix – L 

    Engero za Baganda eza – L  – Luganda Proverbs prefix – L

     

    luganda proverbs engero

    1. Kabaka afugira wala

    2. Kabaka akira oluganda

    3. Kabaka akussa owuwo : essanja libabula endagala (sso nga ba luganda)

    4. Kabaka muzaawula : nga wa malibu asanze we bafumba emyungu (= we balya ekibumba)

    5. Kabaka nnamunswa : alya ku nswa ze

    6. Kabaka nnyanja : etta n’atavuba

    7. Kabaka nnyanja : temanyiirwa

    8. Kabaka nnyondo : ekussa buzito

    9. Kabaka omuggya : agoba omukadde

    10. Kabaka tamanyi birungi : singa ekitoogo ky’afuusa olunyago

    11. Kabaka tatta : omusaakiriza y’atta

    12. Kabaka tayotebwa nga muliro

    13. Kabaka w’akuleka : si w’akusanga

    14. Kabamba-ggulu : ng’obwoya obw’omu kifuba

    15. Kabambaala : taganya nzige kusula

    16. Kabanda-majjwa : n’enkanaga azibuuka

    17. Ka bantende : asigaza misiwa

    18. Kabbiiri akira omutumba

    19. Kabbo ka muwala : kajja kajjudde, kaddayo kajjudde (ng’alina essimba)

    20. Ka beene : ng’akummye we kenkana : ng’akuwadde

    21. Kabeera kannya : kanditumaze

    22. Kabine abina abasajja banne

    23. Kabirinnage : obulungi bwamulobera okuwanvuwa

    24. Kabizzi kato : kasigulidde enkulu ekkolero

    25. Kabootongo asigira ennungu

    26. Kabuga ente : ensimbi aina emu (nti ente egwe)

    27. Kabugumire : ng’ensingo y’omunafu

    28. Kabula-bugyo : ng’omukazi ow’envuma

    29. Kabula butegero : ng’ow’obusa asala omunnyu

    30. Kabula we kalaga : bakatema ngalo (or lunwe)

    31. Kaabulindiridde : ng’ekinnya ekiri mu mulyango bwe kitayasa nsuwa, kime-nya kugulu

    32. Kaabulindiridde : ng’enkonge y’oku kkubo bw’etekukuba magenda, ekukuba amadda

    33. Kaabulindiridde : ng’omusanvu oguli ku nju bwe gutakuba nnyinimu, ne gugi-ggala

    34. Ka buwere : yawanguza Buvuma

    35. Kabuze n’empulutu : anti oluwande lw’ekiwuubiiro

    36. Kabwa kabbi : kagumya mugongo

    37. Kadduubaale tanfuga : nga si mugole wo

    38. Kafa omukkuto – – ( Akafa omukkuto: )

    39. Kaafuma : ng’ensawo ey’ekiwero bw’egwa mu mugga, towonya kantu, byonna bitobera ddala

    40. Kafumu ka muwunda : kafumitira eruuyi n’eruuyi

    41. Kagenda kalya : tikalaba nnaku

    42. Kagenderere ng’omukadde awuula (= akogga)

    43. Kagere kampadde : w’osanga nga balya

    44. Kaggwa ensonyi 🙂 ng’omwana abba nnyina (= kitaawe) ) ng’omukazi awoza ne bba ) ng’alya ne mulamu we enswa

    45. Kaggwa ka ttovu : kasonsomolera ne gye katafumise

    46. Kaggye taba wabiri : ekitembe kissa lumu, wabula ekya Nnanteza

    47. Kagubiiru : nga mutwe gw’omusasi (= ng’ensikya y’omunafu) gugenda gwetisse, ate gudda gwetisse (= gugendera mu nku ne guddira mu matooke)

    48. Kagulumale : ng’omukazi alya n’abaddu

    49. Kagumba tekanyigirwa mu nnoga

    50. Kagumba weegoge : ng’emmere y’omulima

    51. Kajagira obuguzi : ddamu lye limugoba

    52. Kajjamni abalagadde ku bbwa

    53. Kakejje ntabula ku mbaga

    54. Kakerenda : kaava ku lubaya

    55. Kakowekowe kanda : katemereza ne we kataalye

    56. Kakoloboto Kabaka yamutuma okuwera ekisiibo : n’ate n’alya

    57. Kakulu asomba

    58. Kakulu : awo omy a ttooke

    59. Kakutungidde enkanamu : ng’ayomba n’ayonsa

    60. Kakyama mamera – ( Akaakyama: ) Munno

    61. Kakyali kansununwa : leka kaweze oluwombo

    62. Kalaba-njuki : y’addira omuliro

    63. Kalazaane : tekaggya buliika

    64. Kalema ka nsinjo : ekyuma kitema kinnaakyo

    65. Kaalengeera : ng’akakka k’abatabaazi

    66. Kaliba akendo : okalabira ku mukonda

    67. Kaliba kaki akalikugwa ku liiso? : ng’omunaku ayombye n’omwana wa boo- wo

    68. Kaliba kasajja : akuliisa engo

    69. Kakulu takulirwa : ekyuma tikikulira jjinja (= ennyondo tekulira jjinja)

    70. Kalifa aleka kalifa : ekiteme okulekawo ensukusa

    71. Kalimi ka mwewoze : kaweweera majja (= kajja kawewedde)

    72. Kalimi ka mwewozi : kwegonza kajja ne sembera, nkubuuze

    73. Kalimi ke keeru

    74. Kalimi-ngobya : nga Kanyolo ak’oku muzibo

    75. Kalifa abiri : olonda ejjinja nga kalaba

    76. Kalinnimi : ng’omuganzi aloo awolereza

    77. Kalonda : ng’omusiri gw’omunafu

    78. Kalulwe : ) nnantaliirwa mu nnyama ) tabula ku nnyama omumyuka tabula ku mwami

    79. Kalya amaggwa : ke kamanya bwe kagakyusa

    80. Kalya bugalula : ng’omumwa gw’emmandwa

    81. Kalya buguga : ng’ow’obusa atatereka bugenyi nti baganda bo bwe balijja, oli- bafumbira ki?

    82. Kalya kokka : keetenda okulya mpola

    83. Ka maanyi – kaliibwa na mbiro (= na ngabo)

    84. Kambayaaya kakaabya : nnamube olw’eggulo

    85. Kambe kaawaase : tekaggwako masanda

    86. Ka mbuukire baaba w’abuukidde : agwa mu ntubiro

    87. Kamegga enjovu : kenkana wa? ( Akamegga: ) III

    88. Kameze mu luggya : ng’osima? (akatiko) ( Asimba kasooli: )

    89. Kaami katono : okanyoomera (= okagayira) mitala wa mugga

    90. Kampwerenda : ng’ensimbi egula amaduudu

    91. Kamukago : okalya dda, kadda dda ejjobyo liddira mu mutwe

    92. Kamu, kamu : gwe muganda

    93. Kaamukuulo : embuzi ennume erya olw’eggulo, ng’eraba enjuba egwa ng’efu- ndikiriza

    94. Kaamukuulo : ng’ensambu ya kasooli

    95. Kamuli kansaze : nga ggwe okagoogodde (= okagogombodde)

    96. Kamunye nnamukwakkula

    97. Kamunye ow’empaka : y’akubya nnyinimu enduulu

    98. Kamunye w’agwa : ) tewabula luyoogaano ) we waba olugambo

    99. Kaamuwuube : ng’engalabi y’ekyengera

    100. Kamwa kabi : katta Siroganga (= kassa Siroganga)

    101. Kamwa kanfudde : ayomba n’ow’omuliraano

    102. Kamwa nga ggiira (= ng’eggiira) : aktunwesa omukyala

    103. Kamwenyumwenyu : embwa k’eseka mu luinbe lw’ente

    104. Kannabubwo : tikakirwa

    105. Kanaakuloopa : bw’okawa (= olumuwa) omwenge, kafuka ku mpagi

    106. Kanaakutanda : akuwa amazzi, ng’akulekera olwendo

    107. Kanaalusomba : ng’omuwuulu amuzza ku mmere

    108. Kanaaluzaaln : ng’omuwuulu amulisa ku mmere, y’azuula ekkovu

    109. Ka ndabe omusika : bw’alya azaala balongo

    110. Ka nduve (= ka nguve) ku ntono : ng’ow’ekibuga asanze (= ng’omuyala atuuse) we bafumba

    111. Ka ndye mmalewo : yeerabira olumbe

    112. Kaneene : ssala (= bunza) miya

    113. Ka nnananyi : mubbi tagenda na ndege

    114. Kange kakira kaffe

    115. Ka nguve ku ntono : ng’ow’ekibuga asanze we bafumba

    116. Ka nkuggye amaggwa

    117. Ka nkukyukire : omwana akyukira omulezi

    118. Ka nkutte kibwamo : wambwa ky’atta amagi

    119. Ka nkwasire : omusamaavu w’amannyo ayasira kasooli

    120. Ka nkwetegule : ejjanzi lyetegula mukazi muzadde

    121. Kannabwala : Omuyima k’akwata eminyira

    122. Kannantebya : ) ng’omubbi w’omunju okumala okubba ate ne yeetaakiriza ) ng’omulubaale ow’okumpi kye yawulidde enkya, ky’alagula eggulo

    123. Kano nno keewaniko ng’aka makobe : gabala waggulu ne gagenda kubala nnu- nda

    124. Ka nsale (wo) eggoye : omuwa-butwa y’alisalirawo Bubiro

    125. Ka-ntanyi kaggweerawo : kafumita-bagenge w’akufumitira w’omweggiramu

    126. Kanyinyiggi : omukazi omunafu k’akaaba mu lumbe

    127. Ka nzigyewo akabega : Lukoda Baluubu

    128. Kapa w’etali : emmese yeekola ebigenyi

    129. Kasakkya : n’ataayanike abuuza omusana

    130. Kaasa ttaka, nga ggw’osima? : kalisansulira mu ttaka?

    131. Kasala becca (= bekkya) : ng’Omunyolo akubagiza Omuganda

    132. Kasennya-nku ze yeetyabira : ze zimwokya

    133. Kasiru akulembera : kagezi n’ava oluvannyuma

    134. Kasiru y’asooka : kagezi ajja luvannyuma

    135. Kasita guwedde – – ( Guwedde mirembe: )

    136. Kasobeza nga kutu : tikunywa taaba ne kumala kuleeta ebifeetete

    137. Kasobeza ng’enneebaza y’omwavu : ajja akaaba bw’omuwa, nti onnanze ki ssebo? ( Omwavu taweeka: )

    138. Kasobeza ng’omubbi ow’omu nju

    139. Kasobeza ng’ow’ekiwalaata : atudde mu mulyango nga balya ogamba nti mpozzi atunula eno, kazzi atunula mu nju gye balya

    140. Kaaso ka mpanga : kalaba n’ekiro

    141. Kasookedde obirya (= kasooka mbirya) : leero toobisobole

    142. Kasooli alituyombya

    143. Kasooli w’e Ggomba : aliibwa na mbiro

    144. Kasolo akagenda (akanya) obwoya – – ( Akasuula obwoya: )

    145. Kasugga kagoba Idsambu : amazzi tigeerabira gye galaga

    146. Kaswa akam : bwe buzannyiro bw’endiga

    147. Kasiikuuzi akakubya emmomboze

    148. Kataggwa buto : ng’akafuba k’ennyonyi

    149. Katagirya : enkoko eribiika

    150. Kataligirya : erizaala

    151. Katangaala : kakira omuggyemu eriiso (= eriiso eriggyemu)

    152. Kateebulanya (= kubennanya) : ng’olutta ow’ettulu

    153. Kateegaya : ayingirira basajja banne

    154. Kateetemera : alifa olw’okubambira

    155. Kateeyanira : kafa omutego

    156. Kateezaala : tikaala

    157. Katikkiro yafa ndi Mugongo : nti kaakati oli muluusi? ( Okekkera ng’Omu- naawa: )

    158. Katiko ka mukyala : okakuba nnoga, nako kakukuba nvuba

    159. Kati onsanze : tokasikira mbazzi!

    160. Katonda akuwa nswa : ggwe okubirira?

    161. Katonda mbeera! : n’embiro naawe ng’otadde

    162. Katono : kazira mu liiso

    163. Katono keewaza : kakira eddene eddwadde (= erinafu)

    164. Katono ko (= akako) : kakira eddene erya munno

    165. Katubidde : ng’ow’ekirevu ageregeza

    166. Katula keebisse buka : naye mu mwoyo ng’ayogeza ekisa

    167. Ka tuwulire : asaabulula eriri mu kamwa

    168. Katyupya (= Kacupya) : ng’omunnyu ogukoza lumonde

    169. Kawakuzi : awakula ennombo ku bugenyi

    170. Kawuulu kagezi : kagenda okunywa ogw’obusogozi, nga kamaze okweyalira

    171. Kawuulu-ppumi : ng’omutwe gw’omunafu gugendera mu nku, guddira mu ttooke

    172. Kawummunta okw’enjala : okw’ekyengera aba mulambuzi

    173. Kawumpuli agenda : n’okuba misota?

    174. Kawundo ka mputtu – – ( Akawundo: )

    175. Kawunguko : ng’ow’enkedi mu nnimiro

    176. Kayaayu : olukaatula erinnya, keekuba ensiko

    177. Kayemba nnantabuulirirwa : alisaabala obw’ebbumba

    178. Kayindiyindi kalangudde ebijanjaalo

    179. Kayinja tekanyigirwa wamu na ttooke

    180. Kayisanyo : amalusu n’eddookooli

    181. Kayita pirya : ng’ow’obusa agoba akayaayu

    182. K’eoma : kamanywa mubambi

    183. Ke weerimidde : kakira mbegeraako

    184. K’ezaala : k’ekomberera

    185. Keezimbira : tikaba kato bw’ogenda okukwata akasanke, ogenda osooba

    186. Kiba kibi, kiba kikyo : gwe tikube ekyalo nga balangidde omukadde we – – ( Tekiibe kyalo: Ebya kuno tebiisoboke: )

    187. Kibatto : ow’ennungu ku mayinja

    188. Kibaawo kimala : amaaso g’omulungi galoga enjala (= amaaso g’omuganzi gama- la enjala)

    189. Kibaawo kimala : ennyindo y’enkoko kye kyenyi

    190. Kibaawo : ng’ekibugo ekikuuma empindi

    191. Kibaaze : ) ng’eky’omwanisi wa taaba ) ensekere ky’eyita mu kiwalaata

    192. Kibi kigwana wala – – ( Ekibi kigwana: )

    193. Kibojjera ku lwazi : kyesiga mumwa bugumu

    194. Kibula abuuza : ng’erigenda emugga

    195. Kibula buguzi : kiddira nnyinikyo

    196. Kibuyaga agwe mu lusuku : kamunye agwe mu nkoko

    197. Kidda walime

    198. Kiddimusi (= kiddumusi) : tekinyaga byenda

    199. Kidiba kidda wabookyo : essaaniko mu lusuku

    200. Kifa mukokko : ng’etonnya mu balaalo

    201. Kifa omusana : nkuba y’ekinnyulula

    202. Kifundikwa kirinsabira : tafuna bwami (or: ng’asubwa)

    203. Kigabo kikadde : akyagala yakissaako omuwambiro

    204. Kigambo si mutwalo : nga bakutumye gy’oyagala

    205. Kigaanira omuddu : (liba) bbwa lya mu mutwe

    206. Kigenda kudda wa? : bw’asanga bw’ayisa bwe kisanga, bwe kikola)

    207. Kiggweeso : nga ne gw’oyagala mw’agendedde (= agenze)

    208. Kigya n’abagya

    209. Kigobero : kikira obugenyi

    210. Kigomba kikira omwana

    211. Kigudde mu ndira : ekimonde ekinene mu maaso ga muwuulu

    212. Kigula engabo kiddawo : ng’eyagigula wa maanyi

    213. Kiguumaaza : ng’ente esula ku kyoto bw’owulira efuuwa, nti ekuma muliro obudde okukya osanga vvu jjereere mu kyoto

    214. Kiguumaaza : ng’ow’ettulu atemya

    215. a Kigwa mu muliro : ng’embaala (= ng’ekiwojjolo)

