Oluyimba 342: KIKAKAFU NNYO,YESU WANGE Lyrics
OLUYIMBA 406: WAALIWO EDDA OMUWALA
1
WAALIWO edda omuwala
Mu Beserekemu Yuda
Empisa ze zaali nnungi
Era yali muwombeefu.
Nze ndi muzaana wa Mukama
Kibe ku nze nga bw’ogambye
2
Malayika n’ajja gy’ali
Mirembe gwe-aweereddwa-Omukisa
Olibeera olubuto
Olizaala-Omulokozi.
Nze ndi muzaana wa Mukama
Kibe ku nze nga bw’ogambye
3
Ekyo kirimbaako kitya?
Kuba simanyi musajja?
Malayika n’amuddamu:
Omwoyo alikujjira
Nze ndi muzaana wa Mukama
Kibe ku nze nga bw’ogambye
4
Teyagaana,teyalimba
Yaddamu kimu ekituufu
Bw’ati ye n’obuwombeefu.
Kibe Kityo nga bw’ogambye.
Nze ndi muzaana wa Mukama
Kibe ku nze nga bw’ogambye
5
Mukama akyama amalala
Newankubadd’empisa embi,
Abawombeefu mu mwoyo,
Katonda ye abakkiriza.
Nze ndi muzaana wa Mukama
Kibe ku nze nga bw’ogambye