Author: aznimi

  • Hymn 344: ABAANA-ABATO EDDA Lyrics

    Oluyimba 344: ABAANA-ABATO EDDA Lyrics

     

    OLUYIMBA 408: MUJJE KU MBAGA
    1
    ENO mbaga ya ttendo,era nga ya Yesu;
    Buli-omu yenna w’ali,kale-ajje ku mbaga;
    Mujje gye ndi-abakooye,Nze nnaabawummuza;
    Bw’atyo bwe yatugamba,ne leeero Ayita:

    Mujje ku mbaga.-mwenna ku mbaga;
    Yesu Y’afumbye leero,mujje mulye na Ye:
    Mulye,munywe bulungi,
    Mutwale ku mmere eteggwaawo.

    2
    Laba,Yesu-ayita mmwe mubeewo ku mbaga;
    Munaawona ennyonta,mukyame ku mbaga;
    Emyoyo egikooye anaagiwummuza;
    Kale mujje-eri Yesu nammwe mweyanjule:

    Mujje ku mbaga.-mwenna ku mbaga;
    Yesu Y’afumbye leero,mujje mulye na Ye:
    Mulye,munywe bulungi,
    Mutwale ku mmere eteggwaawo.

    3
    Nammwe muleete bangi babeewo ku mbaga;
    Baweebwe ku mmwere-eno,babeere mu ssanyu;
    Mujje so temulwawo,olwa leero mbaga;
    Mutambule bulungi,muyimbe n’essanyu:

    Mujje ku mbaga.-mwenna ku mbaga;
    Yesu Y’afumbye leero,mujje mulye na Ye:
    Mulye,munywe bulungi,
    Mutwale ku mmere eteggwaawo.

  • Hymn 341: JJO NE LEERO N’OKUTUUSA Lyrics

    Oluyimba 341: JJO NE LEERO N’OKUTUUSA Lyrics

     

    OLUYIMBA 405: EKISA KYA YESU
    1
    Ekisa kya Yesu,n’okwagala kwe, mbyewuunya. kyokka Ekisa kya Yesu,nokwagala kwe mbyewuunya
    Ye sutya va e yo mu ggulu gye ya linga kubwa liri. n,azaalwa mu bwavubu tyo ne mu kya o e kinyoomebwa;
    Olwomukwano kyokka
    Yali wamukwa- nomubuli bantu Yesuoyo naddala muaboaba bia basinga Yesuoyo Nawo nya endwaddeeziwerako N’a zuuki zako ne kubafu dde
    Gwamanyi negwata manyi Ngaabasasira

  • Hymn 346: AWO-YESU BWE YATAMBULA Lyrics

    Oluyimba 346: AWO-YESU BWE YATAMBULA Lyrics

     

    OLUYIMBA 41: OMWANA YAZAALIBWA
    1
    OMWANA yazaalibwa,
    Ku lwaffe mu nsi muno,
    Mu kibuga kya Dawudi Eyasuubizibwa-edda.

    Lunaku nga lukulu!
    Yesu lwe yajjirako;
    Kitegeezebwe wonna,
    Yesu bwe yazaalibwa.

    2
    Abasumba baalaba
    Malayika ekiro,
    N’agamba nti Temutya,
    Mbaleetedde-eby’essanyu.

    Lunaku nga lukulu!
    Yesu lwe yajjirako;
    Kitegeezebwe wonna,
    Yesu bwe yazaalibwa.

    3
    Kristo Omulokozi
    Eyatonda-ensi zonna,
    Olwa leero-azaaliddwa
    Mu kiraalo eky’ente.

    Lunaku nga lukulu!
    Yesu lwe yajjirako;
    Kitegeezebwe wonna,
    Yesu bwe yazaalibwa.

    4
    Omwana-Omutukuvu,
    Ffe leero tuzze gy’oli;
    Tukweyanza-ennyo nnyini,
    Olw’ekisa kyo-ekingi

    Lunaku nga lukulu!
    Yesu lwe yajjirako;
    Kitegeezebwe wonna,
    Yesu bwe yazaalibwa.

  • Hymn 349: GGWE MUSUMBA-OMULUNGI Lyrics

    Oluyimba 349: GGWE MUSUMBA-OMULUNGI Lyrics

     

    OLUYIMBA 412: YIMBA GGWE MWOYO GWANGE
    1
    MUJJE mwenna-abalonde,muyimbe nnyo leero
    Mujje tusinze Yesu eyatulokola;
    Mumwebaze yekka,Omulokozi w’ensi;
    Eyajja gye tuli mu kisa kye ekingi:

    Yimba ggwe mwoyo gwange,
    Yimba nnyo n’eddoboozi;(ggwe)
    Tendereza Yesu,Omulokozi wange;
    Yimba ggwe mwoyo gwange,
    Yimba nnyo n’eddoboozi;(ggwe)
    Osanyukenga bulijjo olw’obulokozi.