    216. Kigwana gonja : nga bamuzaala mu Busiro

    217. Kigwo kya lwazi : bwe kitakumenya mukono, ne kikwasa omutwe

    218. Kijja omanyi – – ( Ekijja omanyi: )

    219. Kikere : ky’osammuza omuti, oluvannyuma okikwasako ngalo

    220. Kikira ennoma okulawa

    221. Kikira obusa : afumbirwa muggavu w’amatu

    222. Kikonde : kikuba all kum

    223. Kikonyogo : bakikasukira (= bakikanyugira) kulaalira ne kijja n’ekirimba

    224. Kilcoyo : tekiriisibwa maddu (= bw’okifumbya amaddu tokirya)

    225. Kikubuuseeko : ekyabuuka ku mugenyi omu

    226. Kikuffiriddeko : ng’endwadde y’enkoko

    227. Kikujjuko : ng’ow’ennungu ayita ku mayinja

    228. Kikulejje : ekigenda emug,ga n’emmindi

    229. Kikuuno : ng’olabye akukuunirako

    230. Kikwanguyira : ky’olya

    231. Kimala mpaka : kusirika

    232. Kimala okwola : bakikwasa engalo

    233. Kimaza bbiri (= nnya) : y’aliwa ogw’omugenyi

    234. Kimira mwoyo : ng’enkoko emira ensanafu

    235. Kimmanje : bwe kita (= okuta), ensuwa nga luggyo

    236. Kimpowooze : ng’ogw’amenvu

    237. Kimunkumunku : ng’omukira gw’endiga omuliire ku bijanjaalo

    238. Kimwa kya mugole : kijja ne siirye, kimala omuwumbo

    239. Kimwa-kitoole : ) ng’omukazi alya emmamba ) ng’omusajja alya ebbumba

    240. Kimyanku ye mugabe

    241. Kinaabataya (= kinaabasobeza) : ng’amatooke amatono bw’ogalya omu, toga-mala bwe mugalya babiri simukkuta

    242. Kinaagomba : tikibuulirwa mulunnyanja

    243. Kinaakulyako amenvu : kituukira ku kususa olumala okususa ng’alya

    244. Kinaataama : tekikomerekeka

    245. Kinaayokya nkimize

    246. Kinene kya nkukunyi : owanda mu ngalo amalusu n’olyoka okisitula

    247. Kinnanga : tekiggwaamu (= tikiggwaako) lumonde

    248. Kinnya kya mulyango : bw’otokigwamu mafuluma, okigwamu amayingira

    249. Kino kibatto : ow’ennungu ku mayinja

    250. a Kino kiggweeso : nga ne gw’ayagala mw’ajjidde

    251. Kino kiggweeso : nga gw’ayagala agenze

    252. Kino kinyeenya magi! : ng’enkoko ebiika endege

    253. Kino kirungi : na kino kirungi

    254. Kinsanze n’oluku

    255. Kintabuli : amalibu n’omuzigo

    256. Kinyiigo tikiyuza lubugo

    257. Kinyoola mumwa : nga gw’ageya wa kumpi

    258. Kinyonyi kibi – – ( Ekinyonyi: )

    259. Kirabise ng’Abaseveni bangi bajja kuddayo mu maggye : kubanga amagatto ne kabuuti baabitunda

    260. Kirabwa abangi : omunafu alima ku kkubo

    261. Kiralire : wa ddalu tawulira

    262. Kiraza mwoyo : ng’ebbwa eridda mu nkovu

    263. Kiraza mwoyo : ng’omuwuulu ayimba, nti ndibula naye nti simanyi alibula na wange?

    264. Kirevu ntende : kyalekerera wante ne kikwata wambuzi

    265. Kireebereebe : ) ng’empagi ey’omu ddiiro ) ng’amazzi g’omukonda gw’essu- nsa

    266. Kiriba edda : mmese ya ku mutala

    267. Kiriba edda : bw’aliba akootakoota, alingoberera

    268. Kiridde obwami : ekyamusengusanga akyerabira

    269. Kiridde obwami : tabula muganda we (= tekibula anda zaakyo)

    270. Kiridde nnamube : omunaku lw’ayiga okulonda

    271. Kiri ewala : mnduzo (= mndo) y’ekireeta (= y’ekiggya)

    272. Kiriggwa jjo : ) tekikutunuza ng’alira ) tekikuggyaako munno

    273. Kiri mu bbanja : tekinunula mwana

    274. Kiri mulaala : ) teyeekolera luggi ) omusigire teyeegulira ngabo

    275. Kiri mu ttu : kimanyibwa nnyinikyo (= nnyiniryo)

    276. Kirinde kiggweeyo – – ( Linda kiggweeyo: )

    277. Kirindizo : ng’aga Lubuga

    278. Kirinsanga ewange : emmese efiira mu bunnya

    279. Kirintwala ekipaalo : nga ne gy’alikiggya amanyiiyo

    280. Kiro kyakulimbye ki? : y’akuzaaza olugambo lw’enkya

    281. Kiruyi kya muzaana : kiggwera ku mmere

    282. Kiryango kibi : ekiyingiza ababi n’abalungi

    283. Kiriibwa atabaala : tikifa busa

    284. Kiriibwa omukulu : tekibula nsaano

    285. Kiryoka embi : kye kiryoka n’ennungi

    286. Kisaala munyazi : nti nnyinikyo eyakifuna anaakaaba musaayi (= okukira ald-funa)

    287. Kisala obulungi : kye kikuwa embikka

    288. Kisasa : n’ataaweese aganzika

    289. Kisawo ky’ataliiwo : kijjula mayinja

    290. Kisaayire okitte : akirinda kwa mweya (= kwa kyeya)

    291. Kiseke kya munyumya : kijjula malusu

    292. Kisekwa abangi

    293. Kisenyi (= kyoto) : nnantayombooza

    294. Kiserebetu : ng’omukkuto gw’amenvu

    295. Kisiibule : omusota bwoya

    296. Kisige : tikigatta na nviiri

    297. Kisigula ennyana : kigiva mu kibeere

    298. Kisikirize (= ekisikirize) : kyeggamwamu musana

    299. Kisiimwa omuyise : omutwalirwa tasiima

    300. Kisinde kyo n’ekya munno gw’oyita naye : kye kimu

    301. Kisisinkana ataakitte : ng’omutamanyapnamba asanze omwenda

    302. Kisookondwe : bw’okifumbira mu nva, tozirya

    303. Kiiso kya mbuzi : kirekerera omussi ne kitunuulira omubaazi

    304. Kisosonkole (kya ggi) : bakisuula mu luguudo

    305. Kisugga kya munafu : kye kitema omulima enkizi

    306. Kitagenda : azaala abagenzi (= kizaala abagenyi) ekikonde kisindika effumu

    307. Kitaka talya : atereka buteresi

    308. Kita kitava ku ssengejjero : ye ya nkindo

    309. Kitaakule : kizimba mu lumuli

    310. Kitali kibbe : eggufa osuula mu mulyango

    311. Kitange mmulaba : tekirobera musibe kubomba

    312. Kitamu kya muyiga : omuguzi akyegaanagaana

    313. Kitasimbwa : kyajja ne mukoka, kimala kibala emyungu emingi (= kibala ebita)

    314. Kitatta yima : tekimumalako nte

    315. Kitembe kissa lumu : wabula Nnanteza, kye kyassa emirundi ebiri

    316. Kitentebere : ng’omusajja alya (= alega) ebbumba

    317. Kitentebere : ng’omusajja akubira nva ekifo

    318. Kitentegere : bw’okisubula tokivaako nga tekikusiize masanda

    319. Kitentegere : we bakyagala we bakituuza ku musala

    320. Kiteezaala tekyala

    321. Kiti kya muwogo : gy’okisuula gye kimerera (= bakisuula obutadda ne kirokera)

    322. Kitonto(golo) : ggumbya ennyonyi

    323. Kitta nkimanyidde (= akimanyidde) : ennyanja etta muvubi

    324. Kitta engo : kigiyinga buzito

    325. Kituuliriro kimala enku n’amazzi

    326. Kitundu kya muwogo : bakisuulira butadda gye kimerera

    327. Kivu : kijjirira okuluma n’okutwalana

    328. Kiwaluko : tikinyaga byenda

    329. Kiwanga kya musenguse : kiva we bandikiziise, kigwa ku kubbo

    330. Kiweddeko abamanye : akiraza mumwa

    331. Kiweddeko endere

    332. Kiwola (= ekiwola) : bakikwasa ngalo

    333. Kiwooma magaaya : bw’oba okimize tokisesema

    334. Kiwombe y’eyiwa amata (ameeru)

    335. Kiwotoka tekyala : ) omukalo gw’embogo gugendera mu nkwawa ) eddiba ly’engo balyesiba mu kiwato

    336. Kibuuka lubona mawano

    337. Kiyenjeezi : kigya n’abagya

    338. Kiyiifuyiifu : omugole ky’agwa ku nkyakya

    339. Kiyini kibi : kijjukirwa malima

    340. Kiyiira omunaku : kigwa mu vvu bazibumbira okufa, ziramira mu kyokero

    341. Kiyirikiti kirinnyibwa buwaze : embwa bagikirinnyisa efudde

    342. Kiyita waggulu : otega wansi

    343. Kiyuuni kiriibwa omukulu : tekibulamu nsaano

    344. Kizeezengere : kitta wa mputtu

    345. Kizibu okulaba : ng’ekimuli ky’ekira (= ndaggu)

    346. Kiziribano : nga gonja omwokere musasa

    347. Kizzeeyo : mw’asiimira

    348. Kkomekkome : ng’erigenda emugga (= e Bubebbere)

    349. Kkomekkome omuzaalisa ku lubugo : bw’olaba ng’atutte olubugo, ng’omwana omu bw’olaba ng’atutte embuzi, nga balongo

    350. Kkonde vannyuma – – ( Ekkonde evannyuma: )

    351. Kkonkomi bbi – – ( Ekkonkomi: )

    352. Kkubo likozza

    353. Kkubo litemwa omukulu – – ( Ekkubo litemwa: )

    354. Kkubo ly’omulimba – – ( Ekkubo ly’omulimba: )

    355. Kkumi limn – – ( Ekkumi )

    356. Kkumi lya mpisi : n’obuto nga bugenda

    357. Koogera ekibi : ne katatuulira awo

    358. Kojjange ammanyi : ekikere kyasubwa omukira

    359. Kookolo bba mabwa

    360. Kola ng’omuddu : olye ng’omwami

    361. K’olya enkya : k’ogwa nako

    362. K’onooweeka : tokalinda kusaabaana ttosi (= kusaaba ttaka)

    363. Kope : ng’amasavu g’engabi

    364. K’osima : k’olya

    365. K’otonnaba kumwesa : k’otenda obwogi

    366. Kozo mpola, tumalirize : nga munda yanyiize dda

    367. Kubennanya : ng’olutta ow’ettulu

    368. Kubula mwana : kwesitukira

    369. Kufuuyira mbuzi mulere : sso nga teezine

    370. Kukaddiwa : kudda buto

    371. Kulaba binene : si kuwangaala

    372. Kulaba nsega ya museera

    373. Kulaba obukulu : akuteebeza Obunyolo

    374. Kulemberamu : akulega ntumbwe

    375. Kulika empewo y’enkya! Praise for (the work in the field during) the cold of the morning

    376. Kulumwetu : ng’ensekere emnga

    377. Kulya mungu : buteesokoola

    378. Ku mbuga ndivaako bwereere : ennyama anyaga ya vviivi embi nti nno singa anyaze ennungi

    379. Kumira mwoyo : ng’enkoko emira ensanafu

    380. Ku mumwa kuliko ekkubo

    381. Kunaaba kumirungusa : ng’ow’amalibu asanze bafumba emyungu n’ettooke

    382. Kunaabeera kubennanya – – ( Okubennanya: )

    383. Kunaaza mulungi mabega

    384. Kunguyiza : ng’omubbi owa mu nju

    385. Kunogola nsingo : ng’ow’ettulu alamusa ababiri

    386. Kuno kuseereza : ligenda mugga

    387. Kuno kwe kwaffe : takulaga gy’asula

    388. Kuno tekuli kabi : yeerabira ekigenyi

    389. Ku ntujjo : sikubula musiiwuufu

    390. Kuseka kamwenyumwenyu : embwa k’esekera mu lumbe lw’ente

    391. Kuseereza ligenda mugga

    392. Kusigalawo kuzirinda : ng’omwana w’omufu asaba ow’omulamu olubugo

    393. Kusooba si kubba

    394. Kusula kudda buto

    395. Kutta : kulimu ki? Killing? What good is in that? Referring to war or a skirmish

    396. Kutussako-akasiiso : ow’endali k’assa omukukumi

    397. Kuwala nswaswa ku lwazi

    398. Kuwerekera nsusso : owa busa bw’awerekera ab’ewaabwe

    399. Kuwoleza mukazi gye yanobera

    400. Kuyitaba wangi – – ( Okuyitaba: ) Rowl

    401. Kuyita kulaba ow’amalibu ng’asanze bafumba ebikongo

    402. Kuyitira mu biryo : ng’akwagaza olutalo

    403. Kuzaala kulimu ki? : nga gwe waza?la takuwulira

    404. Kuzaala kulungi : nga gwe wazaala akuwulira

    405. Kwa mwezi : baamuleka aale

    406. Kwana bangi : weesige batono

    407. Kwata n’owaayo : nga yasikira musikire

    408. Kwebaka kufa – – ( Okwebaka: )

    409. Kwe galaba : omugumba ku bba

    410. Kwegendereza : ng’ow’amayuuga ayita ku lutindo

    411. Kwe kuwamnya : ng’abulidde embiro nti aligoba wa mmindi

    412. Kwemmembekedde : ng’eya wakati

    413. Kwe nkuba omuggo

    414. Kwerinda si buti

    415. Kwetaganya : ng’akyawa gw’ayita naye

    416. Kwolera mri (= essalambwa) mu bunnya

    417. Kya bangi : ) kibuna ngalo ) kijjula ngalo ng’olabye akwolesako ) kinoga (= kirondamu) nnawalubwa

    418. Kyafa kirina ki? : nsawo y’omuwuulu

    419. Kyaffe babiri : bw’efa esula

    420. Kyajja na mazzi : ne kibala ennunda

    421. Kya kagambwa : ng’omuwuulu anaatuuma nnyinimu erinnya

    422. Kyakatuuka : tekibula mutengeetero (= mutengeeto)

    423. Kyakayiga bw’akuba engalabi : tayimbirira

    424. Kyakonye : tekiwulira muliro

    425. Kya kuba : tagaanira muggya we

    426. Kyakula ggala : ng’emmese esula omw’omunafu

    427. Kyakula ndaba : ennyanja etta omuvubi

    428. Kyakulumbye : tekizzikayo

    429. Kya kuno bwe kityo : avuma mwami

    430. Kyakuwangaaza : k’omere ejjobyo ku mutwe

    431. Kya kwambala : kitambye amagero

    432. Ky’aleeta : tokizzaayo

    433. Kyalemye : ng’omwana alemye nnyina okumubuulira

    434. Ky’aligamba : ndikikola

    435. Kyali ky’obulungi : kifuuka kya bubi

    436. Kyaliiro kya mmere : bakyagalira mu ddiiro

    437. Kya maanyi : kiriibwa na ngabo

    438. Ky’amukoze : enkoko ekikola baana baayo ky’ejje ebazaale ng’ebafuula ntebe

    439. Ky’amukubye : Kawuta akikuba ente mu lubiri

    440. Kya mummi : okiriira ku mwana

    441. Kyassanga : akomereza ndu

    442. Ky’atalabangako bwe kituuka : taldtegeera

    443. Ky’aterekera omulamu : tekivunda

    444. Kyazze : tekizzikaayo

    445. Kye banjagaza : bw’atabaala tadda

    446. Kye baanoonyezanga embazzi : kibuyaga asudde

