Author: aznimi
-
OLUYIMBA 113: MU MIKONOGYO YESU Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 113: MU MIKONOGYO YESU 1 MU mikono gyo, Yesu, Tuleeta-omwana-ono; Ku Bbatirizo lino, Tukusaba-omukuume. 2 Tumanyi-okwagala kwo Eri-abaana bonna; Kubanga wabanenya Abaali babagoba. 3 Naffe leero tusaba Bwe tuleeta ono Omutuule-omwana wo -Emirembe n’emirembe. 4 Omulabe wa maanyi, Naye wamusinga Otukuume mu kkubo, Otutuuse mu ggulu.
-
OLUYIMBA 114: OMULOKOZI YESU Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 114: OMULOKOZI YESU 1 OMULOKOZI Yesu Ggwe atuyita mu nsi eno Okukugoberera, Kaakano tuzze gy’oli. 2 Tutandise-olugendo -Okuyita mu nsi enoo; Tukwate mu mikono Tulyoke tuwangule. 3 Tuli banafu ddala Ggwe-oli w’amaanyi Kaakano tusuubiza Okukugoberera. 4 Tetutya kabikonna, Kubanga wasuubiza Nti ffe mu mikono gyo Tuli ba ddembe…
-
OLUYIMBA 115: OMUSUMBA-OMULUNGI Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 115: OMUSUMBA-OMULUNGI 1 OMUSUMBA-omulungi Kuuma-endiga zo zonna; Mpaawo-alizisikula -Okuva mu mikono gyo. 2 Bulijjo twewombeeke Okukugoberera, Ng’abo abaatusooka, Tukuumibwe-okwagala. 3 Bulijjo beera kumpi Tuyige-eddoboozi lyo; Tuleme-okukyamanga Nga tuva mu kkubo lyo. 4 Yonna gy’onootutwala, Tukugobererenga, Okutuuka mu ggulu Tufuge wamu naawe
-
OLUYIMBA 116: YESU NAAWE WALI Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 116: YESU NAAWE WALI 1 YESU naawe wali Omuto ngaffe, So tewali muto Gw’otoyagadde; Naffe twakusenga Ku Bbatirizo, Otujjukizenga Endagaano eyo. 2 Mu kiseera ekyo Baatuyingiza Munda mu kisibo Eky’Ekkanisa. Bwe tuneesiganga Ebigambo byo, Onootukwatanga Mu mikono gyo. 3 Tetukyakulaba Yesu,n’amaaso, Naye tukusaba Otukuume nnyo. Edda tulituuka Mu…
-
OLUYIMBA 117: TUSANYUSE-OKUJJA MU MAASO GO Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 117: TUSANYUSE-OKUJJA MU MAASO GO 1 TUSANYUSE-okujja mu maaso go, Tusuubiza leero mu maaso go; Tubeere-abaana bo-ennaku zonna, Okukuweereza n’obwesigwa. 2 Naye tumanyidde ddala kino Nti tetuyinza awatali ggwe; Naye ggwe watusuubiza kino Okubeeranga naffe bulijjo. 3 Tumanyi nti ggwe oli mwesigwa, Toyinza kutuleka mu kkubo; Kale-essubi eryo…
-
OLUYIMBA 118: TWALA-OBULAMU BWANGE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 118: TWALA-OBULAMU BWANGE 1 TWALA-obulamu bwange Obufugire ddala, Ebiro bye ndimala Bibe bya kukusinza. 2 Twala-emikono gyange Okukuweerezanga; Twala-ebigere byangge Ntambulirenga mu ggwe. 3 Twala-eddoboozi lyange Nkutendereze Yesu; Twala n’emimwa gyange Gibuulirenga-Enjiri. 4 Twala ne bye ndowooza, Ndowoozenga by’osiima; Twala-omutima gwange Bulijjo-ogukuumenga 5 Twala bye nnina byonna, Byonna…
-
OLUYIMBA 119: TWATEEKEBWAKO OMUSAALABA Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 119: TWATEEKEBWAKO OMUSAALABA 1 TWATEEKEBWAKO omusaalaba, Tugoberere-Omugabe_waffe Omwoyo-o’wamaanyi gwe tuweereza, Balwanyi ba Yesu,tetudda nnyuma 2 Bye tulwanyiisa biva mu ggulu, Ekitabo kye ye-engabo yaffe; Okwagala-, Ekisa n’Obutukuvu, Twambalenga byonna bye tulwanyisa. 3 -Obulwa bunene naye tugume,e, Tuliwummula nga tuwangudde; Ekiwummulo eky’obuwanguzi Omugabe waffe alitwebaza. 4 Tulwanyise-ensi n’eby’omubiri, Tudde…
-
OLUYIMBA 12: ENJUBA Y’OMWOYO GWANGE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 12: ENJUBA Y’OMWOYO GWANGE 1 ENJUBA y’omoyo gwange, -Omulokozi gwe njagala; Bw’abanga-anjakira-,obudde Tebujja kunzibirira. 2 Emitawaana egy’ensi Gireme-okusiikiriza Omusana gw’amaaso go, Ne siyinza kukulaba. 3 Bwe ngenda-okwebaka-ekiro Onteeke mu mikono gyo, Onkuume mu kabi konna, Oneebase mu mirembe. 4 Enkya,mu ttuntu, n’ekiro, Era ne me bifo byonna, Ggwe-ayagala…
-
OLUYIMBA 120: KATONDA WANGE NKUWADDE Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 120: KATONDA WANGE NKUWADDE 1 KATONDA wange nkuwadde -Omwoyo gwange gwonna; Nnemenga okukuvaako emirembe gyonna. 2 Neesudde ku bigere byo, Ggwe-eyakomererwa: Komerera-ebibi byange, Nkuweereze wekka. 3 Olw’ekisa kyo-ontukuze , Onfuule owuwo, Ndyoke ndabe amaaso go Nkutenderezenga. 4 Nkuwadde byonna bye nkola N’ebyo bye ndowooza, Nkuweereze mu bulamu, Mu…
-
OLUYIMBA 121: ALIJJA:ESSUBI ERYO Song Lyrics
Enjatula Luganda Anglican Hymns Song Lyrics OLUYIMBA 121: ALIJJA:ESSUBI ERYO 1 ALIJJA:essubi eryo Lye litugumya-emyoyo Ekiseera kitono Okutuusa lw’alidda; Naffe tulijaguza Fenna Yesu bw’alijja. 2 Be twayagalanga ffe Bwe baba nga beebase Ne tweraliikirira Ne tubeera mu nnaku; Ka tuleke-okukaaba; Tuliwona,bw’alijja. 3 Bwe tulaba ennaku, Tetunyiiga n’akamu; Okufiirwa bannaffe N’ennaku ze tulaba; Tubigumiikirize, Okutuusa lw’alijja.…