Author: aznimi

  • Hymn 360: YESU,MUKAMA WANGE Lyrics

    Oluyimba 360: YESU,MUKAMA WANGE Lyrics   OLUYIMBA 5: JJANGU GYE NDI BWE NZUUKUKA 1 JJANGU gye ndi bwe nzuukuka, Obudde nga busaasaanye, Osige mu mwoyo gwange, Ebirowoozo-ebisaana. 2 Jjangu gye ndi mu ggandaalo, Eby’ensi ebitaliimu, Bireme-okusiikiriza, -Omusana ogw’amaaso go. 3 Akawungeezi-ojje gye ndi Era bwe mba nkuvuddeko, Onkomywewo,onzibire; Mu nkwe zonna-eza Ssetaani. 4 Era mu…

  • Hymn 361: YESU MUSUMBA WANGE Lyrics

    Oluyimba 361: YESU MUSUMBA WANGE Lyrics   OLUYIMBA 50: LABA OMWANA MU KIRAALO-OMU 1 LABA Omwana mu kiraalo-omu; Ye Kabaka wa bakabaka; Talina kifo-okuzaalirwamu Naye yeetikka-ekibi byaffe. 2 Omwana oyo Omutukuvu Omulokozi yeetoowaza Okubeera mu nsi nga muwombeefu; Tulimulaba mu kitiibwa. 3 Banabbi bangi abaamulanga Ne bamalayika baayimba, Bo ne bagamba nti azaaliddwa, Asaanidde nnyo…

  • Hymn 362: YESU YE ANJAGALA Lyrics

    Oluyimba 362: YESU YE ANJAGALA Lyrics   OLUYIMBA 51: GGWE KIBUGA BEESIREKEMU 1 GGWE kibuga Beesirekemu- Tukutunuulire; Nga osiriikiridde nnyo Mu maaso g’eggulu. Mu nzikiza mu nguudo zo -Omusana gwo guzze; Byonna bye watyanga edda Biweddewo leero. 2 Malyamu-azadde Kristo Omutabaganya; Abantu mu butamanya Katonda-abaagala, Ggwe Kristo-,era ggwe Kabaka Tukusuute leero: Oweebwenga ekitiibwa Eyaleeta-essanyu. 3…

  • Hymn 363: KATONDA MU GGULU Lyrics

    Oluyimba 363: KATONDA MU GGULU Lyrics   OLUYIMBA 52: MU KISIBO KY’ENTE-E BEESIREKEMU 1 MU kisibo ky’ente-e Beesirekemu; Mwe yazazikibwa,Yesu Omwana, Ne mmunyeenye ku ggulu nga zaaka nnyo Omwana wa Katonda ng’azaaliddwa. 2 Yesu teyatya nte nga bwe zingoonga, N’abantu tebaamumanya,Omwana. Nze mmwagala Yesu eyazaalibwa, Abeerenga nange wonna we mbeera. 3 Beera kumpi nange,Omulokozi, Nkusaba-okusembera…

  • Hymn 364: EDDA BONNA ABALWADDE Lyrics

    Oluyimba 364: EDDA BONNA ABALWADDE Lyrics   OLUYIMBA 53: YESU OMWANA OW’EKISA 1 YESU-Omwana ow’ekisa Era-Omwana-omuwombeefu Eyazaalwa mu kiraalo Ggwe asuutibwa bonna. 2 Ggwe azzikiddwa mu mmanvu, Otuggye mu bibi byonna; Okuume mikwano gyaffe, Otuwe-emikisa gyo 3 Yesu-eyajja mg’omuwere Saasira-obunafu bwaffe; Bonna-abaana be watonda Obawe emikisa gyo.

  • Hymn 365: EDDA MU NSI ABAYUDAAYA Lyrics

    Oluyimba 365: EDDA MU NSI ABAYUDAAYA Lyrics   OLUYIMBA 54: NSANYUKIRA OLUYIMBA 1 NSANYUKIRA-oluyimba Lwa bamalayika Lwe baayimba okulanga Okujja kwa Yesu. Nze sirina bulungi, Nnina-ebibi bingi; Naye yakka ku lwange Yesu Mulokozi. 2 Mmanyi Mukama waffe Yafuuka omuto, -Okulaga empisa ennungi Ffe tuzikwatenga Era bwe naafubanga Okumufaanana Ye tanneerabirenga, Kubanga-anjagala. 3 Siyinza kumulaba Kaakano…

  • Hymn 366: OBUDDE BWE BWAWUNGEERA Lyrics

    Oluyimba 366: OBUDDE BWE BWAWUNGEERA Lyrics   OLUYIMBA 55: LABA -OMWANA AZAALIDWA 1 LABA -Omwana-azaaliddwa, Okuva mu ggulu; Laba azze ng’omuto, Mukama w’abakama. 2 Kristo yeefeebya bw’atyo; Bwe yafuuka -Omwana, Mu kiraalo Malyamu Gye yamuzazikira. 3 Kerode-omukambwe-ennyo Ye yatya nnyo nnyini, N’atuma abantu be Ne batta-abaana bangi 4 Omwana Yesu,kye kisa, -Ekituwaliriza Okukwata-ekkubo-eryo Eritutuusa gy’ali.

  • Hymn 367: OMULOKOZI WAFFE Lyrics

    Oluyimba 367: OMULOKOZI WAFFE Lyrics   OLUYIMBA 56: EKISEERA KYE KITUUSE 1 EKISEERA kye kituuse -Ab’omu ggulu weebali; Bonna batendereza nnyo Nga bayimba bwe bati: Ekitiibwa kibe eri Katonda 2 Abasumba bwe baalaba Bamalayika bali Nga bayimba oluyimba -Olwali -olw’okujaguza: Ekitiibwa kibe eri Katonda 3 Mu kiraalo bwe baagenda Baamulaba omuto; Bakkiriza nga ye Kristo,…

  • Hymn 368: AMAZE-OMULIMU GWE Lyrics

    Oluyimba 368: AMAZE-OMULIMU GWE Lyrics   OLUYIMBA 57: OMWANA-E BEESIREKEMU 1 OMWANA-e Beesirekemu Beesirekemu; Omwana-azaaliddwa-omuto Aleruuya,Ale,Aleruuya. 2 Endiga-,endogoyi n’ente; -Endogoyi n’ente Zaasinza Kabaka waazo; Aleruuya,Ale,Aleruuya. 3 N’essanyu abatukuvu Abatukuvu; Baalaba obulokozi; Aleruuya,Ale,Aleruuya

  • Hymn 369: BAWEEREDDWA-ABAFU Lyrics

    Oluyimba 369: BAWEEREDDWA-ABAFU Lyrics   OLUYIMBA 58: ESSANYU LINGI MU GGULU 1 -ESSANYU lingi mu ggulu Ennanga nga zivuga; Era bamalayika Bayimba nnyo mu bbanga. Ekitiibwa kibe waggulu ennyo 2 Naffe abali mu nsi, Ka tukube enduulu; Nti wa la-la-la-la-la! Ozaana waggulu-ennyo Ekitiibwa kibe waggulu ennyo 3 Ka tuyimuse gy’oli -Emitima gyaffe gyonna Okwagala kwo…