    447. Kye bavumagana : kye balya

    448. Kyebonere : ng’amasavu g’engabi

    449. Kyebonere : ow’entumbi ng’ameze ebbango

    450. Kyegombe : tekirwa kubula (= kuggwawo)

    451. Kyejjusa : ng’eyakwana ow’amayuuga

    452. Kyekango : tikimanya muzira

    453. Kyekulumbaza sikirya : effa-mpewo ndiwa nnyinimu

    454. Kyemanyikiriza : ng’abaleeta omumbejja omubi

    455. Kyemanyikiriza : nga Munnabusiro omubbi nti ndi ku Bbira awo

    456. Kyemanyikiriza : ng’omulungi eyeetuuma Nnabiweke

    457. Kye ndikuwa olikwasaako ebbiri : akuwa lumonde wa bikuta

    458. Kye nkola bannange : saagala bakinkole ng’omubbi bamubbye (or: ng’omu-sezi bamuseze)

    459. Kinkubidde mu nnimiro : ) n’okubunga ng’obunga ) ng’ezzimu eggumba

    460. Kye nkulekera olyanga : bwe yeerabira ensawo, akoma mu luggya ng’agiddira

    461. Kye nkwagala : kin mu jjinja

    462. Kye nnalaba ewattu : sikitenda mu ddya

    463. Kyenyi kibi : tekirukirwa nkundulu omala nga bambalikawo

    464. Kyenyi ky’empumi : tekirukirwa nkundulu

    465. Kyenyi ky’omubi : kisabira omulungi amazzi

    466. Kyerabirwa mugambi : naye omugambibwa takyerabira

    467. Kyeresebwa : n’okiwa munno

    468. Kyereeta : ng’omususi w’amenvu

    469. Kyerondera : taba mubbi

    470. Kyeroopa : nga w’ettu ly’empande

    471. Kye sirya, mbuusa : omuyaayu ndaba ddiba

    472. Kyetta ng’eya zigoto : amayembe ezza mu kyenyi

    473. Kyetunda : ng’ow’ettulu asima enju

    474. Kye wajja okulaba, olyekkaanya : omunya gwekkaanya omunyale

    475. Kye walabye : kye kiba ekikyo

    476. Kye-walyanga : bw’olaba ennaku olekayo

    477. Kye wazadde : tekiba kibi

    478. Kye weetema olwadde : bw’owona tokiwa

    479. Kyeyagalire : bbwa lya njola

    480. Kyeyendere : bbwa lya njola bwe likutanirira, tonyiiga

    481. Ky’ofa togabye : Walumbe y’agaba (= akigaba, = akikugabira)

    482. Ky’ofuna oyagala : bwe kikudibirira (= bwe kikutamirira) oyita Katonda, nti Ayi Katonda, singa okinzigyeko!

    483. Kyogereko : tekirema kubaawo

    484. Ky’ojje obege : ng’oli ku bbiririvu

    485. Ky’okisa ewannyu : omulubaale y’akyogera

    486. Ky’okoze, enkoko – – ( Ky’onkoze: )

    487. Ky’olabako ky’obuuza? : nti Endiga yazaala bumeka?

    488. Ky’olaba omu : kikussa matenda (= makunga)

    489. Ky’olabye : gonja akiraba kwa njala

    490. Ky’oleka ennyuma : kye kikusinza

    491. Ky’olimba obuko : kye kibutta ndikuttira enswa, ng’ekiswa kikotera

    492. Ky’olyako omuddu : kye kikuseenyeza enviiri ku mutwe

    493. Ky’olyako omujjwa : kye kimuyombya

    494. Ky’omanyiira bwe kiba : emmese tetomera mpagi

    495. Ky’omanyiira bwe kiba : amaaso g’omunya tegafa munyale

    496. Ky’omanyiira tokitya : envubu tetya nnyanja

    497. Ky’omummi – – ( Kya mummi: ) ,

    498. Ky’onkoze, enkoko ekikola bwana bwayo : ky’ejje ebuzaale, ng’ebufuula ente- be yaayo

    499. Ky’osimba onaanya : ky’olyako ettooke

    500. Ky’oteebeza embazzi : kibuyaga asudde

    501. Ky’oterekera omuganzi : mukyawe y’akirya

    502. Ky’otobuulirako munno : ) enseko zikiyitako ) emmese ekibba

    503. Ky’otolya : okiwa banno ne bakirya

    504. Ky’otoolye kukkuta : okirekera abaana ne balya nnasswi takwata ku nkejje

    505. Ky’otoolye : tokigobako mbwa

    506. Ky’otomanyi bwe kiba : amazina ag’ekirevu olabira ku mmere

    507. Ky’otomanyi : matooke magoye togamanyi muwendo

    508. Ky’otonnalya : tokyesunga ettooke balitutte kiro

    509. Ky’otonnalya : tosooka kwasama

    510. Ky’otoowe mukulu : tokimulimba

    511. Ky’owa omutomi : olyako

    512. Ky’owola otudde : okibanja oyimiridde

    513. Ky’oyagala kikuseeza : Omunyolo amalibu gaamuttira olubimbi

    514. Ky’oyagala : okigundiza

    515. Ky’oyagala tekijja gy’oli : Nnabuzaana akwata Banyolo

    516. Ky’oyagala tekikwagala : gy’okuba olubuto, entumbwe ekubayo mabega

    517. Ky’oyagala tekikwagala : omwana wa mwannyoko akula nga nsujju

    518. Ky’oyagala tekikwagala : singa emmere esula mu ttama

    519. Ky’oyagaliza embazzi : kibuyaga asudde

    520. Kyuma kitya muweesi

     

  • Engero za Baganda eza – M  – Luganda Proverbs prefix – M 

    Engero za Baganda eza – M  – Luganda Proverbs prefix – M

     

    luganda proverbs engero

    1. Maddu ga ddenge : ofuuwa bw’okomba

    2. Maddu tigaggwaako mulamu

    3. Mafuta ga nte : gava mu nte ne gadda mu ddiba

    4. Mafumu ogabuulira eyali agalwanyeeko

    5. Magezi amaggye ku bugenyi : gaakubya Wakayima ku mutwe

    6. Magezi g’atagenze : kaakano baziruma ebirenge (= ebinuulo)

    7. Magezi g’omu : gaakisa Bigambo ku kkubo

    8. Magezi muliro : bwe gukuggwaako ogunona wa munno

    9. Magezi ntakke – – ( Amagezi ntakke: )

    10. magoma gavugira aliwo

    11. magulu ga ntungo : gasigala mu ssibiro

    12. Majja-nkunene : ng’enswa egoba ennyonyi

    13. Makoomi ga mwaka : n’omunafu akuma

    14. Makulane : ng’emmese esula omw’omunafu

    15. Makunale : ng’entanda eriko ekibya (or nva)

    16. Mala okulya : ava ku mmindi ya taba

    17. Mala okulya : enjuba temulinda

    18. Mala okulya : takubuulira kiri ku mmere

    19. Mala okulya : bw’ovaawo ye agamba, nti abadde amira ebitole

    20. Mala okulya : ye akugeyera emmere

    21. Malizi masajja : galira gavuumira (= gavuuvuuma)

    22. Maluulu ga kyalo : tegakusuuza bbuzi lyo

    23. Malya-nkolo : tegalagaana

    24. Mamu, maamu : gye migogo

    25. Mannyangwa : nga lumonde ow’omu kibanja

    26. Manyi ga nnabugi : gamukubya akyali muto

    27. Maanyi ga tulo : gava ku lukokola bw’otofunyako tiweebaka

    28. Manyiira ku mwoyo : ng’endeku ey’obulago

    29. Masannanzira : gatta omubuuza n’omubuuzibwa

    30. Masappanzira gatutabye : tatta wa ggwanga

    31. Masavu ga npaana : gasaala gakka kibira

    32. Masenge ga muyiisa : tegaggwaamu mwenge

    33. Maseeneeko : ng’okugulu kw’ejjenje

    34. Masika ngabo : tigalema

    35. Maaso amati : galamusa nnyinimu

    36. maso g’enjala : gatuukira mu lusuku

    37. maso mabi : tegayiwa tato

    38. maso matono : gasinga ebitangalijja

    39. Matankane : ng’empale y’omuseveni mpanvu si mpanvu, nnyimpi si nnyimpi

    40. Mateerero : nti enkoko yange ebiika mu kyalo

    41. Matole manene : teganyaga nnyini mwana

    42. matu ga mubaazi : gawulira kya mbwa etwala ennyama yo omusaba takuwa

    43. matu tegasula njala

    44. Mavi ga mukulu : tigafukaamirira bwereere

    45. Mavumirizi : tegatta gwe beeyana ennyo

    46. Mawaggali : ng’eryambe ezziba

    47. Mawolu tegatta ntamu

    48. Mayanja assa bigere Lukumbi : ng’omutwe guli Sseguku

    49. Mayirikiti gatikkira kwa mwaka

    50. Maziga ga mmese : gajja na kamasu

    51. Maziga ga musota : gajja na muggo

    52. Maziribano : ng’omubi awonga nti ekibi kigwana wala

    53. mazzi masabe : tegaloga (= tegamala) nnyonta

    54. Mazzi matono : enkulu esooka okunywa

    55. Mbadde mpoza ogw’embwa : ng’endiga erinnya ennyumba

    56. Mbadde njagaliza embazzi : kibuyaga asudde

    57. Mbadde nnalwemanya : ng’omunafu (= omukadde) atabaaza embazzi

    58. Mbayiiyira ndya : agabira w’ebweru ng’ab’omu nju basula njala

    59. Mbeera n’abiri : ne nnannyini nkoko nandimuleese

    60. Mbidde ky’ekutuma : togaana

    61. Mbijjukidde : omuwuulu enswa azimalira ku kiswa (= omuwuulu aziriira ku kiswa)

    62. Mbikyusekyuse : enjuba tegwa e Bulemeezi

    63. mayiro ntono : zikira okwekweka (= okwekisa)

    64. Mboneredde : ) ali ku nkoomi ) tata muze ) y’amala abikola

    65. Mboozi ensuulane – – ( Emboozi ensuulane: )

    66. Mbuga ekwagala : ekira emitego gyonna

    67. Mbuga ekwagala : ekuzimbya ku lwazi

    68. Mbuga eramula

    69. Mbuga teba lusuubo

    70. Mbuga teba mmanga

    71. Mbuga terimba

    72. Mbuga tesiibulwa

    73. Mbuggubuggu : ng’amazzi g’ekiryo

    74. Mbugo mbi : zinyoomerwa ku katale

    75. Mbuukire baaba w’abuukidde : kwe kumenyeka

    76. Mbuzi ekogga : nnyiniyo n’agisanga

    77. Mbuzi lw’efa : lwe bamanya nnyiniyo

    78. Mbuzi mulanga : amaziga bule

    79. Mbuzi nzadde – – ( Embuzi enzadde: )

    80. Mbwa ekira ente

    81. Mbwa etta na muyimbi

    82. Mbwa na ngo

    83. Mbwa nnyingi : ziwubya omusu

    84. Mbwa ya kkoligo : eruma agisemberedde

    85. Mbwa yange tebba : ng’eyise ku lwa taaba

    86. Mbwa zaafa : amagunju gayinaayina

    87. Mikono ffeeza

    88. Mimwa etoloba : ng’ageya bwe bajja

    89. Mirembe gye giseguza

    90. Mirembe ngalo : buli oguddawo gukira gunnaagwo

    91. Mirimu gya mu ttoggo : gikooya buli omu

    92. Miti gy’amayuuni : basimba bayegeekereza bwe gikula ne gyesimba

    93. Mivule giwaatula

    94. Mizimbo teekale

    95. Mmaali yatokomoka : agula nsuwa

    96. Mmandwa lwe bagisingira – – ( Emmandwa lwe: )

    97. Mmandwa mbi : evumaganya agisamirira

    98. Mmanya nnenda : nti abalenzi kaakano bazizza

    99. Mmanyi byonna : bbaluwa ebuna kyalo

    100. ememe eteebuuza : efubutula eggambo

    101. ememe katale

    102. ememe ya munno ky’eyagala, naawe ky’oyagala : nga mwagalana

    103. Mmere egulwa : kwe kugikolera ekisaakaate

    104. Mmere eyala mbuga : ye akozza omwami

    105. Mmere mbi : terumya njala

    106. Mmere yange enfudde ki? : ye akuyita kaliira

    107. Mmuguddeko ekiyiifuyiifu : omugole ky’agwa mu nkyakya

    108. Mmuteekerawo okugulu

    109. Mmwanyi emu – – ( Emmwanyi emu: )

    110. Mmwanyi gye weesiga – – ( Emmwanyi gye weesiga: )

    111. Mpa alwogerako

    112. Mpaka nnyingi : zikubya mukyawe

    113. Mpa kitakuusa : olusanja lubabula olulagala

    114. Mpa kikula kiwooma : wabula ettooke ne bwe lyengera bw’olirya liba ddungi

    115. Mpalakitale : ng’eddiba ly’emmere

    116. magombe gazza : ng’embuzi eruma w’esula

    117. Mnde emu : eyiwa ekisero

    118. Mpa-nkuwange

    119. Mpaawo atabukuttira : ne nnyazaala wo abukuttira

    120. Mawo atagukuttira : ne nnyoko agutta

    121. Mpaawo magombe gazza – – ( Mpa magombe: )

    122. mperese : efa waaboyo mirembe

    123. Mesa ka mwana : ye mesa mbi

    124. Mpiima teseera : omwoyo gwe guseera (or: mugabi ye aseera)

    125. Mpola : amaanyi tigalya

    126. Mpolampola : eyiisa obusera

    127. Mlira byogere : ng’engalabi ya Nnyanzi

    128. mpulukutu za musota : ziwulira na muggo

    129. mungu : kkubira ball (= ekubira bali)

    130. unyiwunyi : eramusa (= alamusa) awaggale (= ziramusa)

    131. Mubaaga-zibi : abaaga lumu

    132. mubaana abangi (= mu bwana obungi) : timubula azza pnoma (= kalya nnoma)

    133. mubbi : aguza engalo

    134. Mubi azaalwa : ne bw’ozaala omulema tomusuula

    135. Mubi azitta : nga balungi balya

    136. Mubi nga Nsanja

    137. Mu butta : timubula mpulunguse

    138. Mu bwana obungi – – ( Mu baana abangi: ) Munno

    139. Muddo gwa luyiira : n’atalina mbuzi agwegomba

    140. Muddu akira mukazi

    141. Muddu awulira : y’alya n’omwami ekyenkya

    142. Muddu awulira : y’awangaaza amatu ge

    143. muddu awulira : y’atabaaza engule

    144. Muddu lw’abaaga – – ( Omuddu lw’abaaga: )

    145. Muddu talwewa : aluwa mukama we, nti omwami enkya anaagenda ku kibuga? (lusa)

    146. Mufumbya-gganda : tabalirira mutyabi (= tabalira basennya, = tasaasira bazaala)

    147. mugabi tiyeeseera

    148. Mugagga alina ebibye : yeeguyibwa

    149. Muganda w’asula ayonoona

    150. muganga tiyeeganga

    151. mugano gwa nswa : tiguleka mukadde waka (or: mu kyalo)

    152. Muganzi atona bibbe

    153. Muganzi lw’azza : naawe omukyawe lw’ocacanca

    154. Mugenda mulimbagana : nga muli balungi beereere

    155. Mugenyi ajja n’essawo lye : tosooka kumugeya

    156. Mugenyi amanya lijja : nga wa nsumika mbi

    157. mugenyi asooka : y’ayita banne emigulungu

    158. Mugenyi tamala zenkana awo

    159. Mugeyi takwaza

    160. mugezi awubwa : amatu tigawulira vvumbe

    161. Mugoba taluma ggumba

    162. Mugobya ne mugobya : basisinkana Kijonjo

    163. Mugonza kunyaga : tagonza mbiro? One who is inclined to rob : is he not also inclined to be quick? If he is not, he will be caught