    2
    Abantu be,mujje n’emyoyo-emiwombeefu,
    Nga mwebaza byonna n’ennyimba ez’ettendo;
    Fenna ka tweweeyo,tumusinze ye yekka,
    Kubanga ye Yesu,Omulokozi waffe.

    Eyajja gye tuli mu kisa kye ekingi:

    Yimba ggwe mwoyo gwange,
    Yimba nnyo n’eddoboozi;(ggwe)
    Tendereza Yesu,Omulokozi wange;
    Yimba ggwe mwoyo gwange,
    Yimba nnyo n’eddoboozi;(ggwe)
    Osanyukenga bulijjo olw’obulokozi.

    3
    Ka twebaze-oluyimba lwa bamalayika:
    Nga bamulanga Yesu nti Azze gye tuli;
    Twegatte mu kuyimba ku nsi wamu nabo,
    Nga tuli ne Yesu,Omulokozi.

    Eyajja gye tuli mu kisa kye ekingi:

    Yimba ggwe mwoyo gwange,
    Yimba nnyo n’eddoboozi;(ggwe)
    Tendereza Yesu,Omulokozi wange;
    Yimba ggwe mwoyo gwange,
    Yimba nnyo n’eddoboozi;(ggwe)
    Osanyukenga bulijjo olw’obulokozi.

  • Hymn 334: NAKOLA NNYO NAYE SAAGASIBWA Lyrics

    Oluyimba 334: NAKOLA NNYO NAYE SAAGASIBWA Lyrics

     

    OLUYIMBA 4: MUKAMA WAFFE BULIJJO
    1
    MUKAMA waffe bulijjo,
    Mu linnya lyo tutanule,
    Tukole-emirimu gyaffe;
    Twagala n’okumanya ggwe.

    2
    Tukolenga by’oyagala,
    Tubeerenga mu maaso go,
    Tulabe n’omukisa gwo,
    Era tukusanyukire.

    3
    Amaaso go gatulaba:
    Mukama otuzibire,
    Tukuwe n’emyoyo gyaffe,
    Tukole by’otulagira.

    4
    Era tubeere-abaddu bo,
    Tutunule,tusabe nnyo,
    Tukwatenga-amateeka go,
    Tuwulire-ebigambo byo.

    5
    Kyonna kyonna kye tulina,
    Yesu,kikyo so si kyaffe,
    Tubeere naawe bulijjo,
    Tutambule mu kkubo lyo

  • Hymn 342: KIKAKAFU NNYO,YESU WANGE Lyrics

    Oluyimba 342: KIKAKAFU NNYO,YESU WANGE Lyrics

     

    OLUYIMBA 406: WAALIWO EDDA OMUWALA
    1
    WAALIWO edda omuwala
    Mu Beserekemu Yuda
    Empisa ze zaali nnungi
    Era yali muwombeefu.
    Nze ndi muzaana wa Mukama
    Kibe ku nze nga bw’ogambye

    2
    Malayika n’ajja gy’ali
    Mirembe gwe-aweereddwa-Omukisa

    Olibeera olubuto

    Olizaala-Omulokozi.
    Nze ndi muzaana wa Mukama
    Kibe ku nze nga bw’ogambye

    3
    Ekyo kirimbaako kitya?

    Kuba simanyi musajja?
    Malayika n’amuddamu:
    Omwoyo alikujjira
    Nze ndi muzaana wa Mukama
    Kibe ku nze nga bw’ogambye

    4
    Teyagaana,teyalimba
    Yaddamu kimu ekituufu
    Bw’ati ye n’obuwombeefu.
    Kibe Kityo nga bw’ogambye.
    Nze ndi muzaana wa Mukama
    Kibe ku nze nga bw’ogambye

    5
    Mukama akyama amalala
    Newankubadd’empisa embi,
    Abawombeefu mu mwoyo,
    Katonda ye abakkiriza.
    Nze ndi muzaana wa Mukama
    Kibe ku nze nga bw’ogambye

  • Hymn 335: YESU BYONNA ABIMANYI Lyrics

    Oluyimba 335: YESU BYONNA ABIMANYI Lyrics

     

    OLUYIMBA 40: MU KIBUGA KYA DAWUDI
    1
    MU kibuga kya Dawudi
    Eky’e Beesirekemu,
    Omwazaalirwa Omwana,
    Mu kiraalo eky’ente;
    Omwana-oyo ye Yesu;
    Nnyina ye Maliyamu

    2
    Ye yakka mu nsi ku lwaffe,
    Ye Mukama wa byonna;
    Yabeeranga n’abakopi,
    Mu kyalo-ekinyoomebwa;
    Yakwananga-abanaku,
    N’asembezanga-ababi

    3
    Yesu mu buto bwe bwonna,
    Yalinga muwombeefu;
    Yayagalanga nnyo nnyina,
    Ne bakulu be bonna;
    N’abaana bonna mu nsi
    Bakolenga bwe batyo

    4
    Edda tulirabagana, Olw’okwagala-okungi,
    Kubanga Omwana oyo,
    Ye Mukama wa byonna,
    Alituusa-abaana be
    Mu ggulu,babe naye.