    164. Mugya-ndibu : si ye agimala

    165. jagujagu nga kabwa : tekannazibula nga kasitama

    166. Mujogoolikana : ng’abasomosa obuliga

    167. Mukaba nga kutu : tekunywa taaba ne kuleeta ebifeetete

    168. Mukaba taggya – – ( Omukaba: )

    169. Mukadde akwatira ku mmere ye

    170. Mukadde tamusuza : y’amutenda eggonjebwa

    171. Mukadde taseka : nga talabise amunyumiza binyuma (= nga tasanze amunyo- nyogera, = nga wabuze amunyonyogera)

    172. Mukadde wa muno tayomba : ng’obuziina bwe bw’abuleka bw’abusanga

    173. Muka Jita : muka Kasirye (or: Baka Jita : baka Kasirye)

    174. Muka mufiire : talema kujula

    175. Muka mwana tantya : ng’azaala mwami

    176. Muk’omubumbi : aliira mu luggyo

    177. Muk’omuwuulu : tabaako matu

    178. Muk’omuwuulu : taba n’abiri

    179. Muk’omwavu : talondwa

    180. Mukazi agumira ku nkumbi

    181. Mukazi muggya : kabugo kakadde tekabulamu nsekere

    182. Mukire mukire : ow’enda akira ow’entumbi

    183. Mukkuto tigusomoka mugga

    184. Mukoddomi tambula : ng’embiro mmwembi muzenkanya

    185. koloze tafa njala : ng’ali gye batamwagala, nti olukolola ng’amira

    186. Mukome wano, tweyanguye : ng’omugenyi anaakyama (= akwatiddwa bubi)

    187. Muka omulamu : tafumbirikika

    188. ka omutabaazi : bw’aleka ekkata si bw’alisanga

    189. ka omuzira : bamutwala taliiwo

    190. Mukomye ku njokye : enfumbe timuliddeko

    191. Mukuba : olumbe lwamukuba

    192. Mukulu-atta-maka-ge

    193. Mukulu ndimutuma ki? : yeerabira ogw’okumufulumya ebweru ekiro

    194. kulu ne mukulu munne : nga kwa njala

    195. kulu takulira ma bbiri : endege tezivugira mu mazzi

    196. Mukulu talya nkanja : nga kwa kyengera

    197. Mukulu tava nnyuma – – ( Omukulu tava: )

    198. Mukulu teyeetikka : amuggya (= amuleetera) bunafu

    199. Mukulu wo bw’azaala : tokeera nkya

    200. Mukungubazi bonna bwe badduka ye ng’asigalawo

    201. Mulamu gwe bamianga : amufumbira gwa luvu

    202. Mulamu y’afuna

    203. Mulangira : tasuulibwa jjinja

    204. lekere ddala katta-buteme si wa kuta nsiriba

    205. Mulere gwa Ssuuna : lumoonyere

    206. Mull bukwata : enkuyege n’enswa

    207. Mulimba asanga mukkiriza

    208. Mulimba nga jjembe : liva mu buziizi, nil nva Buvuma

    209. Mulimba takuza baana

    210. Muliraano gwokya bbiri

    211. Mulonzi tattibwa

    212. Mulumbaganyi ng’empalaata y’embuzi : okuleka omutwe ng’ekwata amaviivi

    213. Mulundira wala : alabira ku maanyi nga gamuterebuka

    214. Mulungi akunoba : enjala n’etegwa

    215. Mulungi alwa akayuka

    216. Mulungi na mulungi : wabulawo asinga

    217. Mulungi takuddukanya

    218. Mulungi tansukka : bye biwanga mu nguudo

    219. Mulwadde asosola y’agezza abalamu

    220. Mulwadde taggya – – ( Omulwadde taggya: )

    221. Mulwadde yanteganyanga : nga kw’otunula

    222. li-azzaawo (= lyazzaawo) : ng’enkuyege

    223. Mulya-kiro : buziba alaba

    224. lya-mmamba : aba omu n’avumaganya ekika

    225. Muli wa kiro : tasinda lubuto, asinda obudde

    226. Mulyazaamaanyi agutta ku ntumbwe

    227. Mulyazaamaanyi alya – ( Omulyazaamaanyi: )

    228. Mulyowa-nsozi : ye lw’alwala tezimulyowa

    229. Mu matu : temuli mazaana

    230. mbu : mwe muva eggye

    231. Mu mpafu temujja mulangira

    232. m w’akoma w’akwata : ensolosozi eruma atudde

    233. Mu muwafu : temujja mulangira

    234. Munafu addinnana – – ( Omunafu addinnana: )

    235. Munafu azaala mbwa : omulima balangira

    236. Munafu azaala mumbowa : ettooke lino walirya n’ani? kasajja akukutte envuba

    237. Munaku mmese : etegwa kirungi

    238. Munaatunda : nti nze nnaagula? ( Munno atunda: )

    239. Mungi atiibwa

    240. Mu ngo mulimu enunondo? ( Mu ngo temuli mmondo: )

    241. Mu ngo temuli mmondo

    242. munkyamu : mwe muva engolokofu

    243. Munnange, ommaze enviiri ku mutwe

    244. Munno atunda : nti nze ngula nti ekimutunza okimanyi?

    245. Munno bw’akukola : naawe bw’omukola

    246. Munno mu kabi : ye munno ddala

    247. Munnyu gwa vvu : bw’obulwa amazzi tolya

    248. Mu nnyumba temuba kkubo

    249. Mu nnyumba timubula mukadde : enkoko eyingira ekootakoota

    250. Musajja alumbwa : bw’ogenda okumulumba ogenda weenywezezza

    251. sajja awoomera ka

    252. Musajja lumonde : akulira ku mugwa

    253. Musajja munno lukolokolo : olusika nalwo lukusika

    254. Musajja munno : omuwerera akuwerera

    255. Musajja tabula : bw’olaba abuze, nga basse mutte

    256. Musajja w’akulira : ng’alabye bingi

    257. Musambirizi akira omutengu

    258. musango gwa ntamu : gubuulirwa n’omugenyi

    259. musenze alanda

    260. Musenze muggya : tanenyezebwa

    261. musira-nnumbu : tabaliriza zigwa mu mazzi (or: tabaliriza zigenda)

    262. musisi : tenza-ggulu

    263. Musisinkanye : omuti w’eggye okufumbirwa omunafu

    264. musogozi talya bidumo

    265. Mutagubya

    266. Mutaka : ggongolo

    267. Mutaka talya – – ( Omutaka talya: )

    268. Mutego gwa mki : ogugwako ng’olaba

    269. Muteekerawo okugulu – – ( Mmuteekerawo okugulu: )

    270. Muti gwa nnanga : ogukuba amabega, gtunala gwogera obulungi

    271. a Mutikke talinda

    272. Muto anyumya ne muto munne

    273. Mutomi taweebwa kinene

    274. Mutongole kagumba – – ( Omutongole kagumba: )

    275. Mutongole mbuzi : zirundibwa wa kamwa bw’otomugamba okujja okukola tajja

    276. Mutongole ngabi : tekooyera

    277. Mutongole ngabi : ye eyitira ginnaayo ababi

    278. Mutongole tasalirwa ku lusuku

    279. Mutuula nnyo ensoobasoobanye : ng’ow’omuganzi atudde ku kkono

    280. Mutunda-bikadde : tatunda bbanja

    281. Mutwe gukiina : nnaloose ssebo akomyewo

    282. Muwa-butwa – – ( Omuwa-butwa: )

    283. Muwambi : si muguzi

    284. muwayira ku ngira : ewuwe tanyumya

    285. Muwendo mutono : bijanjaalo olya oyolesa

    286. Muwogo akaawa : akaayira akkuse

    287. Muwuulu alina entumbwe : ng’asula wa jjajjaawe

    288. Muyala akaayanira kulya

    289. Muyise tabaako wawe

    290. muyizzi agezza ttutuma

    291. muyizzi akumma : n’akunyumiza ennombe

    292. Muyizzi tafa – – ( Omuyizzi tafa: )

    293. Muzadde tagulwa – – ( Omuzadde tagulwa: )

    294. Muzibi alya akutte mu ngalo

    295. Muzibi w’amaaso alaba kiro : bw’omuyita ng’ayitaba ndaba

    296. Muzibu-azaala-mpanga

    297. Muzibu : ng’adduka yeeyagula

    298. Muzze bukwata – – ( Muli bukwata: )

    299. Muzzukulu eyatta Mukudde

    300. Mwagaza ekyoyoyo : Omuyima ky’ayagaza entungo

    301. Mwami akwagala : ye akuzimbya ne ku lwazi

    302. mwami alijja (= alidda) ddi? : ku ggwe kw’atuukira

    303. Mwami azaala bitooke

    304. Mwami ndimutuma ki? : bamukwatira mitala wa mugga (= musango gw’emi-tala), nti bayite omwami, ajje anzirukire

    305. Mwami, olidde kya nsonga : bw’avaawo akuyita ssikabindi (= ssika mild-ndi)

    306. Mwami tambula : oluvannyuma y’azza omusango embuga

    307. Mwami tatta : musaakiriza y’atta

    308. Mwami y’ankongoola : ente anyaga emu

    309. Mwana : ddagala

    310. Mwana ggwe, oli kasobeza : ng’omwana awoowooterwa nnyina

    311. Mwana mugimu : ava ku ngozi

    312. Mwana muwala kkoba lya mbogo : lyeggya lyokka mu bunnya

    313. Mwana muwala mutuba : atagusimba ye asubula

    314. Mwana na mwana : ng’omu tannakuba munne lubale

    315. Mwana omu : ) ajjula bijogo ) alinga ekire ky’enkuba ekimu

    316. Mwana wa munywanyi wange tagenda butalya : bye biwanga ebiri e Kitta-nte

    317. Mwana wange, mbagambira abali wansi, abali waggulu bawulira

    318. Mwana wange, nkubuulira : ejugumba n’emala ekona

    319. Mwana wange, olintuuza ku kasansa

    320. Mwana w’omulunnyanja – – ( Omwana w’omulunnyanja: )

    321. Mwana wa wanyenje : tafa mukka

    322. Mwangu y’atta enswa : ng’asanze kibuuka

    323. Mwannyina omubi : amwewereekererwa

    324. Mwannyina omulalu : w’akumuweera w’omutwalira

    325. Mwasa-ngabo : bw’ogiteekawo agifumita n’agyasa n’akwasa ekifuba

    326. Mwavu aluma – – ( Omwavu aluma: )

    327. Mwavu ayisa bukalu (= bukaba)

    328. Mwavu y’aleeta endiira

    329. Mwayombedde ki? : ye akuzza mu byaijo

    330. Mwaza-kinyumu : tayomba, abagenyi ne bwe boonoona buli kintu

    331. Mwebazizza bamalookooli

    332. Mwenkanonkano – – ( Omwenkanonkano: )

    333. Mweyogereze : takusuuza kayanzi ko

    334. Mwogeza-bboggo : emmundu aligyambalira

    335. Mwogeza-bboggo : ng’ayita na mbwa nti eridde ki ndiwe (= okuliwa)?

    336. mwogezi tatenda bibye

    337. Mw’otosula : tosaliramu bibya

     

  • Engero za Baganda eza – N  – Luganda Proverbs prefix – N 

    Engero za Baganda eza – N  – Luganda Proverbs prefix – N

     

    luganda proverbs engero

    1. N’aganaafa : gasalirwa essubi

    2. Nakamwa ntette – – ( Nnakamwa: )

    3. Nammwe mutuulanga bubi : gw’ayagala ye all ku ludda oluliko ekitono

    4. Nangalongya (= Na-ngalo-ngya) – – ( Nnangalongya: )

    5. N’asirika amanya : ekikere bakibikira kwa kyeya ne kikaaba ku nkuba

    6. N’asirikirira amanya : ekikere bwe bakibikira okw’ekyanda, olumbe kwa ttoggo kwe kyabiza

    7. Na tte eryawuumanga : bw’erimala okugwa wansi, nga n’abaana abato bagituula mu mayembe

    8. Na wano lulyabirawo : nga lwa mwavu

    9. Ndaba : gwe batta

    10. Ndaba ng’onsuula ngajaba

    11. Ndaba ongalabanja : ng’akukyawa takubuulidde

    12. Ndabidde ku nnamusa

    13. Ndege ziba nnyingi – – ( Endege: )

    14. Ndiba nsaba ki? : ye asaba kooterezo

    15. Ndibiraba ne nziruka : ye agenda na bapere

    16. Ndibirya ne bimpitamu

    17. Ndifa n’agange : omukadde ku ssogasoga

    18. Ndifiira bwereere : asika evviivi lya nte

    19. Ndifiira (= nnanfiira) ku kinene : ) ensanafu ku ggere ssajja (= ku kigere eki-sajja) ) ensanafu ku ntumbwe

    20. Ndifiira mu bakazi bannange : bamuyisa mu musiri gwa ntungo

    21. Ndifiira mu bangi : bamuyisa ku musiri gwa ntungo (or: afiira mu lukangaga Iwa ntungo)

    22. Ndifiira mu basajja bannange : bamuyisa mu musiri gwa kasooli

    23. Ndifiira mu ppanda zange : nga n’akamwa kalungi (= ng’ayogera bulungi)

    24. Ndifiira wabuguma : ennyenje ku kibanyi

    25. Ndifiira waggale : bamuyisa ku kifulukwa (= ku kifulukwa ayitako kkutwe)

    26. Ndigalya madda (= olulala) : agalya mu kibanja (= asanga kibanja)

    27. Ndiga tekimba : olukimba ng’etomera butomezi

    28. Ndigudde : abula agumwetikkira

    29. Ndigula kalungi : n’agula enkejje empumbe

    30. Ndigwa mu bangi – – ( Ndifiira mu bangi: )

    31. Ndikibuulira ani? : nga taliiko mukwano gwe yeesiga

    32. Ndikibuulira omulungi : bw’okibuulira omu, kibuna ekyalo

    33. Ndikirya jjo : bakimutikka

    34. Ndikirya na munnyu : akirya na mazzi

    35. Ndiko bannange – – ( Bannange banjagala: )

    36. Ndikugula : akunkumula lutembe (= matembe)

    37. Ndikulyako ki? : nga ndikulya minyira

    38. Ndikutuusa : takutuusa

    39. Ndikwata ne mpaayo : nga yasikira musikire

    40. Ndi mufu muggya : simanyi bifa magombe

    41. Ndi mugezi : nga mubuulire

    42. Ndi mukazi mutundwa : nneesibira okunywera

    43. Ndi mutuba mulami : n’omuto atema ensimbo

    44. Ndi muzibi wa maaso : akange ndya nkutte mu ngalo

    45. Ndi nnanti nkalu : ye azimba ku nnanti embisi

    46. Ndi nkoko mpanga : ntambula ntolooma

    47. Ndi nkoko njeru : seekweka kamunye

    48. Ndi ntamu nkadde : siterekwa ewa munnange

    49. Ndiraba ezange : nga tawa musibe mmere

    50. Ndirwanira mu bakulu bannange : omukadde bamuyisa mu jjobyo

    51. Ndirwanira waggale – – ( Ndifiira waggale: ) No

    52. Ndirya amadda – ( Ndigalya madda: Tuligalya amadda: )

    53. Ndituusa wa? : ka lunzite mpeere

    54. Nditwala kalungi : mu kibira avaamu atyo

    55. Nditwala kinene : afa tatuuse ku buko

    56. Ndiwulira : bamufumbira mu kasooli (or: banuulira mu kasooli)

    57. Ndiyimbira mu nkambi e Lubaga

    58. Ndudde okwewagira : ) enkolo azirya n’ekiro ) muwogo alya na miti

    59. Ndwadde ekula kiro : ye aziika omuliro

    60. Ndwadde ya muto – – ( Endwadde y’omuto: )

    61. Ndya kya bukaba : ng’emmese ey’omu ggwanika

    62. Ndya lumu : yazisa Mulajje

    63. Ndya wabiri : ng’olubuto lw’emmandwa

    64. Ndyebaza ndya : tagunjula munafu

    65. Ne gw’oyagala : gw’osalira omusango ne gumusinga n’omuweerera envuma (or: ng’omuliyirako)

    66. Ne gw’ozadde : akukubira ennoma n’ozina

    67. Ne munno : akutebya

    68. Ne ngejja ng’olulimi lw’ekide

    69. Newandibadde tetonnye : ebire tubirabye

    70. N’ezikookolima : gaali magi

    71. Nfulumire ku mugumu : nga y’anaasika

    72. Nfuuyira zirwana : wakasanke mu lwa mpanga

    73. Ngabo nzira : ogirabira (= ogimanya) ku biwundu

    74. Ngabo tekyala

    75. Ngajaba : yeebakira emikono gyombi ne yeerabira ababbi

    76. Ng’akwata nimpaayo – – ( Kwata n’owaayo: )

    77. Ngalaba : ng’alinda luwombo

    78. Ngalo njereere : ziwoomera nnyinizo

    79. Nnaana bizitowa : ontikka muzigo (oba bbumba)?

    80. Nga ndi masane! : enzirugavu okuzaala amata ameeru!

    81. Nnaana tabuulirwa kaama

    82. Nga onoobiyinza? : nga bawadde gw’atayagala

    83. Nga toba ku ebyo : ataalimye anaafumba? ( Weeyogeza ng’ekitaalimye: )

    84. Nga azzeemu : ng’agula omugumba omunafu

    85. Nnenda eno : lw’aguzza lw’akubuulira

    86. Nnende nfumbire omusajja : bwe ligwa mu vvu, y’asooka okulya

    87. Ngigyeyo omwoyo : ng’asotta emmere y’embwa

    88. Ngo tebuukira walungi : buli lw’ebuuka, nti ebadde endidde

    89. Ngujuuba : bw’egabega bw’egalya (or: bw’agabega bw’agalya)

    90. Nguve ku ntono : ng’omuyala asanze we bafumba

    91. Njala akukulidde mu kibondo

    92. Njala : ) ebuza amagezi ) ekeeta ) ekimbya

    93. a Njala : evumbula

    94. Njasa biggu : ng’omusamize akuba emiggo

    95. Njawukana : eva ku mugga

    96. Njogera bye ndaba : nti emmese tenywa mwenge nti mu kita ebadde enoo-nyemu ki?

    97. Njogera bye ndaba : nti Gatuulemu wuuyo ajja

    98. Njogere nsambye : kabaka amuyita kalaka (= kalatu)

    99. Njola ki? : ng’ayola akagubi

    100. Njuba ebireese

    101. Nkaabira mubikire : naye ankutukidde mu ngalo!

    102. Nkaajumbe : temala nju mpya

    103. Nkalakkalira : ng’ensiriba y’ejjanzi

    104. Nkaliriza eriisa enkoko – – ( Enkaliriza: )

    105. Nkalubo : ekira amaluma w’osikasikanya oliira

    106. Nkalye nkawulire : asula tiyeebase

    107. Nkejje nfu : ekira ennamu okutambula

    108. Nkerettanyi : bw’ogitega (or: bagitega) amenvu, erya bibombo

    109. Nkizzizza buggya : asinga kinkutuseeko

    110. Nkoba za mbogo : zeggya zokka mu bunnya

    111. Nkoko ekkuta – – ( Enkoko ekkuta: )

    112. Nkoko njeru : yeeyoleka kamunye

    113. Nkoko nnyoole : yalema Abaadi (= Abawadi)

    114. Nkoko tekuba A hen does not belch

    115. Nkoko teyota : bw’olaba eyota nga bagiwujja

    116. Nkoko ya mwavu : teggwa meebaza

    117. Nkoko yange ebuuka emiyagi : nnyiniyo obuuka omuvule? ( Okekkera ng’omusumba w’enkoko: )

    118. Nkoko yange eyo yeeyambula bbombo : nnannyiniyo we yeeyambula aba- longo

    119. Nkole mpoomye : Nnalunga yagoya amayuuni

    120. Nkolola nsajja egoba ngo

    121. Nkolo tenyigwa

    122. Nkomaga ka mwana : ye nkomaga mbi

    123. Nkonge bw’etekukuba magenda : ekukuba amadda

    124. Nkonge ya muvule : nnantagwira kyeya kimu

    125. Kkonkome bbi – ( Ekkonkomi: )

    126. Nkuba eritonnya ddi? : emutonnya mu kamwa

    127. Nkubaguliza nga lw’ebibo

    128. Nkuba teyaza kyayo : singa ekitoogo bakitemya mbazzi

    129. Nkubye mu kisaka ejjinja : kuwulira bivaamu (= okulaba ekinaabuukamu)

    130. Nkuagirira okutega : bw’olitta olimpa (= n’oleeta omwange)?

    131. Nkumanyi muze : takuganya (= takulinda) kwetonda

    132. Nkusalidde ga nkolwa

    133. Nkusuulidde mwoyo :

    134. Nkutabadde : omunafu atabaala omulima

    135. Nkutaddeko abiri : ow’ettulu g’ateeka ku basengezzi

    136. Nkutuse buyiso : sikyadda mu ssasa

    137. Nkuwawaabidde : takuviirako awo

    138. Nkuwe nkuwadde) ekyanya : ow’amalibu ky’awa ennoga (= akiwa ennoga)

    139. Nkuyita okulaba : nga ow’amalibu asanze bafumba ebikongo

    140. Nkuyigiriza okutega – ( Nkulagirira okutega: )

    141. Nkuyiire nkuwe akanyama akabisi owuute otuzzi

    142. Nkwane ono nkwane : talema kugwa mu kabi

    143. Nkwatanyekwatanye : Kalambi ne Bbira

    144. Nkwatiraako : si bumbowa (= tafuuka mumbowa)

    145. Nkwegaanyi : omuggo akwekwesa

    146. Nkwesambye : Nnasswi mugalabi

    147. Nkwesiga : omukazi munafu yeesiga nnyazaala we

    148. Nkwetegule : ejjanzi lyetegula muzadde

    149. Nkwettire : amasanda gettira enswera

    150. Nkyatudde ku mmere ya baze

    151. Nnaabalira ku lugoye : entungule ziwubira

    152. Nnabaana bangi : eggobe ntitti (= ttitti)

    153. Nnabe-ffulula-biswa

    154. Nnabe zzisa : ng’ekiti ky’embazzi ekizisa ginnaakyo

    155. Nnaabikyusa : ng’omuganzi aloopa (banne)

    156. Nnabugwamu : ng’ow’e Ssambwe

    157. Nnabwekomba : nga kadduubaale asebeya

    158. Nnabyejeeguula ng’enswa : tennaba kutuuka gy’egenda, ng’embugo esuula

    159. Nnabyejeeguula : ng’omuwuulu agaba nsimbi

    160. Nnabyewanga : ng’akaliga akaliira mu nte

    161. Nnaafiira ku kinene – – ( Ndifiira ku kinene: ) Rowl

    162. Nnaagazina dda : ye agenda nago (= nga tagayinze)

    163. Nnagenda ne kye bannambye (=– bakuwammye) : ng’enuneeme etodde

    164. Nnaggerenjula : bw’akuyita okulya akugeyera emmere

    165. Nnaggerenjula : ng’eddimi ly’enjala

    166. Nnaagunywanga ne nsulayo : nga gy’agunywedde gy’akwanye

    167. Nnagutta : n’alindyamu olukwe

    168. Nnajja kulaba nnyabo : bw’atambula (= atuuka) abuna ekyalo

    169. Nnajja n’ebyange : bitanga ayonzesa mbuga

    170. Nnajja n’ebyange : ne binyiriza embuga

    171. Nnajja okumala : tamala mbale

    172. Nnajjukiranga ne nseka : nga si ggwe bakigambye

    173. Njakablito teyeesigwa

    174. Nnaakalyako ani? : abula gw’akkusa

    175. Nnakamwa ntette : ng’ageya gw’ayita naye

    176. Nnakamwa ntette : ye yabuulira nnyini ttooke, nti ettooke ly’emmanju lyenge-dde

    177. Nnakapanka : ng’omukazi akalakata nkumbi nti osiimuulako ki? kuliko ttaka?

    178. Nnakatandaggizi : talera wa mugumba

    179. Nnakatintigiri : ng’omuzaana adduka obuko

    180. Nnakawangiza-nkoto : ng’omukazi aloota ennoma ezirawa

    181. Nnakawere akankana : ng’alabye amuweereza

    182. Nnakawuka : we kagwa mu nvubo amansula

    183. Nnakikubye : tatuuka ku nsonga

    184. Nnakkwale tanfuga : nga si mugole we

    185. Nnakubyejuula : ng’omusanvu gw’oku nju ne nnyinimu gumukuba

    186. Nnakuddamu ntya, jjo? : bw’akukwata takuta (or: akusiba akunyweza)

    187. Nnaakukomeka effumu : omukadde akomeka luggi

    188. Nnakula sibbye

    189. Nnaakuliriranga : ebiwaata ngululu (= mawaata ngululu)

    190. Nnaakuloga empyangira : kabootongo z’aloga omuluvu

    191. Nnaakumala amamiima : nnabanfuddu ge yamala nnabbubi

    192. Nnakumanyanga : eyakumanyanga bw’avaawo, ekkubo liziba

    193. Nnaku musana – – ( Ennaku mufunza: )

    194. Nnaakussa ekkande : nti kasooli wa kuno tayera awunda awo, ng’ogwa nna- kande kusaawa

    195. Nnaakuyigiriza ag’enkolwa

    196. Nnaku z’abato : n’atazaala akuba

    197. Nnaku za mbwa : n’atagifuna aboggoza

    198. Nnakyemalira : ng’engalo ensajja

    199. Nnaakyesaga : nga ttu ly’empande

    200. Nnakyeyitize : ng’ezzimu eggumba

    201. Nnakyeyombekedde gw’ayiisa : gwe gumusambya (= gumukubya)

    202. Nnalemwa ebbuzi okutuga : terintunuulidde? ( Anaalemwa ebbuzi: )

    203. Nnali nkirabye : enseenene eva ku mumwa gwa nsawo

    204. Nnaalinnya : omukazi talinnya nnyumba n’egwa munyale

    205. Nnaaliira mtofu : ng’alina gy’aliira

    206. Nnalubamba : ng’amatu g’omulwadde

    207. Nnalubwa : tagenda gy’atuuka

    208. Nnalukalala : muzira asegulirwa mu kkubo

    209. Nnalukoola : all mu kibira amayu gaggya

    210. Nnalulaba : y’alaba embiriizi z’ekiswa

    211. Nnalumanya ne Saalumanya : ffenna mwe tugendedde

    212. Nnalwalwayo ajja n’ettu : akira Nnayanguwako

    213. Nnalwanjo : alya mu basenze abaggya, ng’emmere bajja nayo mu migugu

    214. Nnaalwayo : ng’omuweesi ayota omuliro

    215. Nnalwemanya : enseenene ebeera ku mumwa gwa nsawo

    216. Nnalwemanyidde : ng’omukadde (= ng’omunafu) atabaaza embazzi

    217. Nnaalya bibiri : y’ayombya ennyama

    218. Nnamaka abirye : afa enjala

    219. Nnamaka abirye : tawongera mwami

    220. Nnaamanyira ku ki ebigenda ekiro : nga ne Mukwenda yeetikka? ( Osoboleza wa ebigenda: Ebigenda eldro: )

    221. Nnambaalaala : omwenge agunywa kisajja

    222. Nnampa-Idmalo : ng’ekkisa ly’embwa

    223. Nnampa-we-ngwa : ng’ekituuti kya mayiro

    224. Nnampa-we-ngwa : ng’envubu ab’oku ttale bagibuuza omusolo, nti ndi wa nnyanja

    225. Nnampa-we-ngwa : ng’omukatoliki atalina mudaali

    226. Nnamlira-zzibi : nti balo embogo yamutta nti owange bw’azitta atyo

    227. Nnamugalula : eyagalula ejjembe ly’enkoko, eribeera ku mutwe gw’embuzi n’eribeera ku kugulu kw’enkoko

    228. Nnamugenyi-mubi : y’asuza omulungi enjala

    229. Nnamulanda : ng’ekibere ky’embwa

    230. Nnamugereka : eyagereka amayembe ag’enkoko n’agaggya ku mutwe n’agassa ku magulu

    231. Nnamuldsa : ajjula emyungu n’emikonda

    232. Nnamulimi akutuse olwala

    233. Nnamungi tafumba : ayokya

    234. Nnamunnoona : ebbala erimu terimubuusa na nnyange

    235. Nnamunkanga tadduka buko : kubanga bw’osimba effumu n’ajja n’agwako

    236. Nnamunswa : alya ku nswa ze

    237. Nnamunye tamala kubala nnyumba : buli ezimbwa ng’agirinnyako

    238. Nnamunyi w’atubira : ) enkofu teyitawo ) aali tatengejja (= ayisa mu lyato)

    239. Nnamusava w’olumu : ) takusisa lunnyo ) takusuuza ntula

    240. Nnamusenga edda : effumu akwata lya nnembe

    241. Nnamwanjula : nsawo y’Abagwe

    242. Nnaamwatulira : abulako munywanyi we (= abulwako munne, = tabaako munne)

    243. Nnandiwunye mu kabwebwe?

    244. Nnangalongya : ng’atukula ogumu, agabanya ebiri

    245. Nnannimi-bbirye : ng’Omunyolo ow’oku muzibo

    246. Nnannyini kabya : tayasa, abumbirira

    247. Nnannyini kasooli : y’amuwa abaayi bw’aba azikiriza, nti atuuse ekiryabaayi

    248. Nnannyini kiggwa ye akiweebuula : anti ng’akiriiramu emmwanyi

    249. Nnannyini kitiko : akkuta kibisi (= bubisi)

    250. Nnannyini maka : y’agoonoona

    251. Nnannyinimu ayomba : nti newakubadde ewunya, nze empoomedde

    252. Nnannyinimu bw’atabaawo : ebikere bitemba enju (= beetemba enju)

    253. Nnannyini mufu : ye akwata awawunya

    254. Nnannyini mulimo : takeera kwota

    255. Nnannyini ndwadde, nkugamba nti siisulewo nti leka kundwaza mwoyo

    256. Nnanoga taba : ne mbulwa emmanvu

    257. Nnantabuulirirwa : alisaabala obw’ebbumba

    258. Nnantabwaza (= nnantabweyaliza) : akuba mu ly’enkejje obusomyo (okunyu- nyunta eggumba lyayo)

    259. Nnantagambirwa muka-sse : aligambirwa nnyina

    260. Nnantagambwa kabi : ng’ekkubo erigenda mu ffumbiro (= ng’ekkubo ly’omu kiyungu)

    261. Nnantaganyula : ng’omunafu omugumba

    262. Nnantaggwa buto : ng’akafuba k’ennyonyi ak’enkulu n’ak’ento babubaaza bumuli

    263. Nnantaggwa buto : ng’ekifuba ky’ennyonyi baagizaala ku Myanga na kaakati bakibaagisa kamuli

    264. Nnantaggwa malambula : ng’omukwano gw’olusuku

    265. Nnantakiika : nti embuga egabula baganzi (or: eby’embuga biriibwa baganzi)

    266. Nnantalabikalabika : ng’ekimuli ky’endaggu

    267. Nnantalaga : abula obwagaliro

    268. Nnanteebuuza : atema eteri ndagire (= atema eritali ddagire)

    269. Nnasajja : ng’omugga omufa ensonzi

    270. Nnasajja : ng’omugomo (= omuya) ogutta emmamba (= ensonzi)

    271. Nnasala ngatto : kwewonya maggwa

    272. Nnaasiwa mu (kaato) kange : asiwa mu ka bukuku

    273. Nnasuze lungaaya : asekera wa npenda nalwo

    274. Nnatta aga n’aga : embwa yagatta Nnamugonga

    275. Nnaatwala kalungi : mu kibira avaamu atyo

    276. Nnawalubwa : tagenda gy’atuuka