    5
    Tetukyamulaba nate
    Mu kiraalo eky’ente;
    Tulimulaba mu ggulu,
    Ng’atudde ne Katonda.
    Naffe tulibeera-eyo,
    Nga tumutendereza.

  • Hymn 343: NSANYUKIRA EKIGAMBO KINO Lyrics

    Oluyimba 343: NSANYUKIRA EKIGAMBO KINO Lyrics

     

    OLUYIMBA 407: NDIDAYO MU GULU
    Ndiddayo mu ggulu(era)
    Ne nfuna essanyu (kuba)
    Omulimu gwange ku nsi guliba guweddeyo
    Ndiddayo mu ggulu:

    1
    Obulamu bwange ku nsi nange bwe nditwalibwa,
    Omusana n’ekiro nga bikomye:
    Ke kiseera ak’omuwendo n’omukisa gwa Yesu
    Ndiddayo ewaffe.

    Ndiddayo mu ggulu(era)
    Ne nfuna essanyu (kuba)
    Omulimu gwange ku nsi guliba guweddeyo
    Ndiddayo mu ggulu:

    2
    Olugendo lwange mu nsi mwe mpita mbonobona
    Mu ggulu ndibeera mu kiwummulo
    Bwe ndibeera mu Yesu mu kibug’ekitukuvu,
    Ndiyimba ewaffe
    Ndiddayo mu ggulu(era)
    Ne nfuna essanyu (kuba)
    Omulimu gwange ku nsi guliba guweddeyo
    Ndiddayo mu ggulu:

    3
    Mu kiwonvu ky’okufa siriba na kukankana
    Yesu bw’aliba nga ankulembedde;
    Ekisuubizo Yesu kye yampa bwe tutandeka
    Ndituuka ewaffe

    Ndiddayo mu ggulu(era)
    Ne nfuna essanyu (kuba)
    Omulimu gwange ku nsi guliba guweddeyo
    Ndiddayo mu ggulu:

  • Hymn 348: EKIRO NGA NEEBASE Lyrics

    Oluyimba 348: EKIRO NGA NEEBASE Lyrics

     

    OLUYIMBA 411: KATONDA Y’AKUUMA ABAANABE
    1
    MU nsi-engimu-eyajjula-eby’obugagga,
    Katonda y’akuuma-abaana be;
    Emigga gy’amazzi egy’obuwangwa
    Gye gibanywesa-abantu be.

    Entiisa bw’ejja,ab(a) entalo,
    Abantu bafa n’obwavu n’enjala;
    Emmund(u) ez’amaanyi nga zivuga;
    Kyokka Mukama ng’al(i) awo naffe.

    2
    Mu ddundiro-eddungi ery’obuwangwa,
    Katonda y’alunda-abaana be;
    Era-ekiro twebaka mu kiwonvu;
    Era Katonda y’akuuma.

    Entiisa bw’ejja,ab(a) entalo,
    Abantu bafa n’obwavu n’enjala;
    Emmund(u) ez’amaanyi nga zivuga;
    Kyokka Mukama ng’al(i) awo naffe.

    3
    Wadde ebibi bingi ebitulumba,
    Katonda y’akuuma abaana be;
    Amaanyi ge n’ekisa bitukuumye;
    Katonda ye Mulokozi.

    Entiisa bw’ejja,ab(a) entalo,
    Abantu bafa n’obwavu n’enjala;
    Emmund(u) ez’amaanyi nga zivuga;
    Kyokka Mukama ng’al(i) awo naffe.

    4
    Fenna tuyimbe,tusuute Kitaffe;
    Katonda akuumye abaana be;
    Nga tumanyi tuligenda eyo gy’ali
    Katonda ng’atwala abaana.

    Entiisa bw’ejja,ab(a) entalo,
    Abantu bafa n’obwavu n’enjala;
    Emmund(u) ez’amaanyi nga zivuga;
    Kyokka Mukama ng’al(i) awo naffe.

  • Hymn 330: YESU MUKAMA WANGE Lyrics

    Oluyimba 330: YESU MUKAMA WANGE Lyrics

     

    OLUYIMBA 396: BERA,MUKAMA,MUNDA YANGE
    1
    Bera,Mukama,munda yange,-Omutima ogutukuze;
    Onsembeze wagulu gyoli,Ne wansi ompanirire;
    Era-onkulembere,ai Kristo,Ate-emabega onsembe;
    Nemenga okuda enyuma,Nebuli luda-onkumenga.