    277. Nnawolovu : tattirwa ku bbala limu

    278. Nnaayitanga ku lusozi : aboola ab’oluganda

    279. Nnaayitanga n’abagula : abayiisa gubaggwaako

    280. Nnazaala omu : kwewonya obugumba

    281. Nnazikuno ajeemera kabaka : ng’azimba Bunyolo

    282. Nnazze kulya : agenda njala

    283. Nneegendera : bw’afa omuliwa nga ggwe wamutuze

    284. Nneekutte ku mugongo gw’enjovu : sigenda kufa nnyanja

    285. Nnengejja nga olulimi lw’ekide

    286. Nneesittadde ku jjinja : ngudde ku lwayi

    287. Nneetambulira makubo gange

    288. Nnuma kigumba kyange : bwe bukodo

    289. Nnume tetinta ng’omugongo

    290. Nnyama ntono : okaayana eri mu ngalo (or: mu nkwawa)?

    291. Nnyina abaana bangi : eggobe ntitti

    292. Nnyini eka w’ataba : ebikere bitemba enju

    293. Nnyini ffumu : tasubwa nnyama

    294. Nnyini kakomo : bw’akusaba, ossaawo mukono

    295. Nnyini kamwa : y’akagerera ennoga

    296. Nnyini kiggwa (or ssabo) : y’akiweebuula

    297. Nnyini kitimba : tasubwa nnyama

    298. Nnyinimu akugoba : nti nnaasula mu bisegguusi?

    299. Nnyinimu atiibwa

    300. Nnyinimu w’atali : ebikere bitemba enju

    301. Nnyini mwana akubuulira : ko ggwe Bambuulira

    302. Nnyini nju w’atabeera – – ( Nnannyinimu bw’atabaawo: )

    303. Nnyoko abanga Omunyolo : n’akuzaala mu kika

    304. Nnyongereza teba ntono – – ( Ennyongereza: )

    305. Nnoonya akalungi : avaamu atyo

    306. Nnyonyi ntono : yeekemba byoya (= eyala byoya)

    307. Nnyweredde ng’akayinja ak’e Nnalubaale

    308. N’ojja olimba : nga limuyiseeko

    309. N’omugezi awubwa : omuweesi ekyamuzimbya ku kkubo kulagirirwa

    310. N’ow’emu : akoomera

    311. Nsambu nkadde : ekuliisa amaluma

    312. Nsambu y’ewala : ekuliisa kiro (= lwa ggulo)

    313. Nsambu y’ewala : temala njala

    314. Nsawo tebba : kya mukama waakyo

    315. Nsawo y’omukulu : tebula zziika (= tebulamu zziika)

    316. Nsawo ya mukulu wo : tekuterekera

    317. Nsaaze busaazi : nga gw’asabye amummye

    318. Nsekedde mu kikonde : ng’omuwuulu asikidde abataano

    319. Nseenene : nva lugendo

    320. Nsiba byange : amala ebyayi mu lusuku

    321. Nsiba-mbi : edibya mutere

    322. Nsibirwa : lw’efa lw’emanyika nnyiniyo

    323. Nsiko : teyomba

    324. Nsiko : etuyana kiro

    325. Nsimbi emu : tekuba nnyonyi

    326. Nsimbi emu : tennyombya nga wa luganda y’agitutte

    327. Nsimbi mbi : ewoomera mu kyasa

    328. Nsimbi tekubalirwa munno

    329. Nsimbi tezeeyamba : omutego azitega gumu

    330. Nsimbi : ziwoome

    331. Nsimbye bwanda obutavaamu

    332. Nsirikirirwa nfiirwa : bannyinaze babiri, enkoko emu!

    333. Nsisinkano teba – – ( Ensisinkano: ) Munno

    334. Nsobeddwa eka ne mu kibira – – ( Eka ne mu kibira: )

    335. Nsolo imenyi : bw’esula ku kyalo timwebaka

    336. Nsujju mbi : ekunamira ku lulyo gye yava

    337. Nsukusa ekulira ku kiteme

    338. Nsula mwange : omuwuulu y’amegga

    339. Nsumulula osuna : ebiyiika by’oyagala? ( Nsima otakula: )

    340. Nsuuta ani? : nga nsuuta omwana wa mwannyinaze, zooboota

    341. Nswa emu : ekira eddembwe

    342. Nswaswa eteyanula – – ( Enswaswa: ) Rowl

    343. Ntadde : omuti guta malagala

    344. Ntamala : nga agafumbwa mu kkobe

    345. Ntaama ngevvu : bw’ogirabako omukira nga ya mugagga

    346. Ntambaazi ya kinyomo : erinnya omuti nga yeetisse

    347. Ntambudde ssajja na mwana

    348. Ntamu nnyangu – – ( Entamu ennyangu: )

    349. Ntasumika bagitonda wabiri : olubugo nga balututte

    350. Ntegedde : ow’omumwa ategeera ng’awudde

    351. Ntegedde : y’amala abuuza

    352. Ntemera ku lwa jjo : tamiramira, akoowa

    353. Nte nsibe lw’efa : lw’emanyika (= lw’emanyibwako) nnyiniyo

    354. Ntetenkanyiriza ekonya obuto

    355. Ntudde entende : ng’omubbi ow’omu nju

    356. Ntudde kitebe – – ( Atudde kitebe: )

    357. Ntudde nkaabirwa : okutu gye kutuula ku mutwe agandibadde emabega, gye kukuba embuga

    358. Ntudde obukonge : Ndawula bwe yatuula e Kyebando

    359. Ntujjo nnungi ekusanga na ga lwayi

    360. Ntumwa : tefiira gye baagituma

    361. Ntuuse mu lyaffe eddemeezi : abula w’alya ekyemisana

    362. Ntuzza-liiso : ng’embwa ekubagiza ginnaayo

    363. Ntwalanga ku nkumbi ya nnyabo : asula tiyeebisse

    364. Ntya mu kibira : nga ekyamukangawo akimanyi

    365. Nva enkoto : nga ky’ayokya kiwedde

    366. Nva nnungi : tezirwa kugaga

    367. Nva za munyaga : ziriibwa wa mwoyo

    368. Nve nkoto – – ( Nva enkoto: )

    369. Nvuddeko bukumbu : ng’enkuyege bw’eva ku ggi

    370. Nvuma ne nvuma : tizaagalana

    371. Nzaala mbi : ekira obugumba

    372. Nzaala mbi : teweekula

    373. Nze embaga zantama : nga ne ky’ayambala

    374. Nze mpoza bitono : nga bya musigire

    375. Nze ndi kkubo lya mulimba : likala mmanju

    376. Nze ndi nseera bweru : bwe nsa bugenda n’embuyaga

    377. Nze nnakula sizannya : nga ayambadde olukadde

    378. Nze siyombayomba na nnanda zange – – ( Siyomba: )

    379. Nziddemu nziddiddemu) mu bisolo byange : nga mulimu n’ez’embuga

    380. Nzigyeyo omwoyo : ng’asotta emmere y’embwa

    381. Nzira galeekaana : ate ayiisa mwenge

    382. Nziyako (= nzigyako) akajanja ak’omuddukizi w’omuliro

     

  • Engero za Baganda eza – O  – Luganda Proverbs prefix – O 

    Engero za Baganda eza – O  – Luganda Proverbs prefix – O

     

    luganda proverbs engero

    1. Oba tonnagwa : tolaba kikusudde

    2. Obeera ndegeya : wakunzimbye ku mumwa

    3. Obikka ku maddu : nti malako ennyama, om eggumba

    4. Obireka n’otobyegomba

    5. Obisse bibiri : toobojjerere

    6. Obonaabona n’otafa

    7. Obonyeebonye : anti alaba alonda

    8. Obubaka tibufa nga butunzi

    9. Obubbi ntadde : omukazi ali mbuga

    10. Obubuiwa : bukuliisa (ettooke) eriri mu maaso ga mumw

    11. Obubulwa ggye : busembeza emmandwa ku lubu

    12. Obudde butuukira mu muti ne bukya

    13. Obudde bwe buziba : ennyonyi yeeyuna omuti

    14. Obudde okuziba : buliisa enkoko omuddo

    15. Obufuzi bw’emmese : bulabika ng’omaze okuzimba enju

    16. Obugagga ntuuyo : zittulukuka ng’ogenda, bw’owummula nga zikuggwako

    17. Obuganzi bukayanirwa

    18. Obugayaavu : buzaala obunafu

    19. Obugezageza bwatta ssessolye

    20. The tcher goes so often to the well, that it is broken at last

    21. Obuggya dda : bukaza omuvule

    22. Obugulu obutono : sibumegga nnyinibwo singa nnamunye atambula agwa

    23. Obugwagwa nnyumba mbi : ogiyingira ogiraba

    24. Obukaba bukulya amaaso : nti Wamala yansiiwa

    25. Obukadde buwoomya ki? : wazira ttooke

    26. Obukadde magezi

    27. Obukadde obusinda amaluma : bwetisse mukene all ku mutwe

    28. Obuuka ebikoomi ng’atalya bbugga

    29. Obukaajumbe : anaabusereka akeera

    30. Obukojja bwa munno si bukojja bwo

    31. Obukopi bugezza effuba : ng’omutono ye mwami

    32. Obukulu buwoomya ttooke

    33. Obukulu ndege : tezivugira mu mazzi

    34. Obukya buziba : omwana alwa ddaaki n’ayisa amuzaala

    35. Obukyala gwe bunaalema : abuwa musebeyi

    36. Obukyawe bukira eddogo

    37. Obulamu kye kiwango : akiina Baabutiko

    38. Obulamu ttooke : bugenda n’abulabirira

    39. Obulema tebujja dda

    40. Obulimba bussa nnannyinibwo

    41. Obuuliridde nfuuzi : kwennyamira

    42. Obulonda mke : tebugaana njala kugwa

    43. Obulo sibubadde bwange : bubadde bwa Ggulu-ddene

    44. Obulungi : bukira obugagga

    45. Obulungi bw’enswa : atalya mutima gwa mbuzi, aguliira mu nswa

    46. Obulungi obwemanye : ) bukuvumya akusinga ) bukuyisa ku balya

    47. Obulungi obw’ensozi : obulaba oziri wala

    48. Obulungi si ddya : (wabula emsa)

    49. Obulwa bukula musaayi : nga si ggwe bafumise oba nga tebafumise wuwo

    50. Obulwa dda : ) blikaza ekkubo ku lwazi ) bukutula empalaata

    51. Obusajja bukirana

    52. Obuuse nga wajjiibwa

    53. Obusenze bukala mmuli

    54. Obusenze butta munaanya

    55. Obusenze butunda

    56. Obusenze bwe bubula : enswa entunda ezimba ku mpawu

    57. Obusenze muguma

    58. Obusigire bwassa Kisolo

    59. Obusigire tibugenda na kabukuto

    60. Obusiro tebutuukirwako : ajja okulya, atuukira ku ndagala

    61. Obusiru obwakukutte bwa nkoko : bugizaalisa mu kyalo

    62. Obusolo bwa kuno tebufa : atega gumu

    63. Obusolo gye babutta, gye bweyuna (= bweyunira) : ) ettooke eddene mu ggwaatiro ) omumonde omunene gukula mu lusalosalo

    64. Obusungu mugenyi : ) akyala n’addayo ) amala kuboonoonyesanga yeege-nderera

    65. Obusungu obungi : bukulagiriza emmese olusuubo

    66. Obusungu obungi tebukkutibwa (= tibukkutwa) : Nnamunkanga eyabukkuta ekifuba kabanika

    67. Obutaagalana bukusabisa mukazi wo gonja

    68. Obutaagaane : bwambaza embwa olukoba

    69. Obutajja kundaba nnasiba embwa ku lumbugu n’egaana okululya?

    70. Obutalya ku kimu bwassa wajjiibwa

    71. Obutamanya bya mwaka : ng’emmese esula omw’omulima

    72. Obutamanya nnaku : bukuzza gye baakutunda

    73. Obutamanyirira : bukussa n’omuyombi omukago

    74. Obutamanyirira butabaaza anaafa

    75. Obutamera kirevu njuba ya kikome, ekuliisa lwa ggulo

    76. Obutannaziba : tobusindikirako maluma

    77. Obutasaba baabulekera (= bwalekerwa) mbwa

    78. Obutaseeranye : tibugulibwa

    79. Obutateesa buliisa abasatu amaluma

    80. Obutazimbye : bumanyibwa nnyinibwo

    81. Obutekkaanya : bukutindiza balugu (ng’enva ze balya zirandira wansi)

    82. Obuteeraba : bukuvumya akusinga

    83. Obuteeraba : bukuyumya akusinga

    84. Obuteerowooza : ng’omuwuulu asaba eggobe

    85. Obutetenkereza : bukonya obuto

    86. Obuteewuliriza bunyooza ennanga amatu

    87. Obuteeyinza : bukuyisa mwannyoko omugenyi

    88. Obuteezhnbira bwassa wangiri

    89. Obutise amatama : nga nnyinimu abba

    90. Obutooke obuto : bugwana nva

    91. Obutono buwanira mu ssanja

    92. Obutta bumenya omulawo : oleeta kibaya

    93. Obuwa si bugabane

    94. Obuwulize : bwe buganzi

    95. Obuyingirwa : bwambaza embwa olukoba

    96. Obuyisi bw’omu : nsega y’ebika (= bulangwa nsega)

    97. Obuzadde bulima : obusuutira we babwagala (= okwenyumiikiriza we bakwaga-la)

    98. Obuzadde buwonya embooge

    99. Obuzaaliro si bwe bukuliro

    100. Obuuza nga Munyolo : akulaba n’ensuwa, nti ogenda iziba?

    101. Obuziina gye babwagala : gye babwaliirira

    102. Obwami ddiba lya mbogo : terizingwa omu

    103. Obwami kyambalo kyazike : nnannyinikyo bw’akikuggyako togaana

    104. Obwami obutono : bukubuuzisa gwe watumye

    105. Obwangu bw’okuwa : bukuweesa atalikuwa

    106. Obwato bufa magoba

    107. Obwavu bukuliisa ebikonde

    108. Obwavu bukuliisa nnyoko

    109. Obwavu si bbanja

    110. Obwavu : tebukozza

    111. Obwavu tebukumanyisa gw’oyagala (or: akwagala)

    112. Obwayiise : tebuyooleka

    113. Obw’effumu : si bwa ddogo

    114. Obw’ekiro : buzimbya enkadde

    115. Obwemage bwe balanga : enjobe mu lusa

    116. Obw’enkya : si bwe buziba

    117. Obwerabize obungi : bukusabya gwe wamma

    118. Obwesige bull nnyanja

    119. Obwewussa bussa (= bulitta) emmandwa

    120. Obwezizingirire empogola erwana mu ntamu

    121. Obw’olubuto : butwala obw’omutwe

    122. Obw’omu buwola(ko) oluuyi

    123. Obw’omulimba : tibukeerera

    124. Obw’omutambuze tibuziba : enjuba egudde ng’agamba: npenda emisana

    125. Obwosi : buluma gwe bwaddako

    126. Odaagana (= otaagana) : ng’olwatta Mpoobe e Kibiri

    127. Oduula nga musibe : nti tunaalaba okusula nga tutunula

    128. Ofanga n’otodda : ng’omuntu anyaze omukazi

    129. Ofubye ng’akagobera embuga : nti bwe kanaalya omwana wa beene

    130. Ofudde lwa nnabamba : kawumpuli lwatta omuwazi

    131. Ofuna by’okuwola : nga n’eby’okuwoza olina

    132. Ofunda n’ekkubi : n’otobeera na ddiirawamu

    133. Ofunda ne ndikutunda : n’otobeera ne ndikutta

    134. Ofunda n’omuko omwavu : n’akulambula

    135. Ofunda n’omuliika : n’anunula (= n’akukuliza) abaana

    136. Ofuuse gw’e Kanyanya : mugenzi tazze

    137. Ogandadde nga mubbi ow’omunnyu : bakuba omwana

    138. Ogawadde ekyanya : ow’amalibu ky’awa ennoga

    139. Ogenda Mbaale mu Baganda banno

    140. Ogenze mugga : okuggwa kko? ( Twazze mugga: )

    141. Oggye ku mutwe : otadde ku kibegabega

    142. Ogira ekiniga : ng’omusezi alya menvu

    143. Ogitte : eva mu nnyiniyo

    144. Ogobedde munya mu ssubi

    145. Ogubula eyeeguya : tegukala

    146. Ogudde ddalu : kuwona mabanja

    147. Oguddinnanwa : gwe guwunya ensiwo

    148. Ogufa : tegumanya yasooka

    149. Oguggwa : tiguba muka

    150. Ogugutana : ng’ow’ejjanga aloga muliro

    151. Oguliko engalabi : tegunywebwa atudde wamu

    152. Oguliko omuseesa : teguzikira

    153. Oguli ewa munno : tegugoba ngo

    154. Ogummuka gwe gukuwa nsogola

    155. Ogunaanyula : tegubuulirwa muwemba, ne bw’ossaako omungi

    156. Ogusula gwe gukuwa emza : nga mulungi

    157. Ogutaggwa : guboolanga abataka

    158. Ogutaliiko mpeera : gugenda n’okwebaza

    159. Ogutali mutume : tegukalaza (= tigukaluba)

    160. Ogutannammuka : tigukukubisa mwana

    161. Ogutateganya : siguzza nvuma

    162. Oguzziddwa omuganzi : omukyawe y’agumala

    163. Ogwa gonja (= olwa gonja) teguggwe? : nga y’alidde eky’engabo

    164. Ogwa kasajja gundeebuukanya : nga ggwe wamwezaalira

    165. Ogwayambadde : teguyita bwereere (= teguyitira awo)

    166. Ogw’edda : tigukutwaza lubugo lumu

    167. Ogw’embuga : gutta atagenze

    168. Ogw’embuga : ) gutta ogw’obuko (ng’abakazi alina babiri) ) tigulekeka

    169. Ogw’embuga : tigunywebwa atudde wamu

    170. Ogw’enzikiza : ayogedde ku bule

    171. Ogw’obulungi gwa butiko : bw’oggyawo, tokkatira

    172. Ogw’okulya : gusuula emmese mu kita

    173. Ogw’omulimba : tiguggwa mpoza

    174. Ojaganya ng’eyakimeza okw’enjala : nti obutiko bugenda kukuloga enjala?

    175. Ojaganya ng’ow’amalibu alonze erinnyo

    176. Ojambagiza : ng’akimezezza okw’enjala

    177. Ojjanga kwa nkuba : omusana guleeta enjala

    178. Ojjanga n’olya : y’akuyita Lubuna miryango

    179. Ojjukidde okwebikka : ng’obudde bukedde

    180. Ojjukire okwebikka : nga bukyali! ( Ojjukidde okwebikka: ) Think of your bedding (place for sleeping etc

    181. Okaabidde mu lwabya : wakasanke mu lwa mngu

    182. Okaddiwanga mubiri : n’otokaddiwa mwoyo

    183. Okalaliddwa : atali muwadde okuyoya obusera

    184. Okambagga (or: Akambagga) : ng’embidde ematirewo

    185. Okamaze : omufumba kafu lw’eggulo

    186. Okangabadde : ng’ebyanika taba

    187. Okansombedde : kimbagaya yakasombera Balama

    188. Okantyabidde : akalimu obuwuka obw’okunnuma

    189. Okekkera ng’afumba ekiro : nti ssebo tunaaliira mulyango

    190. Okekkera ng’afumba obutooke obuto : nti ewaffe tulya ga bisiisa

    191. Okekkera nga agula endiga (= ente), nti yaswala amagulu

    192. Okekkera ng’agula nnandere : nti taliimu maaso k’oli nti ogula wa kukuuma waka?

    193. Okekkera nga muk’omugoma nti ow’omwange leero agireese n’amayembe gaayo?

    194. Okekkera nga nnakawere omuli w’omunnyo : nti nnawonyezza kigongo

    195. Okekkera nga nnakyeyombekedde asima kandi : nti kuliko nsajjalala nti ekiku-suza wekka mu nju, ng’abasajja ball mu ttaka kiki?

    196. Okekkera ng’ava eri omulwadde, nti twasuze ku bugubi

    197. Okekkera ng’eyakafiirwa, nti leero nadda wa? : nti abaflirwa edda balaga wa?

    198. Okekkera ng’eyeekubye ekigere : nti simanyi kye kinanviiramu

    199. Okekkera ng’omufumite : nti omusaayi gupnenze munda bulijjo gubeera wa?

    200. Okekkera ng’omugemuzi agamba, nti enkukunyi zampaatidde ku kibuga

    201. Okekkera ng’omugenyi eyaliiridde amaluma : nti omutwe nnassa wa? nti zinga mu ddiba ly’embuzi

    202. Okekkera ng’omukazi agamba, nti emmanga eyo tekyayita kambe

    203. Okekkera ng’omukazi omuzadde : omwana bw’akaaba, nti bwandu bwe bumu-kaabya

    204. Okekkera ng’omulimi w’empindi agamba, nti empindi zange zali ziri matuba, ennyonyi zizirya

    205. Okekkera ng’omukunku eyeekoonye : nti ekigere nkimazeewo nti kyakume-zeeko ggulo?

    206. Okekkera ng’omulwadde agamba, nti kasookedde ndwala siryanga ka mu ntamu wabula obusera bwe nnawuseeko eggulo bwokka

    207. Okekkera ng’omulwadde anywa taba : nti kasooka ndwala siriimu mukka

    208. Okekkera ng’omulwadde nti lulinzita nga lummazeemu amaanyi

    209. Okekkera ng’omulwadde nti olumbe lwanzimba munda

    210. Okekkera ng’Omunaawa : nti Kabaka yandeka nga ndi gongo nti kaakano oli muluusi?

    211. Okekkera ng’Omunnabuddu : nti Kabaka yantuma lwokyo nti olwokya Kaba-ka baluggya Buddu? ( Oyogedde bitajja: )

    212. Okekkera ng’Omunnabusiro asima balugu : nti laba Kabaka mwe yakkira! nti owuwo ali mu ttaka?

    213. Okekkera ng’Omunnabuyaga : nti leero Kajeerero ali Nkira, nti edda ggwe wamukiranga?

    214. Okekkera ng’omunnabyalo : nti singa bantadde ne nzira eka, ne ngwa ku mu-gagga nti ab’omubyalo ne basinga bakatikkiro? ( Okekkera ng’omwavu: )

    215. Okekkera ng’Omunyolo : nti okulya enkolo, ndya lumonde nti enkolo, nga lumonde gw’olabye?

    216. Okekkera ng’omunywi w’emmindi : nti mundeke, sikyalimu mukka

    217. Okekkera ng’omusasi : ) nti nnyabo nnyinyika! ) nti nnyabo tompeereza mutwe?

    218. Okekkera ng’omusumba w’enkoko : nti ez’ewange ziwalalira emiyagi nti ggwe, nnannyinizo owalalira emivule? ( Amampaati aga nnyini: )

    219. Okekkera ng’Omuyima (= Omulaalo) : nti nnalidde enjuba nti eyiyo eri munda?

    220. Okekkera ng’Omuzungu : ndiyo nti wabuna nsi? You talk nonsense like a White man, constantly saying ndiyo

    221. Okekkera ng’omwavu gwe bakwatira ku kibuga : nti singa bantadde ndaba omugagga mu kyalo, mmugwako

    222. Okekkera ng’ow’ebbango, nti bwe nnatuuka, nnagwa bugazi

    223. Okekkera ng’ow’ebikaata ava embuga : nti tukutte mu gabuguma

    224. Okekkera ng’ow’ejjanga abika, nti gundi yafa : nti naffe tulabye bw’okaaba

    225. Okekkera ng’ow’ekirevu akuma omuliro : nti bampeeyo essubi nkume omuliro nti eryo lyonna erikuli ku mumwa?

    226. Okekkera ng’ow’ekiwalaata abika : nti olumbe lwanjera (= lwatwera) ekyenyi nti naffe tulaba bwe kikutte e Bule ne Bweya

    227. Okekkera ng’ow’ekiwalaata akka (= akkirira) ekibira : nti munterekera ku butta nti tunaabuseera wa omaze okugenda n’olubengo?

    228. Okekkera ng’ow’ekiwalaata alabye engo, nti bwe ndabye ensolo, enviiri ne zinva ku mutwe

    229. Okekkera ng’ow’ekiwalaata : nti ekimmalako abaana sikimanyi nti kyo ekya-kumalako enviiri wakiraba?

    230. Okekkera ng’ow’ennungu eyalya obwa-Mukwenda : nti obuyinja bunnyiga (= bunkosa) nti va mu Mityana (= bwa-Mukwenda), ogende (= olye) Buyinja

    231. Okekkera ng’ow’ettulu agamba nti mpaayo amazzi, nnaabe mu maaso

    232. Okekkera ng’ow’olukuku azimba e Kyaggwe

    233. Okekkera ng’ow’oluwumu ayombera embuga, nti tuva kusasambuka n’omwami

    234. Okendedde : ng’omulima atalya mmere ye

    235. Okerebera : ng’ow’ekirevu akuma omuliro

    236. Okikinadde : ng’ensejjere eyingira enkaata

    237. Okinagguka : ng’azaala akuza

    238. Okinagguka : ng’omusezi awakanira endeku ejjudde?

    239. Okinsombedde – – ( Okansombedde: ) AEm

    240. Okirekanga : n’otokyegomba

    241. Okirimbire : omukopi talya ttooke Kabula

    242. Okkuse emirembe : leero owonga ogalamidde

    243. Okembye mu kya kkobe : eky’ettungulu kiwoomerera

    244. Okongodde jjawe

    245. Okoonye ku mmanvu : kuzuukusa kawundo

    246. Okoosekoose mu ga lumonde : anti tegamalako maviivi

    247. Okooye : banyaga

    248. Okoowodde abombye : kweyongera kukukuma

    249. Okuba kalakya : omwavu akakuba ku mmamba

    250. Okuba ndugga butannyuka?

    251. Okubennanya : ng’olutta ow’ettulu (= ng’olutta ow’erimu)

    252. Okubeera ku lusozi : ne weeyama olusozi

    253. Okubuga : ng’omugenyi atakkuse nti n’abakadde ab’enunanga nnaabasiibula

    254. Okubujjabujja : ng’ebbuzi eddume

    255. Okubula obuwolezo : butta abaana ba wamusu

    256. Okubula omwana : kwesituldra

    257. Okubuuza : si kuwaba

    258. Okubwesooka si kubulya : ) singa emmgama y’etta enswa ) ebigere ebi-sooka ku buliri biba mirannamiro

    259. Okubyeko kati : ow’ebikunku ku mpomero

    260. Okudaagana : ng’olwatta oobe

    261. Okuddaabiriza emimwa : ng’ayita baffe

    262. Okuddinnanibwako si kwagalana : singa essanja tiribabula lulagala

    263. Okudizza kaneene nsonzi

    264. Okuddiza guba mwoyo : ) omukazi omunafu asala ku lusuku lwe n’addiza ensiko ) emigga giddiza ennyanja ) n’owuwo akumma

    265. Okudduka omuwawaalo : ng’essolo eggumba

    266. Okufa si ombo : nti eridiba (= nti eridiba mangu)

    267. Okufuuwa omukka mu kisero

    268. Okugaba kuzibu : okuddiza guba mwoyo

    269. Okugaba kweterekera

    270. Okugandaala ng’enku enzige

    271. Okugenda ekipaaze : eky’omwanisi wa taba

    272. Okugenda ekiserebetu : nga njala

    273. Okuggyako omwoyo : ng’agotta ey’embwa

    274. Okuggya si kuzzaayo : kitaawo bw’afa tozzawo mulala

    275. Okuggyawo ekitayiro : ng’ow’obusa azadde ow’obuwala

    276. Okuggwa enkuuka : ng’omusezi ly’aggwa mu lutabaalo

    277. Okugwa ettente : ng’omukulu omukwate ku kutu

    278. Okujaganya : ng’ezzaana eddekere enju

    279. Okujja gawanye : ng’ebisesemye

    280. Okujjonkera : ng’ow’olufuba atakkuse lumonde

    281. Okujjukira okwebikka : nga bukedde

    282. Okukaaba ennyo : tekuzuukusa afudde

    283. Okukaabira ebitali bibyo : amaziga gamala gajja

    284. Okukembakemba : ng’atwala emyali

    285. Okukiina abaafa : nti olumbe lutumazeewo! ( Tufudde tuweddewo: )

    286. Okukinagguka : ng’azaala akuza nti owange saamunywerako ddagala

    287. Okukisulako : si kukimanya

    288. Okukizza munda : ng’akaabira eddiba ly’enjobe nti eddiba lyange litobye ebi-renge nti anti mu mazzi mw’ekulidde

    289. Okukola mbyone : ow’obusa by’akola ewaabo

    290. Okukuba akalali ak’engalabi eseka n’enti mu mubiri

    291. Okukuba embukutiro : ) omwavu z’akuba omugagga ) omukadde z’akuba omuyaiyu, nti gulya kabi ki?

    292. Okukuba engulegule : omusezi z’akuba ku ndeku nti waseranga mu bya nkago, ebya mbidde bye walekanga!

    293. Okukuba omwana : si kumunoba (= kumukyawa)

    294. Okukubiira ensingo (= essingo) : ng’ow’ettulu alamusa abangi (= abasatu)

    295. Okukulabako : ndabye ku muzi gwa jjinja

    296. Okukula : kudda buto, ng’ettungulu

    297. Okukulunga amalusu : ng’enkuyege ey’ekyanda

    298. Okukuma ekkungu : omubootongo ly’akuma mu luggi

    299. Okukuuma olubugo : lubaale nga mubbe

    300. Okukwata omukulu mu kiseke

    301. Okulaba ebinene si kuwangaala : abaalaba ku Bukya bandiwangadde

    302. Okulagulwa : kuzaala obulogo

    303. Okulamusiza ewa munno : tekiba kisa

    304. Okulangajja : ng’eyakasibira e aale

    305. Okulebera : si kugwa

    306. Okuleeta obukula : embogo ekyama

    307. Okulindiggula : ng’abika atali wuwe

    308. Okuliraana ennyanja : si kuliira

    309. Okulira nnyo tekuzza : singa Kaweekwa e Ggangu yankazze

    310. Okulokopya : nga ye anyaga emu

    311. Okulukumba : ng’ow’ebbango ayambalidde ebita

    312. Okulumya engabo amannyo

    313. Okulunga amalusu : ng’enkuyege ey’ekyanda

    314. Okulungutana : ng’emmese eruma omutwalo

    315. Okulungutana : ng’omutabaazi anyaze amagi

    316. Okulunze ennoga : ng’amannyo tegagyase

    317. Okulunze obulago : ng’ow’ettulu alamusa abali abasatu

    318. Okulwa e Buddu : gwe musujja

    319. Okulwa ku buko : kukuliisa mayiba

    320. Okulwa ku kyalo : ) si kukimanya ) kukumanyisa enkuba gy’efuluma

    321. Okulwa ku luggya : kukulabisa entumbwe za ssezaala wo bwe zaaswala

    322. Okulwa okutabaala : ensiisira alasa kibandwa

    323. Okulwawo kukusabya mukyala wo gonja

    324. Okulwawo : kwengeza enkana

    325. Okulya ekiguude : ensega ky’erya omufu

    326. Okulya enkolo : ndya lumonde

    327. Okulya ennunza n’ennunzibwa

    328. Okulya ennyingi si kugejja : singa enkoko yenkana nte

    329. Okulya ennyingi : si kuggwa maddu

    330. Okulya nnyo : tekugezza nkoko lulundulunduli

    331. Okulya ojjanga : akagere ta!

    332. Okuuma embwa ensajja : n’otokuuma nkazi

    333. Okumira ekirevu : okuyita emmere? T

    334. Okuumiira : ng’ow’ekirevu ayasizza endeku

    335. Okumussa akasiiso : ow’endali k’assa omukukumi

    336. Okumyuka amaaso : si buzira omukazi endegeya agobya ffunfugu

    337. Okunpanga amadda : n’otokunga magenda

    338. Okunguyidde ng’ey’omuluvu : w’alaba akalengejja n’akakutulako n’alya

    339. Okununkidde : ng’emmindi enkwatire ku ffumu

    340. Okupalappalanya : ng’atatte mukago

    341. Okusaba ndikulaba : ng’asaba eryenvu erimu

    342. Okuusakuusa nga anaakwokya : nti siigawo evvu

    343. Okuseka ebikette : nga muka omugoma, nti baze agireese n’amayembe gaayo

    344. Okuseka ekimwegeru (= ekimwege) : embwa ky’eseka mu lumbe lw’ente

    345. Okusekera mu bikonde : nga asikidde omugagga

    346. Okuseemyaseemya : nti tugenda okukoola emmere

    347. Okusigalawo kuzirinda : ng’omwana w’omufu y’asabye lubugo

    348. Okusiimuula engalo : kuva ku mukkuto

    349. Okusinziira (= osinzidde) ku ssinzi : n’ogoberera ekkobe

    350. Okusitukiramu : ng’eyatega ogw’ekyayi

    351. Okusiwa ensaano ku mazzi

    352. Okusoonooka si kubba : singa nnawolovu amaze ebintu (= amazeeko abakazi enkumbi)

    353. Okusula kudda buto

    354. Okusumika obulungi : si kuwasa

    355. Okutambula kuziiziina : asisinkana y’avuma

    356. Okutambula sserebu : ng’eyakwana ogw’okumpi

    357. Okuteebuuza : ng’olutta omuwere

    358. Okutegeeza kasiru : osooka kumuggula matu

    359. Okutengejja : ng’asaba oluwanga obulamu nti oyo teyafa lumbe?

    360. Okutitibana : ng’atuga omulalu

    361. Okutta ekibyamu : embwa ky’etta amagi

    362. Okutte enkofu : okayanidde ejjiba?

    363. Okutte gano ne gano : ng’agula omugumba omunafu

    364. Okutuubagira : ng’eyakaabira Nnamumwa

    365. Okutuula ekisajja ekikulu : embwa ky’etuula mu lumbe lw’ente

    366. Okutuula ekitebe : enjala ky’etuula mu lubuto

    367. Okutuula ekiyaziyazi : omugumba ky’atuula ku mbaga

    368. Okutuula olubuti : omubi lw’atuula mu balungi

    369. Okutunda mwoyo : ng’enkoko emirs ensanafu

    370. Okutunguutana : ng’amasiira amalonde

    371. Okutunula embebere (= mpwangali) : ng’omukulu ateetimba

    372. Okutunula kalyolyo : ng’embwa eyota ekikoomi

    373. Okutunula na kimaka : ng’eggumba eggereke ku nkolo

    374. Okutunula sseddoolo : ng’omukadde ayogereza

    375. Okutya okusekwa : omwana tayambala lugoye lwa kitaawe

    376. Okuvuma tikuweerezebwa

    377. Okuwakanya emmandwa : si kuyubuka mimwa

    378. Okuwa : kutereka

    379. Okuwangaala : ensejjere egula omuddu

    380. Okuwera enkolokooto ey’omuvumbuzi w’amawolu : ky’ajje avumbule, ng’akuba mu ngalo nti abanaagalya banaakuba mpina?

    381. Okuwola n’okwazika : bye bitta omukwano

    382. Okuwonga okungi : si kuzza lubaale (= si kuwuliza lubaale)

    383. Okuwoza tekubongola mannyo

    384. Okuwummula si kutuuka

    385. Okuyanza amagalo – – ( Oyanza amagalo: )

    386. Okuyitaba wangi : si bufuge

    387. Okuyita kungulu : ng’omuwuzi

    388. Okuyita okulaba : ng’ow’amalibu asanze ebikongo

    389. Okuyomba entulumuko : ng’ayomba (omukwano) ogukaze

    390. Okuzaala : kukira okutema ente

    391. Okuzaala kulungi : ng’olabako

    392. Okuzimbya entwiri : ng’omukulu agaba enkejje

    393. Okwagalana kyayi kya mso : bwe kitasoba(ko) tikitunga

    394. Okwambala bulungi si kuwasa bawala : singa akasanke kamaze abawala mu nsi

    395. Okwasaamirira si kumira : singa ennaana emira bugobo

    396. Okwebaka kufa : ye asiba oluggi (= y’akomeka oluggi)

    397. Okwebaka lulingolola : ng’omwavu omulekere

    398. Okwebambalika : ng’omunafu alima ku kkubo

    399. Okwefetta ng’omukazi omunafu : nti baze bw’alinvuma, ka ne nzita emiko-no sooka otte enjoka ezirya amatooke

    400. Okwegambagamba ng’ow’amalibu ayasira embwa : bw’eribulwa amannyo, ndigisongolera emmambo

    401. Okwegaana mulanga : endiga ndege, ente kide, embwa kyuma, embuzi mujugo

    402. Okwegendereza ng’eyafumbirwa wa mayuuga : bw’alaba ekkonkomi, ng’aga-mba nti anaaba ssezaaIa wange

    403. Okweggala si magezi : emirembe giva e mbuga

    404. Okweggyako ekigombo : n’owa busa azaalira ku luggya

    405. Okwegulira kukira okubba

    406. Okwekobereza : ng’afumbye gonja, nti lyako abiriridde

    407. Okwekuukuubya : ng’ezzaana eddekere enju

    408. Okwekuluumulula : ng’amale ag’ekyeya

    409. Okwemala eggoga : omulogo (= omusezi) lye yeemala mu lutabaalo

    410. Okwenyumiikiriza : ng’olugunju – – ( Weenyumiriza: )

    411. Okwerinda si buti : ensanafu etambula egaludde (= eteze)

    412. Okwesimba obulere : ow’ennombe akiika

    413. Okwesogolera kulungi : n’okomba engalo

    414. Okwesulubabba : nga nnasswi w’embwa

    415. Okwesumagga : ng’omusagga gwa Nnakkobyo

    416. Okweswalinga : ng’omunafu alima ku kkubo

    417. Okweteganya : nga lumonde akona

    418. Okwetematema : ng’omubi awonga nti njagadde ekibi kigwe wala nti ggwe bakusuula wala

    419. Okwettira ekitakwettidde : embuyaga ku jjinja

    420. Okwewuliriza : kunyooza ennanga arhatu

    421. Okweyenga : ng’aggya endoko

    422. Okweyisaako : ng’omwavu agamba, nti kiki ekinnuma?

    423. Okwezza ennyuma ng’ensama : yenkana nte, esuula nkiringi

    424. Okwogera amakuumuule : ng’aga lumonde

    425. Okwogera endibattiriro ey’omuyizzi : nti mala okunaaza omusu ojje onkulu-buute ku bigere nti omusu gwe mba nnaaza, ggwe baze gwe mba nkulubuuta

    426. Okwogera nnyo si kulya bwami : singa ennyonza erina obwami

    427. Okwogerera waggulu si kitiibwa : singa elvaana ye kabaka w’ennyonyi

    428. Okwo nno kukuumiira : ng’ow’ekirevu ageregeza

    429. Okwo nno kuseka nnyindo yankolera

    430. Okyaliza ntondo : nga kabu

    431. Okyemanyi Omunyolo : mwa Luwalira

    432. Olaba eyagenze n’ebyayi ng’adda n’olutala : ng’akatale keetuuze

    433. Olaba lulema yalukedde : nga ggwe atandise mu ttuntu onoolukola otya?

    434. Olaba nnasswi akulembedde : nti Obuganda mirembe?

    435. Olaba omugenge nga yeeyuna ettu : ng’engalo kw’asigalako ensajja

    436. Olaba malinnya : amakka ganaalema

    437. Olangajja : ng’afumita ekitaliibwa

    438. Olangajja : ng’eyakasibira e Mbaale

    439. Olejjalejja : nga baakwaluza mukalo gwa ndegeya

    440. Oleese mawano : ng’atadde emmindi ku kamwa

    441. Oli balusagya : ng’omuwuulu agula enkulo

    442. Olidde eggi : kwesubya muwula

    443. Olidde ka bulanga

    444. Olijja ddi ewaffe? : lye bbanja ery’omugenyi (= omugezi)

    445. Oli kajagujagu ng’akabwa akato : tikannazibula, nga kasutama

    446. Oh kasalabekkya : ng’Omunyolo akubagiza Omuganda

    447. Oh kasobeza ng’okutu – – ( Kasobeza nga kutu: )

    448. Oh kasobeza ng’omuweesi : akugamba okufukuta n’afukamu amazzi

    449. Oli kasobeza ng’omuyizzi : agamba embwa mutte, mulye!

    450. Oh kikonde : kikuba ali kumpi

    451. Oh kimwakitoole : ng’omusajja alya ebbumba

    452. Olikiraba : takikutendera

    453. Oh kkalu-muliro : ng’eggye lya Kasujju

    454. Oh lumbe lwa kirago

    455. Olima awatono : ne wattira

    456. (Amin ng’ow’effumu limu : nnaakukuba amanyago (so ng’alina olunyago lumu)

    457. Olimbyerimbye basuze : abalungi bagenze n’omwami

    458. Olimpa ki? : ng’olimpa nkuti

    459. Oli mpalakitale ng’eddiba ly’emmere : amaviivi ze mmambo

    460. Oli mpaiakitaie : ekaabira ku nsozi essatu

    461. Olimu akeewaniko ak’amakobe

    462. Oli mugabi nga jjenje : olulikwatako nga likulekera kugulu

    463. Oli mugayaavu nga kyannyanja : kisula mu mazzi ne kitanaaba kutukula

    464. Oli mukaba nga Mulemeezi : yasibira Kangaawo ekkubo

    465. Oli mukaba nga nsiko : etuyana kiro

    466. Oli mukalabakalaba ng’omumwi w’ekirevu : awatali linnyo, awangawo

    467. Oli mukubi wa mpi mu kigongo

    468. Oli mu kulya : nga Katonga ajjula?

    469. Oli mukuusa nga jjembe : liva ku kikondo nti nva Buvuma

    470. Oli mulangaasira : nga bulago bw’emmese

    471. Olimulisa mu kika olumuli

    472. Oli musezi : talengera nnimiro

    473. Olina akajanja : akannamukazi-omu nti omwandu tunaagukisa wa? nti ggw’oli-na?

    474. Olina akambayaaya : akasengusa ennyonyi ekiro, ng’ewa musolo

    475. Olina akasattizo (= amampaati) : akambaliza ekkovu ekita, nga ligenda kusenge-jja

    476. Olina enfubitizi : ekusuza n’omulamu ng’agenda okufa ali wall

    477. Olina kasiikuuzi : akakubya emmomboze eyajja n’ebigere byayo

    478. Olina mwegunja : ng’anyumya aseka

    479. Olina obukabakaba obwa wamumwa : nti tulye entanda

    480. Oli ng’akakowekowe : katemereza ataakawe

    481. Oli nga mazzi ag’oku lutimpatimpa

    482. Oli ala : ng’emmindi ewona ekiziyiro

    483. Oli njuki : esomba bidumo

    484. Oli nkoko : tosaggirirwa

    485. Oli nnakifankenyere : ekinywera amazzi emugga

    486. Oh nnama we ngwa

    487. Oh nnasajja : ng’omugomo ogutta ensonzi n’obuyamba

    488. Olinnye gye gava : kunywa matabangufu

    489. Oliraana wa butwa (omuwa-butwa) : n’otoliraana wa kyokoola

    490. Oh Ssekadde : yeegabira Mukono

    491. OH waggume nga mugoyo : bagutenda buwoomi ate gusiiwuusa mimwa

    492. Oli wa kalogojjo : nga mubumbi

    493. Oh wa kitalo nga mugoyo : bagutenda buwoomi ate gusiiwuusa mimwa

    494. Oli wa kyejo : bwe nnaakusimbako enjala, omukka onoosiza mu byayi nga tabs

    495. Oli wa mukisa : ng’anyaga embwa ekuzizza

    496. Oli wa mukisa : ng’omunafu gwe baagala

    497. Oli wa mugoonyo : bw’otta enkoko, ofumba kasooli

    498. Oli wa nnyomba mbi : ng’alima emmere ye ku kkubo

    499. Oli w’e Ssambwe : Nnabugwamu

    500. Olondobereza ng’eyanyaga emu : nti Kabaka (or mwami) y’ankongoola

    501. Oloodde muganzi mu kizikiza

    502. Oloose ky’oliraba : nnaloose nfudde

    503. Olubbobbo oluwaanyisa ekiramu

    504. Olubuto kyoto : alutyabira (= alusombera, = akisennyera) enku y’akoowa

    505. Olubuto lugwana okulya

    506. Olubuto olubi : lukwogeza bye walidde

    507. Olufumbe olukulu lulwanira okufa

    508. Olufumbe olukulu bw’olaba nga lulwanya embwa : ng’essanja basala

    509. Oluganda kulya : olugenda enjala terudda

    510. Oluganda luva ku kkubo

    511. Oluganda lwala mukwano

    512. Oluganda nkovu : teggwa (= teruggwa) ku mubiri (or: sirunaabibwa)

    513. Oluganda talya kya munne : ttaka tirirya lwa ntamu

    514. Olugenda enjala : terudda

    515. Olugero olukadde : lusala oluggya

    516. Oluggumuggumu : lusiriiza ennumbu

    517. Olugo olugenyi : terumanya mbuzi mponge

    518. Olujuukirira lw’anjuukirira gvantiisa

    519. Olukadde eyalumanyanga (= eyalulaba) : y’aluggya mu mwandu

    520. Olukadde olwa Nnyenga : w’otolulaba mu katale, ng’ogamba nti yafa

    521. Olukka ennyanja – – ( Lukka ennyanja: )

    522. Olukuba omwana : lwagala nnyina

    523. Olukuba Waliiso : lulekera Wannyindo okufeesa

    524. Olukuba Wannyindo : lulekera Waliiso okulira

    525. Olukula luyonka abaana baiwo

    526. Oluliko omwenge : terubula asulamu

    527. Olulyo olw’omukyawe tirukala : olwange lubaze

    528. Olumbagayiza : lusuza omugumba enjala

    529. Olumbe kijjolooto : olaba lutta Kagulu atafa

    530. Olumbe lubugo : tulwebisse

    531. Olumbe lutumazeewo enkoko : asuula ku luwe

    532. Olumbe lwa nnabe : ffulula biswa

    533. Olumbe lwakeera okutta abantu : ng’asikidde mugagga

    534. Olumbe lw’ekirago

    535. Olumbe lw’omugagga tiwabula alutuukamu : wakasanke atuuka mu lwa mpanga

    536. Olumbe musolo : teruddukwa gye lukusangira gy’oweera (= gye gukusangira gy’oguweera)

    537. Olumbe sirutta bumu

    538. Olumbe terukuba misinde

    539. Olumbe terulaga nnaku

    540. Olumbe teruweebwa mukono

    541. Olummanyimmanyi : lukwasa embwa mu mannyo

    542. Olumyu olukula : luyonka abaana baalwo

    543. Olunaku lumu : tiruboza nnyama

    544. Olunaakutta : akabira kakwesamba

    545. Olunaakutta : ) lukuggya enunere mu kamwa ) lukuggya we bajjula

    546. Olunaakutta : lukuziba amatu

    547. Olunaakutta : lwasimuka ebiri

    548. Olunatta Wambwa : lumuziba ennyindo

    549. Olunda ntono : ne ziba ezannyo (= ezizo)

    550. Olunderebu olwambaliza ekkovu ekita : nga ligenda kusengejja

    551. Olunkulu lwayokesa Ssekiboobo Mbuula embuga ye

    552. Olunkulu lw’emisota : emito n’emikulu gyonna girya gigalamidde

    553. Olusala ekyayi – – ( Lusala ekyayi: ) Roscoe

    554. Olusozi lw’ababbi : ndikubbirawo (ewa Mugema)

    555. Olusozi lw’abakozi : nti nange mbalwa

    556. Olusozi lw’abammi : ndeke okulya, mpe ggwe?

    557. Olusuula entabi : lukuwa okutindira

    558. Olutafuka lw’omukyawe *: lujjula mawuggwe

    559. Olutototo lwa kamunyi

    560. Olutta ente : lulekera embwa omunyeroonyero

    561. Olutta wambwa – – (Olunatta wambwa: ) Munno

    562. Olutu olutu ng’amazzi ak’oku lutimpa – – ( Wulutu: )

    563. Oluva e Mukono lwe lulissa Abakunja entubiro

    564. Oluvulunguti : abasajja lwe balya mu magi

    565. Oluwanga lw’embwa – ( Luwanga: )

    566. Oluwijja oluweesa mpiso : luweesa n’akambe

    567. Oluyindi tiruliibwa nkagga

    568. Oluyitaayita : lukira oluliira ku nkoligo

    569. Olwali wa gundi : lwali ku njovu Kavumba

    570. Olwa mulungi : tiruggwa atenda

    571. Olwatika olunatta entamu : lugifuluma mu ntobo

    572. Olw’ennyama teruggwe? : nga y’alidde ebbango

    573. Olweyaniikirizo : lwakubya abataka

    574. Olwa kulya : lusuula emmese mu kita

    575. Olw’okulya : lusuula enkinzi

    576. Olwokya enju : lwe lulaga nnamunye ekkubo

    577. Olwo lwoya lwa mu nnyindo

    578. Olya entono : nga teziriimu ttaka

    579. Olya kizze : nga muwooza wa katale

    580. Olyanga akatono : n’otofa

    581. Omagamaga : ng’aggya akamu

    582. Omala okuyombera ku buko : nti alinnyimba ndimutta

    583. Omezze ate oluma? ( Amezze n’assaako n’okuluma: )

    584. Ommaze enviiri – – ( Munnange, ommaze: )

    585. Ompadde amaanyi : enjala egawa omutwe

    586. Ompiseeko kkuutwe : embwa ly’eyita ku mubumbi, ng’egenda eri omuwazi w’amaliba

    587. Ompise Ssekibotta akubira enva engalabi : ezange leka wano

    588. Ompitako nti nadda ne nkulamusa

    589. Ompubanyizza ng’ekiwalaata akyala : nti nnaasanga ng’omaze okusa obulo nti obulo nnaakuseera ku ki? anti olubengo otutte

    590. Omubaaga-zibi abaaga lumu

    591. Omubbi akubba : entuuliirizi n’etekutuuliirira

    592. Omubbi mmese : ategwa kirungi

    593. Omubbi tawerekwa

    594. Omubi abijja n’ebibye : mpokya abijja n’eggobe lye

    595. Omubi akira ebbanga

    596. Omubi anyumya : akira omulungi akuumiira

    597. Omubi atavaawo : olwaddaaki anaaza omulungi emabega

    598. Omubiri bwe gukuggwa : ataakulaba